Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tuyinza Tutya Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu

Tuyinza Tutya Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu

“Omuntu bw’awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna.”MUB. 11:8.

1. Mikisa ki Yakuwa gy’atuwadde egituleetera essanyu?

YAKUWA ayagala tube basanyufu era atuwadde emikisa mingi egituleetera essanyu. Yakuwa ye nsibuko y’obulamu bwaffe. Okuva bwe kiri nti ye yatuleeta mu kusinza okw’amazima, tusaanidde okukozesa obulamu bwaffe okumutendereza. (Zab. 144:15; Yok. 6:44) Yakuwa akiraze nti atwagala era atuyamba okweyongera okumuweereza n’obwesigwa. (Yer. 31:3; 2 Kol. 4:16) Tuli mu lusuku olw’eby’omwoyo mwe tufunira emmere ey’eby’omwoyo, era omuli bakkiriza bannaffe abatwagala ennyo. Ate era, tulina essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.

2. Kiki ekiremesa abaweereza ba Katonda abamu okuba abasanyufu?

2 Wadde nga waliwo ebintu bingi ebituleetera essanyu, abamu ku baweereza ba Katonda abeesigwa bafuna endowooza eteri nnuŋŋamu ekyo ne kibaleetera obutaba na ssanyu. Bawulira nti si ba muwendo mu maaso ga Yakuwa era nti n’obuweereza bwabwe tabusiima. Abaweereza ba Katonda ng’abo eky’okusanyukira “emyaka emingi” balaba ng’ekitasoboka. Balaba ng’obulamu bujjudde obuyinike.Mub. 11:8.

3. Kiki ekiyinza okutuleetera okufuna endowooza eteri nnuŋŋamu?

3 Ebintu bwe bitagenda nga bwe tubadde tusuubira, bwe tulwala, oba bwe tukaddiwa, ekyo kiyinza okutuleetera okufuna endowooza eteri nnuŋŋamu. (Zab. 71:9; Nge. 13:12; Mub. 7:7) Olw’okuba omutima mulimba, gusobola okutuleetera okulowooza nti tetusiimibwa mu maaso ga Katonda, wadde ng’ekyo kiyinza obutaba kituufu. (Yer. 17:9; 1 Yok. 3:20) Era Omulyolyomi ayogera eby’obulimba ku baweereza ba Katonda. Ate era abantu abalina endowooza ng’eya Sitaani bayinza okwagala okutuleetera okukkiriza ebigambo bya Erifaazi eyalaga nti abantu si ba mugaso mu maaso ga Katonda. Endowooza ng’eyo nkyamu nnyo.Yob. 4:18, 19.

4. Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

4 Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa aba wamu n’abo ‘abatambulira mu kiwonvu ekikutte enzikiza.’ (Zab. 23:4, NW) Engeri emu Yakuwa gy’aba naffe kwe kuyitira mu Kigambo kye, Bayibuli. Bayibuli ‘kyakulwanyisa kya maanyi Katonda ky’atuwadde okusiguukulula ebintu ebyasimba amakanda,’ nga mw’otwalidde n’endowooza eteri nnuŋŋamu. (2 Kol. 10:4, 5) Kati ka tulabe engeri Bayibuli gy’esobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Ekyo kijja kutuyamba mu bulamu bwaffe era tujja kusobola n’okuzzaamu abalala amaanyi.

BAYIBULI ESOBOLA OKUKUYAMBA OKUBA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU

5. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuba n’endowooza ennuŋŋamu?

5 Omutume Pawulo yayogera ku bintu ebitali bimu ebisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Yagamba Abakristaayo mu kibiina ky’omu Kkolinso nti: “Mwekeberenga okulaba obanga muli mu kukkiriza.” (2 Kol. 13:5) “Okukkiriza” Pawulo kwe yayogerako ze njigiriza zonna ez’Ekikristaayo ezisangibwa mu Bayibuli. Ebigambo byaffe n’ebikolwa byaffe bwe biba bituukana n’ebintu ebiri mu Bayibuli, ekyo kiba kiraga nti tuli “mu kukkiriza.” Tusaanidde okukolera ku bintu byonna ebiri mu Bayibuli, mu kifo ky’okukolera ku ebyo byokka ffe bye twagala.Yak. 2:10, 11.

6. Lwaki tusaanidde okwekebera ‘okulaba obanga tuli mu kukkiriza’? (Laba ekifaananyi ku lupapula 12.)

6 Oyinza okutya okwekebera ng’olowooza nti ojja kukizuula nti toli mu kukkiriza. Kyokka tusaanidde okukijjukira nti engeri Yakuwa gy’atutunuuliramu y’esinga obukulu, era nti ebirowoozo bye bisingira wala ebirowoozo byaffe. (Is. 55:8, 9) Yakuwa bw’aba akebera abaweereza be aba tabanoonyaamu nsobi, wabula aba abanoonyaamu birungi era aba ayagala kubayamba. Bw’onookozesa Ekigambo kya Katonda okwekebera ‘okulaba obanga oli mu kukkiriza,’ ojja kutandika okwetunuulira nga Yakuwa bw’akutunuulira. Ekyo kijja kukuyamba okwewala okulowooza nti toli wa mugaso mu maaso ga Yakuwa. Ojja kuba ng’omuntu ali mu nnyumba omubadde enzikiza naye n’aggulawo eddirisa ekitangaala ne kisobola okuyingira.

7. Ebyokulabirako by’abantu abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli bituganyula bitya?

7 Engeri emu gye tuyinza okwekebera okulaba obanga tuli “mu kukkiriza” kwe kufumiitiriza ku byokulabirako by’abaweereza ba Katonda abeesigwa aboogerwako mu Bayibuli. Lowooza ku mbeera ze baayolekagana nazo n’engeri gye baawuliramu nga bali mu mbeera ezo, era lowooza ku ekyo kye wandikoze ng’oli mu mbeera ng’ezo. Kati ka tulabeyo ebyokulabirako bisatu ebisobola okutuyamba okwekebera okulaba obanga tuli “mu kukkiriza” era ebisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu.

NNAMWANDU OMWAVU

8, 9. (a) Mbeera ki nnamwandu omwavu gye yalimu? (b) Ndowooza ki eteri nnuŋŋamu nnamwandu oyo gye yali ayinza okufuna?

8 Yesu bwe yali mu yeekaalu e Yerusaalemi, yalaba nnamwandu omwavu ng’asuula obusente mu kasanduuko. Ebyo bye tusoma ku nnamwandu oyo bisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu naddala bwe tuba nga tetusobola kukola ebyo bye twandyagadde kukola mu buweereza bwaffe. (Soma Lukka 21:1-4.) Lowooza ku mbeera nnamwandu gye yalimu. Yali mu nnaku olw’okufiirwa omwami we ate nga mu kiseera kye, abakulembeze b’eddiini baali ‘banyaga ebintu bya bannamwandu,’ mu kifo ky’okubayamba. (Luk. 20:47) Nnamwandu oyo yali mwavu nnyo ne kiba nti ssente ezisingayo obungi ze yali asobola okuwaayo mu yeekaalu zeezo omukozi ze yasobolanga okufuna ng’akoze okumala eddakiika ntonotono.

9 Lowooza ku ngeri nnamwandu oyo gy’ayinza okuba nga yawuliramu ng’ayingira mu luggya lwa yeekaalu n’obusente bwe obubiri. Kyandiba nti yali alaba ng’obusente bw’agenda okuwaayo butono nnyo bw’obugeraageranya n’ekyo kye yali asobola okuwaayo ng’omwami we akyali mulamu? Kyandiba nti okulaba abo abaamuli mu maaso nga bawaayo ssente ennyingi kyamuleetera okulowooza nti obusente bwe yali agenda okuwaayo Katonda teyandibusiimye? Ka kibe ki ekyali mu birowoozo bya nnamwandu oyo, yakola kyonna ky’asobola okuwagira okusinza okw’amazima.

10. Yesu yakiraga atya nti nnamwandu omwavu yali wa muwendo nnyo mu maaso ga Katonda?

10 Yesu yakiraga nti nnamwandu oyo yali wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa era nti n’obusente bwe yawaayo bwali bwa muwendo. Yesu yagamba nti nnamwandu oyo yali “asuddemu bingi okusinga [abagagga] bonna.” Wadde ng’obusente bwe yawaayo bwali butono nnyo bw’obugeraageranya ku ssente zonna azaakuŋŋaanyizibwa, Yesu yamwogerako mu ngeri ya njawulo. Abo abaabala ssente ezaakuŋŋaanyizibwa ku olwo, bwe baalaba obusente obwo obubiri, baali tebasobola kumanya nti bwali bwa muwendo nnyo era nti n’oyo eyali abuwaddeyo yali wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa. Wadde kyali kityo, engeri Katonda gye yali atwalamu nnamwandu oyo ye yali esinga obukulu okusinga engeri abantu gye baali bamutwalamu oba engeri ye gye yali yeetwalamu. Ebyo bye tusoma ku nnamwandu oyo bisobola okutuyamba okwekebera okulaba obanga tuli mu kukkiriza.

Kiki ky’oyigira ku nnamwandu omwavu? (Laba akatundu 8-10)

11. Kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku nnamwandu omwavu?

11 Ekyo ky’osobola okukola mu buweereza bwo eri Yakuwa kisinziira nnyo ku mbeera yo. Bakkiriza bannaffe abamu ebiseera bye bamala nga babuulira amawulire amalungi biba bitono nnyo olw’okuba bakaddiye oba balwalalwala. Ekyo kyandibaleetedde okuwulira nti essaawa ze bamala nga babuulira tebasaanidde na kuziwaayo? Ne bwe kiba nti tonnakaddiwa era ng’oli mulamu bulungi, oyinza okuwulira nti essaawa z’omala ng’obuulira ntono nnyo bw’ozigeraageranya ku ssaawa zonna abaweereza ba Yakuwa mu nsi yonna ze bamala nga babuulira. Kyokka ebyo bye tusoma ku nnamwandu omwavu biraga nti Yakuwa alaba buli kimu kye tukola nga tumuweereza era nti akisiima, naddala bwe tukikola nga tuli mu mbeera enzibu. Lowooza ku ngeri gye waweerezaamu Yakuwa mu mwaka oguwedde. Kyandiba nti olinayo essaawa gye wamala ng’obuulira naye nga kyali kikwetaagisa okwefiiriza ennyo okusobola okumala essaawa eyo ng’obuulira? Bwe kiba kityo, kimanye nti Yakuwa yasiima nnyo ekyo kye wamukolera mu ssaawa eyo. Okufaananako nnamwandu omwavu, naawe bw’okola kyonna ekisoboka okuweereza Yakuwa, osaanidde okuba omukakafu nti oli “mu kukkiriza.”

‘NZIGYAKO OBULAMU BWANGE’

12-14. (a) Ndowooza ki etali nnuŋŋamu Eriya gye yalina? (b) Kiki ekyaleetera Eriya okufuna endowooza eyo?

12 Nnabbi Eriya yali mwesigwa eri Yakuwa era yalina okukkiriza okw’amaanyi. Naye lumu yawulira ng’aweddemu nnyo amaanyi n’atuuka n’okusaba Yakuwa ng’agamba nti: ‘Kimala; kaakano, ai Mukama, nzigyako obulamu bwange.’ (1 Bassek. 19:4) Abo abatabeerangako mu mbeera ng’eyo bayinza okulowooza nti ebigambo bya Eriya byali ‘tebiriimu nsa.’ (Yob. 6:3, NW) Naye ekyo si kituufu. Kijjukire nti Yakuwa teyanenya Eriya olw’okwogera bw’atyo, wabula yamuyamba.

13 Kiki ekyaleetera Eriya okuwulira bw’atyo? Waali waakayita ekiseera kitono Eriya ng’akoze ekyamagero ekyalaga nti Yakuwa ye Katonda ow’amazima. Oluvannyuma lw’ekyamagero ekyo, bannabbi ba Bbaali 450 battibwa. (1 Bassek. 18:37-40) Eriya yali asuubira nti ekyo kyandireetedde Abaisiraeri okudda mu kusinza okw’amazima, naye si bwe kityo bwe kyali. Nnaabakyala Yezeberi yatuma omubaka eri Eriya amutegeeze nti yali agenda kumutta. Okusobola okuwonya obulamu bwe, Eriya yasalawo okuddukira mu ddungu.1 Bassek. 19:2-4.

14 Bwe yali eyo yekka, Eriya yatandika okuwulira nti yali ateganidde bwereere okuweereza nga nnabbi. Yagamba Yakuwa nti: ‘Sisinga bajjajjange bulungi.’ Eriya yawulira ng’atalina mugaso, ng’alinga enfuufu n’amagumba ga bajjajjaabe abaafa. Okusinziira ku ndaba ye ey’obuntu, Eriya yalaba ng’eyali takyalina mugaso mu maaso ga Yakuwa ne mu maaso g’abantu.

15. Katonda yayamba atya Eriya okukiraba nti yali akyali wa mugaso mu maaso ge?

15 Naye Omuyinza w’Ebintu byonna yali tatunuulira Eriya nga ye bwe yali yeetunuulira. Eriya yali akyali wa mugaso mu maaso ga Yakuwa, era ekyo Yakuwa yamuyamba okukitegeera. Katonda yatuma malayika we okuzzaamu Eriya amaanyi. Era Yakuwa yawa Eriya emmere n’eby’okunywa bye yali yeetaaga okusobola okutambula olugendo olw’ennaku 40 okugenda ku Lusozi Kolebu. Ate era Eriya bwe yali alowooza nti tewali Muisiraeri mulala yenna yali asigadde nga mwesigwa, Katonda yamuyamba okutereeza endowooza ye. Okugatta ku ekyo, Katonda yakwasa Eriya obuvunaanyizibwa obulala era Eriya yabukkiriza. Yakuwa yayamba Eriya okuddamu amaanyi, bw’atyo n’asobola okweyongera okuweereza nga nnabbi.1 Bassek. 19:5-8, 15-19.

16. Yakuwa akuyambye atya?

16 Ebyo ebikwata ku Eriya bisobola okukuyamba okwekebera okulaba obanga oli mu kukkiriza era bisobola okukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Okusookera ddala, lowooza ku ngeri Yakuwa gy’akuyambyemu. Kyandiba nti waliwo omu ku baweereza be, oboolyawo omukadde mu kibiina, eyakuwa obuyambi obwali bwetaagisa mu kiseera ekituufu? (Bag. 6:2) Ebyo by’oyize mu Bayibuli, mu bitabo byaffe, ne mu nkuŋŋaana bikuyambye okukiraba nti Yakuwa akufaako nnyo? Buli lw’ofuna obuyambi okuyitira mu ngeri ezo waggulu, kijjukirenga nti obuyambi obwo buba buvudde eri Yakuwa, era teweerabiranga kumwebaza.Zab. 121:1, 2.

17. Kiki Yakuwa ky’asinga okwagala mu baweereza be?

17 Eky’okubiri, osaanidde okukijjukira nti endowooza etali nnuŋŋamu esobola okutubuzaabuza. Engeri Katonda gy’atutunuuliramu y’esinga obukulu. (Soma Abaruumi 14:4.) Yakuwa ayagala tumwemalireko era tube beesigwa gy’ali. Okuba nti tuli ba muwendo mu maaso ge tekisinziira ku bintu byenkana wa bye tukola nga tumuweereza. Era nga bwe kyali eri Eriya, oyinza okuba ng’olina ebintu bingi by’okoledde Yakuwa wadde ng’ekyo oyinza okuba nga tokiraba. Wayinza okubaawo abantu mu kibiina abakwatiddwako olw’ekyokulabirako ekirungi ky’otaddewo, oba wayinza okubaawo bangi abawulidde ku mawulire amalungi olw’okuba obadde munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira.

18. Osaanidde kutwala otya buli nkizo gy’olina mu kibiina?

18 Eky’okusatu, buli nkizo gy’olina mu kibiina gitwale ng’obukakafu obulaga nti Yakuwa ali naawe. (Yer. 20:11) Okufaananako Eriya, oyinza okuba ng’oweddemu amaanyi olw’okuba olaba ng’obuweereza bwo bulinga obutavaamu bibala oba ng’olaba ng’atasobola kutuuka ku bimu ku biruubirirwa byo eby’omwoyo. Naye osaanidde okukijjukira nti olina enkizo ey’amaanyi ey’okubuulira amawulire amalungi n’okuyitibwa Omujulirwa wa Yakuwa. Sigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa. Bw’onookola bw’otyo, nga Yesu bwe yagamba, ojja ‘kusanyukira wamu ne mukama wo.’Mat. 25:23.

“OKUSABA KW’OYO ALIKO OBUYINIKE”

19. Mbeera ki omuwandiisi wa Zabbuli 102 gye yalimu?

19 Omuwandiisi wa Zabbuli 102 yali mu nnaku ya maanyi. Yalina “obuyinike” bungi. Ayinza okuba nga yali alumizibwa nnyo mu mubiri oba mu mutima, era ng’awulira nti obulumi obwo yali takyasobola kubugumira. (Zab. 102, obugambo obuli waggulu) Ebigambo bye biraga nti ebirowoozo bye yali abimalidde ku bulumi bwe yalina n’ekiwuubaalo kye yali awulira. (Zab. 102:3, 4, 6, 11) Yali alowooza nti Yakuwa yali ayagala kumusuula.Zab. 102:10.

20. Okusaba kuyinza kutya okuyamba omuntu alina endowooza etali nnuŋŋamu?

20 Wadde kyali kityo, omuwandiisi wa Zabbuli yeeyongera okutendereza Yakuwa. (Soma Zabbuli 102:19-21.) Ebyo bye tusoma mu Zabbuli 102 biraga nti n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa basobola okufuna ebizibu ne batandika okubimalirako ebirowoozo byabwe. Omuwandiisi wa Zabbuli yali awulira ng’ali “ng’enkazaluggya etuula ku kitikkiro yokka,” nga talowooza ku kintu kirala kyonna okuggyako ebizibu bye. (Zab. 102:7) Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, tegeeza Yakuwa ebyo ebikweraliikiriza ng’omuwandiisi wa Zabbuli bwe yakola. Essaala z’osaba ng’oli mu mbeera enzibu zisobola okukuyamba okuziyiza endowooza etali nnuŋŋamu. Yakuwa ‘awulira okusaba kw’abanaku, era tagaya ssaala zaabwe.’ (Zab. 102:17) Fuba okwesiga Yakuwa.

21. Kiki ekiyinza okuyamba omuntu alina endowooza eteri nnuŋŋamu okufuna endowooza ennuŋŋamu?

21 Zabbuli 102 era eraga ekyo ekisobola okukuyamba okufuna endowooza ennuŋŋamu. Okulowooza ku nkolagana gye yalina ne Yakuwa, kyayamba omuwandiisi wa Zabbuli okweggyamu endowooza etali nnuŋŋamu. (Zab. 102:12, 27) Kyamuzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa tasobola kwabulira baweereza be nga bali mu bizibu. N’olwekyo, singa ofuna endowooza eteri nnuŋŋamu n’ekulemesa okukola ekyo kye wandyagadde okukola mu buweereza bwo, ekyo kitegeeze Katonda. Musabe akuyambe okufuna ku buweerero era ‘n’erinnya lye lisobole okutenderezebwa.’Zab. 102:20, 21.

22. Buli omu ku ffe ayinza atya okusanyusa Yakuwa?

22 Mu butuufu, Bayibuli esobola okutuyamba okwekebera okulaba obanga tuli mu kukkiriza era esobola okutuyamba okukiraba nti tuli ba muwendo mu maaso ga Yakuwa. Kyo kituufu nti mu nsi ya Sitaani eno, tetusobola kwewalira ddala ndowooza eteri nnuŋŋamu oba ebintu ebituleetera okuggwaamu amaanyi. Wadde kiri kityo, buli omu ku ffe asobola okusanyusa Yakuwa era asobola okulokolebwa singa yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero.Mat. 24:13.