Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

SEMBERERA KATONDA

Ye “Katonda . . . wa balamu”

Ye “Katonda . . . wa balamu”

Okufa kusinga Katonda amaanyi? Tekisoboka! Okufa oba “omulabe” omulala yenna, ayinza atya okusinga ‘Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna’ amaanyi? (1 Abakkolinso 15:26; Okuva 6:3) Katonda asobola okuggyawo okufa era ajja kuzuukiza abafu. Kino asuubiza okukikola mu nsi empya. * Tukakasiza ku ki nti ekisuubizo ekyo kijja kutuukirira? Yesu, Omwana wa Katonda, atubuulira ebigambo ebituwa essuubi.​—Soma Matayo 22:31, 32.

Yesu bwe yali ayogera eri Abasaddukaayo abaali batakkiririza mu kuzuukira, yagamba nti: “Ku bikwata ku kuzuukira kw’abafu, temusomangako ekyo Katonda kye yabagamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo’? Si Katonda wa bafu naye wa balamu.” Yesu yali ayogera ku ebyo Katonda bye yagamba Musa ku kisaka ekyali kyaka omuliro awo nga mu mwaka gwa 1514 ng’Embala Eno Tennatandika. (Okuva 3:1-6) Okusinziira ku Yesu, ebigambo Yakuwa bye yagamba Musa nti, “Nze Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo,” biraga nti ekisuubizo ky’okuzuukira kiteekwa okutuukirira. Lwaki?

Lowooza ku kino. Mu kiseera Yakuwa we yayogerera ne Musa; Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo baali baafa dda. Waali wayiseewo emyaka 329 kasookedde Ibulayimu afa, emyaka 224 kasookedde Isaaka afa, n’emyaka 197 kasookedde Yakobo afa. Kyokka, Yakuwa yagamba nti, “Nze Katonda” waabwe so si “Nnali Katonda” waabwe. Wadde ng’abasajja abo abasatu baali baafa dda, Yakuwa yabatwala ng’abakyali abalamu. Lwaki?

Yesu yagamba nti: “[Yakuwa] si Katonda wa bafu naye wa balamu.” Ekyo kitegeeza nti ajja kuzuukiza abaweereza be bonna abaafa. Mu butuufu singa teri kuzuukira, Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo bandisigadde nga bafu emirembe gyonna. Ekyo kyandibadde kitegeeza nti Yakuwa, Katonda wa bafu, era nti okufa kumusinga amaanyi.

Kati olwo, Katonda atwala atya Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, n’abaweereza be bonna abaafa? Yesu yagamba nti: “Eri ye bonna balamu.” (Lukka 20:38) Mu butuufu, Yakuwa ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okuzuukiza abaweereza be, kubanga abatwala ng’abakyali abalamu. (Abaruumi 4:16, 17) Yakuwa akyajjukira abaweereza be bonna abaafa era ajja kubazuukiza.

Okufa Yakuwa akusinga amaanyi

Kikusanyusa okukimanya nti osobola okuddamu okulaba abantu bo abaafa? Bwe kiba bwe kityo, kijjukire nti okufa Yakuwa akusinga amaanyi. Tewali kiyinza kumulemesa kuzuukiza abafu. Lwaki toyiga ebisingawo ebikwata ku kuzuukira, ne Katonda agenda okuzuukiza abafu? Bw’onookola bw’otyo ojja kuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, ‘Katonda w’abalamu.’

Essuula za Bayibuli z’Oyinza Okusoma mu Febwali:

Matayo 22-28Makko 1-8

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku kisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abaafa babeere mu nsi empya ey’obutuukirivu, laba essuula 7 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.