Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obutyabaga​—Bukakafu Obulaga nti Katonda Mukambwe?

Obutyabaga​—Bukakafu Obulaga nti Katonda Mukambwe?

ABAMU KYE BAGAMBA: “Katonda y’afuga ensi era y’aleeta obutyabaga, n’olwekyo mukambwe.”

BAYIBULI KY’EGAMBA: “Ensi yonna eri mu buyinza bw’omubi.” (1 Yokaana 5:19) “Omubi” oyo y’ani? Bayibuli eraga nti ye Sitaani. (Matayo 13:19; Makko 4:15) Lowooza ku kino: Okuva bwe kiri nti Sitaani y’afuga ensi, akubiriza abantu okwefaako bokka, okuba ab’omululu, n’obutafaayo ku biseera byabwe eby’omu maaso. Ekyo kituyamba okumanya ensonga lwaki abantu boonoonye obutonde ekiviiriddeko ensi okwonooneka. Abakugu bangi bagamba nti okwonoona obutonde oluusi kye kiviirako obutyabaga.

Kati olwo, lwaki Katonda alese Sitaani okufuga ensi? Okusobola okufuna eky’okuddamu twetaaga okumanya ebyaliwo ng’abantu abasooka baakatondebwa. Adamu ne Kaawa, bazadde baffe abasooka, baagaana obufuzi bwa Katonda. Abantu abasinga obungi bazze bakola kye kimu. Ekyo kyaviirako ensi okutandika okufugibwa Sitaani, omulabe wa Katonda. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti Sitaani ye ‘mufuzi w’ensi.’ (Yokaana 14:30) Sitaani anaafuga emirembe gyonna? Nedda!

Yakuwa * alumirirwa abantu bw’alaba nga babonaabona. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baali babonaabona, Bayibuli egamba nti Katonda “yabalumirwa mu kubonaabona kwabwe kwonna.” (Isaaya 63:9, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Olw’ekisa kye ekingi, Katonda anaatera okuggyawo obufuzi bwa Sitaani! Yalonda omwana we Yesu Kristo, omutuukirivu era omwenkanya, okufuga ensi emirembe gyonna.

GGWE KIKUKWATAKO KITYA? Wadde nga Sitaani omufuzi w’ensi eno alemereddwa okukuuma abantu obutatuukibwako butyabaga, ye Yesu ajja kukikola. Lumu Yesu yakkakkanya omuyaga ogw’amaanyi ne gutatta bayigirizwa be. Bayibuli egamba nti: “N’aboggolera omuyaga era n’agamba ennyanja nti: ‘Sirika! Teeka!’ Omuyaga ne gukkakkana, ennyanja n’eteeka.” Abayigirizwa be beewuunya nnyo ne bagamba nti: “Ono ddala y’ani, omuyaga n’ennyanja nabyo bimuwulira?” (Makko 4:37-41) Ekyamagero ekyo Yesu kye yakola kitukakasa nti ajja kukuuma abantu abawulize bw’aliba afuga ensi.​—Danyeri 7:13, 14.

^ Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.