Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weeyongere Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda

Weeyongere Okuwagira Obwakabaka bwa Katonda

“Si ba nsi.”YOK. 17:16.

ENNYIMBA: 63, 129

1, 2. (a) Lwaki kikulu nnyo Abakristaayo okuba abeesigwa eri Katonda, era ekyo kirina kakwata ki n’obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi bw’ensi eno? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Biki abantu bangi bye batwala nga bye bisingayo obukulu mu bulamu bwabwe, naye biki ebitera okuvaamu?

ABAKRISTAAYO ab’amazima balina okukyoleka nti beesigwa eri Katonda ekiseera kyonna era nti tebaliiko ludda lwe bawagira mu bya bufuzi bw’ensi eno. Lwaki? Kubanga abo bonna abeewaayo eri Yakuwa baamusuubiza okumwagala, okuba abeesigwa gy’ali, n’okumugondera. (1 Yok. 5:3) Ka tube nga tubeera wa oba nga tuli ba ggwanga ki, ffenna tusaanidde okukolera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Okuba abeesigwa eri Yakuwa n’okunywerera ku Bwakabaka bwe, kikulu okusinga ekintu ekirala kyonna. (Mat. 6:33) Ekyo kitegeeza nti Abakristaayo tebalina kubaako ludda lwe bawagira mu bukuubagano n’entalo z’ensi eno.Is. 2:4; soma Yokaana 17:11, 15, 16.

2 Abantu abasinga obungi eggwanga lyabwe, ekika kyabwe, obuwangwa bwabwe, oba ttiimu y’eggwanga lyabwe bye batwala ng’ebintu ebisingayo obukulu mu bulamu bwabwe. Ekyo emirundi mingi kireetawo okuvuganya okw’amaanyi, okukyawagana, ate oluusi kivaako n’okuyiwa omusaayi n’ekitta bantu. Engeri abantu gye bakwatamu ensonga ezo eyinza okutukosa oba okukosa ab’eŋŋanda zaffe. Okuva bwe kiri nti Katonda yatutonda nga tusobola okwoleka obwenkanya, engeri gavumenti z’abantu gye zikolamu ebintu oluusi eyinza okutuleetera okunyiiga. (Lub. 1:27; Ma. 32:4) Kiki kye tuyinza okukola mu mbeera ng’eyo? Tunaasigala nga tetuliiko ludda lwe tuwagira oba tunaabaako oludda lwe tuwagira?

3, 4. (a) Lwaki Abakristaayo tebabaako ludda lwe bawagira mu bukuubagano bw’ensi eno? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Abantu abasinga obungi babaako oludda lwe bawagira mu bukuubagano bw’ensi eno olw’okuba abakulembeze baabwe babagamba nti okukola ekyo kibafuula abatuuze abalungi. Naye ekyo Abakristaayo ab’amazima tebakikola. Tetwenyigira mu bya bufuzi bw’ensi eno era tetwenyigira mu ntalo. (Mat. 26:52) Abakristaayo ab’amazima tebakitwala nti ekitundu ekimu eky’ensi ya Sitaani kisinga ekirala. (2 Kol. 2:11) Olw’okuba tetuli ba nsi, tetwenyigira mu bukuubagano bwayo.Soma Yokaana 15:18, 19.

4 Kyokka, olw’okuba tetutuukiridde, abamu ku ffe tuyinza okuba nga tukyalinamu endowooza ezitali nnuŋŋamu eziyinza okuleetawo enjawukana mu bantu. (Yer. 17:9; Bef. 4:22-24) N’olwekyo, mu kitundu kino tugenda kulaba egimu ku misingi gya Bayibuli egisobola okutuyamba okuziyiza endowooza ezireetawo enjawukana mu bantu. Era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okutendekamu ebirowoozo byaffe n’omuntu waffe ow’omunda, kituyambe okuwagira Obwakabaka bwa Katonda.

ENSONGA LWAKI TETUBAAKO LUDDA LWE TUWAGIRA MU BUKUUBAGANO BW’ENSI ENO

5, 6. Bwe yali ku nsi, Yesu yatwalanga atya abantu ab’enjawulo abaali mu ggwanga mwe yali, era lwaki?

5 Bwe weesanga mu mbeera nga tomanyi kya kukola, kiba kirungi okwebuuza, ‘Singa Yesu y’abadde mu mbeera eno, yandikoze ki?’ Eggwanga Yesu lye yalimu lyalimu ebitundu ebitali bimu, omwali Buyudaaya, Ggaliraaya, ne Samaliya. Bayibuli eraga nti waaliwo obukuubagano wakati w’abantu abaali babeera mu bitundu ebyo eby’enjawulo. (Yok. 4:9) Ate era waaliwo obukuubagano wakati w’Abafalisaayo n’Abasaddukaayo (Bik. 23:6-9), wakati w’abantu ba bulijjo n’abasolooza omusolo (Mat. 9:11), ne wakati w’abo abaali baasomera mu masomero ga Balabbi n’abo abataasomerayo. (Yok. 7:49) Mu kyasa ekyasooka, Isiraeri yali wansi wa bufuzi bwa Rooma, era Abaisiraeri baali tebaagala Baruumi kubeera mu nsi yaabwe. Wadde nga Yesu yali alwanirira amazima era ng’akimanyi nti obulokozi bulina kuva mu Bayudaaya, teyakubiriza bayigirizwa be kwenyigira mu bukuubagano obwo. (Yok. 4:22) Mu kifo ky’ekyo, yabakubiriza okwagala abantu bonna.Luk. 10:27.

6 Lwaki Yesu teyaliiko ludda lw’awagira mu bukuubagano obwali mu Bayudaaya? Ekyo kyali kityo kubanga ye ne Kitaawe tebaliiko ludda lwe bawagira mu bukuubagano bw’ensi eno. Yakuwa bwe yakozesa Omwana we okutonda omusajja n’omukazi abaasooka, yali ayagala abantu bajjuze ensi yonna. (Lub. 1:27, 28) Katonda yakola abantu nga basobola okuvaamu ebika by’abantu eby’enjawulo. Yakuwa ne Yesu tebakitwala nti eggwanga ly’abantu abamu, langi yaabwe, oba olulimi lwabwe bya waggulu ku by’abalala. (Bik. 10:34, 35; Kub. 7:9, 13, 14) Tusaanidde okubakoppa.Mat. 5:43-48.

7, 8. (a) Nsonga ki etwetaagisa okulaga oludda lwe tuwagira? (b) Bwe kituuka ku kugonjoola ebizibu ebiriwo mu nsi, kiki Abakristaayo kye balina okumanya?

7 Kyokka bwe kituuka ku bufuzi bwa Yakuwa, tulina okulaga ludda ki lwe tuwagira. Obukuubagano bwatandikawo okuva Sitaani lwe yawakanya obufuzi bwa Yakuwa mu lusuku Adeni. Kati buli muntu alina okulaga obanga awagira bufuzi bwa Katonda oba bwa Sitaani. Okiraga nti oli ku ludda lwa Yakuwa ng’okwata amateeka ge era ng’obulamu bwo obutambuliza ku mitindo gye egy’obutuukirivu, mu kifo ky’okukola ebintu nga ggwe bw’oyagala? Okiraba nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okugonjoola ebizibu by’abantu byonna? Oba kyandiba nti olowooza nti abantu basobola okwefuga bokka?Lub. 3:4, 5.

8 Engeri gy’oddamu ebibuuzo ebyo esobola okulaga engeri gy’osobola okuddamu abantu nga baagala okumanya ky’olowooza ku bintu ebitali bimu ebiriwo mu nsi. Bannabyabufuzi, abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu, n’abalala abali ng’abo bagezezzaako okugonjoola ebizibu ebireetawo enjawukana mu bantu. Ekyo bayinza okuba nga bakikola nga balina ebiruubirirwa ebirungi. Wadde kiri kityo, Abakristaayo ab’amazima bakimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okugonjoola ebizibu by’abantu byonna n’okuleetawo obwenkanya obwa nnamaddala. Ensonga ng’ezo tusaanidde okuzireka mu mikono gya Yakuwa. Kirowoozeeko: Singa buli Mukristaayo yakolanga ebintu mu ngeri ye gy’alowooza nti ntuufu, wandibaddewo obumu mu bibiina byaffe?

9. Kizibu ki ekyali kizzeewo mu kibiina ky’e Kkolinso mu kyasa ekyasooka, naye magezi ki omutume Pawulo ge yawa?

9 Lowooza ku kizibu ekyali kizzeewo mu kibiina ky’e Kkolinso mu kyasa ekyasooka ekyali kyolekedde okuleetawo enjawukana mu kibiina. Abakristaayo abamu mu kibiina ekyo baali bagamba nti: “ ‘Nze ndi wa Pawulo,’ ‘Ate nze ndi wa Apolo,’ ‘Ate nze ndi wa Keefa,’ ‘Ate nze ndi wa Kristo.’ ” Ka kibe ki ekyali kibaleetedde okwogera batyo, ekyo omutume Pawulo tekyamusanyusa. Yababuuza nti: “Kristo ayawuddwamu?” Magezi ki agaali gayinza okuyamba okugonjoola ekizibu ekyo? Pawulo yagamba nti: “Kale ab’oluganda, mbakubiriza mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo okubeeranga obumu mu bye mwogera, era waleme kubangawo njawukana mu mmwe, naye mubeerenga bumu mu ndowooza ne mu kigendererwa.” Mu butuufu, ne leero, tewasaanidde kubaawo njawukana mu kibiina Ekikristaayo.1 Kol. 1:10-13; soma Abaruumi 16:17, 18.

10. Omutume Pawulo yakiraga atya nti kikulu nnyo Abakristaayo obutabaako ludda lwe bawagira mu bukuubagano bw’ensi eno?

10 Pawulo yakubiriza Abakristaayo abaafukibwako amafuta okulowooza ennyo ku butuuze bwabwe obw’omu ggulu mu kifo ky’okulowooza ku bintu by’ensi. (Baf. 3:17-20) * Baali ba kweyisa ng’ababaka abakiikirira Kristo. Ababaka tebeenyigira mu bya bufuzi mu mawanga gye baba batumiddwa. Naye baba bawagira gavumenti gye baba bakiikiridde. (2 Kol. 5:20) Abakristaayo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nabo bawagira Bwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, tebeenyigira mu bukuubagano bw’ensi eno.

WEETENDEKE OKUBA OMWESIGWA ERI YAKUWA

11, 12. (a) Mbeera ki eyinza okukifuula ekizibu eri Abakristaayo okusigala nga bawagira Obwakabaka bwa Katonda? (b) Kizibu ki Omukristaayo omu kye yayolekagana nakyo, era yakivvuunuka atya?

11 Mu bitundu by’ensi bingi abantu batera okwagala ennyo okukolagana n’abo be bafaanaganya ebyafaayo, obuwangwa, n’olulimi. Mu mbeera ng’ezo, Abakristaayo balina okutendeka ebirowoozo byabwe n’omuntu waabwe ow’omunda, kibayambe obutabaako ludda lwe bawagira nga wazzeewo embeera ezigezesa. Ekyo bayinza kukikola batya?

12 Lowooza ku, Mwannyinaffe Mirjeta * enzaalwa y’omu nsi edda eyayitibwanga Yugoslavia. Abantu b’omu kitundu mwe yakulira baalina obukyayi bwa maanyi eri Abasaabiya era naye baamusigamu obukyayi obwo. Bwe yakimanya nti Yakuwa tasosola era nti Sitaani y’ali emabega w’enjawukana eziriwo mu mawanga, Mirjeta yakola kyonna ekisoboka okweggyamu obusosoze. Kyokka, bwe wajjawo okulwanagana wakati w’amawanga ag’enjawulo mu kitundu kye, obukyayi bwe yalina edda bwatandika okudda, bw’atyo n’aba nga takyayagala kubuulira Basaabiya. Naye yakiraba nti yalina okubaako ky’akolawo okusobola okweggyamu endowooza eyo enkyamu. Yasaba Yakuwa amuyambe okweggyamu endowooza eyo era amuyambe okwongera okugaziya ku buweereza bwe asobole okuweereza nga payoniya. Agamba nti: “Nkizudde nti okwemalira ku mulimu gw’okubuulira kinnyambye nnyo. Bwe mba mbuulira, nfuba okukoppa Yakuwa, era ekyo kinnyambye okweggyamu obusosoze.”

13. (a) Kiki ekyatuuka ku Zoila, naye yeeyisa atya? (b) Kiki kye tuyigira ku Zoila?

13 Ate lowooza ku Mwannyinaffe Zoila. Yakulira mu Mexico naye nga kati abeera mu nsi emu eya Bulaaya. Mu kibiina ky’alimu mwalimu ab’oluganda abamu okuva mu Latin America abaayogeranga obubi ku kitundu gye yakulira, obuwangwa bwakyo, n’ennyimba zaayo. Singa wali ggwe, wandikoze ki? Kya lwatu nti ebigambo ebyo bye baali boogera byayisanga bubi Zoila. Naye Zoila yasaba Yakuwa amuyambe obutasibira bakkiriza banne abo kiruyi. Ekituufu kiri nti abamu ku ffe tukyafuba okweggyamu obusosoze. N’olwekyo, tetwagala kwogera oba kukola kintu kyonna ekiraga nti abantu abamu tubatwala okuba aba waggulu ku balala. Tetwagala kuleetawo njawukana wakati wa bakkiriza bannaffe oba abantu abalala.Bar. 14:19; 2 Kol. 6:3.

14. Kiki ekiyinza okuyamba Abakristaayo okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa ku busosoze?

14 Kyandiba nti naawe embeera gye wakuliramu erina engeri gye yakuleetera okuba omusosoze? Okyalimu obusoboze? Abakristaayo tebasaanidde kulowooza nti abantu ab’amawanga agamu ba waggulu ku balala. Naye watya singa okizuula nti okyalina endowooza eteri nnuŋŋamu ku bantu ab’amawanga amalala, aboogera ennimi endala, oba aba langi endala? Mu mbeera ng’eyo, kiba kirungi okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu obusosoze. Fuba okunoonyereza ku nsonga eyo nga weesomesa oba mu kusinza kw’amaka. Okugatta ku ekyo, saba Yakuwa akuyambe okufuna endowooza ng’eyiye ku nsonga eyo.Soma Abaruumi 12:2.

Okusobola okuba abeesigwa eri Yakuwa tulina okumugondera ne bwe wabaawo abatutiisatiisa (Laba akatundu 15, 16)

15, 16. (a) Abantu abamu banaatuyisa batya nga tunyweredde ku Katonda? (b) Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okusigala nga beesigwa eri Yakuwa?

15 Okuva bwe kiri nti twagala okuweereza Yakuwa nga tulina omuntu ow’omunda omuyonjo, ebiseera ebimu tujja kwesanga mu mbeera nga tulina okweyisa mu ngeri eyawukana ku eyo bakozi bannaffe, bayizi bannaffe, baliraanwa baffe, ab’eŋŋanda zaffe, n’abantu abalala gye beeyisaamu. (1 Peet. 2:19) Yesu yagamba nti abantu abamu bandituuse n’okutukyawa olw’okuba tuli ba njawulo. Tusaanidde okukijjukira nti bangi ku abo abatuyigganya tebamanyi nsonga lwaki kikulu Abakristaayo obutabaako ludda lwe bawagira mu bukuubagano bw’ensi eno. Naye ffe tukimanyi nti kikulu nnyo okuwagira Obwakabaka bwa Katonda mu kifo ky’okuwagira gavumenti z’abantu.

16 Okusobola okuba abeesigwa eri Yakuwa tulina okumugondera ne bwe wabaawo abatutiisatiisa. (Dan. 3:16-18) Okutya abantu kuyinza okukifuula ekizibu, naddala eri abato, okusigala nga ba njawulo ku balala. Abaana bammwe bwe baba nga bapikirizibwa okukubira bbendera saluti oba okwenyigira mu mikolo gy’eggwanga, mubeeko kye mukolawo okubayamba. Mukozese ekiseera ky’Okusinza kw’Amaka okuyamba abaana bammwe okutegeera endowooza ya Yakuwa ku bintu ng’ebyo. Mubayambe okumanya engeri gye basobola okunnyonnyolamu abalala ebikwata ku nzikiriza yaabwe mu ngeri etegeerekeka era mu ngeri eraga nti bassaamu abalala ekitiibwa. (Bar. 1:16) Musobola n’okwogerako n’abasomesa baabwe ku nsonga ng’ezo bwe kiba kyetaagisa.   

SANYUKIRA EBINTU YAKUWA BYE YATONDA!

17. Ndowooza ki gye tusaanidde okwewala, era lwaki?

17 Kya lwatu nti emirundi mingi emmere, obuwangwa, olulimi, n’endabika y’ensi yaffe bitusanyusa nnyo. Kyokka, tusaanidde okwewala okulowooza nti ebintu ebiri mu nsi yaffe birungi nnyo okusinga ebiri mu nsi endala. Yakuwa ayagala tusanyukire ebintu ebitali bimu bye yatonda. (Zab. 104:24; Kub. 4:11) Kati olwo kiba kituufu okulowooza nti ebintu eby’omu mu nsi yaffe bye bisinga eby’omu nsi endala?

18. Lwaki tusaanidde okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa ku bantu abalala?

18 Katonda ayagala abantu aba buli ngeri okutegeerera ddala amazima basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 3:16; 1 Tim. 2:3, 4) Bwe tuba abeetegefu okuwuliriza endowooza z’abalala ennungi, kisobola okutuganyula n’okunyweza obumu bwe tulina ne bakkiriza bannaffe. Olw’okuba twagala okuba abeesigwa eri Yakuwa, twewala okubaako oludda lwe tuwagira mu bukuubagano bw’ensi eno era twewalira ddala obusosoze. Nga tuli basanyufu okuba nti Yakuwa atuyambye okwewala enjawukana, amalala, n’omwoyo ogw’okuvuganya ebibuutikidde ensi ya Sitaani! N’olwekyo, ka tube bamalirivu okuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Laba bwe kuli okulungi, bwe kusanyusa, ab’oluganda okutuula awamu nga batabaganye!”Zab. 133:1.

^ lup. 10 Firipi lyali ttwale lya Rooma. Abamu ku b’oluganda mu kibiina ky’e Firipi baalina obutuuze bwa Rooma, ekintu ekyabasobozesa okufuna ebintu ebimu ab’oluganda abalala bye baali batasobola kufuna.

^ lup. 12 Amannya agamu gakyusiddwa.