Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obwakabaka Bumaze Emyaka 100 nga Bufuga—Bintu Ki Bye Bukoze?

Obwakabaka Bumaze Emyaka 100 nga Bufuga—Bintu Ki Bye Bukoze?

‘Yakuwa Katonda, emirimu gyo mikulu era gyewuunyisa, Kabaka ow’emirembe n’emirembe.’KUB. 15:3.

1, 2. Kiki Obwakabaka bwa Katonda kye bujja okukola, era lwaki tuli bakakafu nti Obwakabaka obwo bujja kujja?

MU MWAKA gwa 31 E.E., Yesu Kristo bwe yali ku lusozi oluli okumpi ne Kaperunawumu, yayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje.” (Mat. 6:10) Leero waliwo abantu bangi abeebuuza obanga ddala Obwakabaka obwo bunajja. Naye ffe tuli bakakafu nti Katonda ajja kuddamu essaala eyo era Obwakabaka bwe bujja kujja.

2 Ng’ayitira mu Bwakabaka bwe, Yakuwa ajja kugatta wamu abaweereza be ab’omu ggulu n’ab’oku nsi bafuuke amaka gamu. Tewali kubuusabuusa nti ekigendererwa kya Yakuwa ekyo kijja kutuukirira. (Is. 55:10, 11) Mu butuufu, ne mu kiseera kyaffe, Yakuwa yamala dda okufuuka Kabaka! Ebyo ebibaddewo mu myaka 100 egiyise bikakasa ensonga eyo. Katonda akoledde abaweereza be ebintu ebikulu era ebyewuunyisa. (Zek. 14:9; Kub. 15:3) Kyokka, waliwo enjawulo wakati wa Yakuwa okufuuka Kabaka n’okujja kw’Obwakabaka Yesu bwe yatugamba okusaba. Ebintu ebyo ebibiri byawukana bitya, era bitukwatako bitya?

KABAKA YAKUWA GWE YALONDA ATANDIKA OKUFUGA

3. (a) Yesu yatuuzibwa ddi ku ntebe y’Obwakabaka, era ekyo kyali wa? (b) Okakasa otya nti Obwakabaka bwateekebwawo mu 1914? (Laba obugambo obuli wansi ku lupapula 13.)

3 Ekyasa ekya 19 bwe kyali kinaatera okuggwaako, abaweereza ba Katonda baatandika okutegeera obunnabbi Danyeri bwe yawandiika emyaka egisukka mu 2,500 emabega. Danyeri yawandiika nti: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa.” (Dan. 2:44) Abayizi ba Bayibuli baamala emyaka mingi nga bategeeza abantu nti omwaka gwa 1914 gwali gujja kuba gwa njawulo. Abantu bangi mu kiseera ekyo baali basuubira ebiseera eby’omu maaso okuba ebirungi. Omuwandiisi w’ebitabo omu yagamba nti: “Mu 1914 ebiseera eby’omu maaso byali birabika ng’ebigenda okuba ebirungi ennyo.” Naye omwaka ogwo bwe gwali gunaatera okuggwaako Ssematalo I yatandika, era obunnabbi bwa Bayibuli ne butuukirira. Enjala, musisi, endwadde, awamu n’obunnabbi bwa Bayibuli obulala obwatuukirira byakakasa nti Yesu Kristo yali atandise okufuga mu ggulu nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda mu 1914. * Bwe yatuuza Omwana we ku ntebe y’Obwakabaka, Yakuwa yafuuka Kabaka mu ngeri ey’enjawulo!

4. Kiki Yesu kye yasooka okukola nga yaakatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka, era kiki kye yaddako okukola?

4 Ekintu Yesu Kristo kye yasooka okukola nga yaakatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka kwe kulwanyisa Sitaani, omulabe wa Kitaawe omukulu. Yesu ne bamalayika be baagoba Omulyolyomi ne bamalayika be mu ggulu ne babasuula ku nsi. Ekyo kyaleeta essanyu lingi mu ggulu naye ate ne kireetawo okubonaabona kungi ku nsi. (Soma Okubikkulirwa 12:7-9, 12.) Oluvannyuma lw’ekyo, Yesu yatandika okulongoosa, okuyigiriza, n’okutegeka abo abaali bawagira obufuzi bwe ku nsi okusobola okukola Katonda by’ayagala. Kati ka tulabe engeri gye baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kukolera ku bulagirizi bwa Yesu.

KABAKA ALONGOOSA ABAGOBEREZI BE

5. Kulongoosa kwa ngeri ki okwaliwo okuva mu 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919?

5 Yesu bwe yamala okugoba Sitaani ne badayimooni mu ggulu, Yakuwa yamulagira okulambula n’okulongoosa abagoberezi be ku nsi. Nnabbi Malaki yalaga nti okulongoosa okwo kwali kwa bya mwoyo. (Mal. 3:1-3) Ebyafaayo biraga nti ekyo kyaliwo okuva mu 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919. * Bwe tuba twagala okuba mu maka ga Yakuwa tulina okuba abayonjo, oba abatukuvu. (1 Peet. 1:15, 16) Tulina okwewala enjigiriza zonna ezisibuka mu madiini ag’obulimba awamu n’eby’obufuzi by’ensi eno.

6. Tufuna tutya emmere ey’eby’omwoyo, era lwaki emmere eyo ya mugaso nnyo?

6 Yesu yakozesa obuyinza bwe nga Kabaka okulonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” Omuddu oyo yandiwadde emmere ey’eby’omwoyo abo abali mu ‘kisibo ekimu,’ Yesu ky’alabirira. (Mat. 24:45-47; Yok. 10:16) Okuva mu 1919, ab’oluganda abatonotono abaafukibwako amafuta babadde bakola omulimu ogwo omukulu ogw’okuliisa “ab’omu nju” ya Mukama waabwe. Omuddu omwesigwa atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi era emmere eyo etuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. Emmere eyo etuyamba okusigala nga tuli bayonjo mu by’omwoyo, mu mpisa, mu birowoozo, ne mu mubiri. Era etuyamba ne tusobola okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira, nga guno gwe mulimu ogusinga obukulu ogukolebwa ku nsi leero. Ofuba okulya emmere ey’eby’omwoyo obutayosa?

KABAKA ATENDEKA ABAGOBEREZI BE MU NSI YONNA OKUBUULIRA

7. Mulimu ki omukulu ennyo Yesu gwe yatandikawo ng’ali ku nsi, era omulimu ogwo gwandikoleddwa kutuuka ddi?

7 Yesu bwe yatandika obuweereza bwe ku nsi, yagamba nti: “Nnina okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala, kubanga nnatumibwa lwa nsonga eyo.” (Luk. 4:43) Okumala emyaka esatu n’ekitundu, okubuulira gwe gwali omulimu ogusingayo obukulu mu bulamu bwe. Yagamba abayigirizwa be nti: “Bwe muba mugenda, mubuulire nga mugamba nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’” (Mat. 10:7) Oluvannyuma lw’okuzuukira, Yesu yagamba nti abagoberezi be bandibuulidde obubaka buno “okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Yabasuubiza nti yali ajja kuwagira omulimu ogwo omukulu ennyo okutuukira ddala mu kiseera kyaffe.Mat. 28:19, 20.

8. Kabaka yakubiriza atya abagoberezi be okubuulira?

8 Okuva mu 1919, ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ gaatandika okubuulirwa ku kigero ekya waggulu. (Mat. 24:14) Kabaka yali mu ggulu ng’afuga, era yali akuŋŋaanyizza abagoberezi be abatonotono abaali bamaze okulongoosebwa. Abagoberezi ba Yesu abo baagondera ekiragiro kye eky’okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna nti Obwakabaka bwa Katonda bwali bufuga mu ggulu! (Bik. 10:42) Ng’ekyokulabirako, mu Ssebutemba 1922, abantu nga 20,000 baakuŋŋaanira mu Cedar Point, Ohio, Amerika ku lukuŋŋaana olunene olw’ensi yonna. Lowooza ku ssanyu lye baawulira Ow’oluganda Rutherford bwe yawa emboozi eyalina omutwe ogugamba nti, “Obwakabaka” era n’agamba bonna abaaliwo nti: “Mulabe, Kabaka afuga! Mmwe b’alonze okumanyisa abalala ebimukwatako. N’olwekyo, mulangirire, mulangirire, mulangirire Kabaka n’obwakabaka bwe.” Olunaku olwaddako, ab’oluganda nga 2,000 beenyigira mu mulimu gw’okubuulira era abamu baatuuka mu bifo ebyesudde mayiro nga 45 okuva awaali olukuŋŋaana. Ow’oluganda omu yagamba nti: “Siyinza kwerabira ngeri gye twakubirizibwamu okulangirira Obwakabaka era n’obunyiikivu abo abaaliwo ku lukuŋŋaana bwe baayoleka mu mulimu gw’okubuulira!” N’ab’oluganda abalala bangi baayogera ebigambo ebifaananako bwe bityo.

9, 10. (a) Masomero ki agatutendeka okuba ababuulizi abalungi? (b) Oganyuddwa otya mu masomero ago?

9 Omwaka 1922 we gwatuukira, waaliwo ababuulizi abasukka mu 17,000 mu nsi 58. Kyokka ababuulizi abo baali beetaaga okutendekebwa. Mu kyasa ekyasooka, Yesu, Kabaka eyali alondeddwa yawa abayigirizwa be obulagirizi obukwata ku ebyo bye bandibuulidde, wa gye bandibuulidde, n’engeri gye bandibuuliddemu. (Mat. 10:5-7; Luk. 9:1-6; 10:1-11) Mu ngeri y’emu leero, Yesu akakasa nti abo bonna abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bafuna obulagirizi obwetaagisa n’ebyo bye beetaaga okusobola okukola obulungi omulimu ogwo. (2 Tim. 3:17) Yesu atendeka abagoberezi be okukola omulimu gw’okubuulira ng’ayitira mu kibiina Ekikristaayo. Ekyo akikola ng’ayitira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, mu bibiina ebisukka mu 111,000 mu nsi yonna. Ababuulizi abasukka mu bukadde omusanvu bafuba okukolera ku bulagirizi obubaweebwa mu ssomero eryo era ekyo kibayambye okubuulira n’okuyigiriza “abantu aba buli ngeri.”Soma 1 Abakkolinso 9:20-23.

10 Ng’oggyeko Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, waliwo n’amasomero amalala agatendeka abakadde mu bibiina, bapayoniya, ab’oluganda abali obwannamunigina, Abakristaayo abafumbo, abo abali ku bukiiko bw’amatabi ne bakyala baabwe, abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala abaabwe, n’abaminsani. * Ab’oluganda abamu abaali mu Ssomero ly’Abakristaayo Abafumbo baagamba nti: “Essomero lino lituleetedde okwongera okwagala Yakuwa era kati tuwulira nga tusobola bulungi okuyamba abalala.”

11. Kiki ekiyambye abagoberezi ba Yesu okweyongera okubuulira wadde nga Sitaani abalwanyisa?

11 Omulabe Sitaani alaba ebyo byonna ebikolebwa okusobola okulaba nti omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza abantu gugenda mu maaso. Sitaani akola kyonna ekisoboka okulemesa omulimu gw’okubuulira okugenda mu maaso era alwanyisa abo abakola omulimu ogwo. Naye Sitaani tasobola kulemesa mulimu ogwo kugenda mu maaso. Yakuwa atuuzizza Omwana we ‘waggulu nnyo okusinga buli gavumenti, obuyinza, amaanyi, n’obwami.’ (Bef. 1:20-22) Nga Kabaka, Yesu akozesa obuyinza bwe okukuuma abayigirizwa be n’okubawa obulagirizi okusobola okulaba nti ebyo Kitaawe by’ayagala bikolebwa. * Amawulire amalungi geeyongera okubuulirwa, era abantu bangi ab’emitima emirungi beeyongera okuyiga amakubo ga Yakuwa. Nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu guno omukulu ennyo!

KABAKA ATEGEKA ABAGOBEREZI BE OKUSOBOLA OKUBUULIRA N’OBUNYIIKIVU

12. Ebimu ku bintu ebikoleddwa okusobola okutegeka abaweereza ba Yakuwa bye biruwa?

12 Okuva Obwakabaka lwe bwateekebwawo mu 1914, Kabaka abadde ategeka abaweereza ba Katonda basobole okukola obulungi ebyo Kitaawe by’ayagala. (Soma Isaaya 60:17.) Mu 1919, dayirekita w’obuweereza yalondebwa mu buli kibiina okutwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira. Mu 1927, ebibiina byatandika okubuulira nnyumba ku nnyumba buli lwa Ssande. Mu 1931, abaweereza ba Katonda baatandika okuyitibwa Abajulirwa ba Yakuwa era ekyo kyabakubiriza okwongera okubuulira n’obunyiikivu. (Is. 43:10-12) Mu 1938, abo abatwala obukulembeze mu bibiina baatandika okulondebwa okusinziira ku Byawandiikibwa mu kifo ky’okubalonda nga bakuba akalulu. Mu 1972, ebibiina byatandika okulabirirwa obukiiko bw’abakadde mu kifo ky’okulabirirwa omuntu omu. Abo bonna abaalina ebisaanyizo baakubirizibwa okuba abeetegefu ‘okulunda ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa.’ (1 Peet. 5:2) Mu 1976, waateekebwawo obukiiko mukaaga okulabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna nga bukolera wansi w’Akakiiko Akafuzi. Kyeyoleka lwatu nti Kabaka abadde ategeka abagoberezi be okukola ebintu nga Katonda bw’ayagala.

13. Bintu ki Yesu Kristo by’akoze mu myaka 100 gy’amaze ng’afuga nga Kabaka?

13 Lowooza ku bintu ebitali bimu Yesu Kristo by’akoze mu myaka 100 gy’amaze ng’afuga nga Kabaka. Alongoosezza abantu ab’okuyitibwa erinnya lya Yakuwa. Alabiridde omulimu ogw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi 239 era ayambye abantu bangi okuyiga amakubo ga Yakuwa. Ayambye abagoberezi be abeesigwa abasukka mu bukadde omusanvu okubeera obumu, era buli omu ku bo yeewaayo kyeyagalire okukola Katonda by’ayagala. (Zab. 110:3) Mu butuufu, ng’ayitira mu Bwakabaka bwa Masiya, Yakuwa akoze ebintu ebikulu era ebyewuunyisa. Waliwo n’ebintu ebirala bingi Obwakabaka obwo bye bujja okukola mu biseera eby’omu maaso!

EMIKISA OBWAKABAKA BWA MASIYA GYE BUJJA OKULEETA

14. (a) Bwe tusaba Katonda nga tugamba nti: “Obwakabaka bwo bujje,” tuba tutegeeza ki? (b) Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2014 kye kiruwa, era lwaki kituukirawo?

14 Wadde nga Yakuwa yatuuza Omwana we, Yesu Kristo, ku ntebe y’Obwakabaka mu 1914, ekyo tekitegeeza nti ebigambo “Obwakabaka bwo bujje” byali bituukiridde mu bujjuvu. (Mat. 6:10) Bayibuli eraga nti Yesu yali wa kumala akaseera ‘ng’afugira wakati mu balabe be.’ (Zab. 110:2) Gavumenti z’abantu eziri mu buyinza bwa Sitaani, zikyaliwo era ziziyiza Obwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, bwe tusaba Obwakabaka bwa Katonda bujje, tuba tusaba Katonda nti Yesu Kristo awamu n’abo abanaafugira awamu naye bajje baggyewo obufuzi bw’abantu era bazikirize abo bonna abaziyiza Obwakabaka bwa Katonda. Ekyo bwe kinaabaawo kijja kutuukiriza ebigambo ebiri mu Danyeri 2:44 awagamba nti Obwakabaka bwa Katonda “bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna.” Obwakabaka obwo bujja kuzikiriza gavumenti z’abantu eziziyiza Obwakabaka bwa Katonda. (Kub. 6:1, 2; 13:1-18; 19:11-21) Ebintu ebyo byonna binaatera okubaawo era eyo ye nsonga lwaki ekyawandiikibwa ky’omwaka 2014 kigiddwa mu Matayo 6:10 era kigamba nti: “Obwakabaka bwo bujje.” Kati giweze emyaka 100 okuva Yesu lwe yatandika okufuga mu ggulu.

Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2014: “Obwakabaka bwo bujje.”Matayo 6:10

15, 16. (a) Bintu ki ebinaabaawo mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi? (b) Oluvannyuma lw’Obufuzi bwe obw’Emyaka Olukumi kiki Yesu ky’ajja okukola, era ekyo kinaalaga ki ku kigendererwa kya Katonda?

15 Oluvannyuma lwa Yesu Kristo okuzikiriza abalabe ba Katonda, ajja kusuula Sitaani ne badayimooni mu bunnya okumala emyaka lukumi. (Kub. 20:1-3) Oluvannyuma, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuyamba abantu okuganyulwa mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo era bujja kuggyawo ebizibu byonna ebyaleetebwa ekibi kya Adamu. Yesu ajja kuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu abaafa era akole enteekateeka okubayigiriza ebikwata ku Yakuwa. (Kub. 20:12, 13) Ensi yonna ejja kufuuka Olusuku lwa Katonda, ng’olusuku Adeni bwe lwali. Era mu kiseera ekyo, abantu bonna abeesigwa bajja kufuuka abatuukiridde.

16 Emyaka olukumi egy’obufuzi bwa Kristo we ginaggwerako, Obwakabaka bwa Masiya bujja kuba bumaze okutuukiriza ekigendererwa kyabwo. Oluvannyuma, Yesu ajja kuwaayo Obwakabaka eri Kitaawe. (Soma 1 Abakkolinso 15:24-28.) Mu kiseera ekyo, abantu bonna ku nsi bajja kuba basobola okutuukirira Yakuwa butereevu. Olwo nno, abaana ba Katonda bonna, ab’omu ggulu n’ab’oku nsi, bajja kuba bumu mu maka gamu.

17. Kiki ky’omaliridde okukola?

17 Ebintu ebibaddewo mu myaka 100 Obwakabaka gye bumaze nga bufuga bitukakasa nti Yakuwa alina obuyinza ku nsi era nti ekigendererwa kye eri ensi kijja kutuukirira. N’olwekyo, ka tweyongere okuweereza Yakuwa n’obwesigwa era tulangirire Kabaka n’Obwakabaka bwe. Tuli bakakafu nti mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kuddamu ebigambo bye twogera nga tusaba nti: “Obwakabaka bwo bujje”!

^ lup. 5 Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, olupapula 22-23, akatundu 12.

^ lup. 10 Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 15, 2012, olupapula 13-17, “Amasomero g’Ekibiina—Galaga nti Yakuwa Atwagala Nnyo.”

^ lup. 11 Okumanya egimu ku misango abantu ba Katonda gye baawangula, laba Watchtower eya Ddesemba 1, 1998, olupapula 19-22.