Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OMUNTU BW’AFA EBIBYE BIBA BIKOMYE?

Abantu Bakoze Kyonna Ekisoboka Okukomya Okufa

Abantu Bakoze Kyonna Ekisoboka Okukomya Okufa

EMPULA QIN SHI HUANG

OMUVUMBUZI PONCE DE LEÓN

Okufa mulabe wa ntiisa, era tufuba nnyo okumulwanyisa. Bwe tufiirwa omuntu waffe gwe twagala ennyo, tuyinza obutakikkiriza nti afudde. Oba, bwe tuba tukyali bavubuka, tuyinza n’obutakirowoozaako nti tulifa.

Bafalaawo oba bakabaka b’e Misiri ab’edda baafuba nnyo okulwanyisa okufa. Bakabaka abo nga mw’otwalidde enkumi n’enkumi z’abakozi baabwe baamalanga ebiseera bingi nga bagezaako okulwanyisa okufa. Ekyo kyeyolekera ku masiro ge baazimbanga. Naye okufuba kwabwe tekwavaamu kalungi konna.

Ba empula Abakyayina nabo baafuba nnyo okulwanyisa okufa. Bo baanywanga ddagala eryali litwalibwa okubaamu amaanyi ag’enjawulo. Empula Qin Shi Huang yatuuka n’okulagira abasajja be abakugu banoonye eddagala eryandimuyambye obutafa. Naye ebimu ku bintu bye baakolamu eddagala byali bya butwa, era nga kirabika eddagala eryo lye lyamutta.

Mu kyasa ekya 16 embala eno, omuvumbuzi Omusipanisi ayitibwa Juan Ponce de León yatalaaga ebitundu bya Puerto Rico nga kigambibwa nti yali anoonya w’asobola okufuna amazzi agasobola okuzza omuntu obuto. Yeeyongera okunoonya n’atuuka mu Amerika era n’avumbula essaza lya Florida, naye waayita emyaka mitono n’afa oluvannyuma lw’okulwanagana ne bannansi ba Amerika. Kyokka n’okutuusa leero amazzi ago tegavumbulwanga.

Bakabaka ba Misiri, ba empula, n’abavumbuzi, bonna baali banoonya ngeri y’okwewalamu okufa. Ekyo kiraga nti ffenna twagala okuba abalamu emirembe gyonna.

OKUFA KULIKOMA?

Lwaki tewali muntu ayagala kufa? Bayibuli etuwa ensonga. Eraga nti Omutonzi waffe, Yakuwa Katonda, * “Buli kintu yakikola nga kirungi era yakikola mu kiseera kyakyo. Yateeka mu mitima [gy’abantu] ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna.” (Omubuulizi 3:11, NW) Ffenna twandyagadde okunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna, so si myaka nga 80 gyokka.​—Zabbuli 90:10.

Lwaki Katonda yateeka mu mitima gyaffe “ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna”? Kutukookoonya bukookoonya? Katonda tayinza kukola bw’atyo. Asuubiza nti okufa kujja kukoma. Enfunda n’enfunda Bayibuli eraga nti Katonda ajja kuggyawo okufa, awe abantu obulamu obutaggwaawo.—Laba ebyo ebiri wansi w’omutwe: “ Okufa Kujja Kuggibwawo.”

Yesu kennyini yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) N’olwekyo, eky’okuba nti okufa kujja kuggibwawo si kirooto bulooto. Naye Yesu alaga nti Katonda ye yekka asobola okukuggyawo.

^ lup. 9 Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.