Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

OMUKAZI omu eyali tayagala kumanya bikwata ku Katonda era eyalina omulimu omulungi yasobola atya okufuna essanyu erya nnamaddala mu bulamu? Kiki omuvubuka omu eyali Omukatuliki kye yayiga ku kufa ekyamuleetera okukyusa obulamu bwe? Ate kiki omuvubuka omu ataalina ssanyu mu bulamu kye yayiga ku Katonda ekyamuleetera okufuuka omuweereza wa Katonda? Soma olabe abantu abo kye bagamba.

“Okumala emyaka, nnali nneebuuza ensonga lwaki weetuli.”​—ROSALIND JOHN

  • NNAZAALIBWA: 1963

  • ENSI: BUNGEREZA

  • EBYAFAAYO: NNALINA OMULIMU OMULUNGI

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnazaalibwa mu kitundu ekiyitibwa Croydon, ekiri mu bukiikaddyo w’ekibuga London. Twazaalibwa abaana mwenda era nze ow’omukaaga. Bazadde bange baava ku kizinga ekiyitibwa St. Vincent eky’omu Caribbean. Maama wange yali asabira mu kkanisa y’aba Methodist. Wadde nga nnali saagala kumanya bikwata ku Katonda, nnali njagala nnyo okusoma n’okuyiga ebintu ebitali bimu. Mu luwummula, ebiseera byange ebisinga nnabimalanga ndi ku lubalama lw’ennyanja eyali okumpi n’awaka waffe, nga nsoma ebitabo ebitali bimu bye nneeyazikanga mu tterekero ly’ebitabo erimu.

Nga wayise emyaka nga mmaze okusoma, nnawulira nga njagala okuyamba abantu abali mu bwetaavu. Nnatandika okukolera awamu n’abantu abataalina we babeera era n’abo abaaliko obulemu. Oluvannyuma nnagenda ku yunivasite ne nsoma essomo erikwata ku by’obulamu. Bwe nnamaliriza emisomo gyange, nnafuna omulimu ogwali gunsasula ssente ennyingi era nnatandika okugula ebintu bingi eby’ebbeeyi. Olw’okuba okusingira ddala nnali nkola mu bya kunoonyereza, n’okwebuuzibwako, ekintu kyokka kye nnali nneetaaga okusobola okukola omulimu gwange ye kompyuta ne Intaneeti. Nnagendanga mu nsi ezitali zimu ne mbeerayo okumala wiiki eziwera, era nnasulanga mu wooteeri ez’ebbeeyi. Nnabeeranga mu bifo ebirabika obulungi ennyo, era nga nkolera dduyiro mu bifo ebyalimu buli kimu ekyali kyetaagisa okukola dduyiro. Mu butuufu nnali ndowooza nti nnali mu bulamu obulungi ennyo. Kyokka saalekayo kulowooza ku bantu abali mu bwetaavu.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Okumala emyaka, nnalinga nneebuuza ensonga ‘lwaki weetuli,’ naye saagezaako kukozesa Bayibuli kunoonya bya kuddamu. Lumu mu 1999, muto wange ayitibwa Margaret, eyali afuuse Omujulirwa wa Yakuwa, yajja okunkyalira ng’ali wamu ne mukwano gwe, era mukwano gwe oyo yandaga okwagala. Nnakkiriza okuyiga Bayibuli ne mukwano gwa muganda wange, naye saakulaakulana mangu mu by’omwoyo olw’okuba nnalina eby’okukola bingi.

Mu 2002, nnagenda okubeera e bukiikaddyo wa Bungereza. Nga ndi eyo, nnaddayo ku yunivasite okusoma diguli ey’okubiri. Nneeyongera okufuna ebiseera eby’okugenda mu nkuŋŋaana ne mutabani wange. Wadde nga nnali nsoma ku yunivasite, okuyiga Bayibuli kwe kwannyamba okutegeera obulungi ensonga lwaki waliwo ebizibu bingi mu nsi era n’ekyo ekijja okubigonjoolera ddala. Nnategeera obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Matayo 6:24, awalaga nti omuntu tasobola kuweereza baami babiri. Alina kuweereza Katonda, oba byabugagga. Nnakimanya nti nnalina okusalawo engeri gye nnalina okukozesaamu obulamu bwange.

Omwaka gumu emabega, nnalinga ntera okugenda mu lukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo, era mu kiseera ekyo Abajulirwa ba Yakuwa baali basoma akatabo, Is There a Creator Who Cares About You? * Nnakiraba nti Yakuwa Katonda yekka y’asobola okugonjoola ebizibu by’abantu. Kyokka ku yunivasite baali batuyigiriza nti tetwetaaga Katonda mu bulamu bwaffe. Ekyo kyannyiiza, era oluvannyuma lw’emyezi ebiri nnalekera awo okusoma ku yunivasite ne nsalawo okuwaayo ebiseera ebiwerako okweyongera okumanya Katonda.

Ekyawandiikibwa ekiri mu Engero 3:5, 6, kye kyannyamba okukola enkyukakyuka. Wagamba nti: “Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.” Okuyiga ebikwata ku Katonda waffe atwagala kyandeetera essanyu lingi okusinga ssente n’omulimu omulungi. Gye nnakoma okuyiga ebikwata ku kigendererwa Yakuwa ky’alina eri ensi, ne ku ekyo Yesu kye yakola eky’okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe, gye nnakoma okwagala okwewaayo eri Omutonzi waffe okumuweereza. Nnabatizibwa mu Apuli 2003 era nneeyongera okukola enkyukakyuka mu bulamu bwange nsobole okufuna ebiseera ebisingawo okuweereza Katonda.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAAMU:

Enkolagana yange ne Yakuwa kye kintu ekisingayo okuba eky’omuwendo kye nnina. Okumumanya kinnyambye okufuna essanyu erya nnamaddala, n’emirembe mu mutima. Ate era nnina essanyu lingi nnyo olw’okubeera n’ab’emikwano abaagala Yakuwa.

Nkyayagala okuyiga era ndi musanyufu nnyo olw’ebyo bye njiga mu Bayibuli ne mu nkuŋŋaana. Njagala nnyo okubuulirako abalala ku mazima ge nnayiga mu Bayibuli. Kati okubuulira gwe mulimu ogusinga obukulu gwe nkola, era guyamba abantu okuba mu bulamu obulungi kati, n’okuba n’essuubi ery’okubeera mu nsi empya mu biseera eby’omu maaso. Okuva mu Jjuuni 2008, mbadde nkola ng’omubuulizi w’amawulire amalungi ow’ekiseera kyonna, era ekyo kinnyambye okweyongera okuba omusanyufu n’okuba omumativu. Kati nnazuula obulamu obw’amakulu era nneebaza nnyo Yakuwa.

“Okufa kwa mukwano gwange kyali kikangabwa kya maanyi!”​—ROMAN IRNESBERGER

  • NNAZAALIBWA: 1973

  • ENSI: AUSTRIA

  • EBYAFAAYO: NNALI MUKUBI WA ZZAALA

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnakulira mu kibuga Braunau, mu Austria. Ekitundu kye nnakuliramu kyali kya bagagga era temwalimu nnyo bumenyi bwa mateeka. Bazadde bange baali Bakatuliki era nnakulira mu ddiini y’Ekikatuliki.

Ekintu ekimu ekyaliwo nga nkyali muto kirina kinene kye kyakola ku bulamu bwange. Lumu mu 1984, bwe nnali wa myaka nga 11, nnazannya omupiira n’omu ku mikwano gyange kyokka ku olwo lwennyini olw’eggulo, n’afiira mu kabenje k’emmotoka. Okufa kwa mukwano gwange oyo kyali kikangabwa kya maanyi gye ndi. Okuva olwo nnatandika okwebuuza ekituuka ku muntu ng’afudde.

Bwe nnamala okusoma, nnatandika okukola mu by’amasannyalaze. Wadde nga nnafuna omuze gw’okukuba zzaala era ng’oluusi bandyangako ssente nnyingi, saafuna buzibu mu bya nsimbi. Ate era nnatandika okumaliranga ebiseera bingi mu mizannyo, era nnali njagala nnyo ennyimba ezirina ebidongo ebiggunda. Ebiseera byange ebisinga nnabimaliranga mu ndongo ne ku bubaga. Nnali nneemalidde mu bya masanyu ne mu bikolwa eby’obugwenyufu kyokka saali musanyufu.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Mu 1995, omusajja omu Omujulirwa wa Yakuwa eyali omukadde yakonkona ku luggi lwange era n’ampa akatabo akaali kalaga ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde. Nnali nkyalina ebibuuzo ku kufa kwa mukwano gwange. Bwe kityo nnatwala akatabo ako. Saasoma ssuula ekwata ku kufa yokka, wabula nnakasoma konna!

Bye nnasoma byaddamu ebibuuzo bye nnali nneebuuza ebikwata ku kufa. Naye nnayiga n’ebisingawo. Olw’okuba nnakulira mu ddiini y’Abakatuliki, nnali nkulembeza Yesu mu kifo kya Katonda. Naye okuyiga Bayibuli kyannyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa Katonda, Kitaawe wa Yesu. Nnasanyuka nnyo okukimanya nti Yakuwa atufaako era ayagala tumumanye. (Matayo 7:7-11) Nnayiga nti ebyo bye tukola bisobola okusanyusa Yakuwa oba okumunyiiza. Ate era nnayiga nti bulijjo Yakuwa atuukiriza by’asuubiza. Ekyo kyandeetera okwagala okumanya ebisingawo ebikwata ku bunnabbi obuli mu Bayibuli n’engeri gye butuukiriziddwamu. Bye nnayiga ku bunnabbi obwo byanyweza nnyo okukkiriza kwange.

Mu kiseera kitono nnakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abafaayo ennyo okuyamba abantu okutegeera Bayibuli. Nneetegereza ebyawandiikibwa ebyali bijuliziddwa mu bitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa era ne mbinoonya mu Bayibuli yange ey’Abakatuliki. Gye nnakoma okunoonyereza, gye nnakoma okukiraba nti nnali nzudde amazima.

Okuyiga Bayibuli kwannyamba okukiraba nti Yakuwa ansuubira okutambuliza obulamu bwange ku mitindo gye. Bwe nnasoma Abeefeso 4:22-24, nnakiraba nti nnalina okweyambulako “omuntu omukadde,” eyali ‘akwatagana n’empisa zange ez’edda’ era nti nnalina okwambala “omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala.” Bwe kityo nnalekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, era nnakiraba nti nnalina okulekayo okukuba zzaala, kubanga omuze ogwo guleetera omuntu okwagala ennyo ebintu, era gumuleetera n’okuba ow’omululu. (1 Abakkolinso 6:9, 10) Nnakiraba nti okusobola okukola enkyukakyuka ezo nnalina okulekayo emikwano gye nnalina, nfune emikwano emipya egyagala okukola Katonda by’ayagala.

Tekyambeerera kyangu kukola nkyukakyuka ezo. Naye nnatandika okugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, era ne nkola emikwano mu kibiina. Ate era nneeyongera okwekenneenya ebyo ebiri mu Bayibuli ku lwange. Ebintu ebyo byannyamba okukyusa ennyimba ze nnali mpuliriza, okukyusa ebiruubirirwa bye nnalina, era n’okukyusa endabika yange. Mu 1995, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAAMU:

Kati nnina endowooza ennuŋŋamu ku ssente ne ku bintu. Nnasunguwalanga mangu, naye kati si bwe ndi. Ate era sikyeraliikirira nnyo ebikwata ku biseera eby’omu maaso.

Ndi musanyufu nnyo okuba nti ndi omu ku bantu abaweereza Yakuwa mu nsi yonna. Mu bo mulimu abalina ebizibu eby’amaanyi, kyokka nga bakyaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Kati ndi musanyufu nnyo okuba nti ebiseera byange n’amaanyi gange sikyabimalira mu kukkusa kwegomba kwange, wabula mbimalira mu kusinza Yakuwa n’okukolera abantu abalala ebirungi.

“Kyaddaaki nnafuna essanyu mu bulamu.”​—IAN KING

  • NNAZAALIBWA: 1963

  • ENSI: BUNGEREZA

  • EBYAFAAYO: NNALI NNEETAMIDDWA OBULAMU

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnazaalibwa mu Bungereza, era bwe nnali wa myaka nga musanvu, twasengukira mu Australia. Twabeeranga mu kitundu ekiyitibwa Gold Coast, mu Queensland, ekyettanirwa ennyo abalambuzi. Wadde nga tetwali bagagga twalina bye twali twetaaga.

Wadde nga nnakulira mu mbeera nnungi, saalina ssanyu lya nnamaddala. Taata wange yali anywa nnyo omwenge. Saalina mukwano naye olw’okunywa ennyo omwenge, n’olw’engeri gye yali ayisaamu maama. Nnakitegeera luvannyuma nti ebintu bye yali ayiseemu ng’ali mu magye mu Malaysia, bye byamuleetera okweyisa bw’atyo.

Bwe nnali mu siniya, nnatandika okunywa ennyo omwenge. Bwe nnali wa myaka 16, nnava mu ssomero ne nnyingira eggye ery’oku mazzi. Nnatandika okukozesa ebiragalalagala era ne nfuna omuze ogw’okunywa ssigala. Ate era nneeyongera okunywa ennyo omwenge. Mu kusooka nnanywanga omwenge ku nnaku za wiikendi zokka, naye ekiseera kyatuuka ne mba nga ngunywa buli lunaku.

Bwe nnali wa myaka nga 20, nnatandika okubuusabuusa obanga ddala Katonda gy’ali. Muli nnagambanga nti: ‘Bwe kiba nti Katonda gy’ali, lwaki aleka abantu okubonaabona n’okufa?’ Nnawandiika n’ekitontome nga nnenya Katonda olw’ebintu byonna ebibi ebiri mu nsi.

Bwe nnaweza emyaka 23 nnava mu magye. Oluvannyuma nnakola emirimu egitali gimu, era ne ŋŋendako ne mu nsi endala ez’enjawulo okumala omwaka gumu, naye tewali kyannyamba kufuna ssanyu. Nnali saagala kweteerawo kiruubirirwa kyonna, era tewali kintu kyonna kye nnali njagala kukola. Nnali siraba makulu ga kuba na nnyumba, oba okuba n’omulimu omulungi. Ekintu kyokka “ekyandeeteranga essanyu” kwe kunywa omwenge, n’okuwuliriza ennyimba.

Nzijukira ekiseera lwe nnawulira nga njagala okumanya ekigendererwa ky’obulamu. Nnali mu Poland, nga ŋŋenze okulambula enkambi gye baasibiranga abasibe mu Auschwitz. Nnali nsomye ku ngeri abantu gye baatulugunyizibwanga ennyo mu nkambi eyo. Naye bwe nnatuukayo ne nkiraba nti yali nnene nnyo, nnawulira bubi nnyo. Muli nneebuuza ensonga lwaki abantu baatulugunya nnyo bantu bannaabwe. Nzijukira okutambula mu nkambi eyo ng’amaziga gampitamu, era nga nneebuuza ensonga lwaki ekyo kyabaawo.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Mu 1993, bwe nnakomawo mu Australia, nnatandika okusoma Bayibuli nga nnoonya eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnalina. Waayita ekiseera kitono Abajulirwa ba Yakuwa babiri ne bakonkona ku luggi lwange, ne bampita okugenda ku lukuŋŋaana lwabwe olunene olwali lugenda okubeera mu kisaawe ekyali okumpi ne gye nnali mbeera. Nnasalawo okugenda.

Emyezi mitono emabega nnali nnagendako mu kisaawe ekyo okulaba omupiira, naye bwe nnagenda ku lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa, nnalaba enjawulo ey’amaanyi. Abajulirwa ba Yakuwa baali bakkakkamu, nga bambadde bulungi, era n’abaana baabwe baali beeyisa bulungi. Kye nnalaba mu kiseera ky’okulya eky’emisana kyankwatako nnyo. Abajulirwa ba Yakuwa bangi nnyo baaliira awo mu kisaawe, naye oluvannyuma bwe baddayo mu bifo we baali batudde, saalaba kapapula n’akamu wadde akaveera mu kisaawe! N’ekisinga obukulu, baali balabika nga bamativu era nga balina emirembe, ekintu kye nnali nneegomba ennyo. Ku bintu ebyayigirizibwa ku lunaku olwo, sirinaako na kimu kye nzijukira, naye enneeyisa y’Abajulirwa ba Yakuwa yankwatako nnyo.

Ku olwo akawungeezi nnalowooza ku mwana wa ssenga wange eyali asomye Bayibuli era nga yeekenneenyezza eddiini ez’enjawulo. Emyaka mitono emabega yali yaŋŋamba nti Yesu yagamba nti abo abali mu ddiini ey’amazima twandibategeeredde ku nneeyisa yaabwe. (Matayo 7:15-20) Muli nnagamba nti, ‘Nsaanidde okumanya ekifuula Abajulirwa ba Yakuwa okuba ab’enjawulo.’ Okuva olwo, nnatandika okuba n’essuubi nti nsobola okuba omusanyufu mu bulamu.

Wiiki eyaddako, Abajulirwa ba Yakuwa ababiri abampita ku lukuŋŋaana baakomawo. Baŋŋamba okunjigiriza Bayibuli era ne nzikiriza. Ate era nnatandika okugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa.

Bwe nnayiga Bayibuli endowooza gye nnalina ku Katonda yakyukira ddala. Nnayiga nti si y’aleeta ebintu ebibi n’okubonaabona ebiri mu nsi, era nti abantu bwe bakola ebintu ebibi naye kennyini awulira bubi. (Olubereberye 6:6; Zabbuli 78:40, 41) Nnamalirira okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okunyiiza Yakuwa. Nnali njagala okusanyusa omutima gwe. (Engero 27:11) Nnalekera awo okunywa ennyo omwenge, okunywa sigala, n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Mu Maaki 1994, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAAMU:

Kati nnina essanyu erya nnamaddala era ndi mumativu. Nnanywanga omwenge nga ndowooza nti gwe gujja okunnyamba okwerabira ebizibu byange, naye kati sikyagunywa. Mu kifo ky’ekyo, nnayiga okutikka Yakuwa emigugu gyange.​—Zabbuli 55:22.

Kati wayise emyaka kkumi bukya mpasa omukyala Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Karen, era tulina ne muwala waffe ayitibwa Nella. Ffenna basatu tunyumirwa nnyo okuyamba abalala okumanya amazima agakwata ku Katonda, era tumala ebiseera bingi nga tubuulira. Kyaddaaki nnafuna essanyu erya nnamaddala mu bulamu.

^ Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.