Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBULIMBA OBULEETERA ABANTU OKUKYAWA KATONDA

Amazima Gasobola Okukufuula ow’Eddembe

Amazima Gasobola Okukufuula ow’Eddembe

Lumu, Yesu bwe yali mu Yerusaalemi ng’ayigiriza abantu ebikwata ku Yakuwa Kitaawe, yayanika endowooza enkyamu abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera ekyo ze baalina. (Yokaana 8:12-30) Bye yayogera ku lunaku olwo bisobola okutuyamba okumanya obanga ebyo amadiini bye gayigiriza ku Katonda bituufu. Yesu yagamba nti: “Bwe musigala mu kigambo kyange, muba bayigirizwa bange ddala, era mujja kumanya amazima, era amazima gajja kubafuula ba ddembe.”​—Yokaana 8:31, 32.

“Bwe musigala mu kigambo kyange.” Ebigambo bya Yesu ebyo bituyamba okumanya obanga amadiini bye gayigiriza bya “mazima.” Bw’owulira enjigiriza ekwata ku Katonda, weebuuze, ‘Enjigiriza eno ekwatagana n’ebyo Yesu bye yayigiriza awamu n’enjigiriza endala eziri mu Bayibuli?’ Koppa abo abaawulira omutume Pawulo ng’abuulira era ‘abeekenneenyanga n’obwegendereza Ebyawandiikibwa okulaba obanga ebintu ebyo bye baali bayiga byali bituufu.’​—Ebikolwa 17:11.

Marco, Rosa, ne Raymonde, abaayogeddwako mu kitundu ekisooka mu katabo kano, beekenneenya enzikiriza zaabwe n’obwegendereza ng’Abajulirwa ba Yakuwa babayigiriza Bayibuli. Bye baayiga byabakwatako bitya?

Marco: “Eyali atuyigiriza Bayibuli yakozesa Ebyawandiikibwa okuddamu ebibuuzo byonna nze ne mukyala wange bye twamubuuza. Twatandika okwagala Yakuwa, era nze ne mukyala wange tweyongera okwagalana!”

Rosa: “Mu kusooka, nnali ndowooza nti Bayibuli kitabo butabo ekirimu endowooza z’abantu abagezaako okunnyonnyola ebikwata ku Katonda. Naye mpolampola, Bayibuli yannyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo byange. Kati Yakuwa wa ddala gye ndi, era nsobola okumwesiga.”

Raymonde: “Nnasaba Katonda annyambe okuyiga ebimukwatako. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, nze n’omwami wange twatandika okuyiga Bayibuli, era twategeera amazima agakwata ku Yakuwa! Twasanyuka nnyo olw’okutegeera obulungi Katonda.”

Bayibuli tekoma bukomi ku kwanika njigiriza z’eddiini ez’obulimba, naye era etuyamba okutegeera engeri za Katonda ezisikiriza. Bayibuli kye Kigambo kye ekyaluŋŋamizibwa, era etuyamba ‘okumanya ebintu Katonda by’atuwadde olw’ekisa kye,’ kwe kugamba, okumanya amazima agamukwatako n’ebigendererwa bye. (1 Abakkolinso 2:12) Naawe kennyini osobola okumanya engeri Bayibuli gy’eddamu ebibuuzo ebikulu ennyo abantu bye batera okwebuuza ebikwata ku Katonda, ekigendererwa kye, n’ebikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso. Osobola okufuna eby’okuddamu mu bimu ku bibuuzo ebyo ku mukutu gwaffe ogwa intaneeti www.pr418.com. Biri mu Lungereza, nyiga ku Bible Teachings > Bible Questions Answered.” Ate era osobola okusaba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa okukuyigiriza Bayibuli oba okuwaayo okusaba kwo ng’oyitira ku mukutu ogwo waggulu. Tuli bakakafu nti bw’onookola bw’otyo, kijja kukubeerera kyangu okwagala Katonda.