Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Abakadde n’abaweereza mu kibiina balondebwa batya?

Mu kyasa ekyasooka E.E., omutume Pawulo yagamba abakadde abaali mu kibiina ky’e Efeso nti: “Mwekuume era mukuume n’ekisibo kyonna omwoyo omutukuvu mwe gwabalonda okuba abalabirizi, okulundanga ekibiina kya Katonda, kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.” (Bik. 20:28) Omwoyo omutukuvu guyamba gutya mu kulonda abakadde n’abaweereza mu kibiina leero?

Ekisooka, abawandiisi ba Bayibuli baaliko omwoyo omutukuvu nga bawandiika ebisaanyizo by’abakadde n’abaweereza. Mu 1 Timoseewo 3:1-7 mulimu ebisaanyizo nga 16 ebyetaagisa omuntu okusobola okufuuka omukadde. Ebisaanyizo ebirala bisangibwa mu Tito 1:5-9 ne mu Yakobo 3:17, 18. Ebisaanyizo ow’oluganda by’alina okutuukiriza okusobola okufuuka omuweereza mu kibiina bisangibwa mu 1 Timoseewo 3:8-10, 12, 13. Eky’okubiri, abo abasemba ab’oluganda okuweereza ng’abakadde oba abaweereza n’abo ababalonda, basooka kusaba Yakuwa abawe omwoyo gwe omutukuvu. Eky’okusatu, ow’oluganda asembebwa ateekwa okuba ng’ayoleka ekibala ky’omwoyo gwa Katonda omutukuvu mu bulamu bwe. (Bag. 5:22, 23) Mu butuufu, omwoyo omutukuvu guyamba nnyo mu kulondebwa kw’abakadde n’abaweereza mu kibiina.

Naye ddala baani abalonda abakadde n’abaweereza? Okumala emyaka mingi, amannya g’abo abaabanga basembeddwa okuweereza ng’abakadde oba abaweereza gaasindikibwanga ku ofiisi y’ettabi. Eyo, ab’oluganda abaalondebwa Akakiiko Akafuzi beekenneenyanga abo abaabanga basembeddwa era ne balonda abo abaabanga batuukirizza ebisaanyizo. N’ekyaddiriranga, ofiisi y’ettabi yategeezanga akakiiko k’abakadde mu kibiina ky’ab’oluganda abo. Abakadde baategeezanga ow’oluganda nti alondeddwa era ne bamubuuza obanga mwetegefu okuweereza mu kifo ekyo era ne bamubuuza obanga awulira ng’atuukiriza ebisaanyizo. Oluvannyuma, ekibiina kyategeezebwanga.

Naye abakadde n’abaweereza baalondebwanga batya mu kyasa ekyasooka? Kyo kituufu nti ebiseera ebimu, abatume baabangako abantu be baalondanga ne babawa obuvunaanyizibwa obutali bumu. Ng’ekyokulabirako, baalonda abasajja omusanvu okugabira bannamwandu emmere. (Bik. 6:1-6) Kyokka, kiyinzika okuba nti abasajja abo we baabaweera obuvunaanyizibwa obwo, baali baamala ddala okufuuka abakadde.

Wadde ng’Ebyawandiikibwa tebiwa kalonda yenna akwata ku ngeri abakadde n’abaweereza gye baalondebwangamu, tusobola okumanya engeri ekyo gye kyakolebwangamu. Bayibuli egamba nti Pawulo ne Balunabba bwe baali bava ku lugendo lwabwe olw’obuminsani olwasooka, ‘mu buli kibiina baalonderamu abakadde, ne basaba, ne basiiba era ne babakwasa Yakuwa gwe bakkiriza.’ (Bik. 14:23) Oluvannyuma lw’ekiseera, Pawulo yawandiikira Tito, omu ku abo abaakyaliranga ebibiina, n’amugamba nti: “Nnakuleka mu Kuleete osobole okutereeza ebintu ebitaatereera, era osobole okulonda abakadde mu buli kibuga nga bwe nnakulagira.” (Tit. 1:5) Ne Timoseewo, omu ku abo abaakyaliranga ebibiina, ayinza okuba nga yaweebwa obuvunaanyizibwa ng’obwo. (1 Tim. 5:22) N’olwekyo, kyeyoleka lwatu nti mu kyasa ekyasooka, abalabirizi abaakyaliranga ebibiina be baalondanga abakadde n’abaweereza, so si abatume n’abakadde b’omu Yerusaalemi.

N’olw’ensonga eyo, Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa kakoze enkyukakyuka mu ngeri abakadde n’abaweereza gye balondebwamu. Okuva nga Ssebutemba 1, 2014, abakadde n’abaweereza balondebwa bwe bati: Omulabirizi w’ekitundu yeetegereza abo ababa basembeddwa okuweereza ng’abakadde oba abaweereza mu kitundu kye. Bw’akyalira ekibiina, afuba okumanya ebisingawo ebikwata ku abo ababa basembeddwa, era abuulirako nabo bwe kiba kisoboka. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo n’abakadde mu kibiina ku abo ababa basembeddwa, omulabirizi w’ekitundu alonda abakadde oba abaweereza. Enkola eyo efaananako eyo eyagobererwanga mu kyasa ekyasooka.

Abakadde nga bakubaganya ebirowoozo n’omulabirizi w’ekitundu okulaba obanga ow’oluganda asembeddwa atuukiriza ebisaanyizo (Malawi)

Baani abazingirwa mu kulonda abakadde n’abaweereza? Kya lwatu nti “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” y’alina obuvunaanyizibwa okuliisa ab’omu nju. (Mat. 24:45-47) Ekyo kizingiramu okwekenneenya Ebyawandiikibwa, nga bayambibwako omwoyo omutukuvu, okusobola okuwa obulagirizi ku ngeri ekibiina kya Katonda mu si yonna gye kirina okutegekebwamu. Omuddu omwesigwa y’alonda abalabirizi b’ebitundu n’abo ababa ku Bukiiko bw’Amatabi. Ofiisi z’amatabi zifuba okulaba nti obulagirizi obuweebwa omuddu omwesigwa bugobererwa bulungi. Obukiiko bw’abakadde bulina obuvunaanyizibwa okwekenneenya n’obwegendereza okulaba obanga ab’oluganda be baagala okusemba okufuuka abakadde oba abaweereza batuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. Omulabirizi w’ekitundu alina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi okwekenneenya ab’oluganda ababa basembeddwa okuweereza ng’abakadde oba abaweereza era n’alonda abo ababa batuukirizza ebisaanyizo.

Bwe tutegeera obulungi engeri abakadde n’abaweereza gye balondebwamu, kituyamba okukiraba nti omwoyo omutukuvu guyamba nnyo mu kulondebwa kwabwe. Ekyo kituleetera okwongera okwesiga abo ababa balondeddwa okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo.—Beb. 13:7, 17.

Abajulirwa ababiri aboogerwako mu Okubikkulirwa esuula 11 be baani?

Okubikkulirwa 11:3 woogera ku bajulirwa ababiri abandyogedde obunnabbi okumala ennaku 1,260. Bwe bandimalirizza okuwa obujulirwa, ensolo ‘yandibawangudde era n’ebatta.’ Kyokka “oluvannyuma lw’ennaku ssatu n’ekitundu,” abajulirwa abo ababiri bandizzeemu okuba abalamu, era ekyo kyandyewuunyisizza abo bonna abandibalabye.—Kub. 11:7, 11.

Abajulirwa abo ababiri be baani? Ebintu ebirala ebiboogerwako bisobola okutuyamba okubategeera. Ekisooka, Bayibuli egamba nti “bakiikirirwa emiti ebiri egy’emizeyituuni n’ebikondo by’ettaala ebibiri.” (Kub. 11:4) Ekyo kitujjukiza ekikondo ky’ettaala n’emiti ebiri egy’emizeyituuni ebyogerwako mu bunnabbi bwa Zekkaliya. Emiti gy’emizeyituuni egyo gikiikirira ‘abaafukibwako amafuta ababiri,’ kwe kugamba, Gavana Zerubbaberi ne Kabona Asinga Obukulu Yoswa, ‘abayimiridde okumpi ne Mukama w’ensi zonna.’ (Zek. 4:1-3, 14) Eky’okubiri, abajulirwa ababiri boogerwako ng’abakola obubonero obufaananako ng’obwo Musa ne Eriya bwe baakola.—Geraageranya Okubikkulirwa 11:5, 6 ne Okubala 16:1-7, 28-35 ne 1 Bassekabaka 17:1; 18:41-45.

Ebyo ebiri mu Okubikkulirwa bifaananako bitya n’ebyo ebiri mu Zekkaliya? Byombi byogera ku baweereza ba Katonda abaafukibwako amafuta abaatwala obukulembeze mu kiseera eky’okugezesebwa okw’amaanyi. N’olwekyo, ebyo ebiri mu Okubikkulirwa esuula 11 byatuukirizibwa, ab’oluganda abaali batwala obukulembeze mu kiseera ng’Obwakabaka bwa Katonda bwakateekebwawo mu ggulu mu 1914 bwe baabuulira “nga bambadde ebibukutu” okumala emyaka esatu n’ekitundu.

Ekiseera kye baamala nga babuulira bambadde ebibukutu bwe kyaggwaako, mu ngeri ey’akabonero, abaafukibwako amafuta abo battibwa bwe baabasiba mu kkomera okumala ekiseera kitono, ekikiikirirwa ennaku essatu n’ekitundu. Mu maaso g’abalabe b’abantu ba Katonda, omulimu gw’abaafukibwako amafuta gwali ng’ogukomye, era ekyo kyaleetera abalabe essanyu lingi.—Kub. 11:8-10.

Kyokka, ng’obunnabbi bwe bwalaga, ku nkomerero y’ennaku essatu n’ekitundu, abajulirwa ababiri baddamu okuba abalamu. Ng’oggyeko okuba nti abaafukibwako amafuta abo baasumululwa okuva mu kkomera, abo abaasigala nga beesigwa, Katonda yabakwasa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo ng’ayitira mu Mukama waabwe Yesu Kristo. Mu 1919 be bamu ku abo abaalondebwa okuba “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okulabirira abantu ba Katonda mu by’omwoyo mu nnaku ez’oluvannyuma.—Mat. 24: 45-47; Kub. 11:11, 12.

Okubikkulirwa 11:1, 2 wakwataganya ebintu ebyo n’ekiseera eky’okupima yeekaalu. Malaki esuula 3 eyogera ku kintu ekifaananako ng’ekyo, kwe kugamba, okulambula yeekaalu ey’eby’omwoyo n’okugirongoosa. (Mal. 3:1-4) Omulimu ogw’okulambula n’okulongoosa yeekaalu gwatwala bbanga lyenkana wa? Gwatandika mu 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919. Ekiseera ekyo kizingiramu ennaku 1,260 (emyezi 42) n’ennaku essatu n’ekitundu ez’akabonero ezoogerwako mu Okubikkulirwa esuula 11.

Nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa yakola enteekateeka okulaba nti omulimu ogwo gukolebwa, asobole okwerongooseza abantu abakola ebikolwa ebirungi! (Tit. 2:14) Ate era kitusanyusa nnyo okuba waaliwo ab’oluganda abeesigwa abaafukibwako amafuta abaatwala obukulembeze mu kiseera eky’okugezesebwa okw’amaanyi era abaaweereza ng’abajulirwa ababiri ab’akabonero. Ab’oluganda abo baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. *

^ lup. 18 Okumanya ebisingawo, laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, olupapula 22, akatundu 12.