Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

KIKI ekyaleetera omusajja okuddamu okugoberera emisingi gy’empisa egy’eddiini mwe yakuzibwa? Omuvubuka omu yafuna atya taata omulungi gwe yali amaze ebbanga eggwanvu ng’anoonya? Soma olabe bo bennyini kye bagamba.

“Nnali nneetaaga okudda eri Yakuwa.”​—ELIE KHALIL

NNAZAALIBWA: 1976

ENSI: CYPRUS

EBYAFAAYO: NNALI MWANA MUJAAJAAMYA

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnazaalibwa mu nsi eyitibwa Cyprus naye ne nkulira mu Australia. Bazadde bange Bajulirwa ba Yakuwa, era baafuba nnyo okunjigiriza okwagala Yakuwa n’Ekigambo kye, Bayibuli. Kyokka, bwe nnatuuka mu myaka egy’obutiini, nnatandika okubajeemera. Nnebbanga ekiro ne ŋŋenda okusisinkana mikwano gyange abatiini. Twabbanga emmotoka era twagwanga mu mitawaana mingi.

Mu kusooka, nnakolanga ebintu ebyo mu nkukutu nga ntya okunyiiza bazadde bange. Naye okutya kwagenda kunzigwaamu mpolampola. Nnatandika okukola emikwano n’abantu abansinga obukulu abaali bataagala Yakuwa era baandeeteranga okweyisa mu ngeri etasaana. N’ekyavaamu, nnagamba bazadde bange nti nnali sikyagala kubeera mu nzikiriza yaabwe. Baagezaako nnyo okunnyamba, naye ne sikitwala ng’ekikulu. Kino kyabanakuwaza nnyo.

Bwe nnava awaka, nnatandika okukozesa ebiragalalagala, okulima enjaga, n’okugitunda. Nnali mugwenyufu era ebiseera ebisinga obungi nnabanga mu biduula. Ate era nnafuuka muntu asunguwala amangu. Omuntu bwe yayogeranga oba bwe yakolanga ekintu kyonna kye saagala, nga mmusunguwalira nnyo, mmuboggolera, era nga mmukuba. Okutwalira awamu, nnakolanga ebintu bye nnayigirizibwa obutakola ng’Omukristaayo.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Waliwo omuvubuka eyafuuka mukwano gwange nga naye yali akozesa ebiragalalagala. Omuvubuka ono yafiirwa kitaawe ng’akyali muto. Emirundu egisinga obungi twanyumyanga okutuusa amatumbi budde. Bwe twabanga tunyumya, oluusi yanneeyabizanga ng’ambuulira engeri okufiirwa kitaawe gye kyali kimuyisaamu. Olw’okuba nnakula mmanyi essuubi ery’okuzuukira, nnatandika okumubuulira ebikwata ku Yesu, nti yazuukiza abafu era nti yasuubiza okuddamu okukikola mu biseera eby’omu maaso. (Yokaana 5:28, 29) Nnamugambanga nti: “Kuba akafaananyi ng’ozzeemu okulaba kitaawo. Ffenna tusobola okubeera mu lusuku lwa Katonda emirembe gyonna.” Mukwano gwange yakwatibwako nnyo olw’ebigambo ebyo.

Ate ebiseera ebirala, mukwano gwange yayogeranga ku bintu nga ennaku ez’oluvannyuma oba enjigiriza ya Tiriniti. Nnakwatanga Bayibuli ye ne mmulaga ebyawandiikibwa ebitali bimu ebiraga amazima agakwata ku Yakuwa Katonda, Yesu, n’ennaku ez’oluvannyuma. (Yokaana 14:28; 2 Timoseewo 3:1-5) Gye nnakomanga okwogera ne mukwano gwange ku bikwata ku Yakuwa, gye nnakomanga okulowooza ku Yakuwa.

Mpolampola, ensigo ez’amazima ga Bayibuli bazadde bange ze baansigamu ezaali zeebase mu mutima gwange okumala ekiseera zaatandika okumera. Ng’ekyokulabirako, emirundi egimu bwe nnabanga nnywa ebiragalalagala ne mikwano gyange nneesanganga nga ntandise okulowooza ku Yakuwa. Bangi ku mikwano gyange baagambanga nti baagala Katonda, naye nga empisa zaabwe ziraga kirala. Olw’okuba nnali saagala kubeera nga bo, nnatandika okulowooza ku kye nnali nneetaaga okukola. Nnali nneetaaga okudda eri Yakuwa.

Kya lwatu, kyangu okumanya eky’okukola, naye ate okukikola kuba kuzibu. Kyali kyangu okukola enkyukakyuka ezimu gamba ng’okulekera awo okunywa ebiragalalagala. Ate era, nneekutula ku mikwano gyange emikadde ne ntandika okuyiga Bayibuli n’omu ku bakadde mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Kyokka, tekyali kyangu kukola nkyukakyuka ndala. Kyanzibuwalira nnyo nnaddala okufuga obusungu. Emirundu egimu nnafuganga obusungu ate oluusi nga sibufuga. Oluvannyuma kyampisa bubi kubanga nnalowooza nti nnali nnemereddwa. Bwe nnatandika okwennyamira, nnatuukirira omukadde mu kibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa eyali anjigiriza Bayibuli. Yankwatanga n’obugumiikiriza era n’ekisa, era yanzizangamu amaanyi. Lumu, yaŋŋamba nsome ekitundu ekimu okuva mu magazini eyitibwa Watchtower ekikwata ku butalekulira. * Twakubaganya ebirowoozo ku ebyo bye nnyinza okukola nga waliwo annyiizizza. Ebyo bye nnali njize okuva mu kitundu ekyo n’okusaba ennyo Yakuwa, byannyamba mpolampola okufuga obusungu. Oluvannyuma, mu Apuli 2000, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Kino kyasanyusa nnyo bazadde bange.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Kati nnina emirembe mu mutima n’omuntu ow’omunda omuyonjo olw’okuba nkimanyi nti sikyayonoona mubiri gwange nga nkozesa ebiragalalagala n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Buli kye nkola, ka gube mulimu, kugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo, oba okwesanyusaamu, mbeera musanyufu nnyo. Kati ndaba ng’obulamu bwange bulina ekigendererwa.

Nneebaza Yakuwa olw’okuba bazadde bange tebandekerera. Ate era ndowooza ku bigambo bya Yesu ebisangibwa mu Yokaana 6:44 ebigamba nti: “Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.” Kinkwatako nnyo buli lwe ndowooza ku ky’okuba nti Yakuwa ansobozesezza okudda gy’ali.

“Nnayagala nnyo okufuna taata omulungi.”​—MARCO ANTONIO ALVAREZ SOTO

NNAZAALIBWA: 1977

ENSI: CHILE

EBYAFAAYO: NNALI MUKUBI WA BIDONGO

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA: Nnakuzibwa maama wange mu kibuga ekirungi ennyo ekiyitibwa Punta Arenas, ekiri okumpi n’omugga Magellan mu maserengeta ga Amerika ow’ebukiika ddyo. Bazadde bange baayawukana ndi wa myaka etaano, ekyandeetera okuwulira ng’eyali asuuliddwa awo. Nnayagala nnyo okufuna taata omulungi.

Maama wange yayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era yantwalanga mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Kyokka, nnali saagala kugenda mu nkuŋŋaana era nnakaabanga nga tugenda. Bwe nnaweza emyaka 13, nnalekera awo okugenda mu nkuŋŋaana ezo.

Mu kiseera ekyo, nnali ntandise okwagala eby’okuyimba, era nnakizuula nti nnabirinamu ekitone. We nnawereza emyaka 15, nnali nkuba ebidongo ku mikolo, mu mabbaala, ne mu bifo ebirala. Okukolagana n’abayimbi abakugu kyandeetera okwagala ennyo okuyiga okukuba ebivuga. Nnasalawo okugenda mu ttendekero eritendeka okukuba ebivuga eryali mu kitundu mwe nnali. Nga mpezezza emyaka 20, nnasengukira mu kibuga ekikulu Santiago, nneeyongere okuyiga okukuba ebivuga. Ate era nneeyongera okukuba ebidongo mu bbandi ezitali zimu.

Mu kiseera ekyo kyonna, saafuna ssanyu lya nnamaddala. Olw’okwagala okweggyamu enneewulira eyo, nnanywanga omwenge mungi ssaako okukozesa ebiragalalagala nga ndi wamu n’abo be nnakubanga nabo ebidongo be nnali ntwala nga baganda bange. Nnali mujeemu era nga ekyo kyeyolekeranga ne mu ndabika yange. Nnayambalanga engoye enzirugavu, era nnakuzanga ebirevu n’enviiri empanvu nga kumpi zinkoma mu kiwato.

Olw’okuba nnali mujeemu nnalwananga buli kiseera era nnamenyanga amateeka. Lumu bwe nnali nga ntamidde, nnalwana n’akabinja k’abatuunzi b’enjaga abaali batutawaanya nze ne mikwano gyange. Bankuba nnyo ne bampogola n’oluba.

Kyokka, ekyasinga okundeetera obulumi obw’amaanyi gye mikwano gyange egy’oku lusegere. Lumu, nnakizuula nti okumala emyaka mingi mukwano gwange nfiirabulago yali yeegatta n’omuwala gwe nnali njagala, kyokka nga ne mikwano gyange gyonna gikinkweka. Kino kyandeetera obulumi obw’amaanyi.

Nnaddayo mu kibuga Punta Arenas, gye nnatandikira okuyigiriza abantu okukuba ebivuga n’okukola ng’omukubi w’ekivuga ekiyitibwa cello. Ate era nneeyongera okukuba ebidongo. Nnasisinkana omuwala alabika obulungi ayitibwa Sussan ne tutandika okubeera ffembi. Nga wayiseewo ekiseera, Sussan yakizuula nti maama we yali akkiririza mu njigiriza ya Tiriniti naye nga nze sigikkiririzaamu. Ky’ava ambuuza nti, “Ekituufu kye kiruwa?” Nnamuddamu nti nkimanyi nti enjigiriza ya Tiriniti ya bulimba naye sisobola kukikakasa okuva mu Bayibuli. Kyokka, nnali mmanyi abasobola okumulaga Ebyawandiikibwa kye bigamba. Nnamugamba nti Abajulirwa ba Yakuwa basobola okumulaga amazima agali mu Bayibuli agakwata ku nsonga eyo. Oluvannyuma, nnakola ekintu kye nnali sikola okumala emyaka mingi​—nnasaba Katonda annyambe.

Oluvannyuma lw’ennaku ntono, nnalaba omusajja eyalabika nga gwe nnali mmanyi, era nnamubuuza obanga yali Mujulirwa wa Yakuwa. Wadde nga yali alabika ng’attidde olw’endabika yange, ebibuuzo bye nnamubuuza ebyali bikwata ku nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa ezibeera ku Kizimbe ky’Obwakabaka yabiddamu mu ngeri ey’ekisa. Oluvannyuma lw’okusisinkana omusajja oyo, nnali mukakafu nti essaala yange eddiddwamu. Nnagenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka ne ntuula ku ntebe ey’emabega waleme kubaawo antegeera. Kyokka, bangi baantegeera olw’okuba nnajjanga mu nkuŋŋaana nga nkyali muto. Bannyaniriza, era ne bangwa mu kifuba ekyandeetera okuwulira emirembe emiyitirivu. Nnali ng’akomyewo eka. Bwe nnalaba omusajja eyanjigirizanga Bayibuli nga nkyali muto, ne mmusaba addemu anjigirize.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Lumu nnasoma Engero 27:11, awagamba nti: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange.” Kyankwatako nnyo bwe nnakimanya nti omuntu obuntu asobola okusanyusa Omutonzi w’obutonde bwonna. Nnakitegeera nti Yakuwa ye Taata omulungi gwe nnali nnoonya okumala ebbanga eggwanvu!

Nnali njagala okusanyusa Kitange ow’omu ggulu n’okukola by’ayagala, naye nnali mazze emyaka mingi nga nkozesa ebiragalalagala n’omwenge era nga nfuuse muddu waabyo. Nnategeera obutuufu bw’ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:24, ebigamba nti “tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri.” Omusingi oguli mu 1 Abakkolinso 15:33, awagamba nti “emikwano emibi gyonoona empisa ennungi” gwannyamba nnyo okukola enkyukakyuka. Nnakiraba nti nnali sisobola kuva ku mize gino emibi singa nneeyongera okugenda mu bifo bye bimu era n’okukolagana n’emikwano gye gimu. Okubuulirira kwa Bayibuli kwali kukiraga bulungi nti nnalina okukola kyonna ekisoboka okwekutula ku bintu ebyali binneesittaza.​—Matayo 5:30.

Olw’okuba nnali njagala nnyo okukuba ebidongo, tekyali kyangu kubireka. Naye mikwano gyange mu kibiina gyannyamba nnyo, era oluvannyuma nnabireka. Nnalekera awo okunywa ennyo omwenge n’okukozesa ebiragalalagala. Ate era nnasalako enviiri zange n’ebirevu, era ne ndekera awo okwambala engoye enzirugavu zokka. Bwe nnagamba Sussan nti njagala kusalako nviiri zange, yeewuunya nnyo era n’ayagala okumanya kye nnali nkola ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Yaŋŋamba nti, “Njagala kugenda naawe ndabe bye mukola mu Kizimbe ky’Obwakabaka!” Ebyo bye yalaba byamusanyusa nnyo era naye n’atandika okuyiga Bayibuli. N’ekyavaamu, nze ne Sussan twafumbiriganwa mu bufumbo obutukuvu. Mu 2008, twabatizibwa ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Tuli basanyufu nnyo okwegatta ku maama wange mu kuweereza Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Nnawona ebintu by’ensi ebitaleeta ssanyu lya nnamaddala era nnawona n’emikwano emikuusa. Nkyayagala nnyo ennyimba, naye kati nnondamu. Nkozesa ebyo bye nnayitamu okuyamba ab’omu maka gange n’abantu abalala, naddala abavubuka. Njagala okubayamba okutegeera nti ebintu by’ensi biyinza okulabika ng’ebisikiriza, naye oluvannyuma biba “ng’ebisasiro.”​—Abafiripi 3:8.

Nfunye emikwano emyesigwa mu kibiina Ekikristaayo, omuli emirembe n’okwagala okwa nnamaddala. N’ekisinga byonna, nfunye enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era nga ye Taata omulungi gwe nzudde.

[Obugambo obuli wansi]

^ Ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti: “Obugumiikiriza Butuusa ku Buwanguzi,” kyafulumira mu Watchtower eya Febwali 1, 2000, olupapula 4-6.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 13]

“Yakuwa ansobozesezza okudda gy’ali”