Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekigambo Kyo Kiba—‘Yee ate Oluvannyuma ne Kiba Nedda’?

Ekigambo Kyo Kiba—‘Yee ate Oluvannyuma ne Kiba Nedda’?

Lowooza ku mbeera eno: Omukadde omu ali ku Kakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro akoze enteekateeka okubuulirako n’ow’oluganda omuto ku Ssande ku makya. Ku Ssande ku makya omukadde oyo afuna essimu nga waliwo ow’oluganda amutegeeza nti mukyala we agudde ku kabenje era ng’asaba omukadde oyo agende amuyambe okufuna omusawo anajjanjaba mukyala we nga tateekeddwako musaayi. Omukadde asazaamu enteekateeka ey’okubuulirako n’ow’oluganda omuto asobole okudduukirira mwannyinaffe oyo agudde ku kabenje.

Ate lowooza ne ku mbeera eno: Ow’oluganda omu ne mukyala we bayita omuzadde omu ali obwannamunigina awamu n’abaana be ababiri okugenda okubakyalirako. Omuzadde oyo bw’ategeezaako abaana be, basanyuka nnyo. Bonna beesunga nnyo okugenda okukyala. Kyokka ng’ebula olunaku lumu, ow’oluganda oyo ne mukyala we bategeeza omuzadde oyo nti waliwo ekintu ekiguddewo ne kiba nti tebajja kusobola kubakyaza. Kyokka oluvannyuma omuzadde oyo ategeera ensonga lwaki ow’oluganda oyo ne mukyala we baasazizzaamu enteekateeka eyo. Oluvannyuma lw’okuyita omuzadde oyo n’abaana be, ow’oluganda oyo ne mukyala we nabo balina mikwano gyabwe abaabayita okubakyalira ku lunaku lwe lumu era ne bakkiriza.

Abakristaayo tukimanyi nti kikulu nnyo okutuukiriza ekyo kye tuba tusuubizza. Ekigambo kyaffe tekisaanidde kuba ‘Yee ate oluvannyuma ne kiba Nedda.’ (2 Kol. 1:18) Kyokka nga bwe tulabye mu byokulabirako ebyo waggulu, embeera zaawukana. Oluusi tuyinza okukiraba nga kyetaagisa okusazaamu enteekateeka gye tuba tukoze olw’embeera eziteebeereka. Omutume Pawulo naye yeesangako mu mbeera ng’eyo.

PAWULO BAAMUTWALA NG’OMUNTU ATAALI MWESIGWA

Mu mwaka gwa 55 E.E., Pawulo yatuukako mu kibuga Efeso bwe yali ku lugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu. Yali asuubira okusomoka Ennyanja Aegean agende e Kkolinso era eyo gye yandivudde agende e Makedoni. Bwe yandibadde addayo e Yerusaalemi, yali asuubira okukyalira ekibiina ky’e Kkolinso omulundi ogw’okubiri asobole okutwala ekirabo kyabwe eri ab’oluganda ab’omu Yerusaalemi. (1 Kol. 16:3) Ekyo tukitegeerera ku ebyo bye tusoma mu 2 Abakkolinso 1:15, 16, awagamba nti: “Nga nnina obugumu buno, nnali njagala okujja gye muli musobole okusanyuka omulundi ogw’okubiri, era oluvannyuma lw’okubeerako eyo nammwe katono ŋŋende e Makedoni, oluvannyuma nkomewo gye muli nga nva e Makedoni era mumperekereko katono nga ŋŋenda mu Buyudaaya.”

Kirabika emabegako Pawulo yali awandiikidde ab’oluganda mu Kkolinso ebbaluwa n’abategeeza ku nteekateeka ey’okubakyalira. (1 Kol. 5:9) Kyokka bwe waali waakayita akaseera katono oluvannyuma lw’okubawandiikira ebbaluwa eyo, ab’ennyumba ya Kuloowe baamutegeeza nti mu kibiina mwali muzzeemu enjawukana ez’amaanyi. (1 Kol. 1:10, 11) Pawulo yakyusa mu nteekateeka ye ey’okukyalira ab’oluganda mu Kkolinso naye n’abawandiikira ebbaluwa kati eyitibwa 1 Abakkolinso. Mu bbaluwa eyo Pawulo yababuulirira era n’abawabula. Ate era yabategeeza nti yali akyusizza mu nteekateeka ye, nga kati yali agenda kusooka kugenda Makedoni oluvannyuma agende e Kkolinso.1 Kol. 16:5, 6. *

Kirabika nti ab’oluganda mu Kkolinso we baafunira ebbaluwa eyo, abo abaali beetwala okuba ‘abatume baabwe abakulu’ baali banenya Pawulo nga bagamba nti si mwesigwa olw’okuba yali tatuukirizza ekyo kye yali asuubizza. Bwe yali yeewozaako, Pawulo yagamba nti: “Bwe nnalina ekiruubirirwa ekyo, nneeyisa mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa? Oba ebyo bye nteekateeka okukola, mbiteekateeka nga nsinziira ku mubiri, ne kiba nti ŋŋamba nti “Yee,” ate oluvannyuma ne ŋŋamba nti “Nedda?”2 Kol. 1:17; 11:5.

Oyinza okuba nga weebuuza, Omutume Pawulo okukyusa mu nteekateeka ye kiraga nti yali ‘yeeyisizza mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa’? Nedda! Ekigambo ekyavvuunulwa “etali ya buvunaanyizibwa” kisobola okutegeeza obutaba mwesigwa, era kisobola okukozesebwa ku muntu atatuukiriza ebyo by’aba asuubizza. Pawulo yabuuza Abakristaayo ab’omu Kkolinso nti: “Ebyo bye nteekateeka okukola, mbiteekateeka nga nsinziira ku mubiri?” Ekibuuzo ekyo kyandibayambye okukiraba nti Pawulo okusalawo okukyusa mu nteekateeka ye tekitegeeza nti yali teyeesigika.

Pawulo era yabagamba nti: “Nga Katonda bw’ali omwesigwa, bye twabagamba tebyali nti Yee ate oluvannyuma ne biba nti Nedda.” (2 Kol. 1:18) Mu butuufu, Pawulo yasalawo okukyusa mu nteekateeka ye ey’okukyalira ab’oluganda mu Kkolinso olw’okuba yali abaagala nnyo. Okusinziira ku 2 Abakkolinso 1:23, Pawulo ­yakyusa mu nteekateeka ye ‘olw’okuba yali tayagala beeyongere kunakuwala.’ Yabawa akakisa okukolera ku ebyo bye yali abagambye nga tannaba kubakyalira. Era ekyo kyennyini kye baakola. Bwe yali mu Makedoni, Tito yamutegeeza nti ebbaluwa Pawulo gye yali awandiise yali ereetedde ab’oluganda mu Kkolinso okwenenya, era ekyo kyasanyusa nnyo Pawulo.2 Kol. 6:11; 7:5-7.

KATONDA AGAMBIBWA NTI “AMIINA”

Abatume abaali beetwala okuba abakulu bwe baagamba nti Pawulo yali teyeesigika, baali ng’abagamba nti ne bye yali abuulira byali tebyesigika. Kyokka, Pawulo yabajjukiza nti ye yabayamba okumanya ebikwata ku Yesu Kristo. Yabagamba nti: “Omwana wa Katonda, Kristo Yesu, eyabuulirwa mu mmwe okuyitira mu nze ne Siruvano ne Timoseewo, teyafuuka Yee ate oluvannyuma n’aba Nedda, naye mu oyo, Yee afuuse Yee.” (2 Kol. 1:19) Yesu Kristo, oyo Pawulo gwe yali akoppa, yali mwesigwa kubanga mu buweereza bwe bwonna, yayogeranga amazima. (Yok. 14:6; 18:37) Bwe kiba nti Yesu bye yabuuliranga byali bya mazima era nga byesigika, ate ng’ebintu ebyo byennyini ne Pawulo bye yabuuliranga, ekyo kitegeeza nti Pawulo bye yabuuliranga byali byesigika.

Kya lwatu nti Yakuwa ye “Katonda ow’amazima.” (Zab. 31:5) Ekyo tukirabira mu bigambo bya Pawulo bino: “Ebisuubizo bya Katonda ka bibe bingi kwenkana wa, bifuuse Yee okuyitira mu oyo,” kwe kugamba, okuyitira mu Kristo. Olw’okuba bwe yali ku nsi Yesu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa, tuli bakakafu nti ebisuubizo bya Katonda byonna bijja kutuukirira. Pawulo yagattako nti: “N’olwekyo, okuyitira mu [Yesu], Katonda agambibwa nti ‘Amiina,’ ekimuleetera okugulumizibwa okuyitira mu ffe.” (2 Kol. 1:20) Kitegeeza ki okuba nti Yesu ye “Amiina”? Kitegeeza nti Yesu bwe bukakafu obulaga nti ebisuubizo bya Yakuwa Katonda byonna bijja kutuukirira.

N’olwekyo, okufaananako Yesu Kristo ne Yakuwa Katonda, Pawulo yayogeranga mazima. (2 Kol. 1:19) Olw’okuba yali mwesigwa, yali tasuubiza bintu ‘ng’asinziira ku mubiri.’ (2 Kol. 1:17) Mu butuufu, Pawulo ‘yatambuliranga mu mwoyo.’ (Bag. 5:16) Ebintu bye yakolanga byalaga nti yali ayagaliza bakkiriza banne ebirungi. Bwe yagambanga nti Yee yabanga ategeeza nti Yee!

BW’OGAMBA NTI YEE OBA OTEGEEZA NTI YEE?

Leero abantu abasinga obungi beekwasa obusongasonga ne batatuukiriza ebyo bye baba basuubizza. Ng’ekyokulabirako, bwe baba bakola bizineesi ekigambo kyabwe “yee” tekitera kubeera “yee,” ne bwe kiba nti balina endagaano gye bataddeko omukono. Ate era bangi tebakitwala nti obufumbo bulina kuba bwa lubeerera. Omuwendo gw’abantu abagattululwa mu bufumbo gugenda gweyongera buli lukya, era ekyo kiraga nti obufumbo tebabutwala ng’ekintu ekikulu era nti basobola okubuvaamu wonna we baba baagalidde.2 Tim. 3:1, 2.

Ate ggwe? Ofuba okulaba nti ekigambo kyo Yee kiba Yee? Nga bwe kiragibwa ku ntandikwa y’ekitundu kino, oluusi wayinza okubaawo embeera eziteebeereka eziyinza okukulemesa okutuukiriza ekyo ky’oba osuubizza, naye ekyo tekitegeeza nti toli mwesigwa. Naye ng’Omukristaayo ow’amazima, bwe wabaawo ekintu kyonna ky’oba osuubizza, osaanidde okukola kyonna ekisoboka okulaba nti okituukiriza. (Zab. 15:4; Mat. 5:37) Bw’okola bw’otyo, oba okiraga nti oli mwesigwa era nti ne by’oyogera bya mazima. (Bef. 4:15, 25; Yak. 5:12) Abantu bwe bakiraba nti oli mwesigwa mu bintu byonna, ekyo kisobola okubasikiriza okukuwuliriza ng’obabuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, fuba okulaba nti ekigambo kyo Yee kiba Yee!

^ lup. 7 Nga wayise akaseera katono oluvannyuma lw’okuwandiika 1 Abakkolinso, Pawulo yayitira e Tulowa n’agenda e Makedoni gye yawandiikira 2 Abakkolinso. (2 Kol. 2:12; 7:5) Oluvannyuma yakyalira ekibiina ky’e Kkolinso.