Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enkizo ey’Okukolera Awamu ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo!

Enkizo ey’Okukolera Awamu ne Yakuwa Gitwale nga ya Muwendo!

“Tukolera wamu ne Katonda.”1 KOL. 3:9.

1. Yakuwa atwala atya emirimu, era ekyo kimuleetera kukola ki?

YAKUWA mukozi era asanyukira emirimu gye. (Zab. 135:6; Yok. 5:17) Okusobola okulaba nti n’abaweereza be bafuna ku ssanyu ng’eryo, abawa emirimu egitali gimu egibaleetera essanyu. Ng’ekyokulabirako, bwe yali atonda, yakolera wamu n’Omwana we omubereberye. (Soma Abakkolosaayi 1:15, 16.) Bayibuli egamba nti Yesu bwe yali tannajja ku nsi, yali wamu ne Yakuwa “ng’omukozi omukugu.”—Nge. 8:30, NW.

2. Kiki ekiraga nti bulijjo Yakuwa abaddenga awa bamalayika emirimu emikulu ennyo?

2 Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga nti bulijjo Yakuwa abadde awa bamalayika emirimu egitali gimu. Oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okwonoona era ne bagobebwa mu lusuku Adeni, Katonda yateeka “ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n’ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery’omuti ogw’obulamu.” (Lub. 3:24) Era Okubikkulirwa 22:6 walaga nti Yakuwa “yatuma malayika we okulaga abaddu be ebintu ebiteekwa okubaawo amangu.”

ABANTU NABO BAWEEBWA EMIRIMU

3. Bwe yali ku nsi, Yesu yakoppa atya Kitaawe?

3 Yesu bwe yali ku nsi, yakola n’essanyu omulimu Katonda gwe yamuwa. Okufaananako Kitaawe, Yesu naye yawa abayigirizwa  be omulimu omukulu ennyo. Okusobola okubaleetera okwagala ennyo okukola omulimu ogwo, Yesu yabagamba nti: “Mazima ddala mbagamba nti, Oyo anzikiriza ajja kukola emirimu gye nkola; era ajja kukola egisinga na gino, kubanga ŋŋenda eri Kitange.” (Yok.14:12) Yesu yayamba abayigirizwa be okukiraba nti baalina okukola omulimu ogwo mu bwangu bwe yabagamba nti: “Tuteekwa okukola emirimu gy’oyo eyantuma ng’obudde bukyali bwa misana; ekiro kijja omuntu yenna mw’atayinza kukolera.”—Yok. 9:4.

4-6. (a) Okuba nti Nuuwa ne Musa baatuukiriza emirimu Yakuwa gye yabawa kituganyula kitya? (b) Bintu ki ebibiri ebiva mu mirimu Katonda gy’awa abantu?

4 Emyaka mingi nga Yesu tannajja ku nsi, Yakuwa yawa abantu emirimu egitali gimu. Wadde nga Adamu ne Kaawa tebaatuukiriza mulimu ogwabaweebwa, waliwo abantu abalala abaatuukiriza emirimu Katonda gye yabawa. (Lub. 1:28) Yakuwa yawa Nuuwa obulagirizi ku ngeri y’okuzimbamu eryato asobole okuwonawo awamu n’ab’omu maka ge mu Mataba. Nuuwa yakola byonna nga Yakuwa bwe yamulagira. Singa Nuuwa teyagoberera bulagirizi bwa Yakuwa, tetwandibaddewo!—Lub. 6:14-16, 22; 2 Peet. 2:5.

5 Yakuwa yawa Musa omulimu ogw’okuzimba weema entukuvu n’okuteekateeka obwakabona. Musa yakolera ddala nga Katonda bwe yamugamba. (Kuv. 39:32; 40:12-16) Eky’okuba nti Musa yakolera ddala nga Yakuwa bwe yamulagira, kituganyula ne leero. Mu ngeri ki? Ng’omutume Pawulo bwe yannyonnyola, ebintu ebyali mu Mateeka byali bisonga ku ‘bintu ebirungi ebigenda okujja.’—Beb. 9:1-5, 9; 10:1.

6 Katonda awa abaweereza be emirimu egitali gimu okusinziira ku ngeri ekigendererwa kye gye kigenda kituukirizibwamu. Wadde ng’emirimu gy’awa abantu giyinza okuba egy’enjawulo, bulijjo gireetera Yakuwa okugulumizibwa era giganyula abantu abeesigwa. Bwe kityo bwe kyali ku mirimu Yesu gye yakola nga tannajja ku nsi n’egyo gye yakola ng’ali ku nsi. (Yok. 4:34; 17:4) Ne leero omulimu gwe tukola guleetera Yakuwa okugulumizibwa. (Mat. 5:16; soma 1 Abakkolinso 15:58.) Lwaki tugamba bwe tutyo?

OKUBA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU KU MIRIMU EGITUWEEBWA

7, 8. (a) Mirimu ki Abakristaayo leero gye beenyigiramu? (b) Tusaanidde kutwala tutya obulagirizi Yakuwa bw’atuwa?

7 Yakuwa awadde abantu abatatuukiridde enkizo ey’okukolera awamu naye. (1 Kol. 3:9) Abakristaayo abalina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene, Ebizimbe by’Obwakabaka, ne ofiisi z’amatabi, bakola emirimu egifaananako ng’egyo Nuuwa ne Musa gye baakola. K’obe ng’okola omulimu gw’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka mw’okuŋŋaanira oba ng’oyambako mu mulimu gw’okuzimba ekitebe kyaffe ekikulu mu Warwick, New York, enkizo eyo gitwale nga ya muwendo kubanga obwo buweereza butukuvu. (Laba ekifaananyi ekiraga engeri ekitebe kyaffe ekikulu gye kijja okufaananamu ku lupapula 23.) Kyokka tusaanidde okukijjukira nti ffenna tulina enkizo ey’okuzimba abalala mu by’omwoyo, nga guno gwe mulimu gw’okubuulira. Omulimu ogwo guleetera Yakuwa okugulumizibwa era guganyula abantu. (Bik. 13:47-49) Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa atuwa obulagirizi obwetaagisa okukola omulimu ogwo. Oluusi ekyo kiyinza okuzingiramu okuweebwa obuvunaanyizibwa obulala.

8 Abaweereza ba Katonda abeesigwa bulijjo babaddenga beetegefu okukolera ku bulagirizi bwonna bw’abawa. (Soma Abebbulaniya 13:7, 17.) Kyo kituufu nti mu kusooka tuyinza obutategeera nsonga lwaki tulagiddwa okukola omulimu mu ngeri emu oba endala. Wadde kiri kityo, tukimanyi bulungi nti bwe tukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’atuwa kivaamu emikisa mingi.

9. Kyakulabirako ki ekirungi abakadde kye bateereddewo ekibiina?

 9 Engeri abakadde gye batwalamu obukulembeze mu kibiina eraga nti baagala nnyo okukola Katonda by’ayagala. (2 Kol. 1:24; 1 Bas. 5:12, 13) Abakadde bakola n’obunyiikivu emirimu gyabwe era beetegefu okukolera ku bulagirizi obubaweebwa. Beetegefu okukola enkyukakyuka mu ngeri omulimu gwaffe ogw’okubuulira gye gukolebwamu. Wadde nga mu kusooka abamu bayinza okuba nga baafunamu enkenyera mu kukola enteekateeka ez’okukozesa essimu okubuulira, mu kubuulira ku myalo, oba okubuulira mu bifo ebya lukale, oluvannyuma baakiraba nti okukolera ku bulagirizi obwo kivaamu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, bapayoniya bana mu Bugirimaani baasalawo okubuulira mu bifo omukolerwa bizineesi ebyali biragajjaliddwa. Omu ku bapayoniya abo ayitibwa Michael yagamba nti: “Twawulira nga tutiddemu okuva bwe kiri nti twali tumaze emyaka mingi nga tetubuulira mu ngeri eyo. Ekyo Yakuwa ateekwa okuba nga yakiraba kubanga ku lunaku lwe twasooka okubuulira mu ngeri eyo, twafuna ebibala bingi. Nga kyali kya magezi okuba nti twakolera ku bulagirizi obuli mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka era ne twesiga Yakuwa okutuyamba!” Oli mwetegefu okwenyigira mu ngeri empya ez’okubuulira?

10. Nkyukakyuka ki ekibiina kya Yakuwa kye zikoze mu myaka mitono egiyise?

10 Oluusi ekibiina kya Yakuwa kikola enkyukakyuka ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, emyaka mitono egiyise, waliwo ofiisi z’amatabi ezimu ezaggibwawo ne zigattibwa ku ndala. Wadde ng’ekyo kyali kyetaagisa baganda baffe ne bannyinaffe abaweereza ku ofiisi z’amatabi ezo okubaako enkyukakyuka ez’amaanyi ze bakola, mu kiseera kitono baatandika okulaba ebibala ebivaamu. (Mub. 7:8) Bakkiriza bannaffe ng’abo basanyufu nnyo okubaako kye bakola okuwagira ekibiina kya Yakuwa mu nnaku zino ez’oluvannyuma!

11-13. Kusoomooza ki abamu kwe boolekaganye nakwo olw’enkyukakyuka ekibiina kya Yakuwa kye zikoze?

11 Waliwo bingi bye tuyigira ku bakkiriza bannaffe abaali ku ofiisi z’amatabi ezaggibwawo ne zigattibwa ku ndala. Abamu baali bamaze emyaka mingi nga baweereza ku Beseri mu nsi zaabwe. Ow’oluganda omu ne mukyala we abaali baweereza ku Beseri entono mu masekkati g’Amerika baasindikibwa ku Beseri y’omu Mexico, nga mu bunene ekubisaamu eyo gye baalimu emirundi nga 30. Rogelio agamba nti: “Tekyali kyangu kuleka ba ŋŋanda zaffe ne mikwano gyaffe.” Ow’oluganda omulala ayitibwa Juan naye eyasindikibwa mu Mexico, agamba nti: “Kibanga okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri; obanga atandika obutandisi okufuna emikwano. Kiba kikwetaagisa okuyiga empisa z’omu kitundu ekipya.”

12 Ofiisi z’amatabi ezimu mu Bulaaya bwe zaggibwawo, bangi ku Babeseri baasindikibwa okugenda okuweereza ku ofiisi y’ettabi ey’omu Bugirimaani. Ababeseri abo nabo tekyabanguyira kuva mu nsi zaabwe. Ng’ekyokulabirako, abo abaava mu Switzerland kiyinza okuba nga tekyabanguyira kuva mu nsi yaabwe omuli ensozi ezirabika obulungi. Ate abo abaava mu Austria, mu kusooka kiyinza okuba nga tekyabanguyira kubeera mu maka ga Beseri amanene ennyo.

13 Ababeseri abasindikibwa okugenda mu nsi endala, baba balina okumanyiira okusula mu bifo bye batamanyidde, okukola n’ab’oluganda oba bannyinaffe be babadde tebamanyi, oboolyawo n’okukola emirimu emirala. Baba balina okukuŋŋaanira mu bibiina ebipya n’okubuulira mu bitundu ebipya oboolyawo nga n’olulimi lwe bakozesa lulala. Wadde nga si kyangu kukola nkyukakyuka ng’ezo, Ababeseri bangi bakkiriza okuzikola. Lwaki beetegefu okukola enkyukakyuka ezo?

14, 15. (a) Ab’oluganda bangi bakiraze batya nti beetegefu okukolera awamu ne Yakuwa mu mbeera yonna? (b) Tuyinza tutya okubakoppa?

 14 Grethel agamba nti: “Nnakkiriza okugenda mu nsi endala kubanga nnali njagala okulaga Yakuwa nti okwagala kwe nnina gy’ali tekwesigamye ku nsi gye mpeererezaamu, oba ekizimbe, oba enkizo gye nnina.” Dayska agamba nti: “Bwe nnakijjukira nti Yakuwa ye yali ansindise, nnakkiriza okugenda.” André ne Gabriela nabo bagamba nti: ‘Twakiraba nti twali tufunye akakisa okukiraga nti okuweereza Yakuwa kye tukulembeza mu bulamu bwaffe mu kifo ky’okukulembeza ebyaffe ku bwaffe. Tuli bamalirivu okukolera ku nkyukakyuka zonna ezikolebwa mu kibiina kya Yakuwa.’

Enkizo esinga obukulu gye tulina kwe kukola emirimu gya Yakuwa!

15 Ofiisi z’amatabi bwe zigattibwa, Ababeseri abamu basindikibwa okuweereza nga bapayoniya. Bwe kityo bwe kyali ku Babeseri abawerako, ofiisi y’ettabi ey’omu Denmark, Norway, ne Sweden bwe zaagattibwa. Florian ne Anja be bamu ku abo abaasindikibwa okuweereza nga bapayoniya. Bagamba nti: “Wadde nga kyali kitwetaagisa okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwaffe, twali beetegefu okuzikola. Twali basanyufu okuweereza Yakuwa yonna gy’ayagala tumuweerereze. Mu butuufu, tufunye emikisa mingi!” Wadde nga bangi ku ffe kiyinza obutatwetaagisa kukola nkyukakyuka ng’ezo ez’amaanyi, bakkiriza bannaffe abo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kukulembeza Obwakabaka. (Is. 6:8) Bulijjo Yakuwa awa omukisa abo abeetegefu okukolera awamu naye mu mbeera yonna.

WEEYONGERE OKUKOLERA AWAMU NE YAKUWA

16. (a) Abaggalatiya 6:4 watukubiriza kukola ki? (b) Nkizo ki esingayo obukulu buli muntu gy’asobola okufuna?

16 Abantu abatatuukiridde batera okwegeraageranya ku balala, naye Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okussa essira ku ebyo bye tusobola okukola. (Soma Abaggalatiya 6:4.) Abasinga obungi ku ffe tetulina buvunaanyizibwa bwa maanyi mu kibiina. Ate era, abamu ku ffe embeera zaffe tezitusobozesa kuweereza nga bapayoniya, nga baminsani, oba ng’Ababeseri. Enkizo ezo nnungi nnyo! Naye kikulu  okukijjukira nti enkizo esingayo obukulu y’eyo ffenna gye tulina. Eyo ye nkizo ey’okukolera awamu ne Yakuwa mu mulimu gw’okubuulira. Enkizo eyo tusaanidde okugitwala nga ya muwendo nnyo!

17. Ng’ensi ya Sitaani eno ekyaliwo, kiki kye tulina okusuubira, naye lwaki ekyo tekisaanidde kutumalamu maanyi?

17 Ng’ensi ya Sitaani eno ekyaliwo, tuyinza obutasobola kuweereza Yakuwa nga bwe twandyagadde. Ebintu gamba ng’obuvunaanyizibwa mu maka, obulwadde, n’embeera endala eziteebeereka, biyinza okutulemesa okuweereza Yakuwa nga bwe twandyagadde. Naye ekyo tekisaanidde kutumalamu maanyi. Ka tube nga tulina kizibu ki, ffenna tusobola okweyongera okubuulira abalala ebikwata ku linnya lya Yakuwa n’Obwakabaka bwe. Ekisinga obukulu kwe kukola kyonna ekisoboka okuweereza Yakuwa, nga bwe tumusaba ayambe bakkiriza bannaffe abasobola okukola ekisingawo mu buweereza bwabwe. Kijjukire nti buli muntu atendereza erinnya lya Yakuwa wa muwendo nnyo mu maaso ge!

18. Kiki kye tusaanidde okwewala, era lwaki?

18 Wadde nga tetutuukiridde era nga tulina obunafu obutali bumu, Yakuwa atuwadde enkizo okukolera awamu naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma. Tusaanidde okutwala enkizo eyo nga ya muwendo nnyo! N’olwekyo, ka tufube okwewala okukulembeza ebyaffe ku bwaffe, nga tukimanyi nti mu nsi empya, Yakuwa ajja kutuwa “obulamu obwa nnamaddala,” nga buno bwe bulamu obutaggwaawo obunaaba bujjudde emirembe n’essanyu.—1 Tim. 6:18, 19.

Enkizo y’obuweereza gy’olina ogitwala nga ya muwendo? (Laba akatundu 16-18)

19. Kiki Yakuwa ky’atusuubizza?

19 Ensi ya Katonda empya eneetera okutuuka. N’olwekyo kikulu nnyo okulowooza ku bigambo Musa bye yagamba Abaisiraeri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize. Yagamba nti: “Yakuwa Katonda wo alikuwa ebintu bingi mu mirimu gyonna egy’emikono gyo.” (Ma. 30:9, NW) Kalumagedoni bw’anaggwa, abo bonna ababadde bafuba okukolera awamu ne Katonda bajja kusikira ensi gye yasuubiza. Olwo nno, tujja kutandika omulimu ogw’okufuula ensi eno olusuku olulabika obulungi!