Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Katonda gye Yazikirizangamu Abantu​—Eraga nti Mukambwe?

Engeri Katonda gye Yazikirizangamu Abantu​—Eraga nti Mukambwe?

OKUSOBOLA okuddamu ekibuuzo ekyo, ka twetegereze okuzikirizibwa kw’abantu kwa mirundi ebiri okwogerwako mu Bayibuli​—okw’abantu b’omu kiseera kya Nuuwa n’okw’Abakanani.

AMATABA G’OMU KISEERA KYA NUUWA

ABAMU KYE BAGAMBA: “Katonda okuleeta amataba ne gazikiriza abantu bonna n’alekawo Nuuwa n’ab’omu maka ge bokka, kiraga nti mukambwe.”

BAYIBULI KY’EGAMBA: Katonda yagamba nti: “Sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu.” (Ezeekyeri 33:11) N’olwekyo, Katonda tekyamusanyusa kuzikiriza abantu ababi mu kiseera kya Nuuwa. Kati olwo, lwaki yabazikiriza?

Katonda bwe yazikirizanga abantu ababi mu biseera eby’edda, Bayibuli egamba nti yali “ateerawo abantu abatatya Katonda ekyokulabirako ky’ebintu ebigenda okujja.” (2 Peetero 2:5, 6) Ekyo kituyigiriza ki ku Katonda?

Okusooka, kituyigiriza nti wadde nga Katonda kimuluma okuzikiriza abantu ababi, alaba abantu ababi abaleetera abalala okubonaabona era ababonereza olw’ebikolwa byabwe. Anaatera okuggyawo obutali bwenkanya n’okubonaabona.

Eky’okubiri, tuyiga nti nga Katonda tannazikiriza bantu babi, asooka kubalabula. Katonda yatuma Nuuwa okulabula abantu naye tebaamuwuliriza. Bayibuli egamba nti: “Ne batafaayo okutuusa amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.”​—Matayo 24:39.

Katonda akyakola bw’atyo? Yee. Ng’ekyokulabirako, yalabula abantu be Abaisiraeri nti bwe bandikoze ebintu ebibi ng’amawanga agaali gabeetoolodde bwe gaali gakola, yandirese abalabe baabwe okuwamba ensi yaabwe; okuzikiriza ekibuga kyabwe ekikulu Yerusaalemi; n’okubatwala mu buwaŋŋanguse. Oluvannyuma Abaisiraeri baatandika okukola ebintu ebibi ne batuuka n’okusaddaaka abaana baabwe. Yakuwa yababonereza? Yee, naye yasooka kutuma bannabbi be enfunda n’enfunda okubalabula. Bayibuli egamba nti: “Mukama Katonda taliiko ky’alikola wabula ng’abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.”​—Amosi 3:7.

GGWE KIKUKWATAKO KITYA? Okuva bwe kiri nti Yakuwa Katonda yazikirizanga abantu ababi mu biseera eby’edda tuli bakakafu nti ajja kuzikkiriza abantu ababi abatuleetera okubonaabona. Bayibuli egamba nti: “Abakola obubi balizikirizibwa . . . Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” (Zabbuli 37:9-11) Ggwe olowooza otya, Katonda bw’azikiriza abantu ababi asobole okuyamba abantu ababonaabona aba mukambwe oba wa kisa?

OKUZIKIRIZIBWA KW’ABAKANANI

ABAMU KYE BAGAMBA: “Katonda yazikiriza Abakanani mu ngeri ya bukambwe nnyo, eyinza okugeraageranyizibwa ku kitta bantu.”

BAYIBULI KY’EGAMBA: ‘Amakubo ga Katonda gonna ga bwenkanya. Mwesigwa ataliimu butali bwenkanya.’ (Ekyamateeka 32:4, NW.) Engeri Katonda gye yazikirizangamu abantu ababi toyinza kugigeraageranya ku ntalo z’abantu. Lwaki? Kubanga obutafaananako bantu abamala gatta, Katonda asobola okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu.

Ng’ekyokulabirako, Katonda bwe yasalawo okuzikiriza ebibuga Sodomu ne Ggomola, Ibulayimu omusajja eyali omwesigwa eri Katonda yayagala okumanya obanga ekyo Katonda yali agenda kukikola mu bwenkanya. Yabuuza Katonda nti: ‘Onoozikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?’ Katonda yamukakasa nti ekibuga Sodomu ne bwe kyandibaddemu abantu abatuukirivu kkumi bokka, teyandikizikirizza ku lwabwe. (Olubereberye 18:20-33) Ekyo kiraga nti Katonda yakebera emitima gy’abantu abo n’alaba nga babi nnyo.​—1 Ebyomumirembe 28:9.

Mu ngeri y’emu, Katonda yagenda okuzikiriza Abakanani ng’amaze kulaba nti babi nnyo. Abakanani baali bakambwe nnyo, era baawangayo n’abaana baabwe nga ssaddaaka nga babookya mu muliro. * (2 Bassekabaka 16:3) Abakanani abo baali bakimanyi bulungi nti Yakuwa yali awadde Abaisiraeri ensi ya Kanani. N’olwekyo abo abaagisigalamu era ne balwanyisa Abaisiraeri baali bajeemedde Yakuwa Katonda.

Wadde kyali kityo, Katonda yasonyiwa Abakanani abaaleka ebikolwa byabwe ebibi ne bakola by’ayagala. Ng’ekyokulabirako, Lakabu eyali malaaya yawonyezebwawo n’ab’omu maka ge. N’abantu b’omu Gibiyoni eky’omu Kanani bwe beegayirira Yoswa aleme kubazikiriza, bo n’abaana baabwe baawonyezebwawo.​—Yoswa 6:25; 9:3, 24-26.

GGWE KIKUKWATAKO KITYA? Waliwo ekintu ekikulu ennyo kye tuyigira ku musango Katonda gwe yasalira Abakanani. ‘Olunaku olw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda’ lunaatera okutuuka. (2 Peetero 3:7) Bwe tuba twagala Yakuwa era nga tukola by’ayagala, tujja kuganyulwa bw’anaggyawo okubonaabona ng’azikiriza abo bonna abagaana okukola by’ayagala.

Abakanani baali bakambwe nnyo, era baagezaako okuziyiza Katonda n’abantu be

Yakuwa atujjukiza nti ebyo abazadde bye basalawo birina engeri gye bikwata ku baana baabwe. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo: okwagalanga Mukama Katonda wo, okugonderanga eddoboozi lye, [n’okumunywererako].” (Ekyamateeka 30:19, 20) Ebigambo ebyo tebiraga nti Katonda mukambwe, wabula biraga nti ayagala nnyo abantu era ayagala basalewo bulungi.

^ Abayiikuula eby’omu ttaka baazuula obukakafu obulaga nti ensinza y’Abakanani yali ezingiramu n’okusaddaaka abaana abawere.