Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tuyinza Tutya “Okuddamu Buli Muntu”?

Tuyinza Tutya “Okuddamu Buli Muntu”?

“Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, . . . musobole okumanya engeri gye musaanidde okuddamu buli muntu.”BAK. 4:6.

1, 2. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okubuuza ebibuuzo ebituukirawo. (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Lwaki tetusaanidde kutya kukubaganya birowoozo na bantu ku nsonga ezirabika ng’enzibu?

LUMU, mwannyinaffe omu yali akubaganya ebirowoozo ku Bayibuli n’omwami we. Omwami we yali munnaddiini mukuukuutivu mu emu ku ddiini za Kristendomu. Bwe baali bakubaganya ebirowoozo, omwami we yamugamba nti yali akkiririza mu busatu. Mwannyinaffe bwe yakiraba nti omwami we yali tategeera bulungi njigiriza eyo, yamubuuza nti, “Okkiriza nti Katonda, Yesu, n’omwoyo omutukuvu bonna Bakatonda; kyokka ng’ate tebali Bakatonda basatu wabula Katonda omu?” Omwami we yamuddamu nti, “Nedda, ekyo si kikkiriza!” N’ekyavaamu, mwannyinaffe yasobola okuyamba omwami we okutegeera amazima agakwata ku Katonda.

2 Ekyokulabirako ekyo kiraga nti kikulu nnyo okubuuza abantu ebibuuzo ebituukirawo era ebibaleetera okufumiitiriza. Ate era kituyigiriza nti tetusaanidde kutya kukubaganya birowoozo n’abantu ku nsonga ezirabika ng’enzibu, gamba ng’eyo ekwata ku busatu, ku muliro ogutazikira, ne ku ky’okuba nti eriyo Omutonzi. Bwe twesiga Yakuwa era ne tukolera ku bulagirizi bw’atuwa, tusobola okutuuka ku mitima gy’abantu be tuyigiriza. (Bak. 4:6) Kati ka tulabe ebimu ku bintu ababuulizi abalungi bye bakola nga boogera ku nsonga ng’ezo. Tugenda kwetegereza (1) engeri gye tuyinza okubuuza ebibuuzo ebireetera omuntu okuwa endowooza ye, (2) engeri gye tuyinza okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Byawandiikibwa, ne (3) engeri gye tuyinza okukozesa ebyokulabirako ebituukirawo.

BUUZA EBIBUUZO EBIREETERA OMUNTU OKUWA ENDOWOOZA YE

3, 4. Lwaki kikulu nnyo okukozesa ebibuuzo ebituyamba okutegeera ekyo omuntu ky’akkiriza? Waayo ekyokulabirako.

3 Okubuuza ebibuuzo kisobola okutuyamba okutegeera ekyo omuntu ky’akkiriza. Lwaki ekyo kikulu? Engero 18:13 wagamba nti: “Addamu nga tannawulira, busirusiru n’ensonyi gy’ali.” Mu butuufu, bwe tuba tetunnaba kulaga muntu ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku kintu ekimu, kiba kya magezi okusooka okumanya ekyo kyennyini ye ky’akkiriza. Bwe tutakola tutyo, tuyinza okwesanga nga tumaze ebiseera bingi nga tugezaako okulaga omuntu nti ekintu ekimu kikyamu kyokka oluvannyuma ne tukizuula nti naye takikkiririzaamu!1 Kol. 9:26.

4 Watya singa tuba tukubaganya ebirowoozo n’omuntu ku nsonga ekwata ku muliro ogutazikira? Kiki kye tuyinza okukola? Tuyinza okumugamba nti: “Okuva bwe kiri nti abantu balina endowooza za njawulo ku muliro ogutazikira, twandyagadde okumanya endowooza yo ku nsonga eyo?” Oluvannyuma lw’okumanya endowooza ye, tuba tusobola bulungi okumuyamba okutegeera ekyo ddala Bayibuli ky’eyigiriza ku nsonga eyo.

5. Okubuuza ebibuuzo kiyinza kitya okutuyamba okumanya ensonga lwaki omuntu akkiririza mu kintu ekimu?

5 Ebibuuzo ebituukirawo era bisobola okutuyamba okutegeera ensonga lwaki omuntu akkiririza mu kintu ekimu. Ng’ekyokulabirako, watya singa tuba tubuulira ne tusanga omuntu atakkiriza nti Katonda gyali? Mu kusooka tuyinza okulowooza nti omuntu oyo atwaliriziddwa enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. (Zab. 10:4) Naye kikulu okukijjukira nti oluusi ebizibu abantu bye bafuna oba bye balaba mu nsi bye bibaleetera obutakkiriza nti Katonda gy’ali. Bakisanga nga kizibu okukkiriza nti Katonda ow’okwagala ayinza okuleka abantu okubonaabona bwe batyo. N’olwekyo, singa omuntu gwe tuba tubuulira agamba nti takkiriza nti Katonda gyali, tuyinza okumugamba nti, “Lwaki olowooza bw’otyo?” Ekyo ky’atuddamu kisobola okutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okumuyambamu okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza.Soma Engero 20:5.

6. Oluvannyuma lw’okubuuza omuntu ekibuuzo, kiki kye tusaanidde okukola?

6 Oluvannyuma lw’okubuuza omuntu ekibuuzo, tusaanidde okumuwuliriza obulungi ng’addamu era ne tukiraga nti tufaayo ku nneewulira ye. Ng’ekyokulabirako, omuntu ayinza okutugamba nti yafuna ekizibu eky’amaanyi ne kimuleetera okutandika okubuusabuusa obanga ddala Katonda gyali. Bwe tuba tetunnatandika kuwa muntu oyo bukakafu bulaga nti Katonda gyali, kiba kirungi okusooka okumusaasira olw’ekizibu kye yafuna era ne tumulaga nti si kikyamu okwebuuza ensonga lwaki tubonaabona. (Kaab. 1:2, 3) Bwe tukiraga nti tumufaako, ekyo kiyinza okumusikiriza okwagala okuyiga ebisingawo. *

OKUKUBAGANYA EBIROWOOZO N’ABANTU KU BYAWANDIIKIBWA

Kiki ekinaatuyamba okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okubuulira? (Laba akatundu 7)

7. Tuyinza tutya okutuuka ku mutima gw’omuntu gwe tubuulira?

7 Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okukubaganya ebirowoozo n’abantu ku Byawandiikibwa nga tubuulira. Kikulu okukijjukira nti Bayibuli kye kitabo ekisinga obukulu kye tulina okukozesa nga tubuulira. Esobola okutuyamba okuba ‘n’obusobozi, n’okuba ne byonna bye twetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.’ (2 Tim. 3:16, 17) Okusobola okutuuka ku mutima gw’omuntu gwe tubuulira tekisinziira ku byawandiikibwa bimeka bye tuba tumusomedde, wabula kisinziira ku ngeri gye tunnyonnyolamu ebyawandiikibwa bye tuba tumusomedde. (Soma Ebikolwa 17:2, 3.) Lowooza ku mbeera zino essatu wammanga.

8, 9. (a) Tuyinza tutya okukubaganya ebirowoozo n’omuntu agamba nti Yesu yenkanankana ne Katonda? (b) Ngeri ki endala gy’otera okukozesa okuyamba abantu abalina endowooza ng’eyo?

8 Embeera 1: Singa tusanga omuntu agamba nti Yesu yenkanankana ne Katonda. Byawandiikibwa ki bye tuyinza okukozesa okuyamba omuntu ng’oyo? Tuyinza okumusaba asome Yokaana 6:38, Yesu we yagambira nti: “Saava mu ggulu kukola bye njagala, wabula eby’oyo eyantuma.” Oluvannyuma lw’okusoma ekyawandiikibwa ekyo, tuyinza okumubuuza nti: “Yesu bw’aba nga ye Katonda, kati olwo ani yamutuma? Tolowooza nti Oyo eyatuma Yesu ateekwa okuba ng’asinga Yesu obukulu? Mu mbeera eya bulijjo, oyo atuma aba asinga oyo gw’atuma obukulu.”

9 Ate era, tusobola okumusomera Abafiripi 2:9, Pawulo w’alagira ekyo Katonda kye yakola nga Yesu amaze okuzuukizibwa. Ekyawandiikibwa ekyo kigamba nti: “Katonda [yagulumiza Yesu] n’amuteeka mu kifo ekya waggulu ennyo, era mu kisa kye n’amuwa erinnya erisinga amalala gonna.” Okusobola okuyamba omuntu oyo okufumiitiriza ku kyawandiikibwa ekyo, tuyinza okumubuuza nti: “Bwe kiba nti Yesu bwe yali nga tannafa yali yenkanankana ne Katonda, ate ng’oluvannyuma lw’okuzuukira Katonda yamugulumiza n’amuteeka mu kifo ekya waggulu, kati olwo Yesu aba tasinga Katonda? Ddala kiba kituufu okulowooza nti waliwo omuntu yenna asinga Katonda obukulu?” Omuntu gw’oba oyogera naye bw’aba ng’assa ekitiibwa mu Kigambo kya Katonda era ng’alina endowooza ennuŋŋamu, ekyo kiyinza okumuleetera okwagala okuyiga ebisingawo.Bik. 17:11.

10. (a) Tuyinza tutya okuyamba omuntu agamba nti abantu ababi bajja kwokebwa mu muliro ogutazikira? (b) Ngeri ki endala gy’otera okukozesa okuyambamu abantu abalina endowooza ng’eyo?

10 Embeera 2: Singa tusanga omuntu agamba nti abantu ababi bajja kwokebwa mu muliro ogutazikira. Ayinza okuba ng’ayogera bw’atyo olw’okuba ayagala abantu abakola ebintu ebibi babonerezebwe. Tuyinza tutya okuyamba omuntu ng’oyo? Okusooka, tuyinza okumukakasa nti ababi bajja kubonerezebwa. (2 Bas. 1:9) Oluvannyuma, tuyinza okumusaba asome Olubereberye 2:16, 17, awalaga nti empeera y’ekibi kwe kufa. Tuyinza okumunnyonnyola nti Adamu bwe yayonoona, yaleetera abantu bonna okusikira ekibi. (Bar. 5:12) Kyokka tuyinza okumulaga nti Katonda teyayogera ku kya kwokya bantu mu muliro ogutazikira. Oluvannyuma tuyinza okumubuuza, “Bwe kiba nti Adamu ne Kaawa baali ba kubonerezebwa nga bookebwa mu muliro emirembe gyonna, olowooza tekyandibadde kya bwenkanya okukibabuulira?” Awo tuyinza okusoma Olubereberye 3:19, awalaga omusango Katonda gwe yabasalira oluvannyuma lw’okwonoona era ne tumulaga nti Katonda teyayogera ku kya kubabonereza ng’abookya mu muliro ogutazikira. Mu kifo ky’ekyo, Katonda yagamba Adamu nti yali wa kudda mu ttaka. Tuyinza okumubuuza nti, “Kyandibadde kya bwenkanya Katonda okugamba Adamu nti yali agenda kudda mu ttaka kyokka ng’ate agenda kumwokya mu muliro?” Omuntu oyo bw’aba nga ddala mwesimbu, ekibuuzo ng’ekyo kiyinza okumuleetera okwagala okuyiga ebisingawo.

11. (a) Tuyinza tutya okuyamba omuntu agamba nti abantu bonna abalungi bagenda mu ggulu? (b) Ngeri ki endala gy’otera okukozesa okuyamba abantu abalina endowooza eyo?

11 Embeera 3: Singa tusanga omuntu agamba nti abantu bonna abalungi bagenda mu ggulu. Omuntu alina endowooza eyo ayinza okuzibuwalirwa okutegeera ebyawandiikibwa ebimu ebiri mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, singa tumusomera Okubikkulirwa 21:4 (Soma), omuntu oyo ayinza okulowooza nti ekyawandiikibwa ekyo kyogera ku bulamu obw’omu ggulu. Tuyinza tutya okuyamba omuntu ng’oyo? Mu kifo ky’okumusomera ebyawandiikibwa ebirala, kiyinza okuba eky’amagezi okusooka okumuyamba okwekenneenya ekyawandiikibwa ekyo. Ekyawandiikibwa ekyo kigamba nti “tewalibaawo kufa nate.” Tuyinza okumubuuza nti ‘Okkiriza nti ekintu obutabaawo nate, kiteekwa okuba nga kyabaawoko?’ Ayinza okuddamu nti, yee. Awo tuyinza okumugamba nti mu ggulu tewabeerangayo kufa; era okufa kuli wano ku nsi wokka. N’olwekyo, Okubikkulirwa 21:4 wateekwa okuba nga woogera ku mikisa abantu abanaabeera ku nsi gye bajja okufuna.Zab. 37:29.

KOZESA EBYOKULABIRAKO EBITUUKIRAWO

12. Lwaki Yesu yakozesanga ebyokulabirako ng’abuulira?

12 Ng’oggyeko okukozesa ebibuuzo ng’abuulira, Yesu era yakozesanga n’ebyokulabirako. (Soma Matayo 13:34, 35.) Ebyokulabirako Yesu bye yakozesanga byayambanga mu kwoleka ebiruubirirwa by’abo be yabanga abuulira. (Mat. 13:10-15) Era ebyokulabirako ebyo byayambanga abantu okunyumirwa okumuwuliriza n’okujjukira bye yabanga abayigirizza. Tuyinza tutya okukozesa ebyokulabirako nga tubuulira?

13. Kyakulabirako ki kye tuyinza okukozesa okulaga nti Katonda asinga Yesu obukulu?

13 Kiba kirungi okukozesa ebyokulabirako ebyangu okutegeera. Ng’ekyokulabirako, watya singa twagala okulaga omuntu nti Katonda asinga Yesu obukulu? Tuyinza okumugamba nti, Katonda bw’aba ayogera ku Yesu, amwogerako ng’Omwana we ate Yesu bw’aba ayogera ku Katonda amwogerako nga Kitaawe. (Luk. 3:21, 22; Yok. 14:28) Oluvannyuma, tuyinza okumubuuza nti: “Bw’oba oyagala okundaga nti abantu babiri benkanankana, kyakulabirako ki eky’ab’omu maka ky’oyinza okukozesa?” Omuntu oyo ayinza okwogera ku b’oluganda oba ku balongo. Tuyinza okumugamba nti: “Ekyokulabirako ekyo kirungi nnyo. Kati bwe kiba nti ffe tusobodde okulowooza ku kyokulabirako ekyo ekirungi, olowooza Yesu Kristo Omuyigiriza Omukulu teyandisobodde kukozesa kyakulabirako ng’ekyo okutuyamba okutegeera nti ye ne Katonda benkanankana? Mu kifo ky’ekyo, Yesu yagamba nti Katonda ye Kitaawe. Bwe kityo, Yesu yakiraga bulungi nti Katonda amusinga obukulu n’obuyinza.”

14. Kyakulabirako ki ky’oyinza okukozesa okuyamba omuntu alowooza nti Katonda akozesa Sitaani okwokya abantu mu muliro ogutazikira?

14 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Abantu abamu abagamba nti ababi bookebwa mu muliro ogutazikira balowooza nti Katonda akozesa Sitaani okubonereza abantu abo ababi. Ekyokulabirako nga kino wammanga, kisobola okuyamba omuzadde okukiraba nti ekyo si kituufu. Oyinza okumugamba nti: “Watya singa omwana wo ayonooneka n’atandika okukola ebintu ebibi ennyo. Kiki kye wandikoze?” Ayinza okukugamba nti yandikoze kyonna ekisoboka okumutereeza, asobole okulekayo emize gye emibi. (Nge. 22:15) Kati olwo oyinza okumubuuza kye yandikoze singa omwana we agaana okulekayo emize emibi. Ayinza okukugamba nti yandimubonerezza. Awo oyinza okumubuuza nti, “Watya singa okizuula nti waliwo omuntu omubi ayonoonye omwana wo?” Omuzadde oyo ayinza okukugamba nti akyayira ddala omuntu oyo. Kati awo oyinza okumugamba nti, “Oluvannyuma lw’okumanya omuntu omubi aleetera omwana wo okwonooneka, oyinza okumukwasa omwana wo akuyambe okumubonereza?” Kya lwatu nti omuzadde ajja kukugamba nti ekyo tasobola kukikola. N’olwekyo, kyeyoleka lwatu nti Katonda tasobola kukozesa Sitaani kubonereza bantu kyokka ng’ate Sitaani y’abaleetera okukola ebintu ebibi!

BA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU

15, 16. (a) Lwaki tetusaanidde kulowooza nti buli muntu gwe tunaabuulira ajja kutuwuliriza? (b) Ne bwe tuba tulowooza nti tetusobola kuyigiriza bulungi, lwaki tusobola okukola obulungi omulimu gw’okubuulira? Nnyonnyola. (Laba n’akasanduuko “Ekitundu Ekituyamba Okuddamu Obulungi Abantu .”)

15 Tukimanyi bulungi nti ne bwe tubuuza ebibuuzo ebirungi, ne tukubaganya bulungi n’abantu ebirowoozo ku byawandiikibwa, era ne tukozesa ebyokulabirako ebituukirawo, si buli muntu gwe tunaabuulira nti ajja kukkiriza amawulire amalungi. (Mat. 10:11-14) Ne Yesu kennyini abantu abasinga obungi tebaamuwuliriza wadde nga yali ayigiriza bulungi nnyo!Yok. 6:66; 7:45-48.

16 Watya singa tuba tulowooza nti tetusobola kuyigiriza bulungi? Ne mu mbeera ng’eyo, tusobola okukola obulungi omulimu gw’okubuulira. (Soma Ebikolwa 4:13.) Ekigambo kya Katonda kiraga nti ‘abo bonna abalina endowooza ennuŋŋamu ebasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo’ bajja kukkiriza amawulire amalungi. (Bik. 13:48) N’olwekyo, tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Tusaanidde okufuba okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu. Naye singa abantu bagaana okutuwuliriza, tetusaanidde kuggwaamu maanyi. Bwe twesiga Yakuwa era ne tukolera ku bulagirizi bw’atuwa, tujja kusobola okuba abayigiriza abalungi era ekyo kijja kutuganyula era kiganyule n’abo abatuwuliriza. (1 Tim. 4:16) Yakuwa asobola okutuyamba okumanya engeri gye tuyinza “okuddamu buli muntu.” Era nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, ekintu ekimu ekinaatuyamba okukola obulungi omulimu gw’okubuulira kwe kufuba okuyisa abalala nga bwe twandyagadde batuyise.

^ lup. 6 Laba ekitundu “Kisoboka Okukkiririza mu Mutonzi?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1, 2010.