Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Kati Muli Ggwanga lya Katonda”

“Kati Muli Ggwanga lya Katonda”

“Mu kusooka temwali ggwanga, naye kati muli ggwanga lya Katonda.”—1 PEET. 2:10.

1, 2. Nkyukakyuka ki eyajjawo ku Pentekooti 33 E.E., era baani Yakuwa be yatandika okutwala ng’abantu be? (Laba ekifaananyi waggulu.)

OLUNAKU lwa Pentekooti 33 E.E. lwali lukulu nnyo mu byafaayo by’abantu ba Yakuwa. Ku lunaku olwo waliwo enkyukakyuka ey’amaanyi eyajjawo. Ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, Yakuwa yatandikawo eggwanga eriggya, Isiraeri ow’omwoyo oba “Isiraeri wa Katonda.” (Bag. 6:16) Omutume Pawulo yakiraga nti abo abali mu ggwanga eryo eriggya tekibeetaagisa kukomolebwa mu mubiri nga bwe kyali ku bazzukulu ba Ibulayimu. Mu kifo ky’ekyo, ‘okukomolebwa kwabwe kwa mu mutima okuyitira mu mwoyo.’—Bar. 2:29.

2 Abatume awamu n’abayigirizwa ba Kristo abalala abasukka mu kikumi abaali bakuŋŋaanidde mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi, be bantu abaasooka okuba mu ggwanga lya Katonda eriggya. (Bik. 1:12-15) Baafukibwako omwoyo omutukuvu, bwe kityo ne bafuuka abaana ba Katonda. (Bar. 8:15, 16; 2 Kol. 1:21) Ekyo kyalaga nti Yakuwa yali akkiriza ssaddaaka ya Kristo era nti endagaano empya yali etandise okukola. (Luk. 22:20; soma Abebbulaniya 9:15.) Yakuwa yatandika okutwala abayigirizwa abo abaali bafukiddwako amafuta ng’abantu be abaali mu ggwanga lye eriggya. Omwoyo omutukuvu gwabasobozesa okwogera n’okutegeera ennimi ezitali zimu ezaali zoogerwa Abayudaaya n’abakyufu abaali bazze mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Amakungula, oba Pentekooti, nga bavudde mu bitundu ebitali bimu eby’obwakabaka bwa Rooma. Abayigirizwa abo abaafukibwako amafuta baayigiriza abantu ‘ebintu bya Katonda eby’ekitalo.’—Bik. 2:1-11.

EGGWANGA ERIGGYA

3-5. (a) Kiki Peetero kye yagamba Abayudaaya ku lunaku lwa Pentekooti? (b) Eggwanga lya Yakuwa eriggya lyeyongera litya okugaziwa mu kyasa ekyasooka?

3 Yakuwa yakozesa omutume Peetero okuggulirawo ekkubo Abayudaaya n’abakyufu okufuuka ab’omu ggwanga eriggya, ekibiina Ekikristaayo. Ku lunaku lwa Pentekooti, Peetero yagamba Abayudaaya nti baalina okukkiriza Yesu, omusajja gwe baali ‘baakomerera ku muti,’ kubanga “Katonda yamufuula Mukama waffe era Kristo.” Abantu bwe baabuuza Peetero ekyo kye baalina okukola, Peetero yabagamba nti: “Mwenenye, era buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musobole okusonyiyibwa ebibi byammwe, era mujja kufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.” (Bik. 2:22, 23, 36-38) Ku lunaku olwo, abantu nga 3,000 beegatta ku ggwanga eriggya, Isiraeri ow’omwoyo. (Bik. 2:41) Oluvannyuma, abatume beeyongera okubuulira n’obunyiikivu era omulimu gwabwe ogw’okubuulira gweyongera okuvaamu ebibala. (Bik. 6:7) Eggwanga eriggya lyali lyeyongera okugaziwa.

4 Oluvannyuma, n’Abasamaliya baatandika okubuulirwa. Bangi ku bo bakkiriza amazima ne babatizibwa naye tebaafunirawo mwoyo mutukuvu. Akakiiko akafuzi mu Yerusaalemi kaasindika omutume Peetero ne Yokaana okugenda eri Abasamaliya abaali bakkirizza amazima, “ne babassaako emikono, ne batandika okufuna omwoyo omutukuvu.” (Bik. 8:5, 6, 14-17) Bwe kityo, Abasamaliya abo nabo baafukibwako amafuta ne bafuuka ab’omu ggwanga lya Isiraeri ow’omwoyo.

Peetero yabuulira Koluneeriyo n’ab’omu nju ye (Laba akatundu 5)

5 Mu mwaka gwa 36 E.E., Yakuwa era yakozesa Peetero okuggulirawo abalala ekkubo okufuuka ab’omu ggwanga eriggya, Isiraeri ow’omwoyo. Ekyo kyaliwo Peetero bwe yabuulira omukulu w’abasirikale mu ggye lya Rooma ayitibwa Koluneeriyo awamu n’ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye. (Bik. 10:22, 24, 34, 35) Bayibuli egamba nti: “Peetero bwe yali akyayogera . . . , omwoyo omutukuvu ne gukka ku abo bonna [abataali Bayudaaya] abaali bawulira ekigambo. Abakkiriza abajja ne Peetero abaali abamu ku bakomole ne beewuunya, kubanga ekirabo ky’omwoyo omutukuvu kyali kiweebwa n’ab’amawanga.” (Bik. 10:44, 45) Okuva mu mwaka ogwo, n’abantu ab’amawanga abataali bakomole baali basobola okufuuka ab’omu ggwanga lya Isiraeri ow’omwoyo.

“ABANTU AB’OKUYITIBWA ERINNYA LYE”

6, 7. Kiki abo abaali mu ggwanga eriggya kye baakola ekyalaga nti baali ‘bantu abayitibwa erinnya’ lya Yakuwa?

6 Mu lukuŋŋaana lw’akakiiko akafuzi olwaliwo mu mwaka gwa 49 E.E., omuyigirizwa Yakobo yagamba nti: “Simyoni [Peetero] annyonnyodde bulungi engeri Katonda gye yakyukira ab’amawanga okulondamu abantu ab’okuyitibwa erinnya lye.” (Bik. 15:14) Mu bantu abo abandiyitiddwa erinnya lya Yakuwa mwandibaddemu Abakristaayo Abayudaaya n’abo abatali Bayudaaya. (Bar. 11:25, 26a) Peetero yagamba nti: “Mu kusooka temwali ggwanga, naye kati muli ggwanga lya Katonda.” Peetero yalaga ekigendererwa ky’eggwanga eryo eriggya ng’agamba nti: “Mmwe muli ‘ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu Katonda be yeetwalidde, musobole okulangirira obulungi’ bw’Oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala eky’ekitalo.” (1 Peet. 2:9, 10) Baali ba kutendereza Yakuwa oyo gwe baali bakiikirira era baalina okumanyisa erinnya lye. Mu butuufu, baali ba kuwa obujulirwa ku Yakuwa, Omufuzi w’obutonde bwonna.

7 Okufaananako Abaisiraeri ab’omubiri, abo abali mu Isiraeri ow’omwoyo nabo Yakuwa asobola okuboogerako ‘ng’abantu be yeebumbira yekka basobole okwolesa ettendo lye.’ (Is. 43:21) Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baabuulira n’obunyiikivu nti Yakuwa ye Katonda omu yekka ow’amazima, era nti bakatonda abalala bonna ba bulimba. (1 Bas. 1:9) Baawa obujulirwa ku Yakuwa ne Yesu “mu Yerusaalemi, mu Buyudaaya mwonna, mu Samaliya, n’okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.”—Bik. 1:8; Bak. 1:23.

8. Kulabula ki omutume Pawulo kwe yawa abantu ba Katonda mu kyasa ekyasooka?

8 Omutume Pawulo, omu ku abo abaali ‘bayitibwa erinnya’ lya Yakuwa mu kyasa ekyasooka yayoleka obuvumu ng’abuulira. Bwe yali ayogera n’abafirosoofo abakaafiiri, yayogera n’obuvumu n’akiraga nti Yakuwa ye Mufuzi ow’oku ntikko. Yabagamba nti Yakuwa ye ‘yakola ensi n’ebintu byonna ebigirimu era nti ye Mukama w’eggulu n’ensi.’ (Bik. 17:18, 23-25) Bwe yali anaatera okukomekkereza olugendo lwe olw’obuminsani olw’okusatu, Pawulo yalabula abantu ba Katonda nti: “Nkimanyi nti bwe ndimala okugenda, emisege emikambwe giriyingira mu mmwe era tegiriyisa bulungi kisibo, era mu mmwe mwennyini muliva abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” (Bik. 20:29, 30) Ekyasa ekyasooka we kyaggweerako, obwakyewaggula bwali bumaze okweyoleka.—1 Yok. 2:18, 19.

9. Oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, kiki ekyatuuka ku ‘bantu abayitibwa erinnya’ lya Yakuwa?

9 Oluvannyuma lw’okufa kw’abatume, obwakyewaggula bweyongera okubuna mu kibiina, ekyo ne kiviirako amadiini ga Kristendomu okutandikawo. Abakristaayo ab’obulimba bakiraze kaati nti si be ‘bantu abayitibwa erinnya’ lya Yakuwa kubanga batuuse n’okuggya erinnya lye mu nkyusa zaabwe eza Bayibuli. Batwaliriziddwa obulombolombo bw’ekikaafiiri era bavumisizza erinnya lya Katonda nga bayigiriza ebintu ebiteesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Beenyigira mu ntalo ne mu bikolwa eby’obugwenyufu. Okumala ebyasa bingi, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa baali batono nnyo ku nsi era nga tewali kibiina kitegeke ‘eky’abantu abayitibwa erinnya’ lya Yakuwa.

EKIBIINA KY’ABANTU BA KATONDA KITEGEKEBWA

10, 11. (a) Kiki Yesu kye yalagula mu lugero olukwata ku ŋŋaano n’omuddo? (b) Olugero lwa Yesu olwo lwatuukirira lutya oluvannyuma lwa 1914, era biki ebivuddemu?

10 Mu lugero lwe olukwata ku ŋŋaano n’omuddo, Yesu yayogera ku kiseera eky’ekizikiza eky’eby’omwoyo ekyandireeteddwawo obwakyewaggula. Yagamba nti ‘abantu bwe bandibadde beebase,’ Omulyolyomi yandisize omuddo mu nnimiro Yesu mwe yasiga eŋŋaano. Eŋŋaano n’omuddo byandikulidde wamu okutuusa ku “mafundikira g’enteekateeka ey’ebintu.” Yesu yagamba nti “ensigo ennungi” be “baana b’obwakabaka” era nti “omuddo” be “baana b’omubi.” Mu kiseera ky’enkomerero, Omwana w’omuntu yandisindise “abakunguzi,” bamalayika, okwawula eŋŋaano ey’akabonero ku muddo. Abaana b’Obwakabaka bandikuŋŋaanyiziddwa. (Mat. 13:24-30, 36-43) Obunnabbi obwo bwatuukirira butya? Era ekyo kyaviirako kitya Yakuwa okuddamu okuba n’ekibiina ky’abantu be abategekeddwa ku nsi?

11 “Amafundikira g’enteekateeka ey’ebintu” gaatandika mu 1914. Mu kiseera ky’olutalo olwabalukawo mu mwaka ogwo, abaafukibwako amafuta, nga bano be “baana b’obwakabaka,” baali batono ku nsi era baali mu buwambe obw’eby’omwoyo mu Babulooni Ekinene. Kyokka mu 1919, Yakuwa yabanunula, era okuva olwo enjawulo wakati waabwe ‘n’omuddo’ oba Abakristaayo ab’obulimba yeeyoleka bulungi. Yakuwa yakuŋŋaanya ‘abaana b’obwakabaka’ n’abafuula ekibiina ky’abantu be abategekeddwa obulungi. Ekyo kyatuukiriza obunnabbi bwa Isaaya obugamba nti: “Ensi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n’azaala abaana be.” (Is. 66:8) Sayuuni kye kibiina kya Yakuwa eky’ebitonde eby’omwoyo. Sayuuni yazaala abaana, eggwanga ly’abaafukibwako amafuta bwe lyategekebwa ku nsi.

12. Abaafukibwako amafuta bakiraze batya nti be ‘bantu abayitibwa erinnya’ lya Yakuwa?

12 Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, ‘abaana b’obwakabaka’ abaafukibwako amafuta leero nabo bajulirwa ba Yakuwa. (Soma Isaaya 43:1, 10, 11.) Bakiraze nti ba njawulo nga beeyisa bulungi era nga babuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka okuba obujulirwa eri amawanga.’ (Mat. 24:14; Baf. 2:15) Ekyo kiyambye abantu bukadde na bukadde okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Soma Danyeri 12:3.

“TULIGENDA NAMMWE”

13, 14. Okusobola okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima, kiki abo abatali mu ggwanga lya Isiraeri ow’omwoyo kye balina okukola, era ekyo kyayogerwako kitya mu bunnabbi?

13 Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, ab’amawanga abaali baagala okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima baalina okwegatta ku bantu be ab’endagaano. (1 Bassek. 8:41-43) Mu ngeri y’emu leero, abo bonna abatali ba mu ggwanga lya Isiraeri ow’omwoyo abaagala okusinza Yakuwa balina okwegatta ku bantu be, nga bano be “baana b’obwakabaka” oba Abajulirwa ba Yakuwa abaafukibwako amafuta.

14 Okuba nti abantu bangi nnyo bandyegasse ku bantu ba Yakuwa mu kiseera kino eky’enkomerero kyayogerwako mu bunnabbi bwa Isaaya n’obwa Zekkaliya. Nnabbi Isaaya yagamba nti: “Amawanga mangi agalyambuka ne googera nti Mujje, twambuke eri olusozi lwa Mukama, eri ennyumba ya Katonda wa Yakobo; era anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze: kubanga mu Sayuuni mwe mulifuluma amateeka, n’ekigambo kya Mukama mu Yerusaalemi.” (Is. 2:2, 3) Mu ngeri y’emu, nnabbi Zekkaliya yagamba nti: “Abantu bangi n’amawanga ag’amaanyi balijja okunoonya Mukama w’eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira ekisa kya Mukama.” Abantu abo yaboogerako ‘ng’abantu ekkumi okuva mu nnimi zonna ez’amawanga,’ abandikutte ku kyambalo kya Isiraeri ow’omwoyo, nga bagamba nti: “Tuligenda nammwe; kubanga tutegedde nti Katonda ali nammwe.”—Zek. 8:20-23.

15. Mulimu ki ‘ab’endiga endala’ gwe bakolera awamu n’abo abali mu ggwanga lya Isiraeri ow’omwoyo?

15 ‘Ab’endiga endala’ bakolera wamu ne Isiraeri ow’omwoyo mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Mak. 13:10) Nabo bafuuka bantu ba Katonda, abali mu ‘kisibo ekimu’ n’abaafukibwako amafuta, wansi ‘w’omusumba omulungi,’ Kristo Yesu.—Soma Yokaana 10:14-16.

FUNA OBUKUUMI AWAMU N’ABANTU BA KATONDA

16. Kiki Yakuwa ky’anaakola ekijja okuviirako olutalo Kalumagedoni?

16 Oluvannyuma lwa Babulooni Ekinene okuzikirizibwa, abantu ba Yakuwa bajja kulumbibwa. Mu kiseera ekyo, tujja kuba twetaaga okufuna obukuumi Yakuwa bw’anaawa abaweereza be. Mu kiseera kye ekigereke, Yakuwa ajja kutambuza ebintu mu ngeri eneeviirako abantu be okulumbibwa. Ekyo kye kijja okuviirako olutalo Kalumagedoni, ng’eno y’ejja okuba entikko ‘y’ekibonyoobonyo ekinene.’ (Mat. 24:21; Ez. 38:2-4) Mu kiseera ekyo, Googi ajja kulumba ‘abantu abakuŋŋaanyiziddwa okuva mu mawanga,’ nga bano be bantu ba Yakuwa. (Ez. 38:10-12) Ekyo bwe kinaabaawo, Yakuwa ajja kununula abantu be ng’alwanyisa Googi n’eggye lye. Yakuwa ajja kukiraga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna era atukuze erinnya lye. Agamba nti: “Ndyemanyisa mu maaso g’amawanga amangi; kale balimanya nga nze [Yakuwa].”—Ez. 38:18-23.

Mu kiseera ‘ky’ekibonyoobonyo ekinene,’ kijja kutwetaagisa nnyo okunywerera ku bibiina byaffe (Laba akatundu 16-18)

17, 18. (a) Googi bw’anaalumba abantu ba Yakuwa, bulagirizi ki bwe banaafuna? (b) Bwe tuba twagala Yakuwa okutukuuma, kiki kye tulina okukola?

17 Googi bw’anaalumba abantu ba Katonda, Yakuwa ajja kugamba abaweereza be nti: “Mmwe abantu bange, muyingire mu bisenge byammwe eby’omunda, era muggalewo enzigi. Mwekweke okumala akaseera katono okutuusa ng’obusungu bukkakkanye.” (Is. 26:20, NW) Mu kiseera ekyo ekinaaba ekizibu ennyo, Yakuwa ajja kutuwa obulagirizi obunaatuyamba okuwonawo. ‘Ebisenge eby’omunda’ ebyogerwako awo biyinza okuba nga bikiikirira ebibiina mwe tukuŋŋaanira.

18 N’olwekyo, bwe tuba twagala Yakuwa okutukuuma mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene, tulina okukitegeera nti Yakuwa alina abantu be ku nsi, b’ategese obulungi mu bibiina. Tulina okunywerera ku bantu ba Yakuwa n’okuwagira enteekateeka zonna mu bibiina mwe tukuŋŋaanira. Ka ffenna tube ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Obulokozi bwa Yakuwa. Omukisa gwo guli ku bantu bo.”—Zab. 3:8, NW.