Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KU NGULU | OKUNYWA SSIGALA KATONDA AKUTWALA ATYA?

Kizibu kya Nsi Yonna

Kizibu kya Nsi Yonna

Abantu bangi bafa olw’okunywa ssigala.

  • Mu kyasa ekiyise abantu 100,000,000 be baafa olw’okunywa ssigala.

  • Buli mwaka abantu nga 6,000,000 be bafa olw’okunywa ssigala.

  • Okutwalira awamu, buli luvannyuma lw’obutikitiki mukaaga omuntu omu afa olw’okunywa ssigala.

Kyokka, tewali kiraga nti omuwendo gw’abo abafa gujja kukendeera.

Okunoonyereza okwakolebwa kulaga nti singa abantu beeyongera okunywa ssigala, omwaka gwa 2030 we gunaatuukira, abantu abanaaba bafa buli mwaka bajja kuba basukka mu bukadde munaana. Ate era kiteeberezebwa nti ekyasa 21 we kinaggweerako, abantu akawumbi kamu bajja kuba bafudde olw’okunywa ssigala.

Okunywa ssigala tekikosa abo bokka abamunywa. Abalala abakosebwa mulimu ab’omu maka g’oyo anywa ssigala kubanga kireetawo obwavu mu maka n’okweraliikirira. Ate era abantu abalala emitwalo nkaaga abatanywa ssigala, bafa buli mwaka olw’okuyingiza omukka gwa ssigala. Mu butuufu, buli omu akosebwa kubanga waliwo endwadde nnyingi eziva ku kunywa ssigala eziviiriddeko ebisale by’obujjanjabi okulinnya.

Okwawukana ku ndwadde ezitasobola kuvumulwa, ekizibu ky’okunywa ssigala kisobola okumalibwawo. Dr. Margaret Chan, akulira ekibiina ky’eby’obulamu eky’ensi yonna yagamba nti: “Ekizibu ky’okunywa ssigala abantu be bakireetawo, era kisobola okumalibwawo singa abantu bakolera wamu ne gavumenti zaabwe.”

Amawanga mangi gaanukudde omulanga ogw’okulwanyisa ekizibu ky’okunywa ssigala. Omwezi gwa Agusito 2012 we gwatuukira, amawanga nga 175 ge gaali gakkiriziganyizza okulwanyisa ekizibu ekyo. * Wadde kiri kityo, waliwo bingi ebiremesezza ekizibu kino okumalibwawo. Buli mwaka, amakampuni agakola ssigala gasaasaanya obuwumbi n’obuwumbi bwa ssente mu kukuba obulango gasobole okusikiriza abantu okumunywa, naddala abakyala n’abavubuka abali mu nsi ezikyakula. Ate era olw’okuba abantu akawumbi kalamba be banywa ssigala, omuwendo gw’abo abafa olw’okumunywa guyinza obutakendeera kubanga kizibu okumuvaako. Singa abo abanywa ssigala tebalekera awo, omuwendo gw’abo abafa gujja kweyongera nnyo mu myaka 40 eginaddirira.

Bangi balemereddwa okuva ku ssigala olw’obulango bwa ssigala. Ng’ekyokulabirako, Naoko yatandika okunywa ssigala ng’akyali mutiini kubanga obulango bwa ssigala bwamuleetera okulowooza nti abamunywa baba ba njawulo. Wadde nga bazadde be baafa kookolo ow’amawuggwe olw’okunywa ssigala, Naoko yeeyongera okumunywa. Agamba nti “Nnali nneeraliikirira nnyo okufuna kookolo w’amawuggwe era nnali ntya nti n’abaana bange bandirwadde. Kyokka nnali nnemereddwa okumuvaako, era nga sirowooza nti ndimuvaako.”

Naye, Naoko yamala n’ava ku ssigala. Ekyamuyamba kye kiyambye abantu bukadde na bukadde mu nsi yonna okuva ku ssigala. Kiki ekyamuyamba? Weeyongere okusoma akatabo kano okimanye.

^ lup. 11 Ebimu ku ebyo amawanga ago bye gakkiriziganyaako kwe kusomesa abantu akabi akali mu kunywa ssigala n’okubayamba okumuvaako, okukugira obulango bwa ssigala, n’okwongeza emisolo ku ssigala.