Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku kutambula mayiro eyokubiri?

Mu kubuulira kwe okw’oku lusozi okumanyiddwa ennyo, Yesu yagamba nti: “Omuntu ali mu buyinza bw’akuwalirizanga okutambula naye mayiro emu, otambulanga naye mayiro bbiri.” (Matayo 5:41) Olw’okuba abo abaabanga mu buyinza baawalirizanga omuntu okukola omulimu gwonna, kyandiba nti eyo ye ngeri abaali bawuliriza Yesu gye baategeeramu ebigambo ebyo.

Mu kyasa ekyasooka E.E. (Embala Eno), Abaisiraeri baali bafugibwa Abaruumi. Abaruumi baawalirizanga abantu oba ensolo okukola omulimu gwe baabanga baagala gukolebwe mu bwangu. Ng’ekyokulabirako, abasirikale Abaruumi baawaliriza Simooni ow’e Kuleene okusitula omuti kwe baali bagenda okukomerera Yesu agutwale mu kifo we baali bagenda okumuttira. (Matayo 27:32) Okuwalirizibwa okw’engeri eyo kwanyigirizanga abantu, era Abayudaaya baali tebaagalira ddala kuyisibwa mu ngeri eyo.

Obuwanvu bw’olugendo omuntu lwe yatambulanga ng’awaliriziddwa okusitula ekintu terumanyiddwa. Kyokka, kizibu okuteebereza nti omuntu yali ayagala okukola ekisinga ku ekyo kye yabanga awaliriziddwa okukola. N’olwekyo Yesu bwe yakubiriza abaali bamuwuliriza okutambula mayiro eyokubiri, yali ategeeza nti singa ab’obuyinza baabanga babalagidde okukola ekintu kyonna ekiri mu mateeka naye nga tekikontana na mateeka ga Katonda, baalinanga okukikola awatali kwemulugunya.​—Makko 12:17.

Ana ayogerwako mu Njiri yali ani?

Mu Bayibuli Ana ayogerwako nga “kabona omukulu” era yali aweereza mu kifo ekyo mu kiseera ky’okuwozesebwa kwa Yesu. (Lukka 3:2; Yokaana 18:13; Ebikolwa 4:6) Mu butuufu, yali ssezaala wa Kayaafa, eyali kabona wa Isiraeri asinga obukulu, era ye kennyini yali yaweerezaako nga kabona asinga obukulu okuva mu mwaka gwa 6 oba 7 E.E. okutuuka awo nga mu mwaka gwa 15 E.E., omukungu Omuruumi ayitibwa Valerius Gratus bwe yamuggya mu kifo ekyo. Wadde nga yali takyali kabona asinga obukulu, Ana yali akyalina obuyinza bungi mu Isiraeri. Bataano ku batabani be ne mukoddomi we, baaweerezaako nga bakabona abasinga obukulu.

Eggwanga lya Isiraeri bwe lyabanga lyetongodde, kabona asinga obukulu yaweerezanga obulamu bwe bwonna. (Okubala 35:25) Kyokka, Abaruumi bwe baabanga bafuga Isiraeri, kabona asinga obukulu yaziniranga ku ntoli za bagavana ne bakabaka Abaruumi abaalondebwanga Rooma, era baabanga basobola okumuggya mu kifo ekyo. Munnabyafaayo ayitibwa Flavius Josephus agamba nti gavana Omuruumi ayitibwa Kiriniyo owa Busuuli, yaggya Joazar ku bwakabona asinga obukulu awo nga mu mwaka gwa 6 oba 7 E.E., n’alonda Ana okuba kabona asinga obukulu. Kyokka, kirabika abafuzi bano abaali batasinza Katonda baakakasanga nti kabona asinga obukulu omupya gwe baabanga bagenda okulonda bamuggya mu bakabona abaabangawo.

Ab’omu maka ga Ana baali ba mululu era nga bagagga nnyo. Kirabika ekyabaleetera okugaggawala ennyo kwe kuba nti be bokka abaalina obuyinza ku kutunda ebintu ebyaweebwangayo mu yeekaalu gamba nga, amayiba, endiga, amafuta, n’omwenge. Josephus agamba nti Ananiya mutabani wa Ana yalina “abaddu abakambwe abaakakanga abantu okubawa ekimu eky’ekkumi ekya bakabona. Ate era baakubanga omuntu yenna eyabanga agaanye okubawa ekimu eky’ekkumi.”