Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okukubaganya Ebirowoozo—Yesu Ye Katonda?

Okukubaganya Ebirowoozo—Yesu Ye Katonda?

Okukubaganya Ebirowoozo​—Yesu Ye Katonda?

ABAJULIRWA BA YAKUWA baagala nnyo okukubaganya n’abantu ebirowoozo ku Bayibuli. Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Bayibuli kye weebuuza? Waliwo ekintu kyonna ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye wandyagadde okumanya? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.

Ekitundu ekiddirala kikwata ku kukubaganya ebirowoozo okuyinza okubaawo wakati w’Omujulirwa wa Yakuwa n’omuntu omulala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Karen azze mu maka g’omukyala ayitibwa Samali.

Kituufu nti Mmwe Temukkiririza mu Yesu?

Karen: Nsanyuse okukusisinkana nnyabo, nze Karen era ndi Mujulirwa wa Yakuwa. Ate gwe ani?

Samali: Nze Samali. Nsanyuse okukulaba. Naye omusumba wange yaŋŋamba nti Abajulirwa ba Yakuwa temukkiririza mu Yesu. Ekyo kituufu?

Karen: Ekituufu kiri nti tukkiririza mu Yesu. Mu butuufu tukkiriza nti omuntu okusobola okulokolebwa alina okuba ng’akkiririza mu Yesu.

Samali: Nange ekyo kye nzikiririzaamu.

Karen: Ekitegeeza tukkiriziganya ku nsonga eno. Samali, oyinza okuba nga weebuuza, ‘Bwe kiba nti Abajulirwa ba Yakuwa bakkiririza mu Yesu, ate lwaki abantu bagamba nti tebamukkiririzaamu?’

Samali: Yee, nange ekyo njagala okukimanya.

Karen: Ekituufu kiri nti tukkiririza nnyo mu Yesu, naye tetumala gakkiririza mu buli kimu abantu kye bamwogerako.

Samali: Oyinza okumpaayo ekyokulabirako?

Karen: Abantu abamu bagamba nti yali bubeezi muntu mulungi. Naye ekyo tetukkiriziganya nakyo.

Samali: Nange ekyo sikkiriziganya nakyo.

Karen: Ekitegeeza tukkiriziganya ne ku nsonga eyo. Ekyokulabirako ekyokubiri kiri nti Abajulirwa ba Yakuwa tebakkiriziganya na njigiriza ezikontana n’ebyo Yesu bye yayigiriza.

Samali: Awo oba otegeeza ki?

Karen: Amadiini mangi gayigiriza nti Yesu ye Katonda. Oboolyawo naawe bw’otyo bwe wayigirizibwa.

Samali: Yee, omusumba waffe yagamba nti Katonda ne Yesu be bamu.

Karen: Okkiriza nti engeri esingayo obulungi ey’okuyiga amazima agakwata ku Yesu kwe kwekenneenya ebyo bye yeeyogerako?

Samali: Yee, nkikkiriza.

Kiki Yesu Kye Yayogera?

Karen: Ka twetegereze ekyawandiikibwa ekinaatuyamba okutegeera obulungi ensonga eyo. Weetegereze Yesu kye yayogera wano mu Yokaana 6:38. Yagamba nti: “Saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky’ayagala.” Ekyawandiikibwa kino tekyandibadde na makulu singa Yesu ye Katonda.

Samali: Awo oba otegeeza ki?

Karen: Weetegereze, wano Yesu yagamba nti teyava mu ggulu kukola ye by’ayagala.

Samali: Kituufu, yagamba nti yajja okukola oli eyamutuma ky’ayagala.

Karen: Bwe kiba nti Yesu ye Katonda, kati olwo ani yamusindika okuva mu ggulu? Era lwaki yakola by’oli, so si bibye?

Samali: Ky’ogamba nkiraba. Naye siri mukakafu nti olunyiriri luno olumu lwokka lukakasa nti Yesu si ye Katonda.

Karen: Ate weetegereze ekirala Yesu kye yayogera. Mu Yokaana 7:16, yayogera ebigambo ebifaananako n’ebyo bye tulabye. Nkusaba osome ekyawandiikibwa ekyo.

Samali: Ka nkisome. “Yesu n’abaddamu nti: ‘Bye njigiriza si byange, naye by’oyo eyantuma.’”

Karen: Weebale kusoma bulungi Samali. Okusinziira ku lunyiriri luno, Yesu bye yayigiriza byali bibye?

Samali: Nedda, yagamba nti bye yayigiriza byali by’oyo eyamutuma.

Karen: Ekyo kituufu. Kati era, twagala okwebuuza: ‘Ani yatuma Yesu? Era ani yamuyigiriza amazima ge yali ayigiriza?’ Olowooza eyamuyigiriza si y’amusinga obukulu? Ggwe ate oba, oyo atuma y’aba asinga obukulu oyo gw’atuma.

Samali: Kinneewunyisizza nnyo. Guno gwe mulundi gwange ogusoose okusoma ekyawandiikibwa kino.

Karen: Ate era, lowooza ku bigambo bya Yesu bino ebiri mu Yokaana 14:28: “Muwulidde bwe mbagambye nti ŋŋenda era nkomawo gye muli. Singa munjagala mwandisanyuse olw’okuba ŋŋenda eri Kitange, kubanga Kitange ansinga.” Okusinziira ku lunyiriri luno, olowooza Yesu yali atwala atya Kitaawe?

Samali: Yesu yagamba nti Kitaawe amusinga. Ekyo kitegeeza nti Yesu akitwala nti Katonda amusinga obukulu.

Karen: Kyekyo kyennyini. Ate era, weetegereze ekyo Yesu kye yagamba abayigirizwa be nga bwe kiragibwa mu Matayo 28:18. Ekyawandiikibwa ekyo kigamba nti: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi.” Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, Yesu yabanga n’obuyinza bwonna?

Samali: Nedda, yagamba nti bwamuweebwa buweebwa.

Karen: Bwe kiba nti Yesu ye Katonda, yandibadde ayongerwako obuyinza? Era ani yabumuwa?

Samali: Ekyo nneetaaga kusooka kukirowoozaako.

Yali Asaba Ani?

Karen: Bwe kiba nti ddala Yesu ye Katonda, waliwo ekintu ekirala kye twetaaga okulowoozaako.

Samali: Kye kiruwa ekyo?

Karen: Ky’ekyo ekyaliwo nga Yesu abatizibwa. Weetegereze ebyo ebiri mu Lukka 3:21, 22. Nkusaba osome ennyiriri zino?

Samali: “Awo abantu bonna bwe baali babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa, era bwe yali asaba, eggulu ne libikkuka, omwoyo omutukuvu ne gumukkako nga gulinga ejjiba, era eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti: ‘Ggwe Mwana wange omwagalwa; nkusanyukira.’”

Karen: Weetegerezza ekyo Yesu kye yali akola bwe yali abatizibwa?

Samali: Yali asaba.

Karen: Weebale nnyo. Kati tuyinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nti Yesu ye Katonda, olwo yali asaba ani?’

Samali: Ekyo kibuuzo kikulu. Nja kukibuuza omusumba wange.

Karen: Nga tukyali ku nsonga eyo, Weetegereze nti Yesu bwe yava mu mazzi waliwo eyayogera ng’asinziira mu ggulu. Weetegerezza ekyo kye yayogera?

Samali: Yagamba nti Yesu Mwana we, era nti amwagala nnyo era amusanyukira.

Karen: Ekyo kituufu. Naye bwe kiba nti Yesu ye Katonda, ani yayogera ebigambo ebyo ng’asinziira mu ggulu?

Samali: Ekyo mbadde sikirowoozangako.

Lwaki Yakozesa Ebigambo “Kitange” ne “Omwana”?

Karen: Waliwo n’ekirala kye twetaaga okulowoozaako: Tusomye nti Yesu yayogera ku Katonda nga Kitaawe ow’omu ggulu. Ate era ne Yesu bwe yali abatizibwa eddoboozi okuva mu ggulu lyagamba nti: “Ggwe Mwana wange.” Mu butuufu, Yesu kennyini yeeyogerako ng’Omwana wa Katonda. Kati, singa obadde oyagala ku nkakasa nti abantu babiri benkanankana, kyakulabirako ki eky’abantu abali mu maka kye wandikozesezza okunnyonnyola ensonga eyo?

Samali: Nsobola okukozesa ab’oluganda babiri.

Karen: Kyekyo kyennyini, oboolyawo abalongo. Naye Yesu yayogera ku Katonda nga Kitaawe ate ye ne yeeyogerako ng’Omwana. Kati olwo, Yesu yali ategeeza ki?

Samali: Ky’oyogera nkiraba. Yesu yali alaga nti omu asingako munne obukulu n’obuyinza.

Karen: Kituufu. Lowooza ku kino: Osobodde okukozesa ekyokulabirako nga kino ekituukirawo ekiraga abantu ababiri ab’enkanankana, ab’oluganda oba abalongo. Bwe kiba nti ddala Yesu ye Katonda, olowooza ye, ng’Omuyigiriza Omukulu, teyandikozesezza ekyokulabirako ekifaananako bwe kityo, oba ekisinga okutegeerekeka obulungi ekiraga abantu ababiri ab’enkanankana?

Samali: Ekyo kyeyoleka kaati.

Karen: Naye mu kifo ky’ekyo yakozesa ebigambo “Kitange” ng’ayogera ku Katonda, ne “Omwana” nga yeeyogerako.

Samali: Ensonga eyo gy’oyogeddeko nkulu nnyo.

Kiki Abagoberezi ba Yesu Abaasooka Kye Baagamba?

Karen: Nga sinnagenda, nnandyagadde nkulageyo ekintu ekirala kimu ekikwata ku nsonga eno, bw’oba ng’okyalinawo akadde.

Samali: Weekali, oyinza okukindaga.

Karen: Bwe kiba nti ddala Yesu ye Katonda, tewandisuubidde bayigirizwa be kwogera bwe batyo?

Samali: Bwe kityo bwe kyandibadde.

Karen: Kyokka, ekyo tolina wonna w’oyinza kukisanga mu Byawandiikibwa. Weetegereze ekyo omutume Pawulo, omu ku bagoberezi ba Yesu abaasooka, kye yagamba. Mu Abafiripi 2:9, ayogera ku ekyo Katonda kye yakola oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu n’okuzuukira kwe: “Katonda [yagulumiza Yesu] n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna.” Okusinziira ku lunyiriri luno, kiki Katonda kye yakolera Yesu?

Samali: Ekyawandiikibwa kigambye nti, Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo.

Karen: Ozzeemu bulungi. Naye singa Yesu yali yenkanankana ne Katonda nga tannafa, era oluvannyuma lw’okuzuukira Katonda n’amuteeka mu kifo ekya waggulu, ekyo tekyandifudde Yesu okuba ng’asinga Katonda? Waliwo omuntu yenna asinga Katonda?

Samali: Tewali n’omu, era ekyo tekisoboka.

Karen: Nzikiriziganya naawe. Okusinziira ku ebyo bye tulabye, okyasobola okugamba nti Bayibuli eyigiriza nti Yesu ye Katonda?

Samali: Nedda, bwe kityo si bwe kiri. Bayibuli egamba nti Yesu Mwana wa Katonda.

Karen: Ekyo kituufu. Samali, njagala okukakasa nti Abajulirwa ba Yakuwa Yesu bamussaamu nnyo ekitiibwa. Tukkiriza nti okufa kwe nga Masiya eyasuubizibwa kusobozesa abantu bonna abeesigwa okulokolebwa.

Samali: Nange bwe ntyo bwe nzikiriza.

Karen: Naye kati oyinza okuba nga weebuuza, ‘Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ekyo Yesu kye yakola, okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe?’ *

Samali: Ekyo nnali nkyebuuzizzaako.

Karen: Nnandyagadde okukomawo omulundi omulala tulabe engeri Bayibuli gy’eddamu ekibuuzo ekyo. Onoobaawo awaka wiiki ejja ku ssaawa ze zimu?

Samali: Yee, Nja kubaawo.

Karen: Ekyo kirungi nnyo, nja kuba musanyufu okukulaba nate.

[Obugambo obuli wansi]