Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuzuukira kwa Yesu Kutuganyula Kutya?

Okuzuukira kwa Yesu Kutuganyula Kutya?

“Yazuukiziddwa.”—MAT. 28:6.

1, 2. (a) Kiki abakulembeze b’eddiini abamu kye baali baagala okumanya, era kiki Peetero kye yabagamba? (Laba ekifaananyi wagulu.) (b) Kiki ekyayamba Peetero okwoleka obuvumu?

BWE waali waakayita wiiki ntono oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, omutume Peetero yeesanga mu mbeera enzibu. Yeesanga mu maaso g’abasajja abaali abanyiivu ennyo. Abasajja abo baali bakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya, era be baali bakoze olukwe okutta Yesu. Baali banyiize olw’okuba Peetero yali awonyezza omusajja eyali omulema okuva mu buto. Baali baagala okumanya maanyi ki oba linnya ly’ani eryali lisobozesezza Peetero okuwonya omusajja oyo. Peetero yabagamba nti: “Omusajja ono ayimiridde mu maaso gammwe nga mulamu bulungi, awonyezeddwa mu linnya lya Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu.”—Bik. 4:5-10.

2 Emabegako, okutya kwali kuleetedde Peetero okwegaana Yesu emirundi esatu. (Mak. 14:66-72) Naye bwe yali mu maaso g’abakulembeze b’eddiini, Peetero yayoleka obuvumu. Kiki ekyamuyamba? Ng’oggyeko okuba nti omwoyo omutukuvu gwamuyamba, Peetero era yali mukakafu nti Yesu yali azuukidde era nti yali mulamu. Kiki ekyaleetera Peetero okuba omukakafu nti Yesu yali mulamu? Era lwaki naffe tuli bakakafu nti Yesu mulamu?

3, 4. (a) Bantu ki abaazuukizibwa nga n’abatume ba Yesu tebannazaalibwa? (b) Bantu ki Yesu be yazuukiza?

3 Abatume baali bakimanyi nti omuntu aba afudde asobola okuddamu okuba omulamu. Ekyo kiri kityo kubanga bwe baali tebannaba na kuzaalibwa, Katonda yawa nnabbi Eriya ne Erisa amaanyi okukola ebyamagero, nga mw’otwalidde n’okuzuukiza abafu. (1 Bassek. 17:17-24; 2 Bassek. 4:32-37) Waliwo n’omusajja eyali afudde eyazuukira oluvannyuma lw’omulambo gwe okukoona ku magumba ga Erisa. (2 Bassek. 13:20, 21) Abakristaayo abaasooka baali bakkiririza mu Byawandiikibwa ng’ebyo, nga naffe bwe tubikkiririzaamu.

4 Kitusanyusa nnyo okusoma ku bantu Yesu be yazuukiza. Yesu bwe yazuukiza omwana omu yekka nnamwandu gwe yalina, nnamwandu oyo ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo. (Luk. 7:11-15) Ku mulundi omulala, Yesu yazuukiza omuwala ow’emyaka 12. Lowooza ku ssanyu bazadde be abaali mu nnaku ey’amaanyi lye baafuna oluvannyuma lw’okulaba nga muwala waabwe azzeemu okuba omulamu! (Luk. 8:49-56) Ate era lowooza ku ssanyu abantu lye baawulira bwe baalaba Lazaalo ng’ava mu ntaana nga mulamu!—Yok. 11:38-44.

LWAKI OKUZUUKIRA KWA YESU KWALI KWA NJAWULO?

5. Lwaki okuzuukira kwa Yesu kwali kwa njawulo ku kuzuukira kwonna okwali kubaddewo ng’okukwe tekunnabaawo?

5 Abatume baali bakimanyi nti okuzuukira kwa Yesu kwali kwa njawulo nnyo ku kuzuukira kwonna okwaliwo ng’okukwe tekunnabaawo. Abantu abaazuukizibwa baazuukira na mibiri gya nnyama era oluvannyuma baddamu ne bafa. Kyokka Yesu yazuukizibwa na mubiri gwa mwoyo ogutasobola kuvunda. (Soma Ebikolwa 13:34.) Peetero yagamba nti Yesu “yattibwa mu mubiri naye n’afuulibwa mulamu mu mwoyo.” Era yagamba nti Yesu “ali ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo, kubanga yagenda mu ggulu; era bamalayika n’ab’obuyinza n’ab’amaanyi baateekebwa wansi we.” (1 Peet. 3:18-22) Wadde ng’okuzuukira kw’abantu abo kyali kyamagero, okuzuukira kwa Yesu kyali kyamagero ekitageraageranyizika.

6. Okuzuukira kwa Yesu kwakwata kutya ku bayigirizwa be?

6 Okuzuukira kwa Yesu kwakwata nnyo ku bayigirizwa be. Yali takyali mufu ng’abalabe be bwe baali balowooza. Yesu yali mulamu, ng’alina omubiri ogw’omwoyo, nga wa maanyi nnyo, era nga tewali muntu yenna yali akyasobola kumukolako kabi. Yesu okuzuukira kyalaga nti yali Mwana wa Katonda, era ekyo abatume be bwe baakimanya baalekera awo okuba abanakuwavu, ne basanyuka nnyo. Ate era abatume baafuna obuvumu obw’amaanyi. Okuzuukira kwa Yesu kyali kintu kikulu nnyo mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa era kye kimu ku bintu ebikulu ennyo ebyali mu mawulire amalungi abatume ge baabuuliranga.

7. Kiki Yesu ky’akola kati, era bibuuzo ki bye tuyinza okwebuuza?

7 Abaweereza ba Yakuwa tukimanyi bulungi nti Yesu yali muntu wa njawulo nnyo. Yesu kati mulamu era alabirira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, mu kiseera ekitali kya wala Yesu Kristo ajja kumalawo ebintu ebibi byonna ku nsi agifuule olusuku lwa Katonda abantu mwe bajja okubeera emirembe gyonna. (Luk. 23:43) Ebyo byonna tebyandisobose singa Yesu teyazuukira. Naye tukakasiza ku ki nti Yesu yazuukizibwa? Era, okuzuukira kwa Yesu kutuganyula kutya?

YAKUWA AKIRAGA NTI ALINA OBUYINZA KU KUFA

8, 9. (a) Lwaki abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baasaba entaana Yesu mwe yaziikibwa ekuumibwe bulungi? (b) Kiki ekyaliwo ng’abakazi bagenze ku ntaana Yesu mwe yali aziikiddwa?

8 Oluvannyuma lwa Yesu okuttibwa, bakabona abakulu n’Abafalisaayo baagenda eri Piraato ne bamugamba nti: “Ssebo, tujjukidde nti omulimba ono bwe yali akyali mulamu yagamba nti, ‘Oluvannyuma lw’ennaku ssatu nja kuzuukizibwa.’ Kale, lagira bakuumire ddala entaana ye okutuusa ku lunaku olw’okusatu, abayigirizwa be baleme kujja kumubbamu era bagambe abantu nti, ‘Yazuukizibwa okuva mu bafu!’ obulimba buno obw’oluvannyuma ne businga obw’olubereberye.” Piraato yabagamba nti: “Mulina abakuumi. Mugende mugikuumire ddala nga bwe musobola.” Ekyo kyennyini kye baakola.—Mat. 27:62-66.

9 Omulambo gwa Yesu gwateekebwa mu ntaana eyali yasimibwa mu lwazi era n’eteekebwako ejjinja eddene. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baali baagala Yesu abeere mu ntaana eyo emirembe n’emirembe. Naye ekyo Yakuwa si kye yali ayagala. Maliyamu Magudaleena ne Maliyamu omulala bwe baatuuka ku ntaana ku lunaku olw’okusatu, baasanga ejjinja liggiddwa ku ntaana era nga malayika alituddeko. Malayika yagamba abakyala abo okutunula mu ntaana basobole okukakasa nti temuli muntu. Malayika era yabagamba nti: “Taliiwo wano. Yazuukiziddwa.” (Mat. 28:1-6) Mu butuufu, Yesu yali mulamu!

10. Biki Pawulo bye yayogera ebikakasa nti Yesu yazuukizibwa?

10 Ebintu ebyaliwo mu nnaku 40 ezaddirira byakakasiza ddala nti Yesu yali azuukiziddwa. Omutume Pawulo yagamba Abakkolinso nti: “Mu bintu ebikulu nange bye nnaweebwa, nnabatuusaako ekigamba nti Kristo yafa ku lw’ebibi byaffe ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba era nti yaziikibwa, n’azuukizibwa ku lunaku olw’okusatu ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba; era yalabikira Keefa, ate n’alabikira n’ekkumi n’ababiri. Oluvannyuma yalabikira ab’oluganda abasukka mu bikumi bitaano omulundi gumu, abasinga obungi bakyaliwo naye abamu beebaka mu kufa. Oluvannyuma n’alabikira Yakobo, n’azzaako abatume bonna; oluvannyuma lwa bonna n’alabikira nange ng’omwana omusowole.”—1 Kol. 15:3-8.

ENSONGA LWAKI TULI BAKAKAFU NTI YESU YAZUUKIZIBWA

11. Lwaki tugamba nti okuzuukira kwa Yesu kwaliwo “ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba”?

11 Emu ku nsonga lwaki tuli bakakafu nti Yesu yazuukizibwa okuva mu bafu eri nti okuzuukizibwa kwe kwaliwo “ng’Ebyawandiikibwa bwe bigamba.” Ekigambo kya Katonda kyali kyayogera ku kuzuukira kwa Yesu. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yawandiika nti “omutukuvu” wa Katonda teyandirekeddwa mu ntaana. (Soma Zabbuli 16:10.) Ku lunaku lwa Pentekooti 33 E.E., omutume Peetero yajuliza obunnabbi obwo n’alaga nti bwali butuukiriziddwa ku Yesu. Yagamba nti: “[Dawudi] yamanya ebiribaawo era n’ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nti, teyalekebwa Magombe era omubiri gwe tegwavunda.”—Bik. 2:23-27, 31.

12. Baani abaalaba ku Yesu ng’azuukiziddwa?

12 Ensonga ey’okubiri lwaki tuli bakakafu nti Yesu yazuukizibwa eri nti waliwo bangi abaamulabako ng’amaze okuzuukizibwa. Mu nnaku 40 ezaddirira oluvannyuma lw’okuzuukira kwe, Yesu yalabikira abayigirizwa be mu nnimiro omwali entaana ye, ku luguudo olugenda e Emawo, ne mu bifo ebirala. (Luk. 24:13-15) Yayogerako n’abantu abatali bamu, omwali Peetero, era yayogerako n’eri ebibiina by’abantu. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okuzuukira lumu Yesu yalabikira abantu abaali basukka mu 500! Okuba nti waliwo abantu bangi abaalaba ku Yesu ng’amaze okuzuukira, kikakasa nti ddala yazuukira.

13. Obunyiikivu abayigirizwa bwe baayoleka bwalaga butya nti baali bakakafu nti Yesu yali azuukiziddwa?

13 Ensonga ey’okusatu lwaki tuli bakakafu nti Yesu yazuukizibwa kwe kuba nti abatume baayoleka obunyiikivu nga babuulira abalala ebikwata ku kuzuukira kwe. Okubuulira abalala ebikwata ku kuzuukira kwa Yesu kyabaviirako okuyigganyizibwa, okubonyaabonyezebwa, n’okuttibwa. Bwe kiba nti Yesu yali tazuukiziddwa, ddala Peetero yanditadde obulamu bwe mu kabi n’abuulira abakulembeze b’eddiini, abaali batayagala Yesu era abaakola olukwe okumutta, nti Yesu yazuukizibwa? Nedda. Mu butuufu, Peetero n’abatume abalala baali bakakafu nti Yesu yali mulamu era nti ye yali alabirira omulimu gw’okubuulira Katonda gwe yali ayagala gukolebwe. Ate era okuzuukizibwa kwa Yesu kwaleetera abagoberezi be okuba abakakafu nti nabo bwe bandifudde bandizuukiziddwa. Ng’ekyokulabirako, Suteefano yafa nga mukakafu nti wajja kubaawo okuzuukira.—Bik. 7:55-60.

14. Lwaki tuli bakakafu nti Yesu mulamu?

14 Ensonga ey’okuna lwaki tuli bakakafu nti Yesu yazuukizibwa kwe kuba nti waliwo obukakafu bungi obulaga nti kati afuga nga Kabaka era nti ye Mutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. Abakristaayo ab’amazima beeyongera obungi. Ddala ekyo kyandisobose singa Yesu yali tazuukiziddwa? Mu butuufu, singa Yesu teyazuukira, oboolyawo tetwandimuwuliddenako. Kyokka tuli bakakafu nti Yesu mulamu era nti alabirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ogukolebwa mu nsi yonna.

OKUZUUKIRA KWA YESU KUTUGANYULA KUTYA?

15. Okuba nti Yesu yazuukira kituyamba kitya okuba abavumu nga tubuulira?

15 Okuba nti Kristo yazuukizibwa kituwa obuvumu okubuulira. Okumala emyaka nga 2,000, abalabe ba Katonda bakozesezza eby’okulwanyisa ebitali bimu okulaba nti bakomya omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Mu by’okulwanyisa ebyo mwe muli obwakyewaggula, okuvuma abantu ba Katonda, okuwera omulimu gwabwe, okubatulugunya, n’okubatta. Wadde kiri kityo, ‘tewali kya kulwanyisa kye baweesezza okulwana naffe’ ekisobodde okukomya omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Is. 54:17) Tetutya baddu ba Sitaani, kubanga Yesu ali wamu naffe era atuwagira, nga bwe yasuubiza. (Mat. 28:20) Tetusaanidde kutya kintu kyonna kubanga tukimanyi nti abalabe ka bakole ki, tebasobola kukomya mulimu gwa kubuulira!

Okuba nti Yesu yazuukira kituwa obuvumu okubuulira (Laba akatundu 15)

16, 17. (a) Okuzuukira kwa Yesu kukakasa kutya nti ebyo bye yayigiriza bituufu? (b) Okusinziira ku Yokaana 11:25, buyinza ki Katonda bwe yawa Yesu?

16 Okuzuukira kwa Yesu kukakasa nti ebyo byonna bye yayigiriza bituufu. Pawulo yagamba nti bwe kiba nti Kristo teyazuukira, okukkiriza kw’Abakristaayo n’omulimu gwabwe ogw’okubuulira byandibadde bya bwereere. Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Bwe kiba nti Kristo teyazuukira, . . . olwo nno Abakristaayo baba bantu abatalowooza era abamala gakkiriza eby’obulimba.” Bwe kiba nti Yesu teyazuukira, ebitabo by’Enjiri byandibadde ng’olugero obugero olukwata ku musajja omulungi era ow’amagezi eyattibwa abalabe be. Naye ekituufu kiri nti Kristo yazuukira, era ekyo kikakasa nti ebintu byonna bye yayigiriza, nga mw’otwalidde n’ebyo ebikwata ku biseera eby’omu maaso, bituufu ddala.—Soma 1 Abakkolinso 15:14, 15, 20.

17 Yesu yagamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu. Oyo anzikiriza ne bw’aliba ng’afudde, aliba mulamu.” (Yok. 11:25) Tewali kubuusabuusa nti ebigambo bya Yesu ebyo bijja kutuukirira. Yakuwa yawa Yesu obuyinza okuzuukiza abo abanaagenda mu ggulu awamu n’obukadde n’obukadde bw’abantu abanaabeera ku nsi emirembe gyonna. Okuba nti Yesu yafa era n’azuukira kikakasa nti okufa kujja kuggibwawo. Okumanya ekyo kisaanidde okutuyamba okuba abeetegefu okugumira ekizibu kyonna n’obutatya kufa.

18. Okuba nti Yesu yazuukira kitukakasa ki?

18 Okuba nti Yesu yazuukizibwa, kitukakasa nti abantu bajja kulamulwa okusinziira ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. Ng’ayogera eri abantu mu Asene, Pawulo yagamba nti: ‘Katonda ajja kusalira ensi omusango mu butuukirivu ng’ayitira mu muntu gw’alonze, era awadde abantu bonna obukakafu ng’amuzuukiza mu bafu.’ (Bik. 17:31) Yesu ye Mulamuzi Katonda gw’alonze, era tuli bakakafu nti ajja kulamula abantu mu ngeri ey’okwagala era ey’obwenkanya.—Soma Isaaya 11:2-4.

19. Okukkiriza kwe tulina mu kuzuukira kwa Kristo kutukwatako kutya?

19 Okukkiriza kwe tulina mu kuzuukira kwa Yesu kutukubiriza okukola Katonda by’ayagala. Singa Yesu teyafa era n’azuukira, twandibadde mu bufuge bw’ekibi n’okufa emirembe n’emirembe. (Bar. 5:12; 6:23) Mu butuufu, singa Yesu teyazuukira naffe twandibadde tugamba nti: “Ka tulye era tunywe, kubanga enkya tujja kufa.” (1 Kol. 15:32) Naye ffe tetwemalira ku masanyu g’ensi eno. Mu kifo ky’ekyo, essuubi lyaffe ery’okuzuukira tulitwala nga lya muwendo nnyo era tuli bamalirivu okukolera ku bulagirizi bwonna Yakuwa bw’atuwa.

20. Okuzuukira kwa Yesu kwalaga kutya nti Katonda alina amaanyi mangi nnyo?

20 Okuba nti Kristo yazuukira kiraga nti Yakuwa, oyo “awa empeera abo abafuba okumunoonya,” alina amaanyi mangi nnyo. (Beb. 11:6) Lowooza ku magezi n’amaanyi ag’ekitalo Yakuwa ge yakozesa okuzuukiza Yesu era n’amuwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa! Mu butuufu Katonda yakiraga nti asobola okutuukiriza ebisuubizo bye byonna. Mu bisuubizo ebyo mwe muli ekyo ekikwata ku ‘zzadde’ eryandiyambye ennyo mu kugonjoola ensonga ekwata ku bufuzi bw’obutonde bwonna. Ekisuubizo ekyo okusobola okutuukirira, kyali kyetaagisa Yesu okufa era n’azuukira.—Lub. 3:15.

21. Essuubi ery’okuzuukira likuganyula litya?

21 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa atuwadde essuubi ery’okuzuukira! Bayibuli egamba nti: “Laba! Eweema ya Katonda eri wamu n’abantu, era anaabeeranga wamu nabo, era baliba bantu be. Katonda yennyini aliba wamu nabo. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.” Ebigambo ebyo byategeezebwa omutume Yokaana, era n’agambibwa nti: “Wandiika, kubanga ebigambo bino bya bwesige era bya mazima.” Okwolesebwa okwo kwatuuka kutya ku Yokaana? Kwamutuukako okuyitira mu Yesu Kristo eyali azuukiziddwa.Kub. 1:1; 21:3-5.