Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Mu biseera by’edda, omuntu okuyuza ebyambalo bye kyabanga na makulu ki?

EBYAWANDIIKIBWA byogera ku bantu abatali bamu abaayuza ebyambalo byabwe. Wadde nga leero si kya bulijjo omuntu okuyuza ebyambalo bye, mu Bayudaaya omuntu okuyuza ebyambalo bye kyalaganga nti anakuwadde nnyo, aswadde nnyo, asunguwadde nnyo, oba nti akungubaga.

Ng’ekyokulabirako, Lewubeeni ‘yayuzaayuza engoye ze’ bwe yakiraba nti yali alemereddwa okununula Yusufu, okuva bwe kiri nti baganda be abalala baali bamutunze mu buddu. Kitaabwe, Yakobo, ‘yayuzaayuza engoye ze’ bwe yalowooza nti mutabani we Yusufu ensolo enkambwe yali emulidde. (Lub. 37:18-35) Yobu ‘yayuza omunagiro gwe’ bwe baamugamba nti abaana be bonna baali bafudde. (Yob. 1:18-20) Waliwo omubaka eyagenda eri Kabona Asinga Obukulu Eri ‘ng’ayuzizza engoye ze’ n’amutegeeza nti Abaisiraeri baali bawanguddwa mu lutalo, nti batabani ba Eri ababiri baali battiddwa, era nti ne ssanduuko y’endagaano yali ewambiddwa. (1 Sam. 4:12-17) Yosiya bwe yawulira ng’Amateeka gasomebwa era n’akiraba nti abantu be baali bamenye amateeka ago, ‘yayuza ebyambalo bye.’2 Bassek. 22:8-13.

Yesu bwe yali awozesebwa, Kabona Asinga Obukulu Kayaafa ‘yayuza ekyambalo kye eky’okungulu’ bwe yalowooza nti Yesu yali avodde Katonda. (Mat. 26:59-66) Balabbi baayigirizanga nti singa omuntu yenna ­yawuliranga ng’erinnya lya Katonda livoddwa, yalinanga okuyuza ebyambalo bye. Kyokka Balabbi abajjawo oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa yeekaalu ey’omu Yerusaalemi bo baayigirizanga nti singa “omuntu yenna awulira ng’erinnya lya Katonda livoddwa kyali tekikyamwetaagisa kuyuza byambalo bye kubanga ebyambalo bye byali bisobola okufuuka enziina.”

Omuntu okuyuza ebyambalo bye tekyabanga na makulu gonna mu maaso ga Katonda singa omuntu oyo yabanga tanakuwadde kuviira ddala ku mutima. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yagamba abantu be nti: “Muyuze omutima gwammwe so si byambalo byammwe, mukyukire Mukama Katonda wammwe.”Yo. 2:13.