Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okulabirira Abo Abakaddiye

Okulabirira Abo Abakaddiye

“Abaana abato, tulemenga okwagala mu bigambo oba mu lulimi, wabula mu bikolwa ne mu mazima.”1 YOK. 3:18.

1, 2. (a) Mbeera ki enzibu bangi gye boolekagana nayo, era bibuuzo ki bye batera okwebuuza? (b) Kiki abazadde n’abaana baabwe kye bayinza okukola okusobola okwetegekera ebiseera ebizibu?

KINAKUWAZA nnyo okulaba nga bazadde bo abaali ab’amaanyi kati tebakyalina kye basobola kwekolera. Oyinza okukitegeerako nti taata wo oba maama wo agudde n’amenyeka, oba nti afunye obuzibu ku bwongo n’abula, oba nti bamukebedde ne kizuulibwa nti alina obulwadde obw’amaanyi. Ku luuyi olulala, nnamukadde kiyinza okumuzibuwalira okukkiriza nti kati waliwo ebintu by’atakyayinza kwekolera nga bwe kyali edda. (Yob. 14:1) Kiki kye tuyinza okukola mu mbeera ng’eyo? Era abo abakaddiye bayinza kulabirirwa batya?

2 Ekitabo ekimu ekikwata ku kulabirira bannamukadde kigamba nti: “Wadde nga tekiba kyangu kwogera ku bizibu ebijjawo ng’omuntu akaddiye, abo ababyogerako era ne balowooza ku ekyo kye bayinza okukola nga bukyali ebiseera ebisinga kibanguyira okusalawo obulungi.” Tusaanidde okukijjukira nti tetusobola kwewala kukaddiwa n’ebizibu ebijjawo mu bukadde. Eyo ye nsonga lwaki kikulu nnyo okubyetegekera. Kati ka tulabe engeri ab’omu maka gye bayinza okukolera awamu okusobola okuyamba omuntu waabwe aba akaddiye.

OKWETEGEKERA “ENNAKU EMBI”

3. Kiki abaana kye bayinza okukola bwe bakiraba nti bazadde baabwe abakaddiye beetaaga okulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 25.)

3 Ekiseera kiyinza okutuuka omuntu aba akaddiye n’aba nga takyasobola kwerabirira, bw’atyo n’aba nga yeetaaga okulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo. (Soma Omubuulizi 12:1-7.) Ekyo bwe kibaawo, abaana basaanidde okutuula awamu ne bazadde baabwe ne basalawo engeri esingayo obulungi gye bayinza okubalabiriramu. Bwe batuula awamu, basaanidde okusalawo buyambi bwa ngeri ki obwetaagisa, engeri gye buyinza okuweebwamu, era n’obuvunaanyizibwa buli mwana bw’anaaba nabwo. Bonna mu maka, naddala abazadde, basaanidde okuwa endowooza yaabwe ku ekyo ekirina okukolebwa. Kyandiba nti abazadde basobola okusigala mu maka gaabwe ne balabirirwa nga bali omwo? * Oba bayinza okukubaganya ebirowoozo ku ekyo buli omu ky’asobola okukola mu kulabirira bazadde baabwe abakaddiye. (Nge. 24:6) Ng’ekyokulabirako, abaana abamu basobola okubeera awaka ne balabirira bannamukadde ate abalala bayinza okuba nga basobola kuwaayo ssente. Buli omu asaanidde okumanya obuvunaanyizibwa bw’alina okutuukiriza, naye oluvannyuma lw’ekiseera obuvunaanyizibwa obwo busobola okukyuka.

4. Kiki ekiyinza okuyamba oyo alabirira omuntu we aba akaddiye?

4 Bw’otandika okulabirira muzadde wo akaddiye, fuba okutegeera obulungi embeera gy’alimu. Bwe kiba nti alina obulwadde obw’amaanyi, fuba okuyiga ebisingawo ebikwata ku bulwadde obwo. (Nge. 1:5) Laba obanga waliwo enteekateeka yonna gavumenti gye yateekawo okulabirira bannamukadde. Gezaako okumanya obanga mu kitundu kyammwe waliwo enteekateeka yonna ey’okuyamba bannamukadde. Bw’olowooza ku nkyukakyuka ezigenda zibaawo mu bulamu bw’omuntu wo akaddiye kiyinza okukumalamu amaanyi, okukuleetera okusoberwa, oba okukuleetera ennaku ey’amaanyi. Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, yogerako ne mukwano gwo gwe weesiga. N’okusingira ddala, tegeeza Yakuwa ekyo ekikuli ku mutima. Yakuwa asobola okukuwa emirembe mu mutima n’osobola okwolekagana n’embeera eyo.Zab. 55:22; Nge. 24:10; Baf. 4:6, 7.

5. Lwaki kiba kya magezi okulowooza nga bukyali ku ngeri bannamukadde gye bayinza okulabirirwamu?

5 Abazadde abamu n’abaana baabwe bafuba okumanya nga bukyali engeri ezitali zimu abantu gye balabiriramu bazadde baabwe abakaddiye, nga muno mwe muli abazadde abakaddiye okugenda okubeera mu maka g’abaana baabwe oba okutwalibwa mu bifo abakadde gye balabirirwa. Okulowooza ku bintu ng’ebyo nga bukyali kisobola okuyamba abazadde n’abaana baabwe okwetegekera “okutegana n’okunakuwala” ebibaawo mu myaka egy’obukadde. (Zab. 90:10) Abantu ababa tebakoze nteekateeka nga bukyali, embeera enzibu bw’ejjawo beesanga nga balina okubaako kye basalawo mu bwangu, ekintu ekiyinza okubaleetera obutasalawo mu ngeri ey’amagezi. Okusalawo mu ngeri eyo era kiyinza okuleetera ab’omu maka okunyigirizibwa era bayinza obutakkiriziganya ku ekyo ekiyinza okukolebwa. Naye singa ab’omu maka basalawo nga bukyali kibanguyira okumanya eky’okukola n’okukyusakyusaamu we kiba kyetaagisizza.Nge. 20:18.

Abaana basaanidde okutuula n’omuzadde ne bateesa ku ngeri gye bayinza okumulabiriramu (Laba akatundu 6-8)

6. Abaana bwe boogerako ne bazadde baabwe ku ngeri gye banaabalabiriramu nga bakaddiye kivaamu miganyulo ki?

6 Abaana kiyinza obutabanguyira kwogera ne bazadde baabwe ku nkyukakyuka eziyinza okubaawo nga bakaddiye. Naye bangi bakizudde nti okwogerako nabo ku nsonga eyo kivaamu emiganyulo mingi. Lwaki? Kubanga embeera enzibu bw’eba tenajja, kiba kyangu abaana n’abazadde okuteesa ku ekyo ekiyinza okukolebwa ng’embeera eyo ezze. Ate era ab’omu maka bwe bateesa nga bakkakkamu bulungi, kibayamba okunyweza enkolagana yaabwe. Abazadde bayinza okwagala okusigala nga beerabirira okutuusa embeera lw’eneeba nga tekyabasobozesa kwerabirira. Wadde kiri kityo, bwe boogerako n’abaana baabwe ku ngeri gye bandyagadde okulabirirwamu mu biseera eby’omu maaso, ekyo kisobola okuyamba abaana baabwe nga basalawo ku ngeri y’okubalabiriramu.

7, 8. Bintu ki abaana bye bayinza okuteesaako ne bazadde baabwe, era lwaki?

7 Abazadde, bwe muba muteesa n’abaana bammwe, mubabuulire ebyo bye mwagala, wa we muyimiridde mu by’ensimbi, n’engeri gye mwandyagadde okulabirirwamu. Ekyo kijja kubayamba okusalawo obulungi singa ekiseera kituuka ne muba nga temukyasobola kwesalirawo. Tewali kubuusabuusa nti abaana bammwe bajja kufuba okukola ebyo bye mwagala. (Bef. 6:2-4) Kyandiba nti musuubira okugenda okubeera mu maka g’abaana bammwe oba okubeera awantu awalala wonna? Kikulu okukijjukira nti abaana bammwe ebintu bayinza okuba nga babiraba mu ngeri ya njawulo, era nga kyetaagisa ekiseera okusobola okukkaanya nabo.

8 Okukola enteekateeka nga bukyali n’okuwuliziganya obulungi kituyamba okwewala ebizibu bingi. (Nge. 15:22) Buulira abaana bo bujjanjabi bwa ngeri ki bwe wandyagadde okufuna. Bwe muba muteesa ku nsonga eyo, kikulu okwogera ku nsonga ezoogerwako ku kaadi y’omusaayi Abajulirwa ba Yakuwa gye bakozesa. Buli muntu wa ddembe okumanya obujjanjabi obuba bugenda okumuweebwa era wa ddembe okubukkiriza oba okubugaana. Ekiwandiiko ekikwata ku bujjanjabi kiyamba abasawo okumanya bujjanjabi bwa ngeri ki omuntu bw’ayagala. Kiba kikulu okulonda omuntu gwe mwesiga n’akwasibwa obuvunaanyizibwa okulaba nti ebyo nnamukadde by’ayagala ebikwata ku bujjanjabi biteekebwa mu nkola. Bwe kiba kyetaagisa, nnamukadde, oyo akwasiddwa obuvunaanyizibwa okulaba nti nnamukadde aweebwa obujjanjabi bw’ayagala, n’abo abamulabirira basaanidde okuba n’ebiwandiiko ebikwata ku bujjanjabi nnamukadde bw’ayagala okuweebwa. Bannamukadde abamu, ebiwandiiko ebikwata ku bujjanjabi babitereka we batereka ebiwandiiko byabwe ebikulu, gamba ng’ebiraamo ne yinsuwa.

ENKYUKAKYUKA EZIJJAWO

9, 10. Ddi abazadde lwe beetaaga abaana baabwe okubalabirira mu ngeri ey’enjawulo?

9 Kiba kikulu abaana okulekera bazadde baabwe eddembe okwekolera ebintu ebimu bwe kiba nga kisoboka. Bayinza okuba nga bakyasobola okwefumbira, okulongoosa awaka, okwetwala mu ddwaliro, n’okukola ebintu ebirala. Kiyinza obuteetaagisa baana kukolera bazadde baabwe buli kimu bwe kiba nti bakyalina obusobozi okubaako bye beekolera. Naye ekiseera bwe kigenda kiyitawo, abazadde bayinza okuba nga tebakyasobola bulungi kutambula, kwegulira bintu, oba nga beerabiralabira, ne kiba nti abaana baabwe kibeetaagisa okubaako kye bakolawo okubayamba.

10 Abazadde bwe bagenda beeyongera okukaddiwa, bayinza okwennyamira, okuziba amaaso n’amatu, okutandika okwerabiralabira, n’obutasobola kwetwala bokka mu kabuyonjo. Mu mbeera ng’eyo kiba kirungi okulaba omusawo amangu ddala nga bwe kisoboka, era abaana baabwe be basaanidde okuwoma omutwe mu kukola enteekateeka eyo n’okubayamba mu bintu ebirala. Okusobola okukakasa nti abazadde balabirirwa bulungi, kiyinza okwetaagisa abaana baabwe okubayamba mu ngeri ezitali zimu gamba ng’okujjuza empapula zaabwe n’okubatwala okulaba abasawo.Nge. 3:27.

11. Kiki ekiyinza okuyamba abazadde abakaddiye okutuukana n’enkyukakyuka eziba zikoleddwa okubayamba?

11 Bwe kiba nti embeera ya bazadde bammwe tekyayinza kutereera, kiyinza okwetaagisa okukola enkyukakyuka mu ngeri gye balabirirwamu oba mu maka mwe babeera. Enkyukakyuka bwe zitaba za maanyi, abazadde nabo kibanguyira okutuukana nazo. Bwe kiba nti abaana babeera wala okuva bazadde baabwe we babeera, kyandiba nti basobola okufunayo Omujulirwa oba muliraanwa asobola okugendangayo buli kiseera okulaba embeera gye balimu oluvannyuma n’ategeeza omu ku baana be ebibakwatako? Ng’oggyeko okubategekera eby’okulya n’okubalongooseza awaka, waliwo ebirala bye beetaaga okubayambako? Waliwo enkyukakyuka zonna eziyinza okukolebwa awaka we babeera ne kibasobozesa okwekolera ebintu ebimu ebitonotono gamba ng’okunaaba? Kiyinza n’okuba nti abazadde abakaddiye kye beetaaga kyokka kwe kubafunirayo omukozi w’awaka. Kyokka bwe kiba nga tekiibe kya magezi okubalabirira nga bali mu maka gaabwe, kiba kirungi ne baggibwayo. Ka kibe ki kye muba musazeewo okukola, kiba kirungi okumanya nteekateeka ki eziri mu kitundu kyammwe ez’okuyamba bannamukadde. *Soma Engero 21:5.

EKYO ABAMU KYE BAKOZE

12, 13. Kiki abaana abamu ababeera ewala okuva awali bazadde baabwe kye bakoze okusobola okubayamba?

12 Abaana abaagala bazadde baabwe bafaayo okulaba nti bazadde baabwe bali bulungi. Bwe bakimanya nti bazadde baabwe balabirirwa bulungi, kibasanyusa nnyo. Naye olw’embeera eziteebeereka, abaana abamu tebabeera kumpi ne bazadde baabwe. Abamu bafunayo ekiseera ne bagenda okulaba ku bazadde baabwe era ne babakolera ne ku mirimu egimu gye batakyasobola kwekolera. Era abaana bayinza okukiraga nti bafaayo ku bazadde baabwe nga babakubira ku ssimu, nga babawandiikira amabaluwa, oba nga babasindikira obubaka ku ssimu.Nge. 23:24, 25.

13 Ka mube mu mbeera ki, kikulu okumanya engeri esingayo obulungi ey’okulabiriramu bazadde bammwe abakaddiye. Bwe muba nga mubeera wala okuva bazadde bammwe Abajulirwa ba Yakuwa we babeera, musobola okwogerako n’abakadde mu kibiina kyabwe babawe ku magezi. N’ekisinga obukulu, musabe Yakuwa ayambe bazadde bammwe. (Soma Engero 11:14.) Ne bwe kiba nti bazadde bammwe si Bajulirwa ba Yakuwa, kikulu okukijjukira nti Bayibuli egamba nti: “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa.” (Kuv. 20:12; Nge. 23:22) Kya lwatu nti abantu basalawo mu ngeri za njawulo. Abamu basalawo okutwala bazadde baabwe abakaddiye okubeera mu maka gaabwe oba okubasembeza okumpi ne we babeera. Naye ekyo oluusi kiyinza obutasoboka. Abazadde abamu tebaagala kubeera mu maka g’abaana baabwe abakuze; baagala kubeera bokka era tebaagala kukaluubiriza nnyo baana baabwe. Bannamukadde abamu balina obusobozi okufuna abantu abayinza okubalabirira nga bali mu maka gaabwe era bayinza okuba ng’ekyo kye baagala.Mub. 7:12.

14. Buzibu ki abo abasinga okwetikka obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abazadde bwe bayinza okufuna?

14 Ebiseera ebisinga obungi abaana ababeera okumpi ne bazadde baabwe abakaddiye be basinga okwetikka obuvunaanyizibwa obw’okubalabirira. Kyokka, abo abasinga okwetikka obuvunaanyizibwa obw’okulabirira bazadde baabwe abakaddiye tebalina kugwa lubege ne batuuka n’okulagajjalira ab’omu maka gaabwe. Kikulu okukijjukira nti tetusobola kukolera bazadde baffe buli kimu. Ate era embeera z’oyo alabirira bazadde be ziyinza okukyuka ne kiba nti kyetaagisa omuntu omulala okumuyambako. Kyandiba nti omu ku baana yeetisse obuvunaanyizibwa bungi nnyo? Kyandiba nti omulimu gw’okulabirira abazadde, abaana bayinza okugukola mu mpalo?

15. Kiki ekisobola okuyamba oyo alabirira nnamukadde buli kiseera obutakoowa nnyo?

15 Omuzadde akaddiye bw’aba yeetaaga okulabirirwa buli kiseera, oyo amubeerako buli kiseera asobola okukoowa ennyo. (Mub. 4:6) Abaana abaagala bazadde baabwe bafuba okukola kyonna ekisoboka okubalabirira, naye oluusi omulimu gw’okubalabirira guyinza okubazitoowerera. Abo abeesanga mu mbeera ng’eyo kiba kirungi ne boogerako n’abalala basobole okubayambako. Singa abalala bayamba ku oyo aba alabirira nnamukadde buli kiseera, kisobola okumuyamba obutakoowa nnyo.

16, 17. Buzibu ki abaana bwe bayinza okufuna nga balabirira bazadde baabwe abakaddiye, era kiki ekiyinza okubayamba mu mbeera eyo? (Laba akasanduuko “Kikulu Okulabirira Bannamukadde.”)

16 Kinakuwaza nnyo okulaba nga bazadde baffe babonaabona olw’ebizibu ebijjawo mu bukadde. Emirundi mingi abo ababalabirira batera okwennyamira, okweraliikirira, n’okwetamwa. Oluusi abazadde abakaddiye bayinza okwogera ebintu ebiraga nti tebasiima ekyo kye babakolera. Singa ekyo kibaawo, tetusaanidde kunyiiga. Omukugu omu mu mbeera z’abantu yagamba nti: ‘Bwe wabaawo ekintu ekiba kikunyiizizza oba ekikweraliikiriza, kiba kirungi n’obaako gw’okibuulirako.’ Oyinza okukibuulirako mukyala wo oba omwami wo, omu ku b’eŋŋanda zo, oba mukwano gwo gwe weesiga. Ekyo kiyinza okukuyamba okusigala ng’olina endowooza ennuŋŋamu mu mbeera enzibu.

17 Ekiseera kiyinza okutuuka abaana ne bakiraba nti tebakyasobola kulabirira bazadde baabwe abakaddiye nga bali waka. Bayinza okukiraba nti kyetaagisa okubatwala mu bifo bannamukadde gye balabirirwa. Mwannyinaffe omu eyagendanga kumpi buli lunaku okulaba maama we eyali abeera mu kifo bannamukadde gye balabirirwa yagamba nti: “Twali tetukyasobola kulabirira maama buli kiseera nga bwe kyali kyetaagisa. Tekyatwanguyira kusalawo kumutwala mu kifo bannamukadde gye balabirirwa. Kyokka twakiraba ng’ekyo kye kintu kye twali tusaanidde okukola mu myezi egyasembayo nga maama tannafa, era naye yakikkiriza.”

18. Kiki abo abalabirira bazadde baabwe abakaddiye kye basaanidde okujjukira?

18 Si kyangu kulabirira abazadde abakaddiye. Amagezi agasobola okuyamba abamu mu kulabirira bannamukadde gayinza obutayamba balala. Wadde kiri kityo, singa mufuba okukola enteekateeka nga bukyali, ne mukolaganira wamu, ne muba n’empuliziganya ennungi, era ne mufuba okusaba Yakuwa abayambe, musobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwammwe obw’okulabirira bazadde bammwe ababa bakaddiye. Bwe mukola bwe mutyo, kibaleetera essanyu okukimanya nti mukoze kyonna ekisoboka okubalabirira. (Soma 1 Abakkolinso 13:4-8.) N’ekisinga obukulu, mujja kufuna emirembe mu mutima era ne Yakuwa ajja kubawa emikisa olw’okuba mufubye okussa ekitiibwa mu bazadde bammwe.Baf. 4:7.

^ lup. 3 Mu nsi ezimu, kya bulijjo abazadde abakaddiye okugenda ne babeera mu maka g’abaana baabwe abakuze, era ekyo kiyinza okuba nga kye kiyinza okubayamba okulabirirwa obulungi.

^ lup. 11 Bwe kiba nti bazadde bammwe abakaddiye babeera bokka awaka, mukakase nti abo ababalabirira bantu beesigwa era nti balina ebisumuluzo by’ennyumba kibayambe okubadduukirira nga beetaaga obuyambi.