Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Abakristaayo basaanidde okusaba Yesu Kristo?

Nedda. Yesu kennyini yatugamba okusaba Yakuwa, era yatuteerawo ekyokulabirako ng’asaba Kitaawe. (Mat. 6:6-9; Yok. 11:41; 16:23) Abagoberezi be abaasooka nabo baasabanga Katonda, so si Yesu. (Bik. 4:24, 30; Bak. 1:3)1/1, olupapula 14.

Tuyinza tutya okwetegekera omukolo gw’okujjukira okufa kwa Yesu ogubaawo buli mwaka?

Nga tusoma ebyawandiikibwa ebituweebwa okusoma mu kiseera ky’Ekijjukizo. Era tusobola okugaziya ku buweereza bwaffe mu kiseera ekyo. Ate era tusobola okufumiitiriza ku ssuubi Katonda ly’atuwadde.1/15, olupapula 14-16.

Kiki ekyatuuka ku basibe ababiri Abamisiri abaabuulira Yusufu ku birooto byabwe ebyabeeraliikiriza?

Yusufu yagamba omusenero wa Falaawo nti yali agenda kuzibwayo mu kifo kye. Era yagamba omufumbiro nti ekirooto kye kyali kiraga nti Falaawo yali agenda kumutta, amuwanike ku muti. Byonna Yusufu bye yayogera, byatuukirira. (Lub. 40:1-22)2/1, olupapula 12-14.

Kirabo ki ab’oluganda mu Japan kye baafuna ekyabasanyusa ennyo?

Baafuna ekitabo ekipya eky’Enjiri ya Matayo eyaggibwa mu Nkyusa ey’Ensi Empya. Ab’oluganda bagaba ekitabo ekyo nga babuulira era kisikirizza abantu bangi abatamanyi nnyo Bayibuli.2/15, olupapula 3.

Mbeera ki ezaaliwo mu kyasa ekyasooka ezaakifuula ekyangu okubuulira amawulire amalungi?

Waaliwo emirembe mu bwakabaka bwa Rooma. Waaliwo enguudo ennungi ezaasobozesa abayigirizwa okutuuka mu bitundu ebitali bimu. Olulimu Oluyonaani lwali lwogerwa abantu bangi, era ekyo kyakifuula kyangu okubuulira abantu abatali bamu, nga mw’otwalidde n’Abayudaaya abaali basaasaanye mu bitundu by’obwakabaka bwa Rooma. Era abayigirizwa baali basobola okukozesa amateeka ga Rooma okulwanirira amawulire amalungi.2/15, olupapula 20-23.

Lwaki Abakristaayo ab’amazima tebakuza Ppaasika?

Yesu yalagira abagoberezi be okujjukira okufa kwe, so si kuzuukira kwe. (Luk. 22:19, 20)3/1, olupapula 8.

Lwaki ennaku zino ebitabo byaffe tebikyayogera nnyo ku bintu ebyogerwako mu Bayibuli nga biraga kye bikiikirira?

Bayibuli eraga nti abantu abamu b’eyogerako balina kye bakiikirira. Abamu ku abo boogerwako mu Abaggalatiya 4:21-31. Kyokka Bayibuli bw’eba tekiraga, tekiba kirungi kuteebereza. Naye waliwo ebintu bingi bye tusobola okuyigira ku bantu n’ebintu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli. (Bar. 15:4)3/15, olupapula 17-18.

Lwaki ekiwandiiko eky’edda eky’ebitoogo ekyasangibwa mu ntuumu ya kasasiro mu Misiri kya muwendo nnyo?

Mu kyasa ekyayita, waliwo ekiwandiiko ekyazuulibwa ekyalimu ebitundu ebimu eby’Enjiri ya Yokaana. Kiyinza okuba nga kyawandiikibwa nga waakayita emyaka mitono nga Yokaana amaze okuwandiika Enjiri ye. Ebintu ebiri mu kiwandiiko ekyo bikakasa nti Bayibuli ekuumiddwa bulungi era nti yeesigika. 4/1, olupapula 10-11.

Lwaki omwonoonyi ateenenya bw’agobebwa mu kibiina kiba kikolwa kya kwagala?

Bayibuli eraga nti omwonoonyi ateenenya asaanidde okugobebwa mu kibiina, era ekyo kivaamu emiganyulo mingi. (1 Kol. 5:11-13) Kiweesa erinnya lya Katonda ekitiibwa, kikuuma ekibiina nga kiyonjo, era kisobola okuleetera omwonoonyi okwekuba mu kifuba.4/15, olupapula 29-30.