Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weereza Katonda n’Obwesigwa Wadde ng’Oyita mu “Kubonaabona Kungi”

Weereza Katonda n’Obwesigwa Wadde ng’Oyita mu “Kubonaabona Kungi”

“Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”BIK. 14:22.

1. Lwaki abaweereza ba Katonda bwe bafuna ebizibu tekibeewuunyisa?

KIKWEWUUNYISA okukimanya nti olina okuyita mu “kubonaabona kungi” nga tonnafuna kirabo eky’obulamu obutaggwaawo? Oboolyawo tekikwewuunyisa. Ka kibe nti waakayiga amazima oba ng’omaze ebbanga ddene ng’oweereza Yakuwa, oteekwa okuba ng’okimanyi nti tetusobola kwewalira ddala bizibu mu nsi ya Sitaani eno.Kub. 12:12.

2. (a) Ng’oggyeko ebizibu abantu bonna abatatuukiridde bye bafuna, kizibu ki Abakristaayo ab’amazima kye boolekagana nakyo? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Ani ali emabega w’okuyigganyizibwa kwe twolekagana nakwo, era ekyo tukimanya tutya?

2 Ng’oggyeko ebizibu ebituuka ku “bantu bonna” abatatuukiridde, Abakristaayo ab’amazima balina n’ekizibu ekirala kye boolekagana nakyo. (1 Kol. 10:13) Kizibu ki ekyo? Boolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi olw’okuba bamaliridde okusigala nga beesigwa eri Katonda. Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Omuddu tasinga mukama we. Oba nga nze banjigganyizza, nammwe bajja kubayigganya.” (Yok. 15:20) Ani ali emabega w’okuyigganyizibwa okwo? Tewali kubuusabuusa nti ye Sitaani, Bayibuli gw’eyogerako “ng’empologoma ewuluguma,” ng’anoonya okulya abantu ba Katonda. (1 Peet. 5:8) Sitaani akola kyonna ekisoboka okulaba nti aleetera abagoberezi ba Yesu okulekera awo okuba abeesigwa eri Yakuwa. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku mutume Pawulo.

EBIZIBU MU KIBUGA LUSITULA

3-5. (a) Kubonaabona ki Pawulo kwe yayitamu mu Lusitula? (b) Ebigambo bya Pawulo ebikwata ku kubonaabona byazzaamu bitya abayigirizwa amaanyi?

3 Olw’okuba Pawulo yali mwesigwa eri Katonda, emirundi mingi yayigganyizibwa. (2 Kol. 11:23-27) Lumu bwe yali mu Lusitula, Pawulo yawonya omusajja eyazaalibwa nga mulema. Ekyo kyaleetera abantu okwagala okusinza Pawulo ne Balunabba. Kyokka Pawulo ne Balunabba beegayirira abantu baleme kubasinza! Naye oluvannyuma lw’akaseera katono, waliwo Abayudaaya abajja ne boogera eby’obulimba ku Pawulo ne Balunabba. Ekyo kyaleetera abantu okukuba Pawulo amayinja n’abulako katono okufa.Bik. 14:8-19.

4 Oluvannyuma lw’okuva e Derube, Pawulo ne Balunabba “baddayo mu Lusitula, mu Ikoniyo ne mu Antiyokiya, nga bagumya abayigirizwa era nga babakubiriza okunywerera mu kukkiriza nga babagamba nti: ‘Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.’” (Bik. 14:21, 22) Mu kusooka, ebigambo ebyo biyinza okukwewuunyisa. Lwaki? Kubanga Pawulo bwe yali azzaamu bakkiriza banne amaanyi yabagamba nti bateekwa okuyita mu “kubonaabona kungi,” ekintu ekirabika ng’ekyali kibamalamu obumazi amaanyi. Naye kisoboka kitya okuba nti Pawulo ne Balunabba ‘baagumya abayigirizwa’ nga babagamba ebigambo ng’ebyo?

5 Tusobola okufuna eky’okuddamu singa twekenneenya bulungi ebigambo bya Pawulo. Pawulo teyagamba nti: “Tuteekwa okugumira okubonaabona kungi.” Mu kifo ky’ekyo, yagamba nti: “Tuteekwa okuyita mu kubonaabona kungi okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Bwe kityo, Pawulo essira yalissa ku kirabo abo abasigala nga beesigwa eri Yakuwa kye bajja okufuna. Ekirabo ekyo kya ddala. Yesu yagamba nti: “Oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”Mat. 10:22.

6. Kirabo ki abo abasigala nga beesigwa eri Yakuwa kye bajja okufuna?

6 Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tujja kufuna ekirabo. Abaafukibwako amafuta bajja kuweebwa ekirabo eky’obulamu obutasobola kuzikirizibwa, era bajja kufugira wamu ne Yesu mu ggulu. Ate bo ‘ab’endiga endala,’ bajja kufuna ekirabo eky’obulamu obutaggwaawo ku nsi, “obutuukirivu mwe bulibeera.” (Yok. 10:16; 2 Peet. 3:13) Kyokka ng’ekiseera ekyo tekinnatuuka, tujja kwolekagana n’ebizibu bingi. Lowooza ku bizibu bya mirundi ebiri bye tuyinza okwolekagana nabyo.

OKULUMBIBWA OBUTEREEVU

7. Biki ebizingirwa mu kulumbibwa obutereevu?

7 Yesu yagamba nti: “Abantu balibawaayo mu mbuga z’amateeka, balibakubira mu makuŋŋaaniro era balibatwala mu maaso ga bagavana ne bakabaka.” (Mak. 13:9) Ng’ebigambo ebyo bwe biraga, Abakristaayo abamu bandibadde balumbibwa butereevu. Bandibadde boolekagana n’okuyigganyizibwa, oboolyawo nga kusibuka mu bakulembeze b’amadiini oba bannabyabufuzi. (Bik. 5:27, 28) Ddamu olowooze ku Pawulo. Okuba nti yandibadde ayigganyizibwa kyamuleetera okutya? Nedda.Soma Ebikolwa 20:22, 23.

8, 9. Pawulo yakiraga atya nti yali mumalirivu okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa, era bakkiriza bannaffe abamu leero bamukoppye batya?

8 Pawulo yayolekanga obuvumu Sitaani ne bwe yabanga amulumbye butereevu. Yagamba nti: “Obulamu bwange sibutwala nga bwa muwendo gye ndi, kasita ntuukiriza olugendo lwange n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi agakwata ku kisa kya Katonda eky’ensusso.” (Bik. 20:24) Eky’okuba nti Pawulo yandiyigganyiziddwa tekyamuleetera kutya. Mu kifo ky’ekyo, yali mumalirivu okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa, mu mbeera yonna. Ekintu kye yali atwala ng’ekikulu mu bulamu bwe kwe kuwa “obujulirwa mu bujjuvu” wadde nga yandyolekaganye n’ebizibu bingi.

9 Ne leero, waliwo bakkiriza bannaffe bangi abafubye okusigala nga beesigwa eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, mu nsi emu bakkiriza bannaffe baasibibwa mu kkomera okumala emyaka nga 20 olw’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi. Kyokka okumala emyaka egyo gyonna, bakkiriza bannaffe abo tebaatwalibwako mu kkooti kuwozesebwa. Okugatta ku ekyo, tebakkirizanga muntu yenna kugenda kubalaba, nga mw’otwalidde n’ab’eŋŋanda zaabwe. Abamu ku bo baakubibwanga era ne batulugunyizibwa mu ngeri ezitali zimu.

10. Lwaki tetusaanidde kutya bizibu ebiggya embagirawo?

10 Bakkiriza bannaffe abamu boolekagana n’ebizibu ebiggya embagirawo. Bw’ofuna ebizibu ng’ebyo, tosaanidde kutya. Lowooza ku Yusufu. Yatundibwa mu buddu, naye Yakuwa ‘yamununula mu kubonaabona kwe kwonna.’ (Bik. 7:9, 10) Naawe Yakuwa asobola okukununula. Kikulu okukijjukira nti “Yakuwa amanyi okununula abo abamwemalirako okuva mu kugezesebwa.” (2 Peet. 2:9) Oneeyongera okwesiga Yakuwa ng’okimanyi nti ajja kusobola okukununula mu nteekateeka eno ey’ebintu era akuyambe okufuna obulamu obutaggwaawo mu Bwakabaka bwe? Waliwo ensonga nnyingi ezandikuleetedde okwesiga Yakuwa n’okwoleka obuvumu ng’oyigganyizibwa.1 Peet. 5:8, 9.

OKULUMBIBWA MU NGERI ENNEEKUSIFU

11. Obulumbaganyi Sitaani bw’aleeta mu ngeri enneekusifu bwawukana butya ku obwo bw’aleeta obutereevu?

11 Oluusi obulumbaganyi bwe tufuna bujja mu ngeri enneekusifu. Obulumbaganyi obwo bwawukana butya ku obwo obujja obutereevu? Obulumbaganyi obujja obutereevu buyinza okugeraageranyizibwa ku muyaga oguyinza okukuba ennyumba yo n’esaanawo. Ate obulumbaganyi obujja mu ngeri enneekusifu buyinza okugeraageranyizibwa ku nkuyege ezirya empolampola embaawo ze wazimbisa ennyumba yo, okutuusa ennyumba lw’enafuwa n’egwa. Obulumbaganyi obujja mu ngeri enneekusifu, omuntu ayinza obutabulabirawo okutuusa nga buvuddemu obuzibu obw’amaanyi.

12. (a) Emu ku ngeri enneekusifu Sitaani gy’atulumbamu y’eruwa, era lwaki ayagala nnyo okugikozesa? (b) Pawulo bwe yaggwamu amaanyi kyamuleetera kuwulira atya?

12 Sitaani ayagala okwonoona enkolagana yo ne Yakuwa. Ekyo ayinza okukikola ng’akulumba butereevu okuyitira mu kuyigganyizibwa oba ng’akulumba mu ngeri enneekusifu, oboolyawo ng’akumalamu amaanyi. Engeri eyo enneekusifu ayagala nnyo okugikozesa kubanga aba asobola okugenda ng’anafuya mpolampola okukkiriza kwo. N’omutume Pawulo ebiseera ebimu yawuliranga ng’aweddemu amaanyi. (Soma Abaruumi 7:21-24.) Naye lwaki Pawulo, omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi era ng’ayinza okuba nga yali omu ku abo abaali ku kakiiko akafuzi mu kyasa ekyasooka, yagamba nti yali “muntu munaku”? Obutali butuukirivu bwe bwe bwamuleetera okuwulira bw’atyo. Yayagalanga okukola ekituufu naye ebiseera ebimu tekyamwanguyiranga. Bwe kiba nti naawe ebiseera ebimu owulira ng’oweddemu amaanyi olw’obutali butuukirivu bwo, tekikuzzaamu amaanyi okukimanya nti n’omutume Pawulo ebiseera ebimu naye yawuliranga bw’atyo?

13, 14. (a) Kiki ekireetera abantu ba Katonda abamu okuwulira nga baweddemu amaanyi? (b) Ani ayagala okukkiriza kwo kusaanewo, era lwaki?

13 Ebiseera ebimu, abamu ku baweereza ba Katonda bawulira nga baweddemu amaanyi, nga beeraliikirivu, oba nga tebalina mugaso. Ng’ekyokulabirako, waliwo mwannyinaffe omu gwe tujja okuyita Debola, aweereza nga payoniya. Mwannyinaffe oyo agamba nti: “Ntera okulowooza ku nsobi gye nnakola, era buli lwe njirowoozaako mpulira nga mpeddemu amaanyi. Bwe ndowooza ku nsobi zonna ze nnakola, oluusi kindeetera okuwulira nti tewali muntu yenna asobola kunjagala, k’abe Yakuwa.”

14 Kiki ekireetera abamu ku baweereza ba Yakuwa abanyiikivu, nga Debola, okuwulira nga baweddemu amaanyi? Waliwo ensonga ezitali zimu. Abamu bayinza okuba nga buli kiseera balowooza ku nsobi zaabwe oba ku ebyo bye batasobola kukola. (Nge. 15:15) Ate abalala, bayinza okuba n’obulwadde obw’amaanyi oba obulemu ku mubiri ne kibaleetera okufuna endowooza eteri nnuŋŋamu. Ka kibe ki ekiba kikuleetedde okuggwaamu amaanyi, kikulu okukijjukira nti Sitaani y’ayagala oggweemu amaanyi otuuke n’okulekera awo okuweereza Yakuwa. Sitaani yasalirwa dda ogw’okufa, era ayagala naawe olowooze nti tolina ssuubi. (Kub. 20:10) Sitaani k’abe ng’atulumbye butereevu oba mu ngeri enneekusifu, ekigendererwa kye kwe kutuleetera okweraliikirira, okuddirira mu buweereza bwaffe, n’okuva ku Yakuwa. Ekyo tokikkiriza kukutuukako. Kijjukire nti ffenna abaweereza ba Yakuwa tuli mu lutalo olw’eby’omwoyo.

15. Tuyinza tutya okulaga nti tuli bamalirivu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

15 Ba mumalirivu obutalekulira. Weeyongere okulowooza ku kirabo Katonda ky’anaawa abo abasigala nga beesigwa gy’ali. Pawulo yagamba Abakristaayo ab’omu Kkolinso nti: “Tetulekulira, naye wadde ng’ekyo kye tuli kungulu kigenda kiggwaawo, ekyo kye tuli munda kizzibwa buggya buli lunaku. Wadde ng’okubonaabona kwa kaseera buseera ate nga kutono, kutuleetera ekitiibwa ekisingiridde era eky’olubeerera.”2 Kol. 4:16, 17.

WEETEGEKERE OKUBONAABONA

Abakristaayo beetendeka okulwanirira okukkiriza kwabwe (Laba akatundu 16)

16. Lwaki kikulu okwetegekera okubonaabona?

16 Nga bwe tulabye, Sitaani alina “enkwe” nnyingi z’akozesa okutulumba. (Bef. 6:11) Eyo ye nsonga lwaki buli omu ku ffe asaanidde okukolera ku magezi agali mu 1 Peetero 5:9, awagamba nti: “Mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza.” Ekyo okusobola okukikola, tulina okuteekateeka omutima gwaffe n’ebirowoozo byaffe nga twetendeka okukola ekituufu. Ng’ekyokulabirako: Abasirikale batera okutendekebwa n’okwegezaamu ne bwe waba nga tewali lutalo. Ekyo kibayamba okuba abeetegefu okulwana singa olutalo lubalukawo. Naffe bwe tutyo bwe tusaanidde okukola. Tetumanyidde ddala bizibu bya ngeri ki bye tujja okwolekagana nabyo mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, tusaanidde okwetendeka ennyo n’okwegezaamu nga wakyaliwo akalembereza. Omutume Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti: “Mwekeberenga okulaba obanga muli mu kukkiriza, mwegezese mumanyire ddala ekyo kye muli.”2 Kol. 13:5.

17-19. (a) Tuyinza tutya okwekebera? (b) Abaana bayinza batya okweteekateeka okubuulira abalala abikwata ku nzikiriza yaabwe nga bali ku ssomero?

17 Ekimu ku bintu ebinaatuyamba okukolera ku magezi Pawulo ge yawa kwe kwekebera mu bwesimbu. Weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Nnyiikirira okusaba? Bwe njolekagana n’okupikirizibwa, nfuba okugondera Katonda ng’omufuzi okusinga abantu? Nfuba okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa? Nfuba okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yange awatali kutya? Nfuba okugumiikiriza obunafu bwa bakkiriza bannange nga nabo bwe bagumiikiriza obwange? Nfuba okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina kyange n’abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa mu nsi yonna?’

18 Weetegereze nti bibiri ku bibuuzo ebyo bikwata ku kulwanirira okukkiriza kwaffe n’okuziyiza okupikirizibwa. Emirundi mingi, abaana baffe kibeetaagisa okulwanirira okukkiriza kwabwe n’okuziyiza ebikemo nga bali ku ssomero era bangi ku bo tebaswala era tebatya kwogera ku nzikiriza yaabwe. Bafuba okwogera n’obuvumu. Waliwo amagezi mangi agaweereddwa mu bitabo byaffe agasobola okuyamba abaana okulwanirira enzikiriza yaabwe. Ng’ekyokulabirako, Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 15, 2013, olupapula 6, gulaga engeri omwana gy’ayinza okwoleka obuvumu ng’ayogera ne bayizi banne ebikwata ku nzikiriza ye. Abazadde mufube okwegezaamu n’abaana bammwe, kibayambe okwetegekera okupikirizibwa kwe bayinza okwolekagana nakwo ku ssomero.

19 Kyo kituufu nti oluusi tekiba kyangu kwogera ku nzikiriza yaffe oba okukola ebintu ebirala Yakuwa by’atwetaagisa okukola. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okumala olunaku lwonna ku mulimu, kiyinza okutwetaagisa okwewaliriza okusobola okugenda mu nkuŋŋaana. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okwefiiriza otulo okusobola okuzuukuka ku makya okugenda okubuulira. Kyokka kikulu okukijjukira nti bwe tuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, kijja kutuyamba okwaŋŋanga embeera enzibu ze tuyinza okwolekagana nazo mu biseera eby’omu maaso.

20, 21. (a) Okufumiitiriza ku kinunulo kiyinza kitya okutuyamba bwe tuba tuwulira nga tuweddemu amaanyi? (b) Kiki kye tusaanidde okuba abamalirivu okukola?

20 Kiki kye tuyinza okukola bwe tuba tuwulira nga tuweddemu amaanyi? Ekimu ku bintu bye tuyinza okukola kwe kufumiitiriza ku kinunulo. Ekyo kyennyini omutume Pawulo kye yakola. Ebiseera ebimu naye yawuliranga ng’aweddemu amaanyi. Kyokka yali akimanyi nti Kristo teyafiirira bantu batuukiridde, wabula yafiirira abantu aboonoonyi nga ye. Pawulo yagamba nti: “Obulamu bwe nnina mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.” (Bag. 2:20) Mu butuufu, Pawulo yakkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu, era yali akitwala nti ssaddaaka eyo yaweebwayo ku lulwe.

21 Singa naawe okitwala nti ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu yaweebwayo ku lulwo, kijja kukuyamba nnyo. Kyokka ekyo tekitegeeza nti embeera ey’okuwulira ng’oweddemu amaanyi ejja kuggwaawo mbagirawo. Abamu ku ffe tuyinza okwolekagana n’embeera eyo okutuukira ddala lwe tuliyingira mu nsi empya. Naye kikulu okukijjukira nti abo abatalekulira be bajja okufuna ekirabo. Ekiseera kinaatera okutuuka Obwakabaka bwa Katonda buleete emirembe ku nsi era buyambe abantu bonna abeesigwa okufuuka abantu abatuukiridde. N’olwekyo, ba mumalirivu okuyingira mu Bwakabaka, ka kibe nga kinaakwetaagisa okuyita mu kubonaabona okungi.