Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

SEMBERERA KATONDA

Ddala Yakuwa Akufaako?

Ddala Yakuwa Akufaako?

Omukyala omu eyali alowooza nti Yakuwa tamufaako yagamba nti: “Okuwulira nti siri wa mugaso kye kisinga okundeetera okulowooza nti Katonda tanfaako.” Naawe olina endowooza ng’eyo? Bwe kiba bwe kityo, oyinza okuba nga weebuuza nti, ‘Ddala Yakuwa afaayo ku baweereza be kinnoomu?’ Yee! Ebyo Yesu bye yayogera bikakasa bulungi ensonga eyo.​—Soma Yokaana 6:44.

Yesu, asinga okumanya engeri za Yakuwa n’ebyo by’ayagala, yayogera ki ku nsonga eyo? (Lukka 10:22) Yagamba nti: “Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.” N’olwekyo, tetusobola kufuuka bagoberezi ba Kristo, era tetusobola kufuuka baweereza ba Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu okuggyako nga Yakuwa kennyini y’atusise. (2 Abassessaloniika 2:13) Bwe tutegeera ekyo Yesu kye yali ategeeza, tujja kukiraba nti Yakuwa afaayo nnyo ku baweereza be.

Yakuwa atusika atya? Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “amusise” era kitegeeza okusika akatimba akalimu ebyennyanja. (Yokaana 21:6, 11) Ekyo kiba kitegeeza nti Yakuwa atuwaliriza buwaliriza okumuweereza? Nedda. Yatuwa eddembe ly’okwesalirawo, n’olwekyo tatukaka kumuweereza. (Ekyamateeka 30:19, 20) Yakuwa akebera emitima gy’abantu buwumbi na buwumbi ng’anoonya abo abaagala okumuweereza. (1 Ebyomumirembe 28:9) Bw’afuna omuntu ng’oyo amuyamba. Mu ngeri ki?

Yakuwa asikiriza omuntu ‘alina endowooza ennuŋŋamu’ okujja gy’ali. (Ebikolwa 13:48) Ekyo akikola mu ngeri bbiri. Ayitira mu mawulire amalungi agali mu Bayibuli agatutuukako kinnoomu era akozesa n’omwoyo gwe omutukuvu. Bw’akebera omutima gw’omuntu n’alaba ng’ayagala okutegeera amazima agali mu Bayibuli, akozesa omwoyo gwe okumuyamba okugategeera n’okukolera ku ebyo by’aba ayize. (1 Abakkolinso 2:11, 12) Awatali buyambi bwa Katonda, tetwandisobodde kufuuka bagoberezi ba Yesu ab’amazima era abaweereza ba Yakuwa abanyiikivu.

“Yakuwa yatuwa eddembe ly’okwesalirawo, n’olwekyo tatukaka kumuweereza”

Kati olwo, ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 6:44 bituyigiriza ki ku Yakuwa Katonda? Bituyigiriza nti abo Yakuwa b’ayamba okufuuka abaweereza be aba abalabyemu ekintu ekirungi era aba abafaako kinnoomu. Omukyala eyayogeddwako ku ntandikwa y’ekitundu kino bwe yategeera obulungi ensonga eyo, kyamuzzaamu nnyo amaanyi. Agamba nti: “Okubeera omuweereza wa Yakuwa ye nkizo esingayo omuntu yenna gy’ayinza okufuna. Okuva bwe kiri nti Yakuwa yannonda okuba omuweereza we, nteekwa okuba nga ndi wa muwendo nnyo gy’ali.” Ate ggwe? Okukimanya nti Yakuwa afaayo ku baweereza be kinnoomu tekyandikuleetedde kwagala kuba na nkolagana ey’oku lusegere naye?

Essuula za Bayibuli z’oyinza okusoma mu Maayi

Lukka 22-24Yokaana 1-16