Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kristo—Amaanyi ga Katonda

Kristo—Amaanyi ga Katonda

“Kristo maanyi ga Katonda.”1 KOL. 1:24.

1. Lwaki Pawulo yagamba nti “Kristo maanyi ga Katonda”?

YAKUWA yayoleka amaanyi ge ag’ekitalo ng’ayitira mu Yesu Kristo. Enjiri ennya zoogera ku bimu ku byamagero Kristo bye yakola ebisobola okunyweza okukkiriza kwaffe. Kirabika Yesu yakola n’ebyamagero ebirala bingi. (Mat. 9:35; Luk. 9:11) Mu butuufu, amaanyi ga Katonda geeyolekera mu Yesu. Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yagamba nti: “Kristo maanyi ga Katonda.” (1 Kol. 1:24) Naye ebyamagero Yesu bye yakola bitukwatako bitya?

2. Kiki kye tuyinza okuyigira ku byamagero Yesu bye yakola?

2 Omutume Peetero yagamba nti Yesu yakola ebyamagero, oba ‘ebikolwa eby’amaanyi.’ (Bik. 2:22) Ebikolwa eby’amaanyi Yesu bye yakola ng’ali ku nsi biraga ebintu eby’ekitalo by’ajja okukola mu bufuzi bwe. Mu butuufu, bisonga ku byamagero by’ajja okukola mu nsi ya Katonda empya ku kigero eky’ensi yonna! Ebyamagero ebyo era bituyamba okutegeera obulungi engeri za Yesu n’eza Kitaawe. Kati ka tulabeyo ebimu ku byamagero Yesu bye yakola era tulabe n’engeri gye biyinza okukwata ku bulamu bwaffe mu kiseera kino ne mu kiseera eky’omu maaso.

EKYAMAGERO EKITUYIGIRIZA OKUBA ABAGABI

3. (a) Kiki ekyaviirako Yesu okukola ekyamagero kye ekyasooka? (b) Ekyo Yesu kye yakola e Kaana kiraga kitya nti alina omwoyo omugabi?

3 Bwe yali ku mbaga e Kaana mu Ggaliraaya, Yesu yakola ekyamagero kye ekyasooka. Abantu abaali ku mbaga eyo bayinza okuba nga baali bangi okusinga abo abaali basuubirwa. Naye ka kibe ki ekyaliwo, omwenge gwali guweddewo. Mu abo abaali ku mbaga eyo mwe mwali Maliyamu, maama wa Yesu. Okumala emyaka mingi, Maliyamu ateekwa okuba nga yali afumiitiriza ku ebyo byonna obunnabbi bye bwali bwogera ku mwana we, gwe yali amanyi obulungi nti “Mwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo.” (Luk. 1:30-32; 2:52) Kyandiba nti Maliyamu muli yali akkiriza nti Yesu yalina amaanyi agaali gatannaba kweyoleka? Ekyo tetukimanyi, naye kye tumanyi kiri nti Maliyamu ne Yesu bwe baali e Kaana, baakwatirwa ekisa abagole abo era nga tebaagala abagole abo baswale mu maaso g’abagenyi baabwe. Yesu yali akimanyi nti kikulu okusembeza abagenyi. Bwe kityo yafuula lita z’amazzi nga 380 “omwenge omulungi.” (Soma Yokaana 2:3, 6-11.) Yesu kyali kimukakatako okukola ekyamagero ekyo? Nedda. Yesu yakola ekyamagero ekyo olw’okuba yali afaayo ku bantu era ng’akoppa Kitaawe mu kwoleka omwoyo omugabi.

4, 5. (a) Ekyamagero Yesu kye yasooka okukola kituyigiriza ki? (b) Ekyamagero Yesu kye yakolera e Kaana kiraga ki ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?

4 Omwenge Yesu gwe yakola mu ngeri ey’ekyamagero gwali mulungi era nga mungi, nga gumala bulungi bonna abaaliwo. Ekyamagero ekyo kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti Yesu ne Kitaawe si bakodo n’akamu. Era kituyigiriza nti bafaayo nnyo ku nneewulira z’abantu. Ekyamagero ekyo kiraga nti Yakuwa ajja kukozesa amaanyi ge mu nsi empya okugabula ekijjulo eri “amawanga gonna” ag’oku nsi.Soma Isaaya 25:6.

5 Kirowoozeeko! Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kukola ku byetaago bya buli muntu. Buli omu ajja kuba n’emmere emumala n’aw’okusula awalungi. Mu butuufu, bwe tulowooza ku bintu ebirungi ennyo Yakuwa by’agenda okutukolera, kituleetera essanyu lingi.

Tusobola okukoppa Yesu mu kwoleka omwoyo omugabi nga tuwaayo ebiseera byaffe okuyamba abalala (Laba akatundu 6)

6. Yesu yakozesanga atya amaanyi ge, era tuyinza tutya okumukoppa?

6 Omulyolyomi bwe yakema Yesu okufuula amayinja emmere, Yesu yagaana okukozesa amaanyi ge okwefunira ebyo ye by’ayagala. (Mat. 4:2-4) Kyokka Yesu yakozesanga amaanyi ge okukola ku byetaago by’abalala. Tuyinza tutya okumukoppa? Yesu yakubiriza abaweereza ba Katonda okuba ‘abagabi.’ (Luk. 6:38) Tusobola okwoleka omwoyo omugabi nga tuyita abalala okujja mu maka gaffe tuliireko wamu nabo emmere oba tugabaneko wamu nabo ebintu eby’omwoyo. Era tuyinza okwoleka omwoyo omugabi nga tuwaayo ebiseera byaffe oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, okuyamba abo abali mu bwetaavu, gamba ng’okuwuliriza ow’oluganda nga yeegezaamu mu mboozi ye. Ate era tuyinza okuyamba abo abeetaaga okulongoosa mu ngeri gye babuuliramu. Tusobola okukoppa Yesu mu kwoleka omwoyo omugabi nga tuyamba abalala mu by’omubiri ne mu by’omwoyo.

‘BONNA BAALYA NE BAKKUTA’

7. Kiki ekijja okweyongera okubaawo ng’ensi ya Sitaani ekyagenda mu maaso?

7 Okuva edda n’edda wabaddengawo abantu abaavu. Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti bulijjo wandibaddewo abantu abaavu mu nsi. (Ma. 15:11) Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka bingi, Yesu naye yagamba nti: “Abaavu mubeera nabo bulijjo.” (Mat. 26:11) Naye ddala Yesu yali ategeeza nti obwavu tebuliggwaawo ku nsi? Nedda. Yali alaga nti ng’ensi ya Sitaani eno embi ekyagenda mu maaso wajja kubangawo abantu abaavu. N’olwekyo, kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti ebyamagero Yesu bye yakola byali bisonga ku biseera eby’omu maaso ebirungi ebigenda okubaawo ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga, abantu bonna lwe bajja okuba nga balina eby’okulya bingi, nga balya ne bakkuta.

8, 9. (a) Kiki ekyaleetera Yesu okukola ekyamagero n’aliisa enkumi n’enkumi z’abantu? (b) Kiki ekisinga okukukwatako bw’olowooza ku kyamagero ekyo?

8 Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Oyanjuluza engalo zo, n’okkusa buli kintu kiramu bye kyagala.” (Zab. 145:16) Okufaananako Kitaawe, ‘Kristo, amaanyi ga Katonda,’ emirundi mingi yayanjuluzanga engalo ze n’awa abayigirizwa be bye beetaaga. Ekyo teyakikola lwa kwagala kubalaga bulazi nti alina amaanyi. Yakikola olw’okuba yali afaayo ku balala. Lowooza ku ebyo ebiri mu Matayo 14:14-21. (Soma.) Ekibiina ky’abantu abaali bavudde mu bibuga baagoberera Yesu nga batambuza bigere. (Mat. 14:13) Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa baatandika okweraliikirira nti abantu abo enjala yali ebaluma nnyo. Bwe kityo, baasaba Yesu asiibule abantu bagende mu bubuga beegulire eby’okulya. Kiki Yesu kye yakola?

9 Ng’akozesa emigaati ettaano n’eby’ennyanja bibiri, Yesu yaliisa abasajja 5,000, nga tobaliddeeko bakazi na baana! Lwaki Yesu yakola ekyamagero ekyo? Yakikola olw’okuba yali ayagala nnyo abantu era ng’afaayo ku byetaago byabwe. Mu butuufu, Yesu yawa abantu emmere nnyingi ne kiba nti ‘bonna baalya ne bakkuta.’ Emmere eyo yandiwadde abantu abo amaanyi ge baali beetaaga okusobola okutambula eŋŋendo empanvu okuddayo ewaabwe. (Luk. 9:10-17) Emmere eyasigalawo yajjuza ebisero 12 biramba!

10. Kiki ekinaatera okutuuka ku bwavu?

10 Olw’okuba gavumenti z’abantu zijjudde abantu ab’omululu era abeefaako bokka, abantu bangi basigadde nga baavu. Mu butuufu, n’abamu ku bakkiriza bannaffe, emmere gye bafuna ebabeezaawo bubeeza naye ‘tebakkusa.’ Naye ekiseera kinaatera okutuuka abantu abawulize babeere mu nsi erimu obwenkanya era omutali bwavu. Singa walina obusobozi, tewandikoze ku byetaago bya buli muntu? Yakuwa ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Alina obusobozi okukola ku byetaago by’abantu bonna era ekyo ayagala nnyo okukikola. Mu butuufu, asuubizza nti mu kiseera ekitali kya wala agenda kuleeta obuweerero!Soma Zabbuli 72:16.

11. Lwaki oli mukakafu nti Kristo anaatera okukozesa amaanyi ge ku kigero ky’ensi yonna, era ekyo kikukubiriza kukola ki?

11 Mu myaka esatu n’ekitundu Yesu gye yamala ku nsi ng’abuulira, ekitundu kye yakoleramu ebyamagero kyali kitono ddala. (Mat. 15:24) Naye mu kiseera ekitali kya wala Yesu ajja kufuga ensi yonna. (Zab. 72:8) Ebyamagero Yesu bye yakola biraga nti alina obusobozi okutuyamba era nti ekyo ayagala nnyo okukikola. Wadde nga ffe tetusobola kukola byamagero, tusobola okukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okubuulira abalala ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti ebiseera eby’omu maaso bigenda kuba birungi nnyo. Okuva bwe kiri nti ekyo ffe Abajulirwa ba Yakuwa tukimanyi, tekyandituleetedde okuwulira nti tulina ebbanja okuyamba n’abalala okukimanya? (Bar. 1:14, 15) Okufumiitiriza ku nsonga eyo kijja kutukubiriza okubuulira abalala amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda.Zab. 45:1; 49:3.

BALINA OBUYINZA KU MAANYI G’OBUTONDE

12. Lwaki tuli bakakafu nti Yesu ategeera bulungi ensi n’ebintu ebigiriko?

12 Katonda bwe yali atonda ensi n’ebintu byonna ebigiriko, yali wamu n’Omwana we eyazaalibwa omu yekka, era omwana we yakola ng’omukozi we omukugu. (Nge. 8:22, 30, 31; Bak. 1:15-17) N’olwekyo, Yesu ategeera bulungi ensi n’ebyo byonna ebigiriko. Era amanyi engeri y’okugabanyaamu ebintu ebiri ku nsi mu ngeri ennungi era ey’obwenkanya.

Kiki ekikusanyusa bw’olowooza ku ngeri Yesu gye yakozesaamu amaanyi ge okukola ebyamagero? (Laba akatundu 13, 14)

13, 14. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti Yesu alina obuyinza ku maanyi g’obutonde.

13 Bwe yali ku nsi, Yesu yakiraga nti ge “maanyi ga Katonda” ng’ayoleka obuyinza ku maanyi g’obutonde. Lowooza ku ekyo Yesu kye yakola nga wazzeewo omuyaga ogwali gutadde obulamu bw’abayigirizwa be mu kabi. (Soma Makko 4:37-39.) Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “omuyaga” mu Makko 4:37 kikozesebwa ku muyaga ogujja nga waliwo ebire ebikutte, kikunta ow’amaanyi, ng’eggulu libwatuka, era ng’enkuba etonnya nnyo. Oluvannyuma lw’omuyaga ng’ogwo, buli kimu kiba kyonooneddwa.

14 Lowooza ku mbeera eno: Amayengo gakuba eryato era nga n’amazzi galiyiikamu. Wadde ng’omuyaga gukunta nnyo era ng’eryato lisuukundibwa nnyo, Yesu yeebase olw’okuba akooye nnyo. Abayigirizwa be beeraliikirira nnyo era bamuzuukusa ne bamugamba nti: “Tunaatera okusaanawo!” (Mat. 8:25) Yesu azuukuka n’alagira omuyaga n’ennyanja nti: “Sirika! Teeka!” (Mak. 4:39) Kiki ekiddirira? Omuyaga gukkakkana era ‘ennyanja n’eteeka.’ Nga Yesu ayoleka amaanyi ag’ekitalo!

15. Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yakyoleka atya nti alina obuyinza ku maanyi g’obutonde?

15 Okuva bwe kiri nti Yakuwa, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ye nsibuko y’amaanyi Yesu g’alina, kyeyoleka lwatu nti Yakuwa alina obuyinza ku maanyi g’obutonde. Lowooza ku byokulabirako bino. Amataba bwe gaali tegannajja, Yakuwa yagamba nti: ‘Oluvannyuma lw’ennaku musanvu, nditonnyesa enkuba ku nsi ennaku amakumi ana emisana n’ekiro.’ (Lub. 7:4) Era Okuva 14:21, wagamba nti: “Mukama n’asindika ennyanja n’omuyaga ogw’amaanyi ogw’ebuvanjuba.” Ate era Yona 1:4, wagamba nti: “Mukama n’asindika empewo ennyingi ku nnyanja, omuyaga omungi ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka.” Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa alina obuyinza ku maanyi g’obutonde. Mu butuufu, ensi ejja kuba nnungi nnyo mu biseera eby’omu maaso.

16. Lwaki kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Omutonzi waffe n’Omwana we balina obuyinza ku maanyi g’obutonde?

16 Nga kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Omutonzi waffe n’omukozi we omukugu balina amaanyi mangi nnyo. Bwe banaatandika okuddukanya ebintu ku nsi mu bujjuvu mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, abantu bonna bajja kuba n’obukuumi obwa nnamaddala. Mu nsi empya, tejja kubaayo butyabaga, gamba nga ssunami, musisi, n’ensozi eziwandula omuliro. Nga kitusanyusa nnyo okulowooza ku kiseera obutyabaga lwe bunaaba nga tebukyakosa bantu wadde okubaviirako okufa, kubanga “weema ya Katonda [ejja kuba] wamu n’abantu”! (Kub. 21:3, 4) Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kuwa Yesu obuyinza ku maanyi g’obutonde mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.

KOPPA KATONDA NE KRISTO KATI

17. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa ne Yesu?

17 Kya lwatu nti, obutafaananako Yakuwa ne Yesu, ffe tetusobola kuziyiza butyabaga kubaawo. Wadde kiri kityo, tulina kye tusobola okukolawo. Tusobola okukolera ku bigambo ebiri mu Engero 3:27. (Soma.) Bakkiriza bannaffe bwe bafuna ebizibu, tusobola okubabudaabuda n’okubayamba mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. (Nge. 17:17) Ng’ekyokulabirako, tusobola okubadduukirira nga bakoseddwa obutyabaga. Nnamwandu omu, omuyaga gwe gwayonoonera ennyumba ye, yagamba nti: “Ndi musanyufu nnyo okuba mu kibiina kya Yakuwa, kubanga ekibiina kye kinnyambye mu by’omubiri ne mu by’omwoyo.” Ate lowooza ku mwannyinaffe omu ali obwannamunigina, eyawulira ng’asobeddwa ng’omuyaga gwonoonye ennyumba ye. Oluvannyuma lw’okufuna obuyambi, yagamba nti: “Sisobola kunnyonnyola ngeri gye mpuliramu . . . Weebale nnyo Yakuwa!” Nga tuli basanyufu nnyo okuba mu kibiina omuli bakkiriza bannaffe abafaayo ku byetaago by’abalala. N’ekisinga obukulu, kitusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa ne Yesu Kristo batufaako nnyo.

18. Kiki ekikusanyusa bw’olowooza ku nsonga lwaki Yesu yakola ebyamagero?

18 Mu kiseera kye yamala mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yakiraga nti ge “maanyi ga Katonda.” Naye Yesu yalina kiruubirirwa ki? Yesu teyakozesa maanyi ge kweraga oba okukola ku bintu ebibye ku bubwe. Mu butuufu, ebyamagero Yesu bye yakola byalaga nti ayagala nnyo abantu. Ensonga eyo ajja kwongera okwogerwako mu kitundu ekiddako.