Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI ABANTU ABALUNGI BAFUNA EBIZIBU?

Katonda Ajja Kuggyawo Okubonaabona Kwonna

Katonda Ajja Kuggyawo Okubonaabona Kwonna

Bayibuli eraga nti Yakuwa Katonda n’omwana we Yesu Kristo, bajja kuggyawo okubonaabona kwonna Sitaani Omulyolyomi kw’aleeseewo. Egamba nti: “Omwana wa Katonda yalabisibwa asobole okuggyawo ebikolwa by’Omulyolyomi.” (1 Yokaana 3:8) Omululu, obukyayi, n’ebikolwa eby’obukambwe bijja kumalibwawo. Yesu yagamba nti Sitaani “omufuzi w’ensi eno ajja kugoberwa ebweru.” (Yokaana 12:31) Sitaani bw’anaaba aggiddwawo, ensi ejja kufuulibwa olusuku lwa Katonda era ejja kubaamu emirembe.​—2 Peetero 3:13.

Kiki ekinaatuuka ku abo abakola ebintu ebibi mu bugenderevu era abagaana okukyusa enneeyisa yaabwe? Bayibuli egamba nti: “Abagolokofu banaabeeranga mu nsi, n’abo abatuukirira balisigala omwo. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.” (Engero 2:21, 22) Abantu ababi bonna bajja kuzikirizibwa. Mu kiseera ekyo buli kimu kijja kuba kirungi, era abantu abawulize bajja kufuuka abatuukiridde.​—Abaruumi 6:17, 18; 8:21.

Kiki Katonda ky’anaakola okumalawo ebikolwa ebibi? Mu nsi empya, Katonda ajja kuyigiriza abantu by’ayagala babe nga tebakyakola bintu bibi. Tajja kubaggyako ddembe lyabwe ery’okwesalirawo.

Katonda ajja kuggyawo ebintu byonna ebireeta okubonaabona

Katonda anaamalawo atya ebigwa bitalaze? Katonda asuubizza nti Obwakabaka bwe bunaatera okutandika okufuga ensi. Yesu Kristo, Kabaka Katonda gwe yalonda, asobola okumalawo endwadde zonna. (Matayo 14:14) Yesu era alina obuyinza ku maanyi g’obutonde. (Makko 4: 35-41) Mu kiseera ekyo, abantu bajja kuba tebakyabonaabona ‘olw’ebintu ebigwa bitalaze.’ (Omubuulizi 9:11) Kristo bw’anaaba afuga ensi, tewajja kubaawo kizibu kyonna.​—Engero 1:33.

Ate bo abantu abaafa? Bwe yali anaatera okuzuukiza mukwano gwe Lazaalo, Yesu yagamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu.” (Yokaana 11:25) Yesu asobola era ajja kuzuukiza abantu abaafa.

Bw’oba wandyagadde okubeera mu nsi etejja kubaamu bizibu, soma Bayibuli osobole okweyongera okuyiga ebikwata ku Katonda n’ebigendererwa bye. Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo beetegefu okukuyamba okuyiga ebikwata ku Katonda. Oyinza okusaba Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo okukuyigiriza oba oyinza okuwandiikira abaakuba akatabo kano.