Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amawanga Gategekebwa ‘Okuyigirizibwa Yakuwa’

Amawanga Gategekebwa ‘Okuyigirizibwa Yakuwa’

“Ow’essaza . . . n’afuuka mukkiriza olw’okuba yeewuunya okuyigiriza kwa Yakuwa.”BIK. 13:12.

1-3. Lwaki tekyandibadde kyangu eri abayigirizwa ba Yesu okubuulira amawulire amalungi mu “mawanga gonna”?

YESU KRISTO yakwasa abagoberezi be omulimu ogw’amaanyi. Yabagamba nti: “Mugende mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.” Okukola ekyo, kyandiviiriddeko ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka okubuulirwa mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna.’Mat. 24:14; 28:19.

2 Abayigirizwa baali baagala nnyo Yesu n’amawulire amalungi. Wadde kyali kityo, bayinza okuba nga baali beebuuza engeri gye bandisobodde okutuukirizaamu omulimu ogwali gubakwasiddwa. Okusookera ddala, abayigirizwa abo baali batono nnyo. Era baali babuulira abantu nti Yesu Mwana wa Katonda, kyokka ng’ate Yesu yali amaze okuttibwa. Abayigirizwa baali batwalibwa okuba abantu abataasoma era aba bulijjo. (Bik. 4:13) Obubaka bwe baalina okubuulira bwali bwawukana ku bulombolombo abakulembeze b’eddiini bwe baali bayigiriza, kyokka ng’ate obulombolombo obwo bwali bumaze emyaka mingi ng’abantu babukkiririzaamu. Okuva bwe kiri nti abayigirizwa abo baali tebassibwamu kitiibwa mu nsi yaabwe, bayinza okuba nga baali beebuuza obanga abantu abaali mu bitundu by’obwakabaka bwa Rooma ebirala bandibawulirizza.

3 Okugatta ku ekyo, Yesu yali yagamba abayigirizwa be nti bandibadde bakyayibwa, bayigganyizibwa, era nti n’abamu ku bo bandibadde battibwa. (Luk. 21:16, 17) Bandibadde babuulira mu bitundu omuli abantu ab’enkwe, omuli bannabbi ab’obulimba, era omuli ebikolwa eby’obujeemu. (Mat. 24:10-12) Ne bwe kiba nti abantu bonna be bandibuulidde bandikkirizza obubaka bwabwe, abayigirizwa abo bandisobodde batya “okutuuka mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala”? (Bik. 1:8) Abayigirizwa bayinza okuba nga baali beebuuza engeri gye bandisobodde okukolamu omulimu gw’okubuulira nga boolekagana n’embeera ng’ezo enzibu!

4. Biki ebyava mu mulimu gw’okubuulira ogwakolebwa abayigirizwa ba Yesu mu kyasa ekyasooka?

4 Wadde ng’abayigirizwa baali bakimanyi nti tekyandibadde kyangu kubuulira mawulire amalungi, baagondera ekiragiro kya Yesu ne babuulira mu Yerusaalemi, mu Samaliya, ne bitundu by’ensi ebirala. Wadde ng’abayigirizwa baayolekagana n’ebizibu bingi, oluvannyuma lw’emyaka nga 30 gyokka, amawulire amalungi gaali gabuulirwa “mu bitonde byonna ebiri wansi w’eggulu,” nga ‘gabala ebibala, era nga geeyongera mu nsi yonna.’ (Bak. 1:6, 23) Ng’ekyokulabirako: Oluvannyuma lw’okuwulira ebyo omutume Pawulo bye yayogera ne bye yakola ku kizinga ky’e Kupulo, ow’essaza Omuruumi ayitibwa Serugiyo Pawulo ‘yafuuka omukkiriza olw’okuba yeewuunya okuyigiriza kwa Yakuwa.’Soma Ebikolwa 13:6-12.

5. (a) Kiki Yesu kye yasuubiza abayigirizwa be? (b) Oluvannyuma lw’okwetegereza embeera eyaliwo mu kyasa ekyasooka, kiki abamu kye baagamba?

5 Abayigirizwa ba Yesu baali bakimanyi nti baali tebasobola kukola mulimu ogw’okubuulira mu maanyi gaabwe. Yesu yali yabasuubiza nti yandibadde wamu nabo era nti bandiweereddwa omwoyo omutukuvu okubayamba mu mulimu ogwo. (Mat. 28:20) Ate era embeera eyaliwo mu nsi mu kyasa ekyasooka eyinza okuba nga yakifuula kyanguko eri abayigirizwa okubuulira. Ekitabo ekiyitibwa Evangelism in the Early Church kigamba nti: ‘Kirabika ekyasa ekyasooka kye kiseera ekyasingayo okuba ekirungi Abakristaayo okutandika okubuulira. Mu butuufu, mu kyasa eky’okubiri Abakristaayo abamu baatandika n’okugamba nti embeera eyaliwo mu kyasa ekyasooka Katonda ye yali agitaddewo okusobozesa Abakristaayo okubuulira.’

6. Kiki kye tujja okulaba (a) mu kitundu kino? (b) mu kitundu ekiddako?

6 Kyandiba nti Katonda ye yateekawo embeera eyaliwo mu kyasa ekyasooka asobozese Abakristaayo okubuulira? Ekyo Bayibuli tekitubuulira. Naye kye tumanyi kiri nti: Yakuwa yali ayagala amawulire amalungi gabuulirwe naye ng’ate ekyo Sitaani takyagala. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ebintu ebyakifuula ekyangu okubuulira amawulire amalungi mu kyasa ekyasooka. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ebimu ku bintu ebituyambye okutuusa amawulire amalungi mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.

EMIREMBE MU KISEERA KY’OBUFUZI BWA ROOMA

7. Lwaki emirembe egyaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Rooma gyali gya njawulo?

7 Mu ngeri emu oba endala, obufuzi bwa Rooma bwakifuula kyangu eri abayigirizwa ba Yesu okubuulira. Ng’ekyokulabirako, waaliwo emirembe mu kiseera ky’obufuzi bwa Rooma. Mu kiseera ekyo, obufuzi bwa Rooma bwamalawo obwegugungo bwonna mu matwale gaabwo. Kyo kituufu nti ebiseera ebimu waabangawo “entalo mu bifo ebitali bimu,” nga Yesu bwe yali agambye. (Mat. 24:6) Amagye ga Rooma gaazikiriza Yerusaalemi mu mwaka gwa 70 E.E., era gaalwana n’entalo endala entonotono okumpi n’ensalo z’obwakabaka obwo. Wadde kyali kityo, mu bitundu by’obwakabaka obwo ebisinga obungi mwalimu emirembe era abayigirizwa baali basobola okugenda mu bitundu ebitali bimu okubuulira. Emirembe egyo gyaliwo okumala emyaka nga 200. Ekitabo ekimu kigamba nti mu byafaayo byonna, tewabangawo kiseera kya mirembe kiwanvu kwenkana awo.

8. Emirembe egyaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Rooma gyaganyula gitya Abakristaayo abaasooka?

8 Ng’ayogera ku mirembe egyaliwo mu kiseera ky’obufuzi bwa Rooma, omuwandiisi w’ebitabo eyaliwo mu kyasa eky’okusatu ayitibwa Origen yagamba nti: “Singa waaliwo obwakabaka bwa mirundi mingi mu kiseera ekyo kyandibadde kizibu obubaka obukwata ku Yesu okubuulirwa mu nsi yonna . . . okuva bwe kiri nti abasajja bandibadde bakakibwa okuyingira mu magye okulwanirira ensi zaabwe. . . . Ate era singa mu kiseera ekyo abantu baali mu ntalo, ddala kyandisobose enjigiriza za Yesu okubuna mu nsi yonna kyokka ng’ate zaali zikubiriza abantu okuba mu mirembe era nga zibagaana okuwoolera eggwanga?” Wadde ng’Abakristaayo baali bayigganyizibwa, baakozesa bulungi ekiseera ekyo eky’emirembe okubuulira amawulire amalungi.Soma Abaruumi 12:18-21.

EBY’ENTAMBULA

9, 10. Lwaki kyali kyangu eri Abakristaayo okubuulira mu bitundu ebitali bimu eby’obwakabaka bwa Rooma?

9 Enguudo Abaruumi ze baazimba zaayamba nnyo Abakristaayo nga bakola omulimu gw’okubuulira. Okusobola okufuga obulungi amatwale gaayo, Rooma yalina eggye ery’amaanyi ennyo. Okusobola okutambuza abasirikale baayo mu bwangu, Rooma yazimba enguudo ennungi. Bayinginiya ba Rooma baazimba enguudo ezitali zimu era kigambibwa nti zonna awamu zaali ziweza mayiro nga 50,000, era nga kumpi ziri mu bitundu byonna eby’obwakabaka bwa Rooma. Enguudo ezo zaayitanga mu bibira, mu malungu, ne mu bitundu ebirimu ensozi.

10 Ng’oggyeko okuba n’enguudo ennungi, Abaruumi era baalina n’amaato agaatambuzanga abantu. Abantu baasabaliranga ku migga oba ku nnyanja okutuuka ku myalo egitali gimu mu bwakabaka bwa Rooma. N’olwekyo, Abakristaayo baali basobola okutuuka mu bitundu by’obwakabaka bwa Rooma ebitali bimu. Kyali tekibeetaagisa kuba na biwandiiko, gamba nga pasipoota, okusobola okugenda mu nsi endala. Okugatta ku ekyo, ababbi tebaabanga bangi ku makubo kubanga baali bakimanyi nti ab’obuyinza mu Rooma bwe baakwatanga omubbi, baamubonerezanga nnyo. Ate era okuva bwe kiri nti amaato g’Abaruumi amalwanyi gaabanga mangi ku nnyanja, tekyabanga kyangu muntu atambulira ku nnyanja kulumbibwa bazigu. Wadde ng’ebiseera ebimu amaato omutume Pawulo mwe yabanga atambulira gaamenyekamenyeka, Bayibuli teraga nti obuzibu obwo bwava ku bazigu ababeera ku nnyanja. N’olwekyo, Abakristaayo tebaafunanga buzibu bwa maanyi bwe baabanga batambulira ku nnyanja oba ku nguudo mu kiseera ky’obufuzi bwa Rooma.2 Kol. 11:25, 26.

OLULIMI OLUYONAANI

Omuntu kyamwanguyiranga okuzuula ebyawandiikibwa ng’akozesa codex (Laba akatundu 12)

11. Lwaki abayigirizwa ba Yesu baakozesa nnyo Oluyonaani?

11 Oluyonaani olwayogerwanga abantu aba bulijjo oluyitibwa Olukoyine, lwayamba Abakristaayo okuwuliziganya obulungi ekyo ne kibayamba okwongera okuba obumu. Oluvannyuma lwa Alekizanda okugaziya amatwale ge, Oluyonaani lwabuna mu bitundu bingi eby’ensi era abantu bangi baali balutegeera. Bwe kityo, abaweereza ba Katonda baali basobola bulungi okutuusa amawulire amalungi ku bantu aba buli ngeri. Okugatta ku ekyo, Abayudaaya abaali mu Misiri baali bavvuunula dda Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya mu Luyonaani ebiyitibwa Septuagint. Abantu bangi baali bamanyi enkyusa ya Septuagint, era abagoberezi ba Kristo mu kyasa ekyasooka baajulizanga ebyawandiikibwa okuva mu Septuagint. Abawandiisi ba Bayibuli nabo baakiraba nti kyali kyetaagisa okuwandiika ebitabo bya Bayibuli ebirala mu Luyonaani. Okuva bwe kiri nti Oluyonaani lwali lugagga mu bigambo, kyabanga kyangu okunnyonnyola ebintu eby’ebuziba ebiri mu Byawandiikibwa mu lulimi olwo.

12. (a) Codex kye ki, era lwaki yali nnyangu okukozesa okusinga emizingo? (b) Ddi Abakristaayo lwe baasinga okukozesa codex?

12 Abakristaayo baakozesanga ki okuyigiriza abantu Ebyawandiikibwa nga babuulira? Mu kusooka, baakozesanga mizingo. Kyokka, emizingo gyabanga minene era nga si myangu kukozesa na kutambula nagyo. Okusobola okuzuula ekyawandiikibwa, omuntu yalinanga okuzingulula omuzingo ate oluvannyuma n’addamu n’aguzinga. Enjiri ya Matayo yokka yali ejjuza omuzingo mulamba. Oluvannyuma Abakristaayo baatandika okukozesa codex, enkola y’ebitabo eyasooka. Okukola codex, omuntu yakwatanga empapula n’aziyisaamu wuzi n’akolamu ekitabo. Omuntu kyamwanguyiranga okuzuula ebyawandiikibwa ng’akozesa codex. Wadde nga tetumanyidde ddala ddi Abakristaayo lwe baatandika okukozesa codex, ekitabo ekimu kigamba nti: “Mu kyasa eky’okubiri, Abakristaayo baali bakozesa nnyo codex. N’olwekyo, bayinza okuba nga baatandika okugikozesa ng’omwaka gwa 100 tegunnatuuka.”

AMATEEKA GA ROOMA

13, 14. (a) Okuba nti Pawulo yali mutuuze wa Rooma kyamuganyula kitya? (b) Amateeka ga Rooma gaaganyula gatya Abakristaayo?

13 Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baaganyulwa nnyo mu mateeka ga Rooma. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yali mutuuze wa Rooma, era amateeka ga Rooma gaamuganyula nnyo ng’akola omulimu gw’okubuulira. Abasirikale Abaruumi bwe baakwata Pawulo mu Yerusaalemi era nga baagala okumukuba, Pawulo yabuuza omukulu w’abasirikale nti: “Mukkirizibwa mu mateeka okukuba Omuruumi nga tannasalirwa musango?” Ekyo kyali tekikkirizibwa. Pawulo bwe yakiraga nti yazaalibwa nga Muruumi, ‘abasajja abaali bagenda okumubuuza ebibuuzo ng’eno bwe bamukuba baamuleka, era omudduumizi w’amagye yatya nnyo bwe yategeera nti yali asibye Pawulo, ate nga Pawulo yali Muruumi.’Bik. 22:25-29.

14 Okuba nti Pawulo yali mutuuze wa Rooma kyamuyamba nnyo ng’ali mu Firipi. (Bik. 16:35-40) Mu Efeso, omukulu w’ekibuga bwe yamala okukkakkanya ekibiina ky’abantu, yabalaga nti ekyo kye baali baagala okukola kyali kimenya amateeka ga Rooma. (Bik. 19:35-41) Pawulo bwe yali mu Kayisaaliya, yasinziira ku mateeka ga Rooma n’asaba okwewozaako mu maaso ga Kayisaali. (Bik. 25:8-12) N’olwekyo, amateeka ga Rooma gaasobozesa Abakristaayo okulwanirira “amawulire amalungi era n’okuganyweza okuyitira mu mateeka.”Baf. 1:7.

ABAYUDAAYA BAALI MU BITUNDU BY’ENSI EBITALI BIMU

15. Mu kyasa ekyasooka, Abayudaaya baali babeera mu bitundu ki?

15 Okuba nti Abayudaaya baali babunye mu bitundu bingi eby’obwakabaka bwa Rooma nakyo kiyinza okuba nga kyayamba nnyo Abakristaayo okubunyisa amawulire amalungi. Ebyasa bingi emabega, Abayudaaya baali baatwalibwa mu buwambe mu Bwasuli ne mu Babulooni. Ekyasa eky’okutaano E.E.T. we kyatuukira, Abayudaaya baali basangibwa mu masaza 127 ag’omu bwakabaka bwa Buperusi. (Es. 9:30) Ekyasa ekyasooka we kyatuukira, Abayudaaya baali basangibwa mu bitundu by’obwakabaka bwa Rooma byonna, omwali Misiri n’ebitundu bya Afirika ow’Obukiikakkono ebirala, Buyonaani, Asiya omutono, ne Mesopotamiya. Kiteeberezebwa okuba nti ku bantu 60,000,000 abaali mu bwakabaka bwa Rooma, omuntu 1 ku buli bantu 14 yali Muyudaaya. Buli wamu Abayudaaya gye baagendanga, baagendanga mu maaso n’eddiini yaabwe.Mat. 23:15.

16, 17. (a) Okuba nti Abayudaaya baali basangibwa mu bitundu bingi kyaganyula kitya abantu abataali Bayudaaya? (b) Nkola ki Abayudaaya gye baalina, abayigirizwa gye baakoppa?

16 Olw’okuba Abayudaaya baali basangibwa mu bitundu by’ensi bingi, kyayamba n’abantu bangi abataali Bayudaaya okumanya ebiri mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Baayiga nti Katonda ow’amazima ali omu yekka era nti abo abamusinza balina okutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Era baayiga nti Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byaluŋŋamizibwa Katonda era nti byalimu obunnabbi bungi obukwata ku Masiya. (Luk. 24:44) N’olwekyo, Abakristaayo bwe baabanga babuulira amawulire amalungi, Abayudaaya n’abo abataali Bayudaaya baabasanganga balina kye bamanyi ku Byawandiikibwa. Mu butuufu, ekyo kyasobozesa Pawulo okuyamba abo abaalina emitima emirungi okutegeera amazima. Emirundi mingi, omutume Pawulo yayingiranga mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya n’akubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa.Soma Ebikolwa 17:1, 2.

17 Abayudaaya baalina enkola gye baagobereranga mu kusinza kwabwe. Baateranga okukuŋŋaana awamu mu makuŋŋaaniro oba mu bibangirizi. Baayimbanga ennyimba, baasabanga, era baakubaganyanga ebirowoozo ku Byawandiikibwa. Ebintu ebyo bikolebwa ne mu kibiina Ekikristaayo leero.

YAKUWA ABAYAMBYE OKUKOLA OMULIMU OGW’OKUBUULIRA

18, 19. (a) Kiki ky’oyinza okwogera ku mbeera eyaliwo mu kyasa ekyasooka? (b) Ebyo bye tulabye mu kitundu kino bikutte bitya ku ngeri gy’otwalamu Yakuwa?

18 Kya lwatu nti embeera eyaliwo mu kyasa ekyasooka yasobozesa abayigirizwa ba Yesu okubuulira amawulire amalungi. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Rooma, waaliwo emirembe, eby’entambula byali birungi, olulimi Oluyonaani lwali lutegeerwa abantu bangi, waaliwo amateeka ga Rooma agaali gagobererwa, era n’Abayudaaya baali basangibwa mu bitundu by’ensi bingi.

19 Ng’ebula emyaka nga 400 Yesu ajje ku nsi, omufirosoofo Omuyonaani ayitibwa Plato yagamba nti: ‘Kizibu nnyo okuzuula Omutonzi w’obutonde bwonna, era ne bwe kiba nti tumuzudde, tetusobola kubuulira bantu bonna bimukwatako.’ Kyokka Yesu yagamba nti: “Ebintu ebitasoboka eri abantu, bisoboka eri Katonda.” (Luk. 18:27) Omutonzi w’obutonde bwonna ayagala abantu bamuzuule era bamutegeere. Ate era Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Mufuule abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa.” (Mat. 28:19) Mu butuufu, abagoberezi ba Yesu basobodde okukola omulimu ogwo olw’okuba Yakuwa Katonda abayambye. Ekitundu ekiddako, kijja kulaga engeri omulimu gw’okubuulira gye gukolebwamu mu kiseera kyaffe.