Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa—Mugabi era Mukuumi

Yakuwa—Mugabi era Mukuumi

“Kubanga antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.”ZAB. 91:14.

1, 2. Embeera ze twakuliramu n’engeri gye twayigamu amazima byawukana bitya?

YAKUWA ye yatandikawo enteekateeka y’amaka. (Bef. 3:14, 15) Kyokka, ne bwe tuba nga tuli ba mu maka gamu, engeri zaffe za njawulo era n’embeera zaffe za njawulo. Abamu ku ffe tuyinza okuba nga twakula ne bazadde baffe. Abalala bayinza okuba nga baafiirwa bazadde baabwe; bayinza okuba nga baafa bulwadde, kabenje, oba ekintu ekirala kyonna. Ate abamu bayinza okuba nga tebamanyi na bazadde baabwe.

2 Ffenna abali mu maka ga Yakuwa, tuyize amazima mu ngeri za njawulo. Abamu ku ffe tuyinza okuba nga twakulira mu maka Amakristaayo era nga bazadde baffe baatuyigiriza emisingi gya Bayibuli okuviira ddala mu buto. (Ma. 6:6, 7) Oba tuyinza okuba nga twayiga amazima okuyitira mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa abaweereza ba Yakuwa.Bar. 10:13-15; 1 Tim. 2:3, 4.

3. Bintu ki ffenna bye tufaanaganya?

3 Wadde nga twawukana mu ngeri nnyingi, waliwo ebintu bye tufaanaganya. Olw’okuba Adamu yajeemera Katonda, ffenna twasikira obutali butuukirivu, ekibi, n’okufa. (Bar. 5:12) Wadde kiri kityo, ng’abaweereza ba Katonda ab’amazima, tusobola okuyita Yakuwa “Kitaffe.” Abaweereza ba Yakuwa ab’edda baayogera ebigambo ebiri mu Isaaya 64:8, awagamba nti: “Ai Mukama, ggwe Kitaffe.” Ate era essaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako etandika n’ebigambo bino: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.”Mat. 6:9.

4, 5. Bintu ki bye tugenda okwetegereza ebinaatuyamba okwongera okwagala Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu?

4 Yakuwa alabirira abaweereza be abeesigwa era abakuuma. Yakuwa yagamba nti: “Kubanga [omuweereza wange] antaddeko okwagala kwe, kyendiva mmuwonya: ndimugulumiza waggulu, kubanga amanyi erinnya lyange.” (Zab. 91:14) Yakuwa Katonda atukuuma, abalabe baffe ne batatusaanyaawo.

5 Waliwo ebintu bisatu bye tugenda okwetegereza ebisobola okutuyamba okwongera okwagala Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu: (1) Mugabi, (2) Mukuumi, ne (3) ye Mukwano gwaffe asingayo. Nga twetegereza ebintu ebyo, tusaanidde okulowooza ku nkolagana yaffe ne Katonda era n’okulowooza ku ngeri gye tuyinza okumuweesaamu ekitiibwa. Ate era tusaanidde okulowooza ku mikisa Katonda gy’agenda okuwa abo abalina enkolagana ennungi naye.Yak. 4:8.

YAKUWA MUGABI

6. Engeri emu Yakuwa gy’akirazeemu nti ye mugabi wa “buli kirabo ekirungi” y’eruwa?

6 Omuyigirizwa Yakobo yawandiika nti: “Buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde kiva waggulu era kikka wansi nga kiva eri Kitaawe w’ebyaka ebiri ku ggulu.” (Yak. 1:17) Obulamu kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa. (Zab. 36:9) Bwe tukozesa obulamu bwaffe okukola Katonda by’ayagala, tufuna emikisa mingi mu kiseera kino era tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. (Nge. 10:22; 2 Peet. 3:13) Naye ekyo kisoboka kitya ate nga ffenna twasikira obutali butuukirivu, ekibi, n’okufa okuva ku Adamu?

7. Kiki Yakuwa kye yakola okutuyamba okuba n’enkolagana ennungi naye?

7 Yakuwa akiraze nti mugabi mu ngeri nnyingi. Olw’ekisa kye eky’ensusso, Yakuwa atununula. Olw’okuba twasikira ekibi okuva ku Adamu, ffenna twonoona. (Bar. 3:23) Kyokka olw’okuba Yakuwa atwagala nnyo, yakola enteekateeka okulaba nti tufuna enkolagana ennungi naye. Omutume Yokaana yawandiika nti: “Ku kino okwagala kwa Katonda kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye. Okwagala okwo kweyoleka bwe kuti: tekiri nti ffe twayagala Katonda, wabula Katonda ye yatwagala n’atuma Omwana we okuba ssaddaaka ey’ebibi byaffe etutabaganya ne Katonda.”1 Yok. 4:9, 10.

8, 9. Yakuwa yakiraga atya nti Mugabi mu kiseera kya Ibulayimu ne Isaaka? (Laba ekifaananyi ku lupapula 16.)

8 Mu kyasa ekya 19 E.E.T., waliwo ekintu ekyaliwo ekikwata ku Ibulayimu ekiraga engeri Yakuwa gye yali ajja okuyamba abantu okufuna obulamu obutaggwaawo. Abebbulaniya 11:17-19 wagamba nti: “Olw’okukkiriza, Ibulayimu bwe yagezesebwa yalinga ddala awaddeyo omwana we Isaaka ng’ekiweebwayo, era omusajja oyo eyali afunye ebisuubizo yali agenda kuwaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka, wadde nga yali agambiddwa nti: ‘Eririyitibwa ezzadde lyo liriyitira mu Isaaka.’ Naye yakitwala nti Katonda yali asobola okumuzuukiza mu bafu; era mu ngeri ey’akabonero, yafuna omwana we okuva mu kufa.” Nga Ibulayimu bwe yali omwetegefu okuwaayo omwana we Isaaka, Yakuwa yali mwetegefu okuwaayo Omwana we Yesu Kristo okusobola okununula abantu.Soma Yokaana 3:16, 36.

9 Olowooza Isaaka yawulira atya ng’anunuddwa okuva mu kufa? Tewali kubuusabuusa nti yasanyuka nnyo okulaba nga Yakuwa awadde Ibulayimu endiga ey’okusaddaaka mu kifo ky’okusaddaaka ye. (Lub. 22:10-13) Eyo ye nsonga lwaki ekifo Ibulayimu we yali agenda okussaddaakira Isaaka yakiyita “Yakuwayire,” ekitegeeza, “Yakuwa Ajja Kuleeta Ebyetaagisa.”Lub. 22:14.

OKUTABAGANA NE KATONDA

10, 11. Baani abawomye omutwe mu ‘buweereza obw’okutabaganya’ abantu ne Katonda, era ekyo bakikola batya?

10 Bwe tufumiitiriza ku bintu byonna Yakuwa by’atukoledde, tukiraba nti awatali ssaddaaka ya Yesu Kristo, tetwandisobodde kufuna nkolagana nnungi ne Katonda. Omutume Pawulo yawandiika nti: “Tutegedde nti omuntu omu yafiiririra bonna; ddala bonna baali baafa; era yafiiririra bonna, abo abalamu baleme okuba abalamu nate ku lwabwe, wabula ku lw’oyo eyabafiiririra era n’azuukira.”2 Kol. 5:14, 15.

11 Olw’okuba Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali baagala nnyo Katonda era nga basiima enkizo gye yali abawadde ey’okumuweereza, bakkiriza ‘obuweereza obw’okutabaganya’ abantu ne Katonda. Omulimu gwabwe ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa gwayamba abantu ab’emitima emirungi okufuna enkolagana ennungi ne Katonda era ne bafuuka abaana be. Leero abaweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta nabo bayamba abantu okutabagana ne Katonda. Baweereza ng’ababaka ba Katonda ne Kristo. Omulimu gwabwe ogw’okubuulira gusobozesa abantu ab’emitima emirungi okuyiga amazima ne bafuuka abaweereza ba Yakuwa.Soma 2 Abakkolinso 5:18-20; Yok. 6:44; Bik. 13:48.

12, 13. Kiki kye tuyinza okukola okusobola okulaga nti tusiima ebintu ebirungi Yakuwa by’atuwadde?

12 Olw’okuba ab’endiga endala basiima nnyo Yakuwa olw’ebintu ebirungi by’abawa, bakolera wamu n’abaafukibwako amafuta omulimu ogw’okubuulira. Bwe tuba tubuulira, tukozesa Bayibuli, ekintu ekirala eky’omuwendo Katonda ky’atuwadde. (2 Tim. 3:16, 17) Bwe tukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda nga tubuulira, tusobola okuyamba abalala okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo. Ate era Yakuwa atuwa omwoyo gwe omutukuvu ogutuyamba nga tukola omulimu gw’okubuulira. (Zek. 4:6; Luk. 11:13) Era ng’ebyo ebifulumira mu katabo Yearbook of Jehovah’s Witnesses bwe biraga, omulimu gwaffe ogw’okubuulira guvuddemu ebirungi bingi. Nga tulina enkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu guno oguweesa Yakuwa, Kitaffe Omugabi, ekitiibwa!

13 Okuva bwe kiri nti Katonda atuwadde ebintu bingi, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Nfuba okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira nsobole okukiraga nti nsiima Yakuwa olw’ebirungi byonna by’ampadde? Kiki kye nnyinza okukola okusobola okulongoosa mu ngeri gye mbuuliramu?’ Tusobola okukiraga nti tusiima Yakuwa olw’ebirungi byonna by’atuwadde nga tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe. Bwe tukola bwe tutyo, Yakuwa ajja kukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. (Mat. 6:25-33) Okuva bwe kiri nti Katonda atwagala nnyo, tusaanidde okukola kyonna ekisoboka okumusanyusa.Nge. 27:11.

14. Yakuwa akiraze atya nti anunula abantu be?

14 Omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti: “Nze ndi munaku era nneetaaga obuyambi. Yakuwa andowoozeeko. Ggwe annyamba era ggwe annunula.” (Zab. 40:17, NW) Emirundi mingi Yakuwa anunudde abantu be ng’abalabe baabwe babayigganya. Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti Katonda atuwa ebintu bye twetaaga okusobola okusigala nga tuli beesigwa gy’ali ne bwe tuba mu mbeera enzibu!

YAKUWA AKUUMA ABANTU BE

15. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri taata gye yawonyaamu omwana we.

15 Taata ayagala abaana be tabawa buwi bye beetaaga naye era afuba okubakuuma. Abaana be bwe baba mu mbeera enzibu, afuba okubaako ky’akolawo mu bwangu okubayamba. Ow’oluganda omu ajjukira engeri kitaawe gye yamuwonyaamu ng’akyali muto. Ye ne kitaawe bwe baali bava okubuulira baali balina okusomoka omugga. Enkuba ennyingi eyatonnya ku olwo yaleetera omugga ogwo okujjula amazzi ne ganjaala. Okusobola okusomoka omugga ogwo, baalina okugenda nga balinnya ku mayinja amanene agaali mu mugga. Ow’oluganda oyo yali akulembedde kitaawe kyokka n’aseerera n’agwa mu mazzi era n’abbira mu mazzi emirundi ebiri nga bw’adda. Ng’ow’oluganda oyo yasanyuka nnyo kitaawe bwe yamubaka omukono n’awona okufiira mu mazzi! Mu ngeri y’emu, Kitaffe ow’omu ggulu atukuuma nga twolekagana n’ebizibu ebiva eri ensi eno embi n’omufuzi waayo, Sitaani. Tewali kubuusa buusa nti Yakuwa ye Mukuumi asingayo obulungi gwe tusobola okwesiga.Mat. 6:13; 1 Yok. 5:19.

16, 17. Yakuwa yayamba atya Abaisiraeri, era yabakuuma atya nga balwana n’Abamaleki?

16 Oluvannyuma lwa Yakuwa okununula Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri, yabakuuma nga bayita mu Nnyanja Emmyufu mu mwaka gwa 1513 E.E.T. Bwe baali boolekera Olusozi Sinaayi, Abaisiraeri baatuuka mu kifo ekiyitibwa Lefidimu.

17 Okusinziira ku bunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15, Sitaani ateekwa okuba nga yali ayagala okusaanyaawo Abaisiraeri abaali balabika ng’abatalina bukuumi. Ng’ekyokulabirako, Sitaani yalumba Abaisiraeri ng’ayitira mu Bamaleki, abaali abalabe baabwe. (Kubal. 24:20) Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yakuumamu abantu be ng’ayitira mu basajja abeesigwa Yoswa, Musa, Alooni, ne Kuli. Yoswa bwe yali alwana n’Abamaleki, Musa, Alooni, ne Kuli, baali ku lusozi olumu olwali okumpi ne we yali alwanira. Musa bwe yawanikanga emikono gye waggulu, Abaisiraeri baabanga ba maanyi okusinga abalabe baabwe. Naye ekiseera bwe kyatuuka Musa n’aba nga takyasobola kuwanirira mikono gye, Alooni ne Kuli baagiwanirira. Olw’okuba Yakuwa yayamba Abaisiraeri era n’abakuuma, Yoswa yasobola okuwangula Abamaleki. (Kuv. 17:8-13) Oluvannyuma Musa yazimba ekyoto mu kifo ekyo, era ekyoto ekyo n’akiyita “Yakuwa bendera yange [“Yakuwa-nisi,” NW],” ekitegeeza nti, “Yakuwa kye Kiddukiro Kyange.”Soma Okuva 17:14, 15.

YAKUWA ATUKUUMA ERI EMITEGO GYA SITAANI

18, 19. Yakuwa akuumye atya abaweereza be mu kiseera kyaffe?

18 Yakuwa akuuma abo abamwagala era abamugondera. Nga bwe yakuuma Abaisiraeri nga bali mu Lefidimu, naffe tuli bakakafu nti ajja kutukuuma ng’abalabe baffe batulumbye. Bulijjo Yakuwa abadde akuuma abantu be ng’ekibiina n’abayamba obutagwa mu mitego gy’Omulyolyomi. Ng’ekyokulabirako, emirundi mingi Yakuwa akuumye bakkiriza bannaffe nga bayigganyizibwa olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Ekyo tukirabira ku ngeri gye yakuumamu bakkiriza bannaffe mu Bugirimaani mu kiseera ky’Abanazi awamu ne bakkiriza bannaffe mu mawanga agatali gamu mu myaka gya 1930 ne 1940. Bwe tusoma ku ebyo ebikwata ku bakkiriza bannaffe n’ebyo ebifulumira mu Yearbook ebiraga engeri Katonda gy’akuumyemu abantu be nga bayigganyizibwa, kituleetera okwongera okumwesiga.Zab. 91:2.

Yakuwa asobola okukozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa ne mu mbeera enzibu (Laba akatundu 18-20)

19 Ate era Yakuwa atukuuma ng’atuwa obulagirizi okuyitira mu kibiina kye ne mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa. Lowooza ku ngeri obulagirizi Yakuwa bw’atuwa gye butuyambyemu. Ng’ensi eno egenda yeeyongera okwonooneka, Yakuwa atuyambye okulaba akabi akali mu kwekamirira omwenge, obwenzi, n’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu. Ng’ekyokulabirako, emabegako awo, yatuwa obulagirizi obusobola okutuyamba okwewala emikwano emibi ku Intaneeti. *1 Kol. 15:33.

20. Yakuwa atukuuma atya era atuwa atya obulagirizi okuyitira mu kibiina Ekikristaayo?

20 Tuyinza tutya okulaga nti tukkirizza ‘okuyigirizibwa Yakuwa’? Ekyo tukiraga nga tukolera ku bulagirizi bw’atuwa. (Is. 54:13) Yakuwa atuwa obulagirizi era n’atukuuma ng’ayitira mu bibiina byaffe. Mu bibiina byaffe, mubaamu abakadde abatuwa obulagirizi obwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. (Bag. 6:1) Yakuwa akozesa ‘ebirabo ebyo mu bantu’ okutulabirira mu by’omwoyo. (Bef. 4:7, 8) Kati olwo kiki kye tusaanidde okukola ng’abakadde batuwadde obulagirizi? Tusaanidde okukolera ku bulagirizi obwo bwe tuba ab’okufuna emikisa gya Katonda.Beb. 13:17.

21. (a) Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

21 N’olwekyo, ka tube bamalirivu okukkiriza okukulemberwa omwoyo omutukuvu era tukolere ku bulagirizi bwonna Kitaffe ow’omu ggulu bw’atuwa. Ate era tusaanidde okufuba okufumiitiriza ku ngeri Yesu gye yatambuzaamu obulamu bwe era tufube okumukoppa. Yakuwa yawa Yesu emikisa mingi olw’okuba yali muwulize okutuukira ddala okufa. (Baf. 2:5-11) Naffe bwe twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, ajja kutuwa emikisa. (Nge. 3:5, 6) Ka bulijjo tweyongere okwesiga Yakuwa, Kitaffe Omugabi era Omukuumi atageraageranyizika. Okuweereza Yakuwa nkizo ya maanyi nnyo era okumuweereza kituleetera essanyu lingi. Kati tuyinza okwebuuza, mu ngeri ki Yakuwa gy’ali Mukwano gwaffe asingayo? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 19 Obumu ku bulagirizi obwo osobola okubusanga mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2011, olupapula 3-5 wansi w’omutwe, “Intaneeti Gikozese mu Ngeri ey’Amagezi” ne mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2012, olupapula 20-29 wansi w’omutwe, “Weekuume Emitego gy’Omulyolyomi!” ne “Ba Munywevu Weewale Emitego gya Sitaani!