Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Fuba Okwongera Okulungiya Olusuku olw’Eby’Omwoyo

Fuba Okwongera Okulungiya Olusuku olw’Eby’Omwoyo

“Ndifuula ekifo eky’ebigere byange okuba eky’ekitiibwa.”—IS. 60:13.

ENNYIMBA: 102, 75

1, 2. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ebigambo ‘entebe y’ebigere’ bisobola kutegeeza ki?

YAKUWA KATONDA yagamba nti: “Eggulu ye ntebe yange, n’ensi ye ntebe y’ebigere byange.” (Is. 66:1) Ng’ayogera ku “ntebe y’ebigere” bye, Yakuwa yagamba nti: “Ndifuula ekifo eky’ebigere byange okuba eky’ekitiibwa.” (Is. 60:13) Ekyo akikola atya? Era ekyo kitukwatako kitya, okuva bwe kiri nti tubeera ku nsi, ‘entebe y’ebigere’ bya Katonda?

2 Ng’oggyeeko okuba nti ensi eyogerwako ‘ng’entebe y’ebigere’ bya Katonda, yeekaalu eyali mu Isiraeri nayo eyogerwako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ng’entebe y’ebigere bya Katonda. (1 Byom. 28:2; Zab. 132:7) Yeekaalu eyo yali ku nsi era ye yali entabiro y’okusinza okw’amazima. Eyo ye nsonga lwaki yali nnungi nnyo mu maaso ga Yakuwa, era yeekaalu eyo yaweesa ekitiibwa ekifo ky’ebigere bya Yakuwa.

3. Yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo kye ki, era yateekebwawo ddi?

3 Leero entabiro ey’okusinza okw’amazima teri ku kizimbe, gamba nga yeekaalu eyali ku nsi. Kyokka, waliwo yeekaalu ey’eby’omwoyo, eweesa Yakuwa ekitiibwa okusinga ekizimbe kyonna ekyali kizimbiddwa. Yeekaalu eyo ey’eby’omwoyo ye nteekateeka esobozesa abantu okutabagana ne Katonda okuyitira mu bwakabona ne ssaddaaka ya Yesu Kristo. Yeekaalu eyo yateekebwawo mu mwaka gwa 29 E.E., Yesu bwe yabatizibwa era n’afukibwako omwoyo omutukuvu okuba Kabona Asinga Obukulu owa yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo.Beb. 9:11, 12.

4, 5. (a) Okusinziira ku Zabbuli 99, kiki abaweereza ba Yakuwa ab’amazima kye baagala ennyo? (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza?

4 Olw’okuba tusiima yeekaalu ey’eby’omwoyo, tutendereza Yakuwa nga tumanyisa abalala ebikwata ku linnya lye n’ebikwata ku kinunulo, ekirabo eky’omuwendo ennyo kye yatuwa. Nga kisanyusa nnyo okukimanya nti leero waliwo Abakristaayo ab’amazima abasukka mu bukadde omunaana abaweesa Yakuwa ekitiibwa! Obutafaananako bantu bangi mu madiini agatali gamu abalowooza nti bajja kutendereza Katonda nga bamaze kugenda mu ggulu, Abajulirwa ba Yakuwa bonna bakimanyi nti balina okutendereza Katonda kati ku nsi.

5 Bwe tutendereza Yakuwa, tuba tukoppa abaweereza be abeesigwa aboogerwako mu Zabbuli 99:1-3, 5. (Soma.) Nga zabbuli eyo bw’eraga, Musa, Alooni, ne Samwiri baawagira okusinza okw’amazima n’omutima gwabwe gwonna mu kiseera kyabwe. (Zab. 99:6, 7) Leero, ensigalira ya baganda ba Yesu abaafukibwako amafuta bwe baba tebannagenda mu ggulu kuweereza naye nga bakabona, baweereza n’obwesigwa ku nsi mu luggya lwa yeekaalu ey’eby’omwoyo. Waliwo ‘n’ab’endiga endala’ bukadde na bukadde abakolera awamu nabo. (Yok. 10:16) Wadde nga balina essuubi lya njawulo, abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala basinziza wamu Yakuwa Katonda wano ku ntebe y’ebigere bye. Naye buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Mpagira enteekateeka ey’okusinza okw’amazima n’omutima gwange gwonna?’

OKUTEGEERA ABO ABAWEEREREZA KU YEEKAALU YA KATONDA EY’EBY’OMWOYO

6, 7. Kizibu ki ekyajjawo mu Bakristaayo abaasooka, era kiki ekyaliwo wakati wa 1914 ne 1919?

6 Bwe waali tewannayita myaka 100 ng’ekibiina Ekikristaayo kitandikiddwawo, obwakyewaggula obwali bwayogerwako bwatandika okweyoleka. (Bik. 20:28-30; 2 Bas. 2:3, 4) Okuva mu kiseera ekyo, kyatandika okuba ekizibu okumanya abo bennyini abaali baweerereza Katonda ku yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. Waayita ebyasa bingi Yakuwa n’alyoka akozesa Yesu Kristo, eyali yaakatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka, okulaga abo abaweerereza ku yeekaalu ya Katonda ey’eby’omwoyo.

7 Omwaka gwa 1919 we gwatuukira, abo Yakuwa b’asiima era abaweerereza ku yeekaalu ye ey’eby’omwoyo baali bategeerekese bulungi. Baali balongooseddwa mu by’omwoyo, ekintu ekyaleetera okusinza kwabwe eri Yakuwa okwongera okusiimibwa. (Is. 4:2, 3; Mal. 3:1-4) Ebyo omutume Pawulo bye yalaba mu kwolesebwa ebyasa bingi emabega byali bitandise okutuukirira ku kigero ekitono.

8, 9. ‘Olusuku lwa Katonda’ Pawulo lwe yalaba mu kwolesebwa kye ki?

8 Okwolesebwa Pawulo kwe yafuna kwogerwako mu 2 Abakkolinso 12:1-4. (Soma.) Ebyo Pawulo bye yalaba mu kwolesebwa okwo byogerwako ng’okubikkulirwa. Ebintu ebyo byali bisonga ku kintu ekyandibaddewo mu kiseera eky’omu maaso, so si mu kiseera kya Pawulo. Pawulo bwe ‘yakwakkulibwa n’atwalibwa mu ggulu ery’okusatu,’ ‘lusuku ki’ lwe yalaba? Olusuku olwo luzingiramu Olusuku lwa Katonda olujja okubeera ku nsi. (Luk. 23:43) Era luzingiramu olusuku olw’eby’omwoyo olujja okubaawo mu bujjuvu mu nsi empya. Ate era luzingiramu embeera ennungi ennyo ejja okubeera mu ggulu mu “lusuku lwa Katonda.”Kub. 2:7.

9 Kati olwo lwaki Pawulo yagamba nti yali ‘awulidde ebigambo ebitayogerekeka, omuntu by’atakkirizibwa kwogera’? Ekyo kiri kityo kubanga ekiseera ekyo si kye kyali ekiseera ekituufu okutandika okunnyonnyola ebintu eby’ekitalo ebyali mu kwolesebwa okwo. Naye leero kikkirizibwa okwogera ku mikisa abantu ba Katonda gye bafuna mu kiseera kino!

10. Lwaki tuyinza okugamba nti waliwo enjawulo wakati “w’olusuku olw’eby’omwoyo” ne “yeekaalu ey’eby’omwoyo”?

10 Tutera okwogera ku “lusuku olw’eby’omwoyo,” naye olusuku olwo kye ki? Ye mbeera ennungi ey’eby’omwoyo gye tulimu etusobozesa okuba mu mirembe ne Katonda awamu ne bakkiriza bannaffe. Kyokka, tusaanidde okukijjukira nti waliwo enjawulo wakati ‘w’olusuku olw’eby’omwoyo’ ne “yeekaalu ey’eby’omwoyo.” Yeekaalu ey’eby’omwoyo ye nteekateeka Katonda gy’ataddewo ey’okusinza okw’amazima. Olusuku olw’eby’omwoyo lwe lulaga abo abasiimibwa mu maaso ga Katonda era abamuweerereza mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo leero.Mal. 3:18.

11. Nkizo ki gye tulina leero?

11 Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti okuva mu 1919, Yakuwa abadde awa abantu abatatuukiridde enkizo okukolera awamu naye mu kugaziya n’okulungiya olusuku olw’eby’omwoyo ku nsi! Naawe weenyigira mu mulimu ogwo? Okiraba nti nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Yakuwa mu kuweesa ekitiibwa ‘ekifo ky’entebe y’ebigere bye’?

EKIBIINA KYA YAKUWA KYEYONGERA OKULABIKA OBULUNGI

12. Tumanya tutya nti ebigambo ebiri mu Isaaya 60:17 bituukiridde? (Laba ekifaananyi ku lupapula 7.)

12 Enkyukakyuka ez’ekitalo ezandibaddewo mu kitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa zaayogerwako mu Isaaya 60:17. (Soma.) Abo abakyali abato oba abakyali abapya mu mazima basomye ku nkyukakyuka ezo oba baziwuliddeko okuva ku balala. Naye waliwo baganda baffe ne bannyinaffe bangi abeerabiddeko n’agaabwe ku nkyukakyuka ezo! N’olwekyo tekyewuunyisa nti bakkiriza bannaffe ng’abo bakakafu nti Yakuwa, ng’ayitira mu Kabaka gwe yateekawo, awa ekibiina kye obulagirizi! Bwe tuwulira ebyokulabirako bya bakkiriza bannaffe ng’abo, kinyweza okukkiriza kwaffe era kituleetera okwongera okwesiga Yakuwa.

13. Okusinziira ku Zabbuli 48:12-14 kiki kye tusaanidde okukola?

13 Ka tube nga tumaze bbanga ki mu mazima, tulina okweyongera okubuulira abalala ebikwata ku kibiina kya Yakuwa. Okuba nti tuli mu lusuku olw’eby’omwoyo wadde nga tukyali mu nsi eno embi era eteriimu kwagala kyamagero! Ebintu eby’ekitalo bye tumanyi ku kibiina kya Yakuwa, oba “Sayuuni,” n’ebyo bye tumanyi ku lusuku olw’eby’omwoyo, tusaanidde okubibuulirako abantu ‘ab’emirembe egigenda okujja.’Soma Zabbuli 48:12-14.

14, 15. Nkyukakyuka ki ezaakolebwa mu kibiina mu myaka gya 1970, era birungi ki ebivuddemu?

14 Emyaka bwe gizze giyitawo, abo abaludde mu mazima balabye enkyukakyuka nnyingi ezikoleddwa mu kibiina ezireetedde ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa okwongera okulabika obulungi. Bajjukira ebiseera ebyo ebibiina lwe byabanga n’omuweereza w’ekibiina mu kifo ky’okubeera n’akakiiko k’abakadde, ensi lwe zaabanga n’omuweereza w’ettabi mu kifo ky’Akakiiko k’Ettabi, era obulagirizi lwe bwaweebwanga pulezidenti wa Watch Tower Society mu kifo ky’okuweebwa Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga baganda baffe abo baalina abayambi, okutwalira awamu, omuntu omu ye yasalangawo ku ngeri ebintu gye byakolebwangamu mu kibiina, ku ofiisi z’amatabi, ne ku kitebe kyaffe ekikulu. Mu myaka gya 1970, enkyukakyuka zaakolebwa ne kiba nti abakadde abawerako be bakwasibwa obuvunaanyizibwa okusalawo ku bintu ebitali bimu mu kifo ky’okuba nti obuvunaanyizibwa obwo buli ku muntu omu yekka.

15 Enkyukakyuka ezo zivuddemu ebirungi? Yee. Lwaki? Kubanga enkyukyuka ezo zaakolebwa oluvannyuma lw’okwongera okwetegereza enkola abaweereza ba Katonda ab’edda gye baagobereranga nga bwe kiragibwa mu Byawandiikibwa. Mu kifo ky’okuba n’omuntu omu yekka okusalawo ku bintu ebitali bimu mu kibiina kya Yakuwa, engeri ennungi abakadde abatali bamu, oba ‘ebirabo mu bantu,’ ze balina bwe zigattibwa wamu, ziganyula nnyo ekibiina.Bef. 4:8; Nge. 24:6.

Yakuwa awa abantu buli wamu obulagirizi bwe beetaaga ennyo (Laba akatundu 16, 17)

16, 17. Nkyukakyuka ki ezikoleddwa mu kibiina gye buvuddeko awo ezikusanyusizza ennyo, era lwaki?

16 Ate era lowooza ku nkyukakyuka ezikoleddwa gye buvuddeko awo, gamba ng’ezo ezikwata ku ndabika y’ebitabo byaffe, ku bintu ebibaamu, ne ku ngeri gye bituusibwa ku bantu. Bwe tuba tubuulira, kitusanyusa nnyo okugaba ebitabo byaffe ebirabika obulungi, ebisikiriza, era ebisobola okuyamba abantu okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo. Ate era bwe tukozesa tekinologiya ali ku mulembe okutuusa amazima ku bantu abatali bamu, gamba nga tukozesa omukutu gwaffe ogwa jw.org, tuba tukoppa Yakuwa, Oyo ayagala okuwa abantu buli wamu obulagirizi bwe beetaaga ennyo mu kiseera kino.

17 Ate lowooza ku nkyukakyuka eyakolebwa okutusobozesa okuba n’Okusinza kw’Amaka era n’okufuna ebiseera ebisingawo okwesomesa. Okugatta ku ekyo, tusanyuka nnyo bwe tulowooza ne ku nkyukakyuka ezikoleddwa bwe kituuka ku nkuŋŋaana zaffe ennene. Mu butuufu, tusobola okugamba nti buli mwaka ebintu byeyongera kulongooka! Ate era tusanyukira nnyo okutendekebwa kwe tufuna okuyitira mu masomero agatali gamu agateekeddwawo mu kibiina kya Yakuwa. Mu butuufu, Yakuwa y’ali emabega w’enkyukakyuka zino zonna. Buli lukya yeeyongera okulungiya ekibiina kye awamu n’olusuku olw’eby’omwoyo lwe tulimu ne leero!

KY’OYINZA OKUKOLA OKUYAMBAKO MU KULUNGIYA OLUSUKU OLW’EBY’OMWOYO

18, 19. Tuyinza tutya okuyambako mu kwongera okulungiya olusuku olw’eby’omwoyo?

18 Nkizo ya maanyi okukolera awamu ne Yakuwa mu kwongera okulungiya olusuku olw’eby’omwoyo. Ekyo tusobola okukikola nga twenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’okufuula abantu abayigirizwa. Buli lwe tuyamba omuntu okukulaakulana n’abatizibwa, tuba tuyambyeko mu kugaziya olusuku olw’eby’omwoyo.Is. 26:15; 54:2.

19 Ate era tusobola okuyambako mu kulungiya olusuku lwaffe olw’eby’omwoyo nga tufuba okwongera okukulaakulanya engeri ez’Ekikristaayo. Bwe tukola bwe tutyo, tusobola okuleetera abalala nabo okwagala okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo. Ng’oggyeeko okuyigiriza abantu Bayibuli, empisa zaffe ennungi nazo zirina kinene kye zikola mu kuyamba abantu okwagala okujja mu kibiina Ekikristaayo, bwe batyo ne bajja eri Katonda ne Kristo.

Naawe olina ky’oyinza okukolawo okuyambako mu kugaziya olusuku olw’eby’omwoyo (Laba akatundu 18, 19)

20. Okusinziira ku Engero 14:35, kiki kye tusaanidde okukola?

20 Nga Yakuwa ne Yesu bateekwa okuba nga basanyufu nnyo okulaba olusuku olw’eby’omwoyo lwe tulimu leero! Essanyu lye tufuna nga tuliko kye tukoze mu kwongera okulungiya olusuku olw’eby’omwoyo lituyamba okulaba essanyu ery’ekitalo lye tujja okufuna nga tukola emirimu egitali gimu okufuula ensi Olusuku lwa Katonda. Ka bulijjo tujjukire ebigambo ebiri mu Engero 14:35, awagamba nti: ‘Omuddu akola eby’amagezi y’aganja eri kabaka.’ N’olwekyo, ka tweyongere okweyisa mu ngeri ey’amagezi nga tufuba okuyambako mu kwongera okulungiya olusuku olw’eby’omwoyo!