Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuuma, Yalabirira, Yagumiikiriza

Yakuuma, Yalabirira, Yagumiikiriza

Koppa Okukkiriza Kwabwe

Yakuuma, Yalabirira, Yagumiikiriza

YUSUFU atikka omugugu omulala ku ndogoyi. Kuba akafaananyi nga yeetoolooza amaaso mu nzikiza ekutte ku kyalo Besirekemu era ng’asiisiitira endogoyi ye ento ey’amaanyi eyeetisse emigugu. Ateekwa okuba ng’alowooza ku lugendo oluwanvu lwe bagenda okutambula nga bagenda e Misiri. Abantu b’omu nsi gye bagendamu bapya, boogera lulimi lulala era n’obulombolombo bwabwe bulala. Ab’omu maka ge banaasobola batya okukola enkyukakyuka ezo?

Tekyali kyangu Yusufu kubuulira mukyala we Maliyamu amawulire ago amabi, naye yaguma n’amubuulira. Yamubuulira obubaka okuva eri Katonda malayika bwe yamuleetera mu kirooto ng’amutegeeza nti kabaka Kerode yali ayagala kutta omwana waabwe. Baali balina okuva mu nsi eyo amangu ddala. (Matayo 2:13, 14) Maliyamu yali mweraliikirivu nnyo era nga yeebuuza ensonga lwaki kabaka yali ayagala okutta omwana we ataalina musango. Maliyamu ne Yusufu baali tebamanyi kwe kyali kivudde. Naye beesiga Yakuwa ne bakola kye yali abagambye.

Ekiro, ng’abantu b’omu Besirekemu beebase, era nga tebamanyi kigenda mu maaso, Yusufu, Maliyamu, ne Yesu bafuluma ekyalo ekyo. Nga bali mu kkubo eryolekera e bukiikaddyo era nga n’enjuba etandise okuvaayo, Yusufu yandiba nga yatandika okwebuuza embeera bwe yandibadde nga batuuse gye baali bagenda. Omusajja omubazzi yandisobodde okukuuma ab’omu maka ge ne batatuusibwako kabi? Yandisobodde okubalabirira? Yandibadde mugumiikiriza ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa buno obw’amaanyi Yakuwa bwe yali amuwadde obw’okulabirira n’okukuza omwana ono eyali ow’enjawulo ku baana abalala? Yusufu yalina okusoomoozebwa kwa maanyi. Nga tugenda twetegereza engeri gye yatuukirizaamu obuvunaanyizibwa obwo, tujja kulaba lwaki bataata era naffe ffenna twetaaga okukoppa okukkiriza kwa Yusufu.

Yusufu Yakuuma ab’Omu Maka Ge

Emyezi mitono emabega, ng’akyali e Nazaaleesi, obulamu bwa Yusufu bwakyukira ddala ng’ayogerezeganya ne muwala wa Keri. Yusufu yali akimanyi bulungi nti Maliyamu muwala mwesigwa. Naye oluvannyuma, yakizuula nti yali lubuto! Yali ayagala amuleke nga talina muntu yenna gw’abuuliddeko Maliyamu aleme kukolebwako kabi konna. * Kyokka, malayika yayogera naye mu kirooto ng’amugamba nti Maliyamu yali lubuto ku bw’omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu. Malayika yagattako nti omwana gwe yandizadde ‘yandirokodde abantu be okuva mu bibi byabwe.’ Yeeyongera okukakasa Yusufu nti: “Totya kutwala mukazi wo Maliyamu mu maka go.”​—Matayo 1:18-21.

Yusufu, omusajja omutuukirivu era omuwulize, ekyo kyennyini kye yakola. Yakkiriza obuvunaanyizibwa obwali busingirayo ddala okuba obw’amaanyi, obw’okukuza n’okulabirira omwana ataali wuwe naye nga wa muwendo nnyo mu maaso ga Katonda. Oluvannyuma, ng’agondera ekiragiro ky’omufuzi eyaliko mu kiseera ekyo, Yusufu yatwala mukyala we eyali olubuto e Besirekemu okwewandiisa. Nga bali eyo, omwana yazaalibwa. *

Yusufu teyazzaayo ba mu maka ge e Nazaaleesi. Mu kifo ky’ekyo, baasigala Besirekemu ekyali kyesudde mayiro ntono okuva e Yerusaalemi. Baali baavu, naye Yusufu yakola kyonna ekisoboka okukuuma Maliyamu ne Yesu ng’abawa byonna bye baali beetaaga era n’okulaba nti tebabonaabona. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, baafuna ennyumba omw’okubeera. Yesu bwe yali nga takyali muwere wabula nga mwana muto, oboolyawo ng’asukka mu mwaka gumu, embeera y’obulamu bwabwe we yakyukira mu ngeri gye baali tebasuubira.

Waaliwo abasajja abawerako abalaguzisa emmunyeenye abaava e buvanjuba abaabakyalira, nga kirabika baali bava wala nnyo, e Babulooni. Bajja bagoberera emmunyeenye eyabatuusa mu maka ga Yusufu ne Maliyamu era nga baali banoonya omwana eyali agenda okufuuka kabaka w’Abayudaaya. Abasajja bano baali bassa nnyo ekitiibwa mu mwana ne maama we.

Ka babe nga baali bakimanyi oba nedda, abalaguzisa emmunyeenye baali batadde Yesu eyali akyali omuto mu buzibu obw’amaanyi. Mu kifo ky’okubatwala e Besirekemu, emmunyeenye gye baalaba yasooka kubatwala Yerusaalemi. Eyo gye baagambira Kabaka omubi ayitibwa Kerode nti baali banoonya mwana eyali agenda okufuuka kabaka w’Abayudaaya. Ekyo kyamuleetera okukwatibwa obuggya n’obusungu.​—Laba ekitundu ekirina omutwe: “Abasomi Baffe Babuuza . . . Ani Yasindika ‘Emmunyeenye’?” ekiri ku lupapula 29.

Kyokka, waaliwo eyali asinga Kerode amaanyi era alina kye yakolawo nga bwe tugenda okulaba. Abagenyi baabaleetera ebirabo. Nga kiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo Yusufu ne Maliyamu okufuna ebintu eby’omuwendo ennyo bye baali tebasuubira gamba nga “zzaabu, obubaane, n’eby’obuwoowo obuyitibwa mirra”! Abalaguzisa emmunyeenye baali baagala okubuulira Kabaka Kerode we baali bazudde omwana gwe baali banoonya. Kyokka Yakuwa n’abagaana. Ng’ayitira mu kirooto, yalagira abalaguzisa emmunyeenye okuddayo gye baava nga bayitira mu kkubo eddala.​—Matayo 2:1-12.

Ng’abalaguzisa emmunyeenye baakaddayo gye baava, malayika wa Yakuwa yalabula Yusufu ng’agamba nti: “Golokoka otwale omwana ne nnyina muddukire e Misiri, mubeere eyo okutuusa lwe ndikugamba okuvaayo kubanga Kerode anaatera okunoonya omwana okumutta.” (Matayo 2:13) Nga bwe twalabye ku ntandikwa y’ekitundu kino, amangu ddala Yusufu yakolera ku kulabula okwo. Okuwonyaawo omwana we kye kyali kisinga obukulu gy’ali, era kye yava atwala ab’omu maka ge e Misiri. Olw’okuba abalaguzisa emmunyeenye abo abaali batasinza Yakuwa baali babawadde ebirabo eby’omuwendo ennyo, baali basobola okweyimirizaawo nga batuuse eyo gye baali bagenda.

Ebitabo by’enjiri ebipya ebirimu engero z’eddiini ez’obulimba bwe biba byogera ku lugendo lw’e Misiri biraga nti mu ngeri ey’ekyamagero Yesu eyali omuto yakozesa amaanyi ge okukendeeza ku buwanvu bw’olugendo, okuziyiza abanyazi abaali bayinza okubakolako akabi, era n’okuleetera emiti gy’ebibala emiwanvu okukutama ne kiba nti nnyina yasobola okunoga ku bibala byagyo. * Ekituufu kiri nti, olugendo olwo lwali luwanvu, luzibu, era nga lukooya nnyo.

Waliwo bingi abazadde bye basobola okuyigira ku Yusufu. Yali mwetegefu okuleka emirimu gye n’okwefiiriza ebyo bye yali ayagala asobole okukuuma ab’omu maka ge baleme kutuukibwako kabi. Kyeyoleka bulungi nti amaka ge yali agatwala ng’ekintu ekitukuvu Yakuwa kye yamukwasa. Leero, abazadde bakuliza abaana baabwe mu nsi eno embi ennyo omuli ebintu ebiyinza okubakolako akabi, okuboonoona, kabe kasinge n’okubatta. Nga kisanyusa nnyo okuba ne bamaama awamu ne bataata abakoppa Yusufu, abafuba ennyo okukuuma abaana baabwe obutayonoonebwa!

Yusufu Yakolanga ku Byetaago by’Ab’omu Maka Ge

Kirabika amaka tegaalwayo e Misiri, kubanga waayita ekiseera kitono malayika n’agamba Yusufu nti Kerode afudde. Yusufu n’ab’omu maka ge baddayo mu nsi yaabwe. Obunnabbi bwali bulaga nti Yakuwa yandiyise omwana we “okuva e Misiri.” (Matayo 2:15) Yusufu yakozesebwa okutuukiriza obunnabbi obwo, naye wa gye yanditutte ab’omu maka ge?

Yusufu yali mwegendereza. Yeekengera omusika wa Kerode, Alukerawo, era nga naye yali mukambwe era nga mutemu. Bwe yafuna obulagirizi okuva eri Katonda, Yusufu yazzaayo ab’omu maka ge ewaabwe e Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya ekiri mu bukiikakkono era nga kyesudde ebbanga eriwerako okuva e Yerusaalemi abalabe b’omwana gye baali. Eyo ye ne Maliyamu gye baakuliza Yesu.​—Matayo 2:19-23.

Beewala okunoonya eby’obugagga wadde ng’embeera gye baalimu teyali nnyangu. Bayibuli eyogera ku Yusufu ng’omubazzi, ng’ekozesa ekigambo ekikozesebwa ku mirimu egy’enjawulo egikwatagana n’okukozesa embaawo, gamba ng’okusala embaawo, okuziwalula, n’okuzikolako mu ngeri ezisobozesa okukozesebwa mu kuzimba amayumba, amaato, entindo entonotono, ebigaali, namuziga, ebikoligo, n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu nnimiro. (Matayo 13:55) Omulimu ogwo gwali gwetaagisa amaanyi. Omubazzi ow’omu biseera ebyo yateranga okukolera okumpi n’omulyango gw’ennyumba ye.

Yusufu yalina ebikozesebwa bingi eby’enjawulo, nga kirabika nti ebimu kitaawe ye yabimuwa. Ayinza okuba yakozesanga omusumeeno, embazzi, ennyondo, gaamu ow’ebika eby’enjawulo, era oboolyawo n’emisumaali, wadde nga by’ali bya ssente nnyingi.

Kuba akafaananyi nga Yesu omulenzi omuto atunuulira kitaawe eyamukuza ng’akola. Yeetegereza buli kimu ky’akola era tewali kubuusabuusa nti asikirizibwa olw’engeri kitaawe gy’akozesaamu amaanyi ge, obukugu, n’amagezi. Oboolyawo Yusufu yatandika okuyigiriza mutabani we omuto emirimu emitonotono gamba nga, okuwawula embaawo ng’akozesa eddiba ly’ekyennyanja ekkalu. Kirabika yayigiriza Yesu enjawulo eriwo wakati w’ebika by’embaawo ez’enjawulo ze yakozesanga eziva mu miti gamba nga, emisukomooli, emitiini, oba emizeyituuni.

Ate era Yesu yali akiraba nti emikono egyo egy’amaanyi egyatemanga emiti, egyayunganga embaawo, gye gimu egyamusiisiitiranga n’okumubudaabuda nga mw’otwalidde maama we ne bato be. Ng’oggyeko Yesu, Yusufu ne Maliyamu baazaalayo abaana abalala nga mukaaga. (Matayo 13:55, 56) Yusufu yalina okukola ennyo okusobola okubalabirira.

Kyokka, Yusufu yali akimanyi nti okulabirira ab’omu maka ge mu by’omwoyo kye kyali kisinga obukulu. Yamalanga ebiseera bingi ng’ayigiriza abaana be ebikwata ku Yakuwa Katonda n’amateeka ge. Ye ne Maliyamu baatwalanga abaana baabwe mu kkuŋŋaaniro ery’omu kitundu kye baabeerangamu Amateeka gye gaasomerwanga mu ddoboozi ery’omwanguka era ne gannyonnyolwa. Bwe baavanga mu kkuŋŋaaniro, kirabika Yesu yabanga n’ebibuuzo bingi era Yusufu yafubanga nnyo okubiddamu. Ate era, Yusufu yatwalanga ab’omu maka ge ku mbaga ezaabanga e Yerusaalemi. Okusobola okubaawo ku mbaga ey’Okuyitako eyabangawo buli mwaka, kirabika Yusufu kyamutwaliranga wiiki bbiri okutindigga olugendo lwa mayiro 70, amagenda n’amadda.

Leero, emitwe gy’amaka Amakristaayo bafuba okukola kye kimu. Babeerako wamu n’abaana baabwe, era ng’okubatendeka mu by’omwoyo kye basinga okutwala ng’ekikulu. Bafuba nnyo okulaba nti batwala abaana baabwe mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo entono n’ennene. Okufaananako Yusufu, bakimanyi nti tewali kya bugagga kye bayinza kuwa baana baabwe ekisinga okubayigiriza ebikwata ku Katonda.

Baali ‘Beeraliikirivu’

Yesu bwe yali nga wa myaka 12, Yusufu yatwala ab’omu maka ge e Yerusaalemi nga bwe yakolanga. Baali bagenda ku mbaga ey’Okuyitako era nga amaka mangi gaatambuliranga wamu mu bibinja nga gayita mu byalo. Bwe baabanga banaatera okwambuka e Yerusaalemi, bangi baayimbanga zabbuli ezaali zimanyiddwa ennyo, eziyitibwa ez’oku madaala. (Zabbuli 120-134) Kirabika ekibuga ekyo kyabangamu abantu nkumi na nkumi. Oluvannyuma, abantu baddangayo ewaabwe mu bibinja nga bali wamu n’abeŋŋanda zaabwe. Kirabika Yusufu ne Maliyamu baali balina eby’okukola bingi era nga balowooza nti Yesu yali atambulira wamu n’abalala, oboolyawo n’ab’omu maka gaabwe. Baagenda okukitegeera nti Yesu tali nabo, nga bamaze okutambula olugendo lwa lunaku lulamba okuva e Yerusaalemi.​—Lukka 2:41-44.

Baddayo e Yerusaalemi nga bagenda bamunoonya buli wamu we baali bayise. Kubamu akafaananyi ku ngeri gye baali beewuliramu, nga batambula banguyiriza nga bayita mu kibuga ng’eno bwe bayita omwana waabwe. Omwana ono yali ludda wa? Bwe zaawera ennaku ssatu nga bakyamunoonya, olowooza Yusufu yatandika okweraliikirira nti yali alemereddwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obutukuvu obw’okulabirira omwana Yakuwa bwe yamuwa? Oluvannyuma, baagenda mu yeekaalu. Baamunoonya okutuusiza ddala lwe batuuka mu kisenge abasajja bangi abayivu, abaali bamanyi obulungi Amateeka, mwe baali bakuŋŋanidde nga ne Yesu eyali omuto ali wamu nabo. Lowooza ku buweerero Yusufu ne Maliyamu bwe baafuna!​—Lukka 2:45, 46.

Yesu yali awuliriza abasajja abo abayivu era ng’ababuuza ebibuuzo. Abasajja beewuunya nnyo olw’okutegeera kw’omwana era n’olw’ebyo bye yaddamu. Maliyamu ne Yusufu nabo beewuunya nnyo. Ebyawandiikibwa biraga nti Yusufu yasirika busirisi, naye Maliyamu bye yayogera biraga bulungi engeri bombi gye baali beewuliramu: “Mwana wange, lwaki otuyisizza bw’oti? Kitaawo nange tubadde tukunoonya nga tweraliikirira.”​—Lukka 2:47, 48.

Bwe kityo, mu ngeri ennyangu, Ekigambo kya Katonda kituyamba okutegeera ebizingirwa mu kubeera omuzadde. Omuzadde asobola okweraliikirira ne bwe kiba nti omwana we atuukiridde. Okukuza abaana mu nsi eno embi kiyinza okuleetera abazadde ‘okweraliikirira’ ennyo, naye bataata ne ba maama basobola okubudaabudibwa bwe bamanya nti Bayibuli eyogera ku kusomoozebwa kwe boolekagana nakwo.

Ekirungi, Yesu yali asigadde mu kifo we yali asinga okuwulirira nti ali kumpi ne Yakuwa, Kitaawe ow’omu ggulu, ng’ayiga ebimukwatako. Eyo ye nsonga lwaki yaddamu bazadde be mu bwesimbu ng’agamba nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Temumanyi nti nteekwa okubeera mu nnyumba ya Kitange?”​—Lukka 2:49.

Yusufu ateekwa okuba nga yeeyongera okulowooza ku bigambo ebyo. Oboolyawo byamuleetera okwenyumiriza. Gwe ate oba, yali afubye okuyigiriza omwana oyo okubeera n’enneewulira ng’eyo eri Yakuwa Katonda. Ne mu kiseera ekyo ng’akyali mulenzi muto, Yesu yali atandise okukozesa ekigambo “kitange,” ekiraga enneewulira era ng’enneewulira eyo yali agifunye olw’okubeera ne Yusufu.

Bw’oba taata, okimanyi nti olina enkizo ey’okuyamba abaana bo okutegeera engeri taata ayagala abaana be era abawa obukuumi bw’abeera? Mu ngeri y’emu, bw’oba ng’olina abaana abatali babo b’olabirira, jjukira ekyokulabirako kya Yusufu era buli mwana mutwale nga wa muwendo nnyo era alina obusobozi bwa njawulo. Bayambe okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda, Kitaabwe ow’omu ggulu.

Yusufu Yali Mugumiikiriza era Mwesigwa

Waliwo ebintu ebirala ebitonotono Bayibuli by’etubuulira ebikwata ku Yusufu, naye kikulu nnyo okubyekenneenya. Bayibuli egamba nti Yesu ‘yeeyongera okugondera’ bazadde be. Era nti “yeeyongera okufuna amagezi n’okukula era n’okusiimibwa Katonda n’abantu.” (Lukka 2:51, 52) Ebigambo ebyo bituyigiriza ki ku Yusufu? Bituyigiriza ebintu ebiwerako. Bituyigiriza nti Yusufu yeeyongera okukulembera ab’omu maka ge, kubanga omwana we eyali atuukiridde yassa ekitiibwa mu bukulembeze bwe era yamugonderanga.

Ate era bituyigiriza nti Yesu yeeyongera okufuna amagezi. Ekyo kiraga nti Yusufu ateekwa okuba nga yafuba nnyo okuyamba omwana we okufuuka ekyo kye yali. Mu biseera ebyo, waaliwo olugero Abayudaaya lwe baakozesanga ennyo. Lwali lugamba nti abo abalina ebiseera be bokka abasobola okuba n’amagezi, naye ababazzi, abalimi, n’abaweesi “tebasobola kwawulawo kituufu na kikyamu era tebasobola kusala misango; era toyinza kubasanga we bagerera ngero.” Naye Yesu yakiraga nti olugero olwo terwali lutuufu. Ng’akyali muto, yawuliranga kitaawe eyamukuza era eyali omubazzi ng’ayigiriza bulungi ebikwata ku “bwenkanya [bwa Yakuwa] n’emisango gye” wadde nga yali muntu wa wansi. Tewali kubuusabuusa nti ekyo Yusufu yakikolanga enfunda n’enfunda.

Ate era kyeyoleka bulungi nti Yusufu yalabirira bulungi Yesu. Olw’okuba yamulabirira bulungi, Yesu yakula nga wa maanyi era nga mulamu bulungi. Okugatta ku ekyo, Yusufu yatendeka omwana we n’akuguka mu mulimu gwe. Yesu yali tamanyiddwa bumanyibwa nga mwana wa mubazzi, naye era yali amanyiddwa nga “omubazzi.” (Makko 6:3) N’olwekyo okutendekebwa Yusufu kwe yamuwa kwali kwa muganyulo. Emitwe gy’amaka ab’amagezi bakoppa Yusufu nga balabirira abaana baabwe, era nga babayigiriza emirimu eginaabayamba okweyimirizaawo.

Bwe tutuuka Bayibuli w’eyogerera ku kubatizibwa kwa Yesu nga wa myaka 30, Bayibuli teddamu kwogera bikwata ku Yusufu. Obukakafu bulaga nti Maliyamu yali nnamwandu Yesu we yatandikira obuweereza bwe. (Laba akasanduuko akalina omutwe, “Yusufu Yafa Ddi?” akali ku lupapula 27.) Wadde kiri kityo, Yusufu yalekawo ekyokulabirako ekirungi kubanga yakuuma ab’omu maka ge, yabalabirira, era yagumiikiriza n’obwesigwa okutuukirira ddala ku nkomerero y’obulamu bwe. Omuntu yenna k’abe taata, mutwe gwa maka, oba Omukristaayo omulala yenna, asaanidde okukoppa okukkiriza kwa Yusufu.

[Obugambo obuli wansi]

^ Mu biseera ebyo, abantu abaabanga boogerezeganya baatwalibwanga ng’abafumbo.

^ Laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti, “Koppa Okukkiriza Kwabwe​—‘Yafumiitiriza ku Makulu Gaabyo’” ekiri mu Watchtower eya Okitobba 1, 2008.

^ Bayibuli ekiraga bulungi nti Yesu yakola ekyamagero ekyasooka oluvannyuma lw’okubatizibwa. (Yokaana 2: 1-11) Okumanya ebisingawo ebikwata ku bitabo by’enjiri ebipya, laba ekitundu ekirina omutwe ogugamba nti “Ebitabo by’Enjiri Ebipya​—Birimu Amazima Agakwata ku Yesu Agatali mu Bayibuli?” ekiri ku lupapula 18.

[Akasanduuko akali ku lupapula 27]

Yusufu Yafa Ddi?

Tukimanyi bulungi nti Yusufu yali akyali mulamu Yesu bwe yali nga wa myaka 12. Ku myaka egyo abavubuka bangi Abayudaaya baatandikanga okuyiga emirimu gya bakitaabwe era ku myaka 15 babaanga basobola bulungi okukola nga bwe beeyongera okufuna obumanyirivu. Kirabika Yusufu yali akyaliwo Yesu we yafuukira omubazzi. Naye Yusufu yali akyali mulamu Yesu we yatandikira obuweereza bwe ku myaka 30 egy’obukulu? Ekyo kibuusibwabuusibwa. Maama wa Yesu, baganda be, ne bannyina bonna Bayibuli eboogerako ng’abaaliwo mu kiseera ekyo okuggyako Yusufu. Lumu Yesu yayitibwa “mutabani wa Maliyamu,” so si mutabani wa Yusufu. (Makko 6:3) Maliyamu ayogerwako nga waliwo ebintu byakola nga tasoose kwebuuza ku mwami we. (Yokaana 2:1-5) Mu biseera bya Bayibuli, omukazi yali tasobola kusalawo ku lulwe okuggyako nga yali nnamwandu. Yesu bwe yali anaatera okufa, yakwasa omutume Yokaana obuvunaanyizibwa obw’okulabirira nnyina. (Yokaana 19:26, 27) Ekyo kyandibadde tekyetaagisa singa Yusufu yali akyali mulamu. Okusinziira ku ebyo bye tulabye, tuyinza okugamba nti Yusufu we yafiira Yesu yali tannaweza myaka 30. Ng’omwana omukulu mu maka, Yesu ateekwa okuba nga yasigala akola omulimu gw’obubazzi era n’okulabirira amaka okutuusiza ddala lwe yabatizibwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Yusufu yali mumalirivu era yafangayo nnyo okukuuma omwana we

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Yusufu yakolanga nnyo okusobola okulabirira ab’omu maka ge

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Yusufu teyayosanga kutwala ba mu maka ge kusinza mu yeekaalu e Yerusaalemi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Yusufu yatendeka mutabani we okubajja