Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beera Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo!

Beera Mugumu—Yakuwa Ye Muyambi Wo!

“Ka tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange.’”BEB. 13:6.

1, 2. Buzibu ki abo abalekawo ab’omu maka gaabwe ne bagenda okukolera mu nsi endala bwe bafuna nga bakomyewo eka? (Laba ekifaananyi waggulu.)

EDUARDO agamba nti: “Bwe nnali nkolera mu nsi endala, nnalina omulimu ogw’ebbeeyi era nga nfuna ssente nnyingi. * Naye bwe nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, nnakiraba nti nnalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bwe nnalina okutuukiriza: nnalina okulabirira ab’omu maka gange, si mu bya mubiri byokka, wabula ne mu by’omwoyo. N’olwekyo, nnasalawo okuddayo mu nsi yange nsobole okubeera nabo.”Bef. 6:4.

2 Eduardo yali akimanyi nti bwe yandizzeeyo n’abeera n’ab’omu maka ge, kyandisanyusizza Yakuwa. Naye okufaananako Marilyn eyayogerwako mu kitundu ekyayita, Eduardo yalina okufuba okuzzaawo enkolagana gye yalina n’ab’omu maka ge. Ate era yalina okulaba engeri y’okulabiriramu ab’omu maka ge mu nsi enjavu. Kati olwo yandisobodde atya okulabirira ab’omu maka ge? Ab’oluganda mu kibiina bandisobodde batya okumuyamba?

OKUZZAAWO ENKOLAGANA N’AB’OMU MAKA GO N’OKUBAYAMBA MU BY’OMWOYO

3. Omuzadde bw’atabeera wamu na baana be, kibakosa kitya?

3 Eduardo agamba nti: “Nnakiraba nti nnali ndeseewo abaana bange mu kiseera we baali basinga okuneetaagira. Nnali sisobola kusomera wamu nabo Bayibuli, kusabirako wamu nabo, na kuzannyako nabo.” (Ma. 6:7) Muwala we omukulu, Anna, agamba nti: “Nnawuliranga bubi obutaba na taata waka. Taata we yakomerawo okuva ebweru, enkolagana yaffe naye yali tekyali ya maanyi.”

4. Lwaki omusajja bw’atabeera wamu na ba mu maka ge aba tasobola kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwe ng’omutwe gw’amaka?

4 Omusajja bw’atabeera wamu na ba mu maka ge, aba tasobola kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwe ng’omutwe gw’amaka. Mukyala wa Eduardo, Ruby, agamba nti: “Nze nnali maama era nga nze taata. Nnali mmanyidde okusalawo ku bintu ebikulu mu maka. Omwami wange bwe yakomawo awaka, nnalina okuddamu okuyiga okumugondera. N’okutuusa leero, nkyalina okwejjukiza buli kiseera nti omwami wange ye mutwe gw’amaka.” (Bef. 5:22, 23) Eduardo naye agamba nti: “Bawala bange baali bamanyidde okusaba maama waabwe olukusa okukola ebintu ebitali bimu. Nze ne mukyala wange, twakiraba nti twalina okukolera awamu okusobola okuyamba abaana baffe era nnalina okuyiga okutwala obukulembeze mu maka nga Yakuwa bw’ayagala.”

5. Eduardo bwe yaddayo eka, kiki kye yakola okusobola okuzzaawo enkolagana ennungi gye yalina n’ab’omu maka ge, era biki ebyavaamu?

5 Eduardo yakola kyonna ekisoboka okuzzaawo enkolagana ennungi gye yalina n’ab’omu maka ge era yafuba okuyamba ab’omu maka ge mu by’omwoyo. Agamba nti: “Nnali njagala njigirize abaana bange amazima okuyitira mu bigambo ne mu bikolwa, nga sibagamba bugambi nti njagala Yakuwa, naye nga nkyoleka ne mu bulamu bwange.” (1 Yok. 3:18) Waliwo emikisa gyonna Eduardo gye yafuna? Anna agamba nti: “Okulaba engeri taata gye yali afuba okuzzaawo enkolagana wakati waffe naye era n’enkyukakyuka ze yakola, kyatukwatako nnyo. Kyatuleetera essanyu lingi okulaba nga taata afuba okuluubirira enkizo mu kibiina. Ensi ya Sitaani yali eyagala kutuggya ku Yakuwa. Naye bwe twalaba bazadde baffe nga banyweredde mu mazima, naffe twafuba okubakoppa. Taata yasuubiza nti tajja kuddamu kutulekawo era ekyo teyaddamu kukikola. Singa yaddamu n’atulekawo, oboolyawo kati sandibadde mu kibiina kya Yakuwa.”

OKUKKIRIZA ENSOBI YO

6. Kiki abazadde abamu kye baayiga mu lutalo olwali mu nsi za Bulaaya?

6 Abaana baagala nnyo okubeera ne bazadde baabwe. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe waabalukawo olutalo mu nsi za Bulaaya, abazadde bangi Abajulirwa ba Yakuwa baali tebakyasobola kugenda kukola. Kati ebiseera ebisinga baali babimala wamu n’abaana baabwe, nga basobola okuzannya nabo, okunyumya nabo, n’okusomera awamu nabo. N’ekyavaamu abaana baali basanyufu nnyo okusinga bwe baali ng’olutalo terunnatandika. Ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti ekintu abaana kye basinga okwetaaga, si ze ssente oba ebirabo wabula, kwe kubeera awamu ne bazadde baabwe. Nga Bayibuli bw’eraga, singa abazadde bamala ebiseera ebiwerako nga bali wamu n’abaana baabwe era ne babatendeka, ekyo kiganyula nnyo abaana baabwe.Nge. 22:6.

7, 8. (a) Nsobi ki abazadde abamu ababa bazzeeyo okubeera awamu n’ab’omu maka gaabwe gye bakola? (b) Kiki ekiyinza okuyamba abazadde ng’abo?

7 Ebyo abazadde abamu bye balaba nga bazeeyo okubeera awamu n’ab’omu maka gaabwe bibeewuunyisa nnyo. Abaana baabwe bayinza okuba nga tebakyabaagala oba nga tebakyabeesiga. Omuzadde ayinza okugamba abaana be nti, “Muyinza mutya okumpisa mutyo ng’ate nneefiirizza bingi ku lwammwe?” Naye, oluusi abaana okweyisa batyo kiyinza okuba nga kivudde ku kuba nti muzadde waabwe yamala ekiseera kiwanvu nga tali nabo. Kiki omuzadde ky’ayinza okukola mu mbeera ng’eyo?

8 Asaanidde okusaba Yakuwa amuyambe okutegeera ensonga lwaki ab’omu maka ge beeyisa batyo. Era asaanidde okukikkiriza nti naye avunaanyizibwa olw’embeera eyo eba eriwo era n’abeetondera. Munne mu bufumbo n’abaana be bwe bakiraba nti ddala ayagala okutereeza ebyasoba, ekyo kisobola okubakwatako ennyo. Omuzadde ng’oyo bw’atalekulira, ab’omu maka ge bayinza okuddamu okumwagala n’okumuwa ekitiibwa.

OKULABIRIRA AB’OMU MAKA GO

9. Lwaki Omukristaayo tekimwetaagisa kwekuŋŋaanyiza bya bugagga okusobola okulabirira ab’omu maka ge?

9 Omutume Pawulo yagamba nti Abakristaayo abakaddiye bwe baba nga tebakyasobola kwerabirira, abaana baabwe oba bazzukulu baabwe basaanidde okubalabirira. Pawulo era yakiraga nti eby’okulya, eby’okwambala, n’aw’okusula, bye bintu bye twetaaga mu bulamu. (Soma 1 Timoseewo 5:4, 8; 6:6-10.) Okusobola okulabirira ab’omu maka ge, Omukristaayo tekimwetaagisa kwekuŋŋaanyiza bya bugagga mu nsi ya Sitaani eno eneetera okuggwaawo. (1 Yok. 2:15-17) Tetulina kukkiriza ‘bulimba bw’obugagga’ oba “okweraliikirira eby’obulamu” okutulemesa awamu n’ab’omu maka gaffe okunyweza “obulamu obwa nnamaddala” mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu.Mak. 4:19; Luk. 21:34-36; 1 Tim. 6:19.

10. Lwaki kiba kya magezi okwewala okugwa mu mabanja?

10 Yakuwa akimanyi nti twetaaga okubaako ne ssente ensaamusaamu. Naye ssente tezisobola kutuwa bukuumi bwa nnamaddala; amagezi agava eri Katonda ge gasobola okubutuwa. (Mub. 7:12; Luk. 12:15) Emirundi mingi abantu tebalowooza ku bizibu ebiyinza okuvaamu nga bagenze okukolera mu nsi endala. Ate era tekiri nti buli agenda okukolera mu nsi endala afuna ssente nnyingi. Mu butuufu, bangi ku abo abagenda ebweru okukola, bafuna ebizibu eby’amaanyi. Bangi ku bo bakomawo nga balina amabanja mangi okusinga ge baalina nga tebannagenda. Mu kifo ky’okwemalira ku kuweereza Yakuwa, beesanga nga balina okukola ennyo okusobola okusasula amabanja. (Soma Engero 22:7.) N’olwekyo, kiba kya magezi okwewala okugwa mu mabanja.

11. Okukola embalirira n’okuginywererako kiyinza kitya okuyamba amaka?

11 Eduardo yakiraba nti okusobola okulabirira obulungi ab’omu maka ge oluvannyuma lw’okuddayo eka, bonna mu maka baalina okuyiga okukekkereza ssente. Ye ne mukyala we baakola embalirira eggya mu nsawo yaabwe. Baasalawo okwewala okugula ebintu eby’okwejalabya nga bwe kyali mu kusooka era bonna mu maka baawagira enteekateeka eyo. * Eduardo agamba nti: “Ekimu ku bintu bye nnakola kwe kujja abaana bange mu masomero ag’obwannannyini ne mbateeka mu masomero ga gavumenti.” Eduardo awamu n’ab’omu maka ge baasaba Yakuwa amuyambe okufuna omulimu ogutataataaganye nteekateeka zaabwe ez’eby’omwoyo. Yakuwa yaddamu atya okusaba kwabwe?

12, 13. Kiki Eduardo kye yakola okusobola okulabirira ab’omu maka ge, era Yakuwa yamuwa atya emikisa olw’okuba n’eriiso eriraba awamu?

12 Eduardo agamba nti: “Emyaka ebiri egyasooka tegyatwanguyira. Ssente ze nnali ntereseewo zaali zigenda ziggwaawo, nga ssente ze nfuna tezitumala bulungi, ate nga n’emirimu gye nkola ginkooya nnyo. Naye twali tusobola okugenda mu nkuŋŋaana zonna era nga ffenna tusobola okugenda okubuulira.” Eduardo yasalawo obutakkiriza kukola mulimu gwonna oguyinza okuddamu okumuleetera okulekawo ab’omu maka ge okumala ekiseera ekiwanvu. Agamba nti: “Nnasalawo okuyiga okukola emirimu egitali gimu ne kiba nti ogumu bwe gwabanga gubuze nnabanga nsobola okukola omulala.”

Osobola okuyiga okukola emirimu egitali gimu osobole okulabirira ab’omu maka go? (Laba akatundu 12)

13 Okuva bwe kiri nti Eduardo kyandimutwalidde ebbanga ddene okusasula amabanja, n’amagoba ge yalina okuzzaayo gaalina okuba amangi. Kyokka ekyo Eduardo yali mwetegefu okukikola okuva bwe kiri nti kyandimusobozesezza okuweereza Yakuwa ng’ali wamu n’ab’omu maka ge. Eduardo agamba nti: “Wadde nga kati ssente ze nfuna ntono nnyo, tetusula njala. ‘Omukono gwa Yakuwa si mumpi.’ Mu butuufu, twasalawo n’okuweereza nga bapayoniya. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, embeera yange ey’eby’enfuna yeeyongera okutereera era kati tekituzibuwalira nnyo kufuna byetaago byaffe.”Is. 59:1.

OKUPIKIRIZIBWA AB’EŊŊANDA

14, 15. Kiki Abakristaayo kye bayinza okukola singa ab’eŋŋanda zaabwe baagala bakulembeze eby’obugagga mu kifo ky’okukulembeza okuweereza Yakuwa, era bwe banywerera ku kituufu birungi ki ebivaamu?

14 Mu nsi nnyingi abantu bawulira nga kibakakatako okuwa ab’eŋŋanda zaabwe ne mikwano gyabwe ssente n’ebintu ebirala. Bwe kityo bwe kiri ne mu nsi Eduardo gy’abeera. Kyokka Eduardo agamba nti: “Nfuba okunnyonnyola ab’eŋŋanda zange nti ndi mwetegefu okubayamba, naye siri mwetegefu kukkiriza kintu kyonna kundeetera kulagajjalira ba mu maka gange mu by’omwoyo.”

15 Abo abasalawo okuddayo okubeera awamu n’ab’omu maka gaabwe n’abo abagaana okugenda okukolera mu nsi endala ebiseera ebimu ab’eŋŋanda zaabwe babanyiigira, era oluusi babagamba nti beefaako bokka. (Nge. 19:6, 7) Kyokka Anna, muwala wa Eduardo, agamba nti: “Bwe tukulembeza ebintu eby’omwoyo mu kifo ky’okukulembeza eby’obugagga, kiyinza okuyamba abamu ku b’eŋŋanda zaffe okukiraba nti okuweereza Yakuwa tukitwala nga kintu kikulu nnyo mu bulamu bwaffe. Ekyo tebasobola kukiraba singa tukulembeza ebyo bo bye baagala.”—Geraageranya 1 Peetero 3:1, 2.

OKWESIGA YAKUWA

16. (a) Omuntu ayinza atya ‘okwerimbalimba n’endowooza enkyamu’? (Yak. 1:22) (b) Baani Yakuwa b’awa omukisa?

16 Mwannyinaffe omu yagenda okukolera mu nsi endala nga tagenze na mwami we na baana be. Bwe yatuukayo yagamba abakadde nti: “Okusobola okujja eno, nze n’ab’omu maka gange twefiirizza bingi. Omwami wange atuuse n’okulekera awo okuweereza ng’omukadde mu kibiina. Ndi mukakafu nti Yakuwa ajja kutuwa emikisa.” Kyokka tusaanidde okukijjukira nti Yakuwa awa omukisa abo abamwesiga. Tasobola kuwa mukisa abo abasalawo okukola ebintu ebikontana n’ebigendererwa bye. Ate era tasobola kutuwa mukisa singa tuwaayo enkizo zaffe ez’obuweereza olw’ebiruubirirwa ebikyamu.Soma Abebbulaniya 11:6; 1 Yokaana 5:13-15.

17. Lwaki tusaanidde okunoonya obulagirizi bwa Yakuwa nga tetunnasalawo kintu kyonna, era ekyo tuyinza kukikola tutya?

17 Bw’oba tonnasalawo kintu kyonna, sooka onoonye obulagirizi bwa Yakuwa. Musabe akuwe omwoyo gwe omutukuvu era akuwe n’amagezi. (2 Tim. 1:7) Weebuuze: ‘Nsobola kwefiiriza kyenkana wa okusobola okuweereza Yakuwa? Embeera y’eby’enfuna ne bw’eneekaluba etya, nnaasigala wamu n’ab’omu maka gange? (Luk. 14:33) Saba abakadde mu kibiina bakuwe ku magezi, era weesige Yakuwa nti ajja kukuyamba singa ofuba okukolera ku magezi agali mu Kigambo kye. Kikulu okukijjukira nti abakadde tebajja kukusalirawo kya kukola naye basobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi.2 Kol. 1:24.

18. Ani Yakuwa gwe yakwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka ge, era abalala bayinza batya okumuyambako?

18 Yakuwa yakwasa emitwe gy’amaka obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ab’omu maka gaabwe. Tusiima nnyo abo bonna abafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo nga tebaleseewo ba mu maka gaabwe, era tusaba Yakuwa abayambe okubutuukiriza obulungi. Ate era ffenna tusaanidde okwoleka okwagala kwaffe eri bakkiriza bannaffe ng’abo abeesigwa, naddala bwe baba bakoseddwa obutyabaga, nga balwadde, oba nga balwazizza. (Bag. 6:2, 5; 1 Peet. 3:8) Osobola okuyambako bakkiriza bannaffe ng’abo ng’obayamba okufuna omulimu oba ebintu ebirala bye beetaaga, gamba nga ssente oba emmere? Ekyo kisobola okubayamba obutalekaawo ba mu maka gaabwe kugenda kukolera mu nsi ndala.Nge. 3:27, 28; 1 Yok. 3:17.

KIJJUKIRE NTI YAKUWA YE MUYAMBI WO!

19, 20. Lwaki Abakristaayo basaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kubayamba?

19 Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina. Kubanga yagamba nti: ‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’ N’olwekyo, ka tubeere bagumu tugambe nti: ‘Yakuwa ye muyambi wange; Siritya. Omuntu ayinza kunkola ki?’” (Beb. 13:5, 6) Ebigambo ebyo birina makulu ki gye tuli?

20 Ow’oluganda amazze ebbanga ng’aweereza ng’omukadde mu nsi emu enjavu agamba nti: “Abantu bangi bakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa basanyufu. Era bakiraba nti n’Abajulirwa ba Yakuwa abaavu bambala bulungi okusinga abantu abalala.” Ekyo kyennyini Yesu kye yasuubiza abo abasooka okunoonya Obwakabaka. (Mat. 6:28-30, 33) Yakuwa atwagala nnyo era atukolera ekyo ekisingayo okuba ekirungi. Bayibuli egamba nti: “Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) Yakuwa atuwadde ebiragiro ebikwata ku maka ne ku ngeri gye tuyinza okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. Bwe tukolera ku biragiro ebyo, tuba tukiraga nti tumwagala era nti tumwesiga. Bayibuli egamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.”1 Yok. 5:3.

21, 22. Lwaki omaliridde okwesiga Yakuwa?

21 Eduardo agamba nti: “Nkimanyi nti ebiseera bye nnamala nga siri wamu n’ab’omu maka gange sisobola kubizzaawo, naye ekyo si kye mmalirako ebirowoozo byange. Bangi ku abo be nnakolanga nabo kati bagagga nnyo naye si basanyufu. Amaka gaabwe galimu ebizibu bingi, naye agange masanyufu! Kinsanyusa nnyo okukiraba nti waliwo ab’oluganda bangi mu nsi yange abafuba okukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwabwe wadde nga baavu. Mu butuufu, tukirabye nti okukulembeza Obwakabaka kivaamu emikisa mingi.”Soma Matayo 6:33.

22 N’olwekyo, beera mugumu. Gondera Yakuwa era omwesige. Ka okwagala kw’olina eri Yakuwa, eri munno mu bufumbo, n’eri n’abaana bo, kukukubirize okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwo mu maka. Bw’onookola bw’otyo, ojja kukiraba nti ‘Yakuwa ye muyambi wo.’

^ lup. 1 Amannya gakyusiddwa.

^ lup. 11 Okumanya ebisingawo ebikwata ku nkwata ya ssente, laba Awake! eya Ssebutemba 2011, olupapula 3-9.