Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuweereza Yakuwa mu ‘Nnaku Embi’

Okuweereza Yakuwa mu ‘Nnaku Embi’

OW’OLUGANDA Ernst ali mu myaka 70 agamba nti: “Buli lukya, embeera y’obulamu bwange yeeyongera okwonooneka.” * Naawe bw’otyo bw’owulira? Bw’oba ng’ogenda okaddiwa era ng’owulira nti embeera y’obulamu bwo yeeyongera okwonooneka era nga n’amaanyi go geeyongera okukendeera, osobola okutegeera obulungi ebigambo ebiri mu Omubuulizi essuula 12. Mu lunyiriri 1, emyaka gy’obukadde gyogerwako nga “ennaku embi.” Wadde kiri kityo, tosaanidde kuggwaamu maanyi. Osobola okweyongera okuweereza Yakuwa ng’oli musanyufu.

BA N’OKUKKIRIZA OKW’AMAANYI

Mmwe bakkiriza bannaffe abakaddiye musaanidde okukijjukira nti n’abaweereza ba Yakuwa ab’edda abaali bakaddiye baayolekagana n’embeera nga ze mwolekagana nazo. Ng’ekyokulabirako, Isaaka, Yakobo, ne Akiya amaaso gaabwe gaali tegakyalaba bulungi. (Lub. 27:1; 48:10; 1 Bassek. 14:4) Kabaka Dawudi ‘yali takyabuguma.’ (1 Bassek. 1:1) Bezaleeri, omusajja eyali omugagga, yali takyawoomerwa bya kulya era n’amatu ge gaali tegakyawulira bulungi nnyimba. (2 Sam. 19:32-35) Ibulayimu ne Nawomi baafiirwa bannaabwe mu bufumbo.Lub. 23:1, 2; Luus. 1:3, 12.

Kiki ekyayamba buli omu ku bo okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa n’okusigala nga musanyufu? Olw’okuba yali akkiririza mu bisuubizo bya Katonda, Ibulayimu bwe yali ng’akaddiye ‘yafuuka wa maanyi olw’okukkiriza kwe.’ (Bar. 4:19, 20) Naffe twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Okukkiriza ng’okwo tekusinziira ku myaka gye tulina, obusobozi bwaffe, oba embeera y’obulamu bwaffe. Ng’ekyokulabirako, Yakobo ne bwe yali ng’anafuye, nga takyalaba, era nga takyava wansi, yeeyongera okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu bisuubizo bya Katonda. (Lub. 48:1-4, 10; Beb. 11:21) Lowooza ku Mwannyinaffe Ines ow’emyaka 93. Wadde ng’omubiri gwe munafu nnyo, agamba nti: “Buli lunaku mpulira nga Yakuwa annyamba. Buli lunaku ndowooza ku Lusuku lwa Katonda. Ekyo kinzizaamu nnyo amaanyi.” Nga mwannyinaffe oyo ataddewo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka endowooza ennuŋŋamu!

Tusobola okunyweza okukkiriza kwaffe nga tusaba Yakuwa, nga tusoma Ekigambo kye, era nga tubaawo mu nkuŋŋaana. Nnabbi Danyeri eyali akaddiye yasabanga emirundi esatu buli lunaku era yasomanga Ekigambo kya Katonda. (Dan. 6:10; 9:2) Nnamwandu Ana ‘teyayosanga kugenda mu yeekaalu.’ (Luk. 2:36, 37) Bw’ofuba okubangawo mu nkuŋŋaana era n’okola kyonna ekisoboka okuzeenyigiramu, kisobola okukuzzaamu amaanyi era ne kizzaamu n’abalala amaanyi. Ate era Yakuwa awulira essaala zo ne bwe kiba nti kati tokyasobola kukola bintu ebimu bye wakolanga edda.Nge. 15:8.

Fuba okuzzaamu abalala amaanyi

Bangi ku mmwe bakkiriza bannaffe abeesigwa mwagala nnyo okusoma Bayibuli n’ebitabo byaffe era mwagala nnyo okubaawo mu nkuŋŋaana. Naye mukiraba nti buli lukya ebintu ebyo byeyongera okubabeerera ebizibu. Kati olwo kiki ekiyinza okubayamba? Mufube okukozesa mu bujjuvu ebintu bye musobola okufuna. Bangi ku abo abatakyasobola kubaawo mu nkuŋŋaana bawuliriza ebyo ebiba mu nkuŋŋaana nga bakozesa essimu. Wadde nga Mwannyinaffe Inge ow’emyaka 79 takyalaba bulungi, yeeteekerateekera enkuŋŋaana ng’akozesa empapula ow’oluganda omu mu kibiina kye z’amwokeramu mu nnukuta ennene.

Ate era musobola okuba nga mulina ekintu abantu abasinga obungi kye batalina, nga bino bye biseera. Lwaki temukozesa biseera ebyo okuwuliriza Bayibuli, ebitabo byaffe, emboozi, n’emizannyo ebiba bikwatiddwa ku butambi? Era muyinza okukubira bakkiriza bannammwe amasimu ne mugabanako nabo ekirabo eky’omwoyo era ne ‘muzziŋŋanamu amaanyi.’Bar. 1:11, 12.

WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA N’OBUNYIIKIVU

Buulira ekigambo

Mwannyinaffe Christa ali mu myaka 80 agamba nti: “Kiruma nnyo okuba nga tokyasobola kukola bintu bye wakolanga edda mu buweereza bwo eri Yakuwa.” Kati olwo kiki ekiyinza okuyamba bannamukadde okweyongera okuweereza Yakuwa nga basanyufu? Ow’oluganda Peter ow’emyaka 75 agamba nti: “Kikulu okuba n’endowooza ennuŋŋamu, nga buli kiseera todda awo kulowooza ku ebyo by’otosobola kukola naye ng’olowooza ku ebyo by’osobola okukola.”

Waliwo engeri endala ez’okubuulira z’okyasobola okwenyigiramu? Mwannyinaffe Heidi takyasobola kubuulira nnyumba ku nnyumba nga bwe yakolanga edda. Wadde ng’ali mu myaka 80, yayiga okuwandiika amabaluwa ng’akozesa kompyuta. Ababuulizi abamu abakaddiye bafuna we batuula mu bifo ebiwummulirwamu oba abantu we balindira emmotoka, ne babuulira. Ate bwe kiba nti obeera mu kifo gye balabirira bannamukadde, osobola okubuulira abasawo n’abantu abalala ababeerayo.

Sembeza abagenyi

Ne bwe yali akaddiye, Kabaka Dawudi yeeyongera okuwagira okusinza okw’amazima. Ng’ekyokulabirako, yawaayo ssente ez’okuzimba yeekaalu era n’akola n’enteekateeka endala ezaali zeetaagisa. (1 Byom. 28:11–29:5) Mu ngeri y’emu, naawe osobola okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Osobola okuzzaamu amaanyi bapayoniya n’ababuulizi abalala abanyiikivu ng’oyogera nabo ebintu ebizimba, ng’obawaayo obulabo obutonotono, oba ng’obawaayo eky’okulya oba eky’okunywa ekitonotono. Osobola okusabira abo abakyali abato, abo abalina amaka, abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, abalwadde, n’abo abalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina.

Mukijjukire nti muli ba muwendo nnyo era nti n’obuweereza bwammwe bwa muwendo nnyo. Kitaffe ow’omu ggulu tasobola kubasuula olw’okuba mukaddiye. (Zab. 71:9) Yakuwa abaagala nnyo era muli ba muwendo nnyo gy’ali. Mu kiseera ekitali kya wala, ffenna tujja kuba tweyongera okukula mu myaka naye nga tetufuna bizibu bannamukadde bye boolekagana nabyo mu kiseera kino. Mu butuufu, tujja kuweereza Katonda waffe ow’okwagala, Yakuwa, emirembe gyonna nga tulina amaanyi era nga tuli balamu bulungi!

^ lup. 2 Amannya agamu gakyusiddwa.