Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ani Yasindika “Emmunyeenye”?

Ani Yasindika “Emmunyeenye”?

Abasomi Baffe Babuuza . . .

Ani Yasindika “Emmunyeenye”?

▪ Wali olabye ku mizannyo oba ebifaananyi ebiraga bakabaka abasatu, oba abasajja abagezigezi, nga bakyalidde omwana omuwere Yesu ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira? Okusinziira ku ebyo ebyogerwa, Katonda yakozesa emmunyeenye n’ebakulembera okubatuusa awaali ekisibo mu Besirekemu. Mu nsi ezimu, abaana bangi baakwata bukusu amannya ga bakabaka abo abasatu​—Melchior, Caspar, ne Baltazar. Naye ebyo ebyogerwa bikwatagana n’ekyo Bayibuli ky’egamba? Nedda. Ebyo ebyogerwa si bituufu.

Okusookera ddala, abasajja abo baali baani? Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani ebyasooka, Bayibuli teboogerako nga bakabaka oba abasajja abagezigezi, wabula ebayita abalaguzisa emmunyeenye. Abasajja abo baali beenyigira mu bikolwa eby’ekikaafiiri eby’okulagusiza emmunyeenye. Ate era, Bayibuli teyogera mannya gaabwe wadde omuwendo gwabwe.

Ekyokubiri, ddi abasajja abo lwe baakyalira Yesu? Tebaamukyalira ng’akyali muwere ng’ali mu lutiba ensolo mwe ziriira. Ekyo tukimanya tutya? Matayo omuwandiisi w’Enjiri yagamba nti: “Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng’ali ne Maliyamu nnyina.” (Matayo 2:11) Weetegereze nti abasajja abo we bajjira, Yesu yali takyali muwere, wabula baamusanga mu nnyumba ng’ali ne Maliyamu ne Yusufu kubanga baali tebakyasula mu kisibo.

Ekyokusatu, ani eyasindika “emmunyeenye” eyo okukulembera abalaguzisa emmunyeenye? Abakulembeze b’eddiini bayigiriza nti Katonda ye yasindika “emmunyeenye” eyo. Naye ddala ye yagisindika? Kijjukire nti, “emmunyeenye” teyabatwala buterevu e Besirekemu, wabula yasooka kubatwala wa Kabaka Kerode e Yerusaalemi. Baategeeza Kabaka ono ow’obuggya era omutemu ebikwata ku Yesu ekyamuleetera okukyawa omwana ono eyali agenda okufuuka “kabaka w’Abayudaaya.” (Matayo 2:2) Ng’amaze okusala olukwe, Kerode yabagamba bakomewo bamubuulire ekifo kyennyini omwana w’ali, ng’agamba nti naye ayagala okumuvunnamira. Oluvannyuma “emmunyeenye” yakulembera abalaguzisa emmunyeenye n’ebatuusa awaali Yusufu ne Maliyamu. N’olwekyo ekyo abalaguzisa emmunyeenye kye baali bakola kyandiviiriddeko omwana okuttibwa, naye ekirungi kiri nti, Katonda alina kye yakolawo. Abalaguzisa emmunyeenye bwe bataddayo kumutegeeza, Kerode yasunguwala nnyo era n’alagira abaana bonna abalenzi okuva mu myaka ebiri okudda wansi abaali mu Yerusaalemi n’ebitundu ebiriraanyeewo battibwe.​—Matayo 2:16.

Oluvannyuma, Yakuwa yayogera ku Yesu ng’agamba nti “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira.” (Matayo 3:17) Kirowoozeeko: Taata oyo alina okwagala okungi era omutuukirivu yandironze abalaguzisa emmunyeenye abakaafiiri, abakola ekikolwa ekitakkirizibwa mu Mateeka ge, okuba ababaka be? (Ekyamateeka 18:10) Yandikozesezza emmunyeenye okubatuusa eri Kerode, omusajja omubi ennyo era omutemu, okutwala obubaka obwandimuleetedde okusunguwalira omwana n’okumukyawa? Ate era Katonda yandikozesezza emmunnyeenye n’abalaguzisa emmunyeenye okumanyisa ekifo omwana we omuto we yali?

Ng’ekyokulabirako, omuduumizi w’amagye omulungi bw’aba atuma omujaasi we mu kitundu ekibi ennyo omuli omulabe, atuma oyo asingayo obulungi. Ddala asobola okutegeeza omulabe wa w’anaasanga omujaasi oyo? Kya lwatu nedda! Mu ngeri y’emu, Yakuwa yasindika Omwana we mu nsi eno embi ennyo. Ddala yandibadde amanyisa Kabaka Kerode omubi ennyo ekifo Omwana we ataalina bukuumi we yali? Tekisoboka!

Kati olwo, ani yasindika “emmunyeenye,” oba ekyo ekyefaanaanyirizaako emmunyeenye? Olowooza ani yali ayagala Yesu attibwe ng’akyali muto, nga tayagala akule asobole okutuukiriza omulimu ogwamuleeta ku nsi? Ani ayagala okubuuzaabuza abantu, okutumbula obulimba, ebikolwa eby’obukambwe, n’ettemu? Yesu kennyini yakiraga nti Sitaani Omulyolyomi ye “mulimba era ye kitaawe w’obulimba,” era “okuva ku lubereberye mussi.”​—Yokaana 8:44.