Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO

Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?

Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona?

Ekitundu kino kiraga engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye bakubaganyaamu ebirowoozo n’abantu abalala. Ka tugambe nti Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Rose azze mu maka g’omukyala ayitibwa Sophia.

KATONDA AWULIRA ATYA BW’ALABA NGA TUBONAABONA?

Rose: Sophia, nsanyuse nnyo okukusangawo awaka.

Sophia: Nange nsanyuse okukulaba.

Rose: Lwe nnasembayo okujja wano twakubaganya ebirowoozo ku kibuuzo ekigamba nti, “Ddala Katonda Atulumirirwa?” * Waŋŋamba nti naawe oludde nga weebuuza ekibuuzo ekyo, naddala okuva maama wo lwe yagwa ku kabenje. Ye kati ali atya?

Sophia: Ali bulungiko.

Rose: Ekyo kizzaamu amaanyi. Weebale kufuba kumujjanjaba.

Sophia: Ngezaako. Naye oluusi nneebuuza oba anaamala bbanga ki ng’abonaabona?

Rose: Ekyo omuntu yenna ali mu mbeera gy’olimu asobola okukyebuuza. Nnakusuubiza nti nja kudda tukubaganye ebirowoozo ku nsonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona ng’ate asobola okukuggyawo.

Sophia: Nange obwedda nkulindiridde.

Rose: Nga tetunnalaba Bayibuli ky’egamba ku nsonga eyo, ka tusooke twejjukanye ebimu ku ebyo bye twalaba ku olwo.

Sophia: Kale.

Rose: Twalaba nti waliwo omusajja eyali omwesigwa ayogerwako mu Bayibuli eyabuuza Katonda ensonga lwaki waliwo okubonaabona kungi. Kyokka Katonda teyamukambuwalira, era teyamugamba nti talina kukkiriza.

Sophia: Ekyo nnali sikimanyi.

Rose: Ate era twalaba nti Katonda tayagala tuboneebone. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eraga nti Katonda yanakuwala nnyo bwe yalaba ng’Abaisiraeri babonaabona. * Tekizzaamu nnyo maanyi okukimanya nti Katonda atulumirirwa bw’alaba nga tubonaabona?

Sophia: Kizzaamu nnyo amaanyi.

Rose: Era twalaba nti Omutonzi waffe asobola okumalirawo ddala okubonaabona, kubanga alina amaanyi mangi nnyo.

Sophia: Ekyo kye kikyannemye okutegeera. Lwaki Katonda aleka ebintu ebibi okubaawo ng’ate asobola okubiziyiza?

ANI YAYOGERA AMAZIMA?

Rose: Okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kyo, ka tugende mu Bayibuli mu kitabo eky’Olubereberye. Wali owulidde ku Adamu ne Kaawa, n’eky’okuba nti baalya ekibala Katonda kye yali abagaanye?

Sophia: Yee, nnali mbawuliddeko. Katonda yabagaana okulya ku bibala by’omuti ogumu, naye bo ne banoga ekibala ne bakirya.

Rose: Oli mutuufu. Kati ka tulabe ekyabaviirako okujeemera Katonda. Kijja kutuyamba okumanya ensonga lwaki waliwo okubonaabona kungi. Nkusaba osome Olubereberye essuula 3, olunyiriri 1 okutuuka 5.

Sophia: Wagamba nti: “N’omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez’omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw’atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku? Omukazi n’agamba omusota nti Ebibala by’emiti egy’omu lusuku tulya; wabula ebibala by’omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Temugulyangako newakubadde okugukwatangako muleme okufa. Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.”

Rose: Weebale nnyo. Ka twetegereze ennyiriri ezo. Omusota gwayogera n’omukazi, nga ye Kaawa. Ekyawandiikibwa ekirala mu Bayibuli kiraga nti Sitaani Omulyolyomi ye yayogera ne Kaawa ng’ayitira mu musota. * Sitaani yabuuza Kaawa ebikwata ku muti Katonda gwe yabagaana okulyako. Katonda yagamba nti kiki ekyandituuse ku Adamu ne Kaawa nga balidde ku bibala by’omuti ogwo?

Sophia: Bandifudde.

Rose: Weebale nnyo. Ebigambo Sitaani bye yazzaako bikontana n’ebyo Katonda bye yali ayogedde. Weetegereze kye yagamba: “Okufa temulifa.” Mu ngeri endala, Sitaani yali ng’agamba nti Katonda mulimba!

Sophia: Ekyo mbadde sikirowoozangako.

Rose: Era Sitaani bwe yagamba nti Katonda mulimba, yaleetawo ensonga eyali yeetaagisa ekiseera ekiwanvu okusobola okugonjoolwa.

Sophia: Nsonga ki eyo?

Rose: Okusobola okugitegeera, ka nkuwe ekyokulabirako. Ka tugambe nti lumu nzija gy’oli ne nkugamba nti nkusinga amaanyi. Oyinza otya okukakasa obanga kye nkugamba kituufu?

Sophia: Nkugezesa.

Rose: Kyekyo kyennyini. Oboolyawo tufuna ekintu ekizito ne tulaba ani ku ffe asobola okukisitula. Mu butuufu, kyangu okumanya asinga munne amaanyi.

Sophia: Ekyo kituufu.

Rose: Ate watya singa ŋŋamba abantu nti oli mulimba? Ekyo kiba kyangu okukakasa?

Sophia: Nedda. Tekiba kyangu.

Rose: Kiba kyetaagisa ekiseera kiyitewo abantu abo bakakase obanga ddala oli mulimba. Si bwe kiri?

Sophia: Bwe kiri.

Rose: Nkusaba oddemu weetegereze ennyiriri ze tusomye. Sitaani yagamba nti asinga Katonda amaanyi?

Sophia: Nedda.

Rose: Ekyo Katonda yandikiragiddewo nti si kituufu. Mu kifo ky’ekyo, Sitaani yagamba nti Katonda mulimba. Mu ngeri endala yagamba Kaawa nti, ‘Katonda yabalimba, naye nze mbabuulira amazima.’

Sophia: Ensonga ŋŋenda ngitegeera.

Rose: Olw’okuba Katonda wa magezi nnyo, yakiraba nti okusobola okugonjoola ensonga eyo kyali kyetaagisa ekiseera okuyitawo. Oluvannyuma, buli omu yanditegedde eyayogera amazima n’eyalimba.

FFENNA TUKWATIBWAKO

Sophia: Naye Kaawa bwe yafa, ekyo tekyakakasa nti Katonda ye yayogera amazima?

Rose: Kyakakasa. Naye ebigambo Sitaani bye yayogera birina ekintu ekiralala kye bitulaga. Ddamu weetegereze olunyiriri 5. Kiki ekirala Sitaani kye yagamba Kaawa?

Sophia: Yamugamba nti bwe yandiridde ku kibala, amaaso ge gandizibuse.

Rose: Weebale nnyo, era yagattako nti yandibadde “nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” N’olwekyo Sitaani yali ng’agamba nti waliwo ekintu ekirungi Katonda kye yali akwese abantu.

Sophia: Ensonga ngiraba.

Rose: Era ekyo kitukwatako ffenna.

Sophia: Kitukwatako kitya?

Rose: Mu kwogera bw’atyo, Sitaani yalaga nti Kaawa n’abantu bonna okutwalira awamu, bandibadde bulungi nga tebafugibwa Katonda. Ne ku nsonga eno, Yakuwa yalaba nti kyali kyetaagisa ekiseera okuyitawo buli omu akakase obanga Sitaani bye yali ayogedde bituufu. Bwe kityo Katonda yaleka Sitaani okufuga ensi okumala ekiseera. Sitaani y’afuga ensi, so si Katonda. Eyo ye nsonga lwaki waliwo okubonaabona kungi nnyo mu nsi. * Naye waliwo amawulire amalungi.

Sophia: Mawulire ki ago?

Rose: Bayibuli etubuulira ebintu bibiri ebirungi ennyo ebikwata ku Katonda. Ekisooka, atulumirirwa bw’alaba nga tubonaabona. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bigambo bya Kabaka Dawudi, ebiri mu Zabbuli 31:7, NW. Dawudi yabonaabona nnyo, naye weetegereze kye yagamba bwe yali asaba Katonda. Nkusaba osome olunyiriri olwo.

Sophia: Lugamba nti: “Nja kusanyuka nnyo olw’okwagala kwo okutajjulukuka, Kubanga olabye obuyinike bwange; omanyi obulumi obw’amaanyi bwe ndimu.”

Rose: Weebale nnyo. Wadde nga Dawudi yali abonaabona, kyamuzzangamu amaanyi okukimanya nti Yakuwa yali amanyi ebizibu byonna bye yali ayitamu. Naawe tekikuzzaamu maanyi okukimanya nti Yakuwa amanyi ebizibu byonna by’oyitamu, n’obulumi bw’obaamu abantu bwe batayinza na kumanya?

Sophia: Kinzizaamu nnyo amaanyi.

Rose: Eky’okubiri, Katonda tajja kutuleka kubonaabona mirembe gyonna. Bayibuli etulaga nti anaatera okuggyawo obufuzi bwa Sitaani obubi. Ekyo kiraga nti ajja kuggirawo ddala ebintu ebibi ebiriwo, nga mw’otwalidde n’ebizibu ggwe ne maama wo bye mulina. Wandyagadde nkomewo olulala nkulage obukakafu obulaga nti Katonda anaatera okuggyawo okubonaabona kwonna? *

Sophia: Yee. Komawo ojja kunsangawo.

Waliwo ekibuuzo kyonna ekikwata ku Katonda oba ekikwata ku nzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa kye weebuuza? Bwe kiba bwe kityo, tolonzalonza kubuuza Mujulirwa wa Yakuwa yenna gw’onooba osisinkanye. Ajja kuba musanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku nsonga ng’ezo.

^ lup. 7 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Okukubaganya Ebirowoozo​—Ddala Katonda Atulumirirwa?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 1, 2013 osobola okukafuna ku mukutu, www.pr418.com

^ lup. 59 Okumanya ebisingawo, laba essuula 9 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.