Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Abantu Abalina Yakuwa nga Ye Katonda Waabwe”

“Abantu Abalina Yakuwa nga Ye Katonda Waabwe”

“Abantu abalina Yakuwa nga ye Katonda waabwe, balina essanyu”—ZAB. 144:15, NW.

1. Biki abamu bye boogera ku ky’okuba nti Katonda alina abantu be ku nsi?

LEERO waliwo abantu bangi abagamba nti amadiini tegalina kya maanyi kye gakoze kuganyula bantu. Abamu bagamba nti Katonda tayinza kuba ng’asiima amadiini olw’okuba tegayigiriza mazima gamukwatako era gakola ebintu ebibi bingi. Ate era bagamba nti mu madiini gonna mulimu abantu abeesimbu era nti Katonda abalaba era nti abatwala ng’abaweereza be. Bagamba nti abantu abo tekibeetaagisa kuva mu madiini gaabwe ag’obulimba okusobola okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima. Naye ekyo kituufu? Ka tufune eky’okuddamu nga twekenneenya ebyo Bayibuli by’eyogera ku byafaayo by’abaweereza ba Yakuwa.

ABANTU BA KATONDA AB’ENDAGAANO

2. Baani abaafuuka abantu ba Katonda abaawuliddwawo, era kiki ekyali kibaawulawo ku bantu abalala? (Laba ekifaananyi waggulu.)

2 Ekyasa ekya 20 E.E.T. we kyatuukira, Yakuwa yali alina abantu be ku nsi abaawuliddwawo. Ibulayimu, “kitaawe w’abo bonna ababa n’okukkiriza,” yalina abantu bangi mu maka ge. (Bar. 4:11; Lub. 14:14) Abafuzi b’omu Kanani baali bamutwala ‘ng’omukungu omukulu’ era baali bamussaamu nnyo ekitiibwa. (Lub. 21:22; 23:6) Yakuwa yakola endagaano ne Ibulayimu n’ezzadde lye. (Lub. 17:1, 2, 19) Katonda yagamba Ibulayimu nti: “Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, eri nze nammwe n’ezzadde lyo eririddawo; buli musajja mu mmwe anaakomolwanga. . . . Era [okukomolwa] kunaabanga kabonero ak’endagaano eri nze nammwe.” (Lub. 17:10, 11) Bwe kityo, Ibulayimu n’abasajja bonna ab’omu nnyumba ye baakomolebwa. (Lub. 17: 24-27) Okukomolebwa ke kabonero akalabikako akaali kaawulawo bazzukulu ba Ibulayimu ng’abantu Yakuwa be yali akoze nabo endagaano.

3. Bazzukulu ba Ibulayimu baatuuka batya okufuuka abangi ennyo?

3 Muzzukulu wa Ibulayimu Yakobo, oba Isiraeri, yalina abaana ab’obulenzi 12. (Lub. 35:10, 22b-26) Abaana be abo be baali bagenda okuvaamu ebika bya Isiraeri 12. (Bik. 7:8) Enjala bwe yagwa mu Kanani, Yakobo n’ab’ennyumba ye baasengukira e Misiri. Mu Misiri waaliyo mutabani wa Yakobo, Yusufu, eyalina obuvunaanyizibwa obw’okugabira abantu emmere era nga y’addirira Falaawo mu buyinza. (Lub. 41:39-41; 42:6) Bwe baali e Misiri, bazzukulu ba Yakobo beeyongera okwala ne bafuuka bangi nnyo.—Lub. 48:4; soma Ebikolwa 7:17.

YAKUWA ANUNULA ABANTU BE

4. Mu kusooka, nkolagana ki eyali wakati w’Abamisiri ne bazzukulu ba Yakobo?

4 Bazzukulu ba Yakobo baamala emyaka egisukka mu 200 mu Misiri nga babeera mu Goseni, ekitundu ekiri okumpi n’omugga Kiyira. (Lub. 45:9, 10) Okumala emyaka nga 100, Abaisiraeri baali mu mirembe n’Abamisiri, nga babeera mu bubuga obutono era nga balunda ebisibo byabwe n’amagana gaabwe. Falaawo yali yabakkiriza okubeera mu Misiri, olw’okuba yali amanyi Yusufu era ng’amwagala nnyo. (Lub. 47:1-6) Abantu b’omu Misiri baali tebaagala bantu balunda ndiga. (Lub. 46:31-34) Wadde kyali kityo, bakkiriza okubeera n’Abaisiraeri olw’okuba Falaawo yali abakkirizza okubeera mu Misiri.

5, 6. (a) Embeera y’abantu ba Katonda yakyuka etya nga bali e Misiri? (b) Musa yawona atya okuttibwa, era kiki Yakuwa kye yakolera abantu be?

5 Oluvannyuma lw’ekiseera, embeera y’abantu ba Katonda yakyuka. Bayibuli egamba nti: “Awo ne [wajja] kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. N’abagamba abantu be nti Laba, abantu b’abaana ba Isiraeri bangi ba maanyi okusinga ffe: Abamisiri ne babakoza emirimu abaana ba Isiraeri n’amaanyi: ne [bakalubya] obulamu bwabwe mu buddu obuzibu, okutegana n’ebbumba n’amatoffaali, era n’obuddu bwonna obw’omu nsuku, obuddu bwonna bwe baabakoza n’amaanyi.”—Kuv. 1:8, 9, 13, 14.

6 Falaawo yatuuka n’okulagira nti abaana bonna ab’obulenzi ab’Abebbulaniya abazaalibwa battibwe. (Kuv. 1:15, 16) Mu kiseera ekyo ne Musa mwe baamuzaalira. Bwe yali wa myezi esatu, maama we yamukweka mu bitoogo ebyali ku mugga Kiyira, era eyo muwala wa Falaawo gye yamusanga n’amutwala n’amufuula omwana we. Yamukwasa nnyina, Yokebedi, okumukuza. Oluvannyuma lw’ekiseera, Musa yafuuka omuweereza wa Yakuwa omwesigwa. (Kuv. 2:1-10; Beb. 11:23-25) Yakuwa yalaba okubonaabona kw’abantu be era n’asalawo okukozesa Musa okubaggya mu Misiri. (Kuv. 2:24, 25; 3:9, 10) Bw’atyo Yakuwa yanunula abantu be.—Kuv. 15:13; soma Ekyamateeka 15:15.

ABANTU BA KATONDA BAFUUKA EGGWANGA

7, 8. Abantu ba Yakuwa baafuuka batya eggwanga ettukuvu?

7 Wadde nga Yakuwa yali tannafuula Baisiraeri ggwanga, yali abatwala ng’abantu be. Yakuwa yalagira Musa ne Alooni okugamba Falaawo nti: “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Leka abantu bange bankolera embaga mu ddungu.”—Kuv. 5:1.

8 Naye Falaawo yali tayagala kuleka Baisiraeri kugenda. Okusobola okubanunula, Yakuwa yaleeta ebibonyoobonyo kkumi ku Misiri era oluvannyuma n’azikiriza Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. (Kuv. 15:1-4) Waali tewannayita na myezi esatu, Yakuwa n’akola endagaano n’Abaisiraeri ku Lusozi Sinaayi era n’abagamba nti: “Bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna: . . . eggwanga ettukuvu.”—Kuv. 19:5, 6.

9, 10. (a) Okusinziira ku Ekyamateeka 4:5-8, Amateeka gaayawulawo gatya Abaisiraeri okuva ku bantu abalala? (b) Kiki Abaisiraeri kye baalina okukola okusobola okuba “eggwanga ettukuvu” eri Yakuwa?

9 Okumala ebyasa bingi, emitwe gy’amaka be baatwalanga obukulembeze mu bantu ba Yakuwa. Emitwe gy’amaka baakolanga ng’abafuzi, abalamuzi, era bakabona. Bwe baali mu Misiri nga tebannafuulibwa baddu, Abaisiraeri beeyongera okugoberera enkola eyo. (Lub. 8:20; 18:19; Yob. 1:4, 5) Kyokka, ng’ayitira mu Musa, Yakuwa yawa Abaisiraeri Amateeka agandibaawuddewo okuva ku mawanga amalala gonna. (Soma Ekyamateeka 4:5-8; Zab. 147:19, 20.) Okuyitira mu Mateeka, obwakabona bwateekebwawo, era “abakadde,” abaali bassibwamu ekitiibwa olw’obumanyirivu n’amagezi bye baalina, be baakolanga ng’abalamuzi. (Ma. 25:7, 8) Okuyitira mu Mateeka eggwanga eryo eryali eriggya lyaweebwa obulagirizi obukwata ku kusinza n’embeera endala ez’obulamu.

10 Abaisiraeri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yaddamu okubabuulira amateeka ge, era Musa n’abagamba nti: “Mukama ayatudde leero ggwe okubeeranga eggwanga ery’envuma eri ye yennyini, nga bwe yakusuubiza, era weekuumenga ebiragiro bye byonna; era akugulumizenga okusinga amawanga gonna ge yakola, olw’ettendo n’olw’erinnya n’olw’ekitiibwa; era obeerenga eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo.”—Ma. 26:18, 19.

ABATALI BAISIRAERI BAKKIRIZIBWA

11-13. (a) Baani abeegatta ku bantu ba Katonda abalonde? (b) Omuntu yenna ataali Muisiraeri bwe yabanga ayagala okusinza Yakuwa, kiki kye yalinanga okukola?

11 Wadde ng’Abaisiraeri baali bafuuse eggwanga lya Yakuwa eddonde, Yakuwa yakkiriza n’abantu abataali Baisiraeri okwegatta ku bantu be. Yakkiriza “ekibiina ekya bannaggwanga” abataali Baisiraeri, ng’omwo mwe mwali n’Abamisiri, okugendera awamu n’Abaisiraeri bwe baali bava mu Misiri. (Kuv. 12:38) Yakuwa bwe yaleeta ekibonyoobonyo eky’omusanvu, abamu ku “baddu ba Falaawo” baakolera ku kigambo kya Yakuwa era bateekwa okuba nga be bamu ku abo abeegatta ku Baisiraeri nga bava mu Misiri.—Kuv. 9:20.

12 Abaisiraeri bwe baali tebannasomoka mugga Yoludaani kuyingira mu nsi y’e Kanani, Musa yabagamba nti baalina ‘okwagala munnaggwanga’ yenna eyandibadde mu bo. (Ma. 10:17-19) Abantu ba Katonda abalonde baalinanga okukolagana obulungi ne munnagwanga yenna eyabanga omwetegefu okukolera ku Mateeka ga Musa. (Leev. 24:22) Waliwo ab’amawanga abamu abaafuuka abaweereza ba Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Luusi yali Mumowaabu naye n’asalawo okuweereza Yakuwa. Yagamba omukyala Omuisiraeri Nawomi nti: “Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo [y’anaabanga] Katonda wange.” (Luus. 1:16) Ab’amawanga abo baabayitanga bakyufu, era abasajja ab’amawanga bakkiriza okukomolebwa. (Kuv. 12:48, 49) Yakuwa yabakkiriza okwegatta ku bantu be.—Kubal. 15:14, 15.

Abaisiraeri baayolekanga okwagala eri abantu ab’amawanga amalala abaabeeranga mu bo (Laba akatundu 11-13)

13 Essaala Sulemaani gye yasaba nga yeekaalu eweebwayo eraga nti n’abantu abataali Baisiraeri baali basobola okusinza Yakuwa. Yagamba nti: “Eby’omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw’anaavanga mu nsi ey’ewala olw’erinnya lyo ekkulu n’engalo zo ez’amaanyi n’omukono gwo ogwagololwa; bwe banajjanga ne basaba nga batunuulira ennyumba eno; owuliranga ggwe ng’oyima mu ggulu mu kifo ky’obeeramu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by’akukaabira; amawanga gonna ag’oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng’abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng’ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.” (2 Byom. 6:32, 33) Nga bwe kyali ne mu kiseera kya Yesu, omuntu yenna ataali Muisiraeri bwe yabanga ayagala okusinza Yakuwa yalinanga okwegatta ku bantu ba Yakuwa ab’endagaano.—Yok. 12:20; Bik. 8:27.

EGGWANGA ERY’ABAJULIRWA

14-16. (a) Mu ngeri ki Abaisiraeri gye bandibadde eggwanga ly’abajulirwa ba Yakuwa? (b) Kiki abantu ba Yakuwa leero kye basuubirwa okukola?

14 Abaisiraeri baasinzanga Yakuwa ate ng’abantu b’amawanga amalala basinza bakatonda balala. Kati ekyebuuzibwa kiri nti: ‘Ani yali Katonda ow’amazima?’ Mu kiseera kya nnabbi Isaaya Yakuwa yasoomooza bakatonda b’amawanga amalala ng’abagamba okuleeta abajulirwa baabwe bakakase obanga ddala be bakatonda ab’amazima. Yagamba nti: “Amawanga gonna gakuŋŋanyizibwe wamu n’abantu [bakuŋŋaane]: ani ku bo ayinza okubuulira ekyo n’atulaga ebyasooka okubaawo? baleete abajulirwa baabwe baweebwe obutuukirivu: oba bawulire boogere nti Bya mazima.”—Is. 43:9.

15 Kyokka bakatonda b’amawanga amalala baalemererwa okulaga nti be bakatonda ab’amazima. Baali bifaananyi bufaananyi ebitayogera era ebyali byetaaga okusitulwa okuva ku mu kifo ekimu okudda mu kirala. (Is. 46:5-7) Ku luuyi olulala, Yakuwa yagamba abantu be, Abaisiraeri, nti: “Mmwe muli bajulirwa bange, . . . n’omuweereza wange gwe nnalonda: mulyoke mumanye munzikirize mutegeere nga nze nzuuyo; tewali Katonda eyabumbibwa okusooka nze, so tewaliba alinziririra. Nze, nze mwene, nze [Yakuwa]; so tewali mulokozi wabula nze. . . . Kye mubeeredde abajulirwa bange, . . . nange ndi Katonda.”—Is. 43:10-12.

16 Okufaananako abantu abawa obujulizi mu kkooti, abantu ba Yakuwa abalonde baalina enkizo ey’okuwa obujulizi obulaga nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima. Yakuwa yaboogerako ‘ng’abantu be yeebumbira yekka basobole okwolesanga ettendo lye.’ (Is. 43:21) Baali bantu abayitibwa erinnya lye. Olw’okuba Yakuwa ye yabanunula okuva mu Misiri, yali abasuubira okumugondera n’okukiraga eri amawanga gonna nti bawagira obufuzi bwe. Baalina okukola ekyo nnabbi Mikka kye yayogerako, abantu ba Katonda leero kye balina okukola. Mikka yagamba nti: “Amawanga gonna ganaatambuliranga buli muntu mu linnya lya katonda we, naffe tunaatambuliranga mu linnya lya [Yakuwa] Katonda waffe emirembe n’emirembe.”—Mi. 4:5.

ABANTU ABAJEEMU

17. Abaisiraeri baafuka batya ‘omuzabbibu omwonoonefu ogw’omu kibira’ mu maaso ga Yakuwa?

17 Eky’ennaku, Abaisiraeri tebaali beesigwa eri Katonda waabwe, Yakuwa. Baatandika okukoppa amawanga amalala agaasinzanga bakatonda abaakolebwa mu miti n’amayinja. Mu kyasa eky’omunaana E.E.T., nnabbi Koseya yagamba nti: “Isirayiri muzabbibu omwonoonefu . . . Ebibala bye gye bikoma okuba ebingi, gy’akoma okuzimba ebyoto . . . Omutima gwabwe munnanfuusi; kaakano bajja kubaako omusango.” (Kos. 10:1, 2, NW) Oluvannyuma lw’ekyasa nga kimu n’ekitundu, Yeremiya yawandiika ebigambo bino Yakuwa bye yayogera eri abantu be abataali beesigwa: “N[n]ali nkusimbye [ng’oli] muzabbibu mulungi, ensigo ey’amazima ameereere: kale ofuuse otya gye ndi omuti ogwayonooneka ogw’omu kibira? . . . Bakatonda bo be weekoledde bali ludda wa? bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw’olabira ennaku . . . Abantu bange banneerabidde.”—Yer. 2:21, 28, 32.

18, 19. (a) Yakuwa yakiraga atya nti yandifunye abantu abalala ab’okuyitibwa erinnya lye? (b) Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu ekiddako?

18 Mu kifo ky’okubala ebibala ebirungi nga banywerera ku kusinza okw’amazima era nga bawa obujulirwa ku Yakuwa, Abaisiraeri baabala ebibala ebibi nga beenyigira mu kusinza ebifaananyi. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya bannanfuusi abaaliwo mu kiseera kye nti: “Obwakabaka bwa Katonda bujja kubaggibwako buweebwe eggwanga eribala ebibala byabwo.” (Mat. 21:43) Abo bokka abali mu ‘ndagaano empya,’ Yakuwa gye yayogerako ng’ayitira mu nnabbi Yeremiya, be bandibadde mu ggwanga eryo eriggya, Isiraeri ow’omwoyo. Ng’ayogera ku abo abandibadde mu Isiraeri ow’omwoyo, Yakuwa yagamba nti: “N[n]aabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange.”—Yer. 31:31-33.

19 Oluvannyuma lw’Abaisiraeri ab’omubiri okufuuka abatali beesigwa, mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yalonda Isiraeri ow’omwoyo okuba abantu abamukiikirira ku nsi. Naye leero abantu ba Yakuwa be baani? Abantu ab’emitima emirungi bayinza batya okumanya abaweereza ba Katonda ab’amazima? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.