Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tusobola Okusigala nga Tuli Balongoofu

Tusobola Okusigala nga Tuli Balongoofu

“Munaabe engalo zammwe, . . . mutukuze emitima gyammwe.”YAK. 4:8.

1. Abantu bangi eky’okuba abalongoofu bakitwala batya?

LEERO abantu bangi eky’okuba abalongoofu tebakitwala ng’ekikulu. Ng’ekyokulabirako, mu nsi nnyingi, okulya ebisiyaga n’obwenzi bitwalibwa ng’ebintu ebya bulijjo. Mu firimu, mu bitabo, mu nnyimba, ne mu bulango obutali bumu ebikolwa ng’ebyo biragibwa ng’ebitali bibi. (Zab. 12:8) Ebikolwa eby’obugwenyufu bicaase nnyo mu nsi leero ne kiba nti oyinza okuba nga weebuuza obanga ddala kisoboka omuntu okusigala nga mulongoofu. Naye ekituufu kiri nti Yakuwa asobola okutuyamba okusigala nga tuli balongoofu mu nsi eno embi.Soma 1 Abassessaloniika 4:3-5.

2, 3. (a) Lwaki kikulu nnyo okuziyiza okwegomba okubi? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Bwe tuba ab’okusigala nga tuli balongoofu, tulina okuziyiza okwegomba okubi. Naye olw’okuba tetutuukiridde, tusobola okufuna okwegomba okubi ne twagala okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. N’olwekyo, singa tufuna ebirowoozo ebibi, tusaanidde okubyeggyamu amangu ddala. Ekyo bwe tutakikola, okwegomba okwo kuyinza okukula ne kiba nti singa akakisa kajja, tusobola okukola ekibi. Mu butuufu, nga Bayibuli bw’egamba: “Okwegomba . . . kuzaala ekibi.”Soma Yakobo 1:14, 15.

3 Okwegomba okubi kuyinza okukula mu mutima gwaffe ne kutuuka n’okutuleetera okukola ekibi eky’amaanyi. Naye kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti singa tuziyiza okwegomba okubi tetujja kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu era kijja kutuyamba okwewala ebizibu bingi ebiva mu kwenyigira mu bikolwa ebyo. (Bag. 5:16) Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bisatu ebisobola okutuyamba okuziyiza okwegomba okubi: (1) enkolagana yaffe ne Yakuwa, (2) amagezi agali mu Kigambo kye, ne (3) obuyambi bwa bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo.

“MUSEMBERERE KATONDA”

4. Lwaki kikulu nnyo okusemberera Yakuwa?

4 Bayibuli ekubiriza abo bonna abaagala ‘okusemberera Katonda’ nti: “Munaabe engalo zammwe, . . . mutukuze emitima gyammwe.” (Yak. 4:8) Bwe tuba nga ddala enkolagana yaffe ne Yakuwa tugitwala nga ya muwendo, tujja kufuba okumusanyusa mu buli kimu kye tukola ne kye tulowooza. Tusobola okuba ‘n’omutima omulongoofu’ singa tumalira ebirowoozo byaffe ku bintu ebirongoofu, ebirungi, era ebitenderezebwa. (Zab. 24:3, 4; 51:6; Baf. 4:8) Kyo kituufu nti Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde. Akimanyi nti tusobola okufuna ebirowoozo ebibi. Naye tukimanyi nti kinakuwaza nnyo Yakuwa singa tuleka okwegomba okubi okukula mu mitima gyaffe mu kifo ky’okukola kyonna ekisoboka okukweggyamu. (Lub. 6:5, 6) Ekyo kisaanidde okutukubiriza okuba abamalirivu okukuuma ebirowoozo byaffe nga biyonjo.

5, 6. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba okuziyiza okwegomba okubi?

5 Emu ku ngeri gye tuyinza okulaga nti twesiga Yakuwa kwe kumusabanga atuyambe okweggyamu okwegomba okubi. Bwe tusemberera Yakuwa okuyitira mu kusaba, naye atusemberera. Yakuwa asobola okutuwa omwoyo gwe omutukuvu ne gutuyamba okuziyiza ebirowoozo ebibi ne tusobola okusigala nga tuli balongoofu. Kikulu okusaba Katonda ne tumutegeeza nti twagala bye tufumiitirizaako bibe nga bimusanyusa. (Zab. 19:14) Tufuba okusaba Yakuwa atukebere obanga tulinamu okwegomba okubi okusobola okutuleetera okukola ekibi? (Zab. 139:23, 24) Tufuba okusaba Yakuwa atuyambe okusigala nga tuli beesigwa gy’ali nga twolekagana n’ebikemo?Mat. 6:13.

6 Embeera gye twakuliramu oba engeri gye twali tweyisaamu mu biseera eby’emabega eyinza okuba nga yatuleetera okwagala ebintu Yakuwa by’akyawa. Wadde kiri kityo, Yakuwa asobola okutuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa tusobole okumuweereza mu ngeri gy’asiima. Ekyo Kabaka Dawudi yali akimanyi bulungi. Oluvannyuma lw’okwenda ku Basuseba, Dawudi yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Ontondemu omutima omulongoofu, . . . onzizeemu omwoyo omulungi mu nda yange.” (Zab. 51:10, 12) Wadde ng’obutali butuukirivu bwaffe buyinza okutuleetera okwagala okukola ebintu ebibi, Yakuwa asobola okutuyamba okuba n’omwoyo ogwagala okumugondera. Ebirowoozo ebibi ne bwe biba nga byasimba amakanda mu mitima gyaffe era nga byagala okutulemesa okulowooza ku bintu ebirongoofu, Yakuwa asobola okuluŋŋamya ebigere byaffe ne tusobola okukkiriza ebiragiro bye era ne tubikolerako. Asobola okutuyamba okwewala okufugibwa ekintu kyonna ekibi.Zab. 119:133.

Singa okwegomba okubi kutandika okukula mu mitima gyaffe tusaanidde okukweggyamu mu bwangu (Laba akatundu 6)

“MUBEERE BAKOZI BA KIGAMBO”

7. Ekigambo kya Katonda kiyinza kitya okutuyamba okwewala ebirowoozo ebibi?

7 Yakuwa asobola okuddamu okusaba kwaffe ng’ayitira mu Kigambo kye, Bayibuli. Amagezi agali mu Kigambo kya Katonda “okusooka malongoofu.” (Yak. 3:17) Bwe tusoma Bayibuli buli lunaku era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, kisobola okutuyamba okuziyiza ebirowoozo ebibi. (Zab. 19:7, 11; 119:9, 11) Ate era mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebisobola okutuyamba okuziyiza ebirowoozo ebibi n’okwegomba okubi.

8, 9. (a) Kiki ekyaviirako omuvubuka omu okwenyigira mu bikola eby’obugwenyufu? (b) Tuyinza tutya okukolera ku kulabula okuli mu Engero essuula 7?

8 Engero 5:8, wagamba nti: ‘Weesambire ddala omukazi omugwenyufu, tosembereranga luggi lwa nnyumba ye.’ Akabi akali mu kusambajja amagezi ago keeyoleka bulungi mu Engero essuula 7, awoogera ku muvubuka agenda okutambulako n’asalawo okuyita okumpi n’ennyumba y’omukazi omugwenyufu. Obudde buwungedde. Omukazi oyo amutuukirira, oboolyawo ng’ayambadde nga malaaya. Omukazi oyo akwata omuvubuka n’amunywegera. Enjogera y’omukazi oyo esikiriza ereetera omuvubuka oyo okulemererwa okwefuga. Beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Kirabika omuvubuka oyo we yaviiridde awaka teyabadde na kirowoozo kya kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Omuvubuka oyo talina bumanyirivu era tasalawo bulungi. Wadde kiri kityo, alina okwolekagana n’ebizibu ebivudde mu bikolwa bye. Kale singa yeewalidde ddala omukazi oyo, ebyo byonna tebyandibaddewo.Nge. 7:6-27.

9 Kyandiba nti naffe ebiseera ebimu tetusalawo bulungi, oboolyawo nga tweteeka mu mbeera eziyinza okutuleetera okulemererwa okwefuga? Ng’ekyokulabirako, mu biseera eby’ekiro, emikutu gya ttivi giyinza okutandika okulaga ebintu eby’obugwenyufu. N’olwekyo, kiba kya magezi okumala gagenda ku mikutu gya ttivi olw’okwagala obwagazi okumanya biki ebiriko? Oba watya singa tumala gagenda ku mikutu gya Intaneeti nga mw’otwalidde n’egyo egiyinza okubaako ebifaananyi eby’obuseegu. Olowooza ekyo tekiyinza kutuleetera okweteeka mu mbeera eyinza okutuviirako okufuna okwegomba okubi, ekintu ekiyinza okutulemesa okusigala nga tuli balongoofu?

10. Lwaki kya kabi okuzannyirira n’omuntu gw’otofaanaganya naye kikula? (Laba ekifaananyi ku lupapula 13)

10 Bayibuli era etuyamba okumanya engeri y’okukolaganamu n’abo be tutafaanaganya nabo kikula. (Soma 1 Timoseewo 5:2.) Amagezi Bayibuli g’ewa gatuyamba okwewala okuzannyirira n’abo be tutafaanaganya nabo kikula. Abantu abamu balowooza nti okukuba omulala oluuso, okumwemoolerako, oba okumwesesezasesezaako tekirina mutawaana gwonna kubanga tewabaawo aba akutte ku munne. Naye singa abantu ababiri abatafaanaganya kikula beeyongera okuzannyirira mu ngeri efaananako bw’etyo, ekyo kiyinza okubaleetera okufuna ebirowoozo ebibi, era ne kibaviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ekintu ng’ekyo kyali kibaddewo era kisobola okubaawo.

11. Yusufu yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi?

11 Yusufu yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Mukyala wa mukama we Potifaali, yagezaako okumusendasenda okwegatta naye, kyokka Yusufu n’agaana okukikola. Naye omukazi oyo teyalekulira. Buli lunaku yagambanga Yusufu okubeerako awamu naye nga bali bokka. (Lub. 39:7, 8, 10) Okusinziira ku mwekenneenya wa Bayibuli omu, muka Potifaali yali ng’agamba Yusufu nti: “ ‘Ka tubeereko wano ffekka okumala akaseera katono,’ oboolyawo ng’alowooza nti ekyo kiyinza okuleetera Yusufu okubaako ky’akolawo yeegatte naye.” Wadde kyali kityo, Yusufu yali mumalirivu obutakkiriza kusendebwasendebwa muka Potifaali era yeewala okukola ekintu kyonna ekiraga nti yeegwanyiza omukazi oyo. Ekyo kyayamba Yusufu okwewala okufuna okwegomba okubi mu mutima gwe. Muka Potifaali bwe yagezaako okumuwaliriza okwegatta naye, Yusufu ‘yaleka ekyambalo kye mu mukono gwe, n’addukira ebweru.’Lub. 39:12.

12. Kiki ekiraga nti ebintu ebimu bye tulaba bisobola okutuleetera okufuna okwegomba okubi?

12 Bayibuli era eraga nti tulina okwegendereza ebintu bye tulaba. Ebintu ebimu bye tulaba bisobola okutuleetera okufuna okwegomba okubi. Yesu yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Mat. 5:28) Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Kabaka Dawudi. ‘Ng’ayima ku nnyumba, Dawudi yalaba omukazi ng’anaaba.’ (2 Sam. 11:2) Dawudi yalemererwa okuggya amaaso ge ku mukazi oyo n’okufuba okulowooza ku bintu ebirala. Ekyo kyamuleetera okwegomba muka musajja era n’akola enteekateeka okwegatta naye.

13. Lwaki tusaanidde ‘okukola endagaano n’amaaso gaffe,’ era ekyo kizingiramu ki?

13 Okusobola okwewala okufuna okwegomba okubi, twetaaga ‘okukola endagaano n’amaaso gaffe,’ nga Yobu omusajja omwesigwa bwe yakola. (Yob. 31:1, 7, 9) Tusaanidde okufuga amaaso gaffe era tetusaanidde kugakkiriza kutunuulira muntu yenna mu ngeri etesaana eyinza okutuleetera okufuna okwegomba okubi. Ekyo kizingiramu n’okwewala okutunuulira ebifaananyi eby’obuseegu ka bibe ku kompyuta, ku bipande, ku magazini, oba awantu awalala wonna.

14. Kiki kye tulina okukola okusobola okusigala nga tuli balongoofu?

14 Bwe kiba nti waliwo ekintu kyonna ekyogeddwako mu kitundu kino ekiraze ekyo kye weetaaga okukolako okusobola okuziyiza okwegomba okubi, baako ky’okolawo mu bwangu. Fuba okukolera ku magezi agali mu Kigambo kya Katonda, kikuyambe okwewala okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu osobole okusigala ng’oli mulongoofu.Soma Yakobo 1:21-25.

‘YITA ABAKADDE’

15. Bwe kiba nti tulemeddwa okweggyamu okwegomba okubi, lwaki kikulu okusaba bakkiriza bannaffe okutuyamba?

15 Bwe kiba nti tulemeddwa okweggyamu okwegomba okubi, bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo nabo abasobola okutuyamba. Kya lwatu nti si kyangu kubuulirako balala bikwata ku bunafu bwaffe. Naye singa tubuulirako bakkiriza bannaffe ku bunafu bwaffe, kisobola okutuyamba okubaako kye tukolawo mu bwangu. (Nge. 18:1; Beb. 3:12, 13) Bakkiriza bannaffe abakuze mu by’omwoyo basobola okutuyamba okulaba ebizibu ebiyinza okuvaamu singa tetubaako kye tukolawo mu bwangu. Ekyo kisobola okutuyamba okukola enkyukakyuka ezeetaagisa tusobole okusigala mu kwagala kwa Yakuwa.

16, 17. (a) Abakadde bayinza batya okuyamba abo abalemeddwa okweggyamu okwegomba okubi? Waayo ekyokulabirako. (b) Lwaki abo abalina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu balina okunoonya obuyambi mu bwangu?

16 Okusingira ddala, abakadde mu kibiina basobola okutuyamba. (Soma Yakobo 5:13-15.) Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omu ow’omu Brazil yamala emyaka mingi ng’alemeddwa okweggyamu okwegomba okubi. Agamba nti: “Nnali nkimanyi nti ebintu ebyali mu birowoozo byange byali tebisanyusa Yakuwa, naye nga mpulira nswala ekyo okukibuulirako abalala.” Naye waliwo omukadde omu mu kibiina eyakiraba nti omuvubuka oyo yalina ekizibu era n’amukubiriza okufuna obuyambi okuva mu bakadde. Omuvubuka oyo agamba nti: “Kyanneewuunyisa nnyo okulaba engeri ey’ekisa abakadde gye bankwatamu. Bampuliriza bulungi, baakozesa Bayibuli okunkakasa nti Yakuwa anjagala, era bansabira. Ekyo kyandeetera okuba omumalirivu okukolera ku magezi agali mu Bayibuli ge bampa.” Oluvannyuma lw’ekiseera, omuvubuka oyo yakulaakulana mu by’omwoyo, era agamba nti: “Kati nkimanyi bulungi nti kikulu nnyo okunoonya obuyambi mu kifo ky’okugezaako okwetikka emigugu gyaffe ffekka.”

17 Bw’oba ng’olina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, osaanidde okunoonya obuyambi mu bwangu. Gy’okoma okulwawo okufuna obuyambi, n’okwegomba okubi gye kujja okukoma okukula mu mutima gwo. N’ekinaavaamu okwegomba okwo kujja ‘kuba olubuto kuzaale ekibi,’ ekintu ekiyinza okukosa abalala n’okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa. Olw’okuba baagala okusanyusa Yakuwa n’okusigala mu kibiina Ekikristaayo, abaweereza ba Yakuwa bangi bakkirizza obuyambi obubaweereddwa era ne babukolerako.Yak. 1:15; Zab. 141:5; Beb. 12:5, 6.

BA MUMALIRIVU OKUSIGALA NG’OLI MULONGOOFU!

18. Kiki ky’omaliridde okukola?

18 Ng’empisa z’abantu mu nsi ya Sitaani zeeyongera okwonooneka, kiteekwa okuba nga kisanyusa nnyo Yakuwa okulaba ng’abaweereza be abeesigwa bafuba okukuuma ebirowoozo byabwe nga biyonjo n’okunywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu! N’olwekyo, ka buli omu ku ffe abe mumalirivu okusigala ng’alina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa n’okukolera ku bulagirizi bw’awa okuyitira mu Kigambo kye ne mu kibiina Ekikristaayo. Bwe tusigala nga tuli balongoofu, tuba basanyufu era tuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo. (Zab. 119:5, 6) Mu kiseera eky’omu maaso, oluvannyuma lwa Sitaani okuggibwawo, tujja kufuna enkizo ey’okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya ey’obutuukirivu.