Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tewali n’Omu Asobola Kuba Muddu wa Baami Babiri

Tewali n’Omu Asobola Kuba Muddu wa Baami Babiri

“Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri. . . . Temusobola kubeera baddu ba Katonda na ba bya Bugagga.”MAT. 6:24.

1-3. (a) Buzibu ki ebw’eby’enfuna amaka mangi leero bwe galina, era abamu basazeewo kubugonjoola batya? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Bwe kituuka ku kukuza abaana, kiki ekitera okweraliikiriza abazadde ababa balowooza ku ky’okugenda okukolera mu nsi endala?

MARILYN agamba nti: “Omwami wange, James, yakolanga nnyo, naye nga ssente z’afuna ziggweera ku byetaago byaffe ebya buli lunaku. * Nnali njagala muwewuleko ku buvunaanyizibwa bwe yali yeetisse era nga njagala ne mutabani waffe, Jimmy, asobole okufuna ku bintu ebirungi nga banne ku ssomero bye baalina.” Marilyn era yali ayagala okuyamba ku b’eŋŋanda ze era n’okubaako ssente z’atereka ez’okubayamba mu biseera eby’omu maaso. Mikwano gya Marilyn bangi baali baagenda dda okukolera mu nsi endala basobole okufuna ssente ennyingi. Naye Marilyn bwe yalowooza ku ky’okugenda okukolera mu nsi endala, yafunamu enkenyera. Lwaki?

2 Marilyn yali tayagala kulekawo mwami we ne mutabani we. Baali basinziza wamu Yakuwa ng’amaka era ekyo kyabasanyusanga nnyo. Wadde kyali kityo, yatandika okulowooza ku abo abaali bagenze okukolera mu nsi endala naye ng’ab’omu maka gaabwe balabika ng’abali obulungi mu by’omwoyo. Ekyebuuzibwa kiri nti bwe yandibadde ebweru yandisobodde atya okukuza omwana we n’okumuyamba okuweereza Yakuwa?Bef. 6:4.

3 Marilyn yasaba abalala bamuwe ku magezi. Omwami we yamugamba nti yali tayagala agende bweru, naye era n’amugamba nti yali wa ddembe okwesalirawo ky’ayagala okukola. Abakadde mu kibiina n’ab’oluganda abalala baamukubiriza obutagenda, naye waliwo bannyinaffe abamu abaamukubiriza okugenda. Baamugamba nti: “Bw’oba nga ddala oyagala ab’omu maka go, genda ebweru okole. Ojja kusobola n’okweyongera okuweereza Yakuwa ng’oli eyo.” Kya ddaaki, Marilyn yasiibula omwami we ne mutabani we n’agenda ebweru. Yabagamba nti: “Sigenda kumalayo bbanga ddene.”

OBUVUNAANYIZIBWA MU MAKA N’EMISINGI GYA BAYIBULI

4. Lwaki abamu basalawo okugenda okukolera mu nsi endala, era baani be batera okulekera abaana baabwe?

4 Yakuwa tayagala baweereza be kufa njala. Okuva edda n’edda wabaddengawo abantu ba Yakuwa abava mu bitundu ebimu ne badda mu birala okusobola okufuna ebyetaago eby’obulamu. (Zab. 37:25; Nge. 30:8) Okusobola okwewala okufa enjala, Yakobo yatuma batabani be e Misiri okugula emmere. * (Lub. 42:1, 2) Kyokka leero, bangi ku abo abagenda okukolera mu nsi endala tekiba nti baba babuliddwa eky’okulya. Kati olwo lwaki abantu ng’abo basalawo okulekawo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu bitundu ebirala oba mu nsi endala? Bangi ku bo baba mu mabanja. Ate abalala baba baagala okufuna ku ssente ezisingawo. Ebiseera ebisinga abo abagenda ebweru, abaana baabwe abakyali abato babalekera munnaabwe mu bufumbo, omu ku baana baabwe abakulu, bajjajjaabwe, ab’eŋŋanda, oba ab’emikwano. Wadde kiyinza okubanakuwaza okulekawo munnaabwe mu bufumbo oba abaana baabwe, bangi ku abo abagenda okukolera mu nsi endala bawulira nga tebalina kirala kya kukola.

5, 6. (a) Kiki ekisobola okuyamba omuntu okufuna essanyu n’obukuumi ebya nnamaddala? (b) Bintu ki Yesu bye yagamba abagoberezi be okusaba? (c) Mikisa ki Yakuwa gy’atuwa?

5 Mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi, waaliwo abantu bangi abaavu era abantu abo bayinza okuba nga baali balowooza nti omuntu okusobola okufuna essanyu n’obukuumi ebya nnamaddala aba alina okuba ne ssente nnyingi. (Mak. 14:7) Naye Yesu yali tayagala bantu basse bwesige bwabwe mu bintu eby’akaseera obuseera. Yali ayagala obwesige bwabwe bwonna babusse mu Yakuwa, oyo agaba emikisa egy’oluberera. Mu kubuulira kwe okw’oku lusozi, Yesu yakiraga nti essanyu n’obukuumi ebya nnamaddala tebisinziira ku bya bugagga omuntu by’aba nabyo wabula bisinziira ku nkolagana omuntu gy’aba nayo ne Yakuwa.

6 Mu ssaala gye yawa ng’ekyokulabirako, Yesu teyatugamba kusaba Katonda kutuwa bya bugagga, wabula yatugamba okumusaba atuwe “emmere yaffe eya leero,” kwe kugamba, ebyetaago byaffe ebya buli lunaku. Yagamba abo abaali bamuwuliriza nti: “Mulekere awo okweterekera eby’obugagga ku nsi . . . Wabula mweterekere eby’obugagga mu ggulu.” (Mat. 6:9, 11, 19, 20) Tuli bakakafu nti bwe tukolera ku bigambo ebyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa nga bwe yasuubiza. Tujja kusiimibwa mu maaso ge era ajja kukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. Mu butuufu, engeri yokka gye tusobola okufuna essanyu n’obukuumi ebya nnamaddala kwe kwesiga Yakuwa mu kifo ky’okwesiga eby’obugagga.Soma Matayo 6:24, 25, 31-34.

7. (a) Obuvunaanyizibwa obw’okukuza abaana Yakuwa yabukwasa ani? (b) Lwaki abazadde bombi basaanidde okukuliza awamu abaana baabwe?

7 Bwe tuba ab’okukulembeza obutuukirivu bwa Katonda tulina okutunuulira obuvunaanyizibwa bwaffe mu maka nga Katonda bw’abutunuulira. Mu Mateeka ga Musa mwalimu omusingi guno ogukwata ne ku Bakristaayo: Abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okuweereza Yakuwa. (Soma Ekyamateeka 6:6, 7.) Obuvunaanyizibwa obwo Yakuwa yabukwasa bazadde, so si bajjajja oba omuntu omulala yenna. Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Mwana wange, wulira okuyigirizanga kwa kitaawo, so tova mu teeka lya nnyoko.” (Nge. 1:8) Yakuwa ayagala abazadde bombi bakulize wamu abaana baabwe basobole okubatendeka n’okubayigiriza amateeka ge. (Nge. 31:10, 27, 28) Abaana bwe bawulira ebyo bazadde baabwe bye boogera ku Yakuwa era ne balaba n’engeri gye bamuweerezaamu buli lunaku, ekyo kisobola okubakubiriza nabo okukola kye kimu.

EBIZIBU EBITASUUBIRWA

8, 9. (a) Nkyukakyuka ki ezitera okubaawo ng’omuzadde omu aleseewo ab’omu maka ge? (b) Buzibu ki obuyinza okujjawo singa abazadde baba tebabeera wamu n’abaana baabwe?

8 Bangi ku abo abasalawo okugenda okukolera mu nsi endala batera okulowooza ku bizibu ebiyinza okuvaamu, naye tebasobola kumanya bizibu byonna biyinza kuvaamu. (Nge. 22:3) * Amangu ddala nga Marilyn yaakatuuka mu nsi endala, yatandika okuwulira ekiwuubaalo. Omwami we n’omwana we nabo bakosebwa nnyo. Mutabani we Jimmy yamubuuzanga nti, “Maama, lwaki wandekawo?” Marilyn yali alowooza nti yali ajja kumalayo emyezi mitono naye yeesanga amazeeyo emyaka mingi. Ate era ekyo kyaleetawo n’obuzibu obulala. Jimmy yatandika okukyuka n’aba nga takyayagala kwogera naye. Marilyn agamba nti kyamuluma nnyo okukiraba nti mutabani we yali takyamwagala.

9 Abaana n’abazadde bwe baba tebabeera wamu, okwagala buli omu kw’alina eri munne kusobola okukendeera era n’empisa z’abaana ziyinza okwonooneka. * Ate singa abaana baba bakyali bato nnyo ne bamala ebbanga ddene nga tebali wamu na bazadde baabwe, bayisibwa bubi nnyo. Marilyn yagambanga Jimmy nti yali agenze kukolerera ye. Naye Jimmy ye yali awulira nti maama we yali amwabulidde. Mu kusooka Jimmy yali tayagala maama we amulekewo. Kyokka ekiseera kyatuuka ne kiba nti maama we ne bwe yabanga akomyewoko awaka, Jimmy yabanga ayagala addeyo. Okufaananako abaana bangi abalekebwawo bazadde baabwe, Jimmy yali awulira nti tekimukakatako kwagala maama we na kumugondera.Soma Engero 29:15.

Tosobola kugwa mwana wo mu kifuba ng’oyitira ku Intaneeti (Laba akatundu 10)

10. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa omuzadde awa buwi omwana we ebirabo mu kifo ky’okubeerawo okumukuza? (b) Omuzadde bw’aba tabeera wamu na baana be, kiki ky’atasobola kukola?

10 Wadde nga Marilyn yaweerezanga Jimmy ssente n’ebirabo ng’ayagala okumusanyusa, yakizuula nti ekyo kyali tekimuyamba kuba na nkolagana nnungi ne mutabani we. Ate era ekyo kyali kireetera mutabani we okulowooza nti okuba ne ssente kikulu nnyo okusinga okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’ab’omu maka go. (Nge. 22:6) Eky’ennaku, Jimmy yagamba maama we nti, “Tokomawo, ggwe mpeereza buweereza birabo.” Marilyn yatandika okukiraba nti yali tasobola kukuza bulungi mwana we ng’awuliziganya buwuliziganya naye ku ssimu oba ku Intaneeti. Agamba nti, “Tosobola kugwa mwana wo mu kifuba ng’oyitira ku Intaneeti.”

Kabi ki akayinza okubaawo singa tobeera wamu ne munno mu bufumbo? (Laba katundu 11)

11. (a) Omuntu bw’agenda okukolera mu nsi endala ng’aleseewo munne mu bufumbo, kikosa kitya obufumbo bwe? (b) Kiki ekyayamba Marilyn okukiraba nti yali yeetaaga okuddayo okubeera awamu n’ab’omu maka ge?

11 Enkolagana Marilyn gye yalina ne Yakuwa awamu n’omwami we nayo yanafuwa. Yatandika okwosaayosa enkuŋŋaana ate ne mukama we ku mulimu yali amwegwanyiza. Olw’okuba Marilyn ne James baali tebakyabeera wamu, bwe baafunanga ebizibu buli omu yabangako omuntu omulala gw’abibuulirako era baabulako katono okugwa mu bwenzi. Marilyn yakiraba nti wadde nga ye n’omwami we baali tebagudde mu bwenzi, mu kiseera ekyo buli omu yali tasobola kusasula munne ekyo “ekimugwanira.” Olw’okuba Marilyn ne James baali tebabeera wamu, buli omu yali takyasobola kukola ku nneewulira za munne. (1 Kol. 7:3, 5; Lu. 1:2) Ate era baali tebakyasobola kuweerereza wamu Yakuwa mu bujjuvu ng’amaka. Marilyn agamba nti: “Bwe twali ku lukuŋŋaana olunene ne bakikkaatiriza nti okusobola okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa olukulu, twetaaga okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa, nnakiraba nti nnalina okuddayo eka. Kyali kinneetaagisa okuddamu okunyweza enkolagana yange ne Yakuwa awamu n’ab’omu maka gange.”

AMAGEZI AMALUNGI N’AMABI

12. Magezi ki agali mu Bayibuli agasobola okuyamba abo abatabeera wamu na ba mu maka gaabwe?

12 Marilyn bwe yasalawo okuddayo mu nsi ye, abantu abamu baamuwa amagezi amalungi ate abalala ne bamuwa amagezi amabi. Abakadde mu kibiina baamusiima nnyo olw’okwoleka okukkiriza n’obuvumu. Kyokka ab’oluganda abamu, nga nabo abaali baleseewo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu nsi endala, baamuvumirira nnyo. Mu kifo ky’okumukoppa, baamukubirizanga kusigalayo. Baamugamba nti: “Mu kiseera kitono ojja kukomawo. Bw’onoddayo ewammwe, tojja kusobola kufuna ssente nga z’ofuna wano.” Mu kifo ky’okumalamu bakkiriza bannaabwe amaanyi nga babagamba ebigambo ng’ebyo, Abakristaayo basaanidde “okujjukiza abakazi abato okwagalanga abaami baabwe, okwagalanga abaana baabwe . . . [n’okukola] emirimu gy’awaka, . . . ekigambo kya Katonda kireme okuvumibwa.”Soma Tito 2:3-5.

13, 14. Okusobola okunywerera ku ebyo Yakuwa by’ayagala, lwaki twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi? Waayo ekyokulabirako.

13 Bangi ku abo abalekawo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu nsi endala, bakulidde mu bantu abalowooza nti kikulu okukulembeza ebyo ab’eŋŋanda, naddala abazadde, bye baagala okusinga ekintu ekirala kyonna. N’olwekyo, Omukristaayo aba yeetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi okusobola okwewala okukola ekintu ab’eŋŋanda ze kye baagala naye nga kikontana n’ebyo Yakuwa by’ayagala.

14 Lowooza ku mwannyinaffe Carin. Agamba nti: “Bwe nnazaala mutabani waffe Don, nze n’omwami wange twali tukolera bweru, era nnali ntandise okuyiga Bayibuli. Ab’eŋŋanda zange bonna baali bansuubira okuweereza Don eka bazadde bange bamukuze.” Carin bwe yakiraga nti amaliridde okwekuliza omwana we, ab’eŋŋanda ze, nga mw’otwalidde n’omwami we, baamuyita munafu era ne bamusekerera. Carin agamba nti: “Ekituufu kiri nti, mu kiseera ekyo, eky’okuweereza Don eka bazadde bange bamukuze nnali sikirabamu buzibu bwonna. Kyokka nnali nkimanyi nti obuvunaanyizibwa obw’okukuza omwana waffe Yakuwa yabukwasa ffe, bazadde be.” Carin bwe yaddamu okufuna olubuto, omwami we atali mukkiriza yamugamba aluggyemu. Olw’okuba mu kusooka, Carin yasalawo mu ngeri ey’amagezi, ekyo kyanyweza nnyo okukkiriza kwe, era ne ku mulundi guno yanywerera ku kituufu. Kati Carin, omwami we, n’abaana baabwe basanyufu nnyo olw’okuba baasalawo okubeera awamu. Singa Carin yakkiriza okuweereza abaana be omuntu omulala abakuze, tebandisobodde kufuna ssanyu ng’eryo lye balina kati.

15, 16. (a) Vicky yakuzibwa atya? (b) Lwaki Vicky yasalawo obutakuza muwala we nga ye bwe yakuzibwa?

15 Mwannyinaffe ayitibwa Vicky agamba nti: “Bazadde bange bantwala okubeera ewa jjajjange okumala emyaka mitonotono, bo ne basigala ne muganda wange omuto. Oluvannyuma nnaddamu okubeera ne bazadde bange, naye mu kiseera ekyo okwagala kwange gye bali kwali kukendedde. Muganda wange ye yanyumyanga nnyo nabo era ng’alina enkolagana ey’oku lusegere nabo. Naye nze nnawuliranga nga sirina nkolagana ya kulusegere ne bazadde bange, era ne bwe nnali nkuze tekyannyanguyiranga kubeeyabiza. Nze ne muganda wange twakakasa bazadde baffe nti tujja kubalabirira nga bakaddiye. Wadde nga ye muganda wange okwagala kwe kujja okumukubiriza okukikola, nze nja kukikola kutuusa luwalo.”

16 Vicky era agamba nti: “Maama wange yali ayagala muweereza muwala wange abeere naye, nga nange bwe yampeereza okubeera ne jjajja. Naye ekyo nnagaana okukikola. Nze n’omwami wange twagala okukuliza omwana waffe mu makubo ga Yakuwa. Ate era saagala kwonoona nkolagana gye nnina ne muwala wange.” Vicky akirabye nti kikulu nnyo okukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala mu kifo ky’okulembeza ssente n’ebyo ab’eŋŋanda bye baagala. Yesu yagamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri.” Omuntu tayinza kuba muddu wa Katonda ate mu kiseera kye kimu n’aba muddu wa bya Bugagga.Mat. 6:24; Kuv. 23:2.

BWE TUFUBA, YAKUWA ATUWA EMIKISA

17, 18. (a) Kiki buli Mukristaayo ky’alina okwesalirawo? (b) Bibuuzo ki ebinaddibwamu mu kitundu ekiddako?

17 Yakuwa asuubiza okutuwa bye twetaaga singa tukulembeza Obwakabaka n’obutuukirivu bwe mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33) N’olwekyo, buli Mukristaayo alina okwesalirawo kiki ky’ayagala okukulembeza mu bulamu bwe. Embeera ne bw’eba nzibu etya, tusobola okunywerera ku misingi gya Bayibuli. Yakuwa asuubiza okutuwa “obuddukiro.” (Soma 1 Abakkolinso 10:13.) Bwe ‘tulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza’ era ne tukiraga nti ‘tumwesiga’ nga tumusaba atuwe amagezi n’obulagirizi, ajja kutuyamba. (Zab. 37:5, 7) Yakuwa ajja kutuyamba okusigala nga tumuweereza n’obwesigwa. Bwe tukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala, ajja kutuwa “omukisa.”—Geraageranya Olubereberye 39:3.

18 Kiki omuntu ky’ayinza okukola okuzzaawo enkolagana n’ab’omu maka ge be yalekawo ng’agenze okukolera mu nsi endala? Kiki omuntu ky’ayinza okukola okusobola okulabirira ab’omu maka ge awatali kubalekawo kugenda kukolera mu nsi ndala? Era tuyinza tutya okuyamba abalala obutalekaawo ba mu maka gaabwe? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 1 Amannya gakyusiddwa.

^ lup. 4 Kiyinzika okuba nti ku buli mulundi abaana ba Yakobo lwe baagendanga okufuna emmere e Misiri baamalangayo wiiki nga ssatu oba obutawera. Oluvannyuma Yakobo ne batabani be bwe baasengukira e Misiri, baagenda ne bakyala baabwe n’abaana baabwe.Lub. 46:6, 7.

^ lup. 8 Laba Awake! eya Febwali 2013 olupapula 6-9.

^ lup. 9 Okunoonyereza kulaga nti abantu bwe balekawo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu nsi endala kitera okuvaamu ebizibu eby’amaanyi. Muno mwe muli obwenzi, okulya ebisiyaga, oba okwegatta n’ab’eŋŋanda. Empisa z’abaana zitera okwonooneka, batandika okukola obubi ku masomero, bennyamira, era oluusi basalawo n’okwetta.