Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kino Kye Kifo Mwe Tusinziza

Kino Kye Kifo Mwe Tusinziza

“Okwagala ennyo ennyumba yo kulindya.”YOK. 2:17.

ENNYIMBA: 127, 118

1, 2. (a) Abaweereza ba Yakuwa baasinzizanga wa mu biseera by’edda? (b) Yesu yatwalanga atya yeekaalu ya Katonda ey’omu Yerusaalemi? (c) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

OKUVA edda n’edda, abaweereza ba Yakuwa babadde n’ebifo we basinziza. Abbeeri bwe yali awaayo ekiweebwayo kye eri Katonda, ayinza okuba nga yakozesa ekyoto. (Lub. 4:3, 4) Nuuwa, Ibulayimu, Isaaka, Yakobo, ne Musa bonna baazimba ebyoto. (Lub. 8:20; 12:7; 26:25; 35:1; Kuv. 17:15) Yakuwa yalagira Abaisiraeri okuzimba weema entukuvu. (Kuv. 25:8) Nga wayise ekiseera, baazimba yeekaalu okusinzizaamu Yakuwa. (1 Bassek. 8:27, 29) Oluvannyuma lw’okuva mu buwambe e Babulooni, Abayudaaya baakuŋŋaaniranga mu makuŋŋaaniro. (Mak. 6:2; Yok. 18:20; Bik. 15:21) Abakristaayo abaasooka, baakuŋŋaaniranga mu maka ga bakkiriza bannaabwe. (Bik. 12:12; 1 Kol. 16:19) Leero, abantu ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna bakuŋŋaanira mu Bizimbe by’Obwakabaka nkumi na nkumi okuyigirizibwa Yakuwa n’okumusinza.

2 Yesu yali ayagala nnyo yeekaalu ya Yakuwa ey’omu Yerusaalemi ne kiba nti omuwandiisi w’Enjiri yalaga nti obunnabbi buno bwatuukirira ku ye: “Obuggya obw’ennyumba yo bundidde.” (Zab. 69:9; Yok. 2:17) Tewali Kizimbe kya Bwakabaka na kimu kiyinza kwogerwako ‘ng’ennyumba ya Yakuwa’ mu ngeri y’emu nga yeekaalu y’omu Yerusaalemi bwe yali. (2 Byom. 5:13; 33:4) Wadde kiri kityo, mu Bayibuli mulimu emisingi egisobola okutuyamba okumanya engeri y’okukozesaamu ebifo mwe tusinziza n’engeri gye tuyinza okulaga nti tubissaamu ekitiibwa. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri egimu ku misingi egyo gye gisobola okutuyamba okumanya engeri y’okweyisaamu nga tuli ku Bizimbe by’Obwakabaka, engeri y’okubirabiriramu, n’engeri gye tuyinza okuwagira mu by’ensimbi okuzimba n’okuddaabiriza ebizimbe ebyo. *

ENGERI GYE TUYINZA OKUKIRAGA NTI TUSSA EKITIIBWA MU NKUŊŊAANA ZAFFE

3-5. Ebizimbe by’Obwakabaka birina mugaso ki, era ekyo kyandikutte kitya ku ngeri gye tutwalamu enkuŋŋaana ezibaamu?

3 Ekizimbe ky’Obwakabaka y’eba entabiro y’okusinza okw’amazima mu kitundu mwe kiba. Yakuwa atuliisa mu by’omwoyo okuyitira mu nkuŋŋaana ze tufunira mu Bizimbe by’Obwakabaka buli wiiki. Mu nkuŋŋaana ezo, Yakuwa atuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo era n’atuwa obulagirizi okuyitira mu kibiina kye. Nkizo ya maanyi okuyitibwa Yakuwa n’Omwana we buli wiiki okulya ku “mmeeza ya Yakuwa” ey’eby’omwoyo. Tetusaanidde kwerabira nkizo eyo ey’ekitalo gye tulina.1 Kol. 10:21.

4 Yakuwa akitwala nga kikulu nnyo abantu be okubaawo mu nkuŋŋaana okumusinza n’okuzzibwamu amaanyi. Eyo ye nsonga lwaki yaluŋŋamya omutume Pawulo okukubiriza abantu be obutayosa kubaawo mu nkuŋŋaana. (Soma Abebbulaniya 10:24, 25.) Ddala tuyinza okugamba nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa singa twosa enkuŋŋaana awatali nsonga erimu ggumba? Mu butuufu, tusobola okukiraga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa ne mu nkuŋŋaana zaffe nga tuzeetegekera bulungi era nga tufuba okuzeenyigiramu.Zab. 22:22.

5 Engeri gye tweyisaamu nga tuli mu nkuŋŋaana n’engeri gye tulabiriramu Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka, esaanidde okulaga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa. Tusaanidde okufuba okulaba nti engeri gye tweyisaamu eweesa ekitiibwa erinnya lya Katonda, eriba ku bipande by’Ebizimbe by’Obwakabaka.—Geraageranya 1 Bassekabaka 8:17.

6. Abantu abamu boogedde ki ku Bizimbe by’Obwakabaka n’abantu abasinzizaamu? (Laba ekifaananyi ku lupapula 27.)

6 Abantu abalala beetegereza ebyo ebigenda mu maaso ku Bizimbe byaffe eby’Obwakabaka. Ng’ekyokulabirako, omusajja omu mu Turkey yagamba nti: “Nnakwatibwako nnyo bwe nnalaba obuyonjo bw’Ekizimbe ky’Obwakabaka n’engeri entegeke ebintu gye byali bikolebwamu. Abantu be nnasanga ku Kizimbe ky’Obwakabaka baali bambadde bulungi, baali basanyufu, era bannyaniriza n’essanyu. Ekyo kyankwatako nnyo.” Omusajja oyo yatandika okugenda mu nkuŋŋaana obutayosa, era oluvannyuma lw’ekiseera yabatizibwa. Mu kibuga ekimu eky’omu Indonesia, ab’oluganda mu kibiina ekimu baayita abakungu ba gavumenti n’abantu ab’omu kitundu okubaawo ku mukolo gw’okuwaayo Ekizimbe ky’Obwakabaka. Meeya w’ekibuga naye yajja. Yakwatibwako nnyo okulaba omutindo gw’ekizimbe ekyo n’okuba nti ekifo kyonna kyali kirabika bulungi. Yagamba nti: “Obuyonjo bw’ekizimbe kyammwe bulaga nti eddiini yammwe ya mazima.”

Engeri gye tweyisaamu eyinza okulaga nti tetussa kitiibwa mu Katonda (Laba akatundu 7, 8)

7, 8. Bintu ki abo bonna ababa bazze mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo bye basaanidde okumanya?

7 Ffenna tusaanidde okulaga nti tussa ekitiibwa mu Katonda nga twekolako era nga twambala mu ngeri esaana nga tugenda mu nkuŋŋaana z’atutegekera. Ate era tusaanidde okwewala okugwa olubege. Kyetegerezeddwa nti abamu beerondalonda nnyo bwe kituuka ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tuli mu nkuŋŋaana, ate abalala tebeefiirayo. Kya lwatu nti Yakuwa tayagala baweereza be oba abantu abalala okuwulira ng’emirembe gibaweddeko nga bazze mu nkuŋŋaana. Wadde kiri kityo, abo ababa bazze mu nkuŋŋaana basaanidde okwewala okukola ebintu ebiraga nti tebazzissaamu kitiibwa, gamba ng’okwambala mu ngeri ey’ekisaazisaazi, okusindika obubaka ku ssimu, okwekuba obwama, n’okulya oba okunywa ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso. Abazadde basaanidde okuyamba abaana baabwe okukiraba nti Ekizimbe ky’Obwakabaka si kifo kya kuddukiramu oba kuzannyiramu.Mub. 3:1.

8 Yesu bwe yalaba abantu abaali bakolera bizineesi mu yeekaalu ya Katonda, yanyiiga nnyo era n’abagobamu. (Yok. 2:13-17) Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka bifo mwe tusinziza Yakuwa era mwe tuyigira ebimukwatako. N’olwekyo, tekiba kituufu kukolera bizineesi ku Kizimbe ky’Obwakabaka.—Geraageranya Nekkemiya 13:7, 8.

ENGERI GYE TUWAGIRAMU OMULIMU GW’OKUZIMBA EBIZIMBE BY’OBWAKABAKA

9, 10. (a) Omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka gukolebwa gutya, era biki ebivuddemu? (b) Nteekateeka ki eyambye ennyo ebibiina ebitali bulungi mu by’ensimbi okufuna Ebizimbe by’Obwakabaka?

9 Ekibiina kya Yakuwa kikola kyonna ekisoboka okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ebiweesa Yakuwa ekitiibwa. Omulimu gw’okukuba ppulaani, okuzimba, n’okuddaabiriza ebizimbe ebyo gukolebwa bannakyewa abatasasulwa. Biki ebivuddemu? Okuva nga Noovemba 1, 1999, ebifo eby’okusinzizaamu ebisukka mu 28,000 bye bizimbiddwa okwetooloola ensi yonna. Ekyo kitegeeza nti mu myaka 15 egiyise, okutwalira awamu, buli lunaku Ebizimbe by’Obwakabaka bitaano bye bibadde bizimbibwa.

10 Ekibiina kya Yakuwa kikozesa ssente eziweebwayo kyeyagalire okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka yonna gye biba byetaagibwa. Enkola eno yeesigamiziddwa ku musingi gwa Bayibuli ogugamba nti ebyo abalala bye balina ebisukka ku bye beetaaga basaanidde okubikozesa okukola ku bwetaavu bw’abalala “wasobole okubaawo okwenkanankana.” (Soma 2 Abakkolinso 8:13-15.) Ekyo kiyambye ebibiina oboolyawo ebitandisobodde kwezimbira Bizimbe bya Bwakabaka okufuna aw’okusinziza awalungi.

11. Biki ab’oluganda abamu bye boogedde oluvannyuma lw’okufuna Ekizimbe ky’Obwakabaka, era ekyo kikuleetera kuwulira otya?

11 Ab’oluganda mu kibiina ekimu eky’omu Costa Rica abaaganyulwa mu nteekateeka eyo baagamba nti: “Bwe tuyimirira mu maaso g’Ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka, tuwulira ng’abaloota obuloosi! Si kyangu kukkiriza nti kati tulina ekizimbe ekirungi bwe kiti. Ekizimbe kyaffe kyazimbibwa mu nnaku munaana zokka! Ekyo kyasoboka olw’obuyambi bwa Yakuwa, olw’enteekateeka ekibiina kye ze kyakola, n’olw’obuwagizi bwa bakkiriza bannaffe. Mu butuufu Ekizimbe ky’Obwakabaka kino, kirabo kya muwendo nnyo okuva eri Yakuwa. Tuli basanyufu nnyo olw’ekirabo ekyo.” Tekikusanyusa nnyo okuwulira ebigambo ng’ebyo bakkiriza bannaffe bye boogera nga balaga okusiima oluvannyuma lw’okufuna Ekizimbe ky’Obwakabaka? Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa awadde omukisa omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, kubanga oluvannyuma lw’Ekizimbe ky’Obwakabaka okumalirizibwa, abantu ab’emitima emirungi bangi batandika okujja mu kizimbe ekyo okuyiga ebikwata ku Mutonzi waffe ow’okwagala.Zab. 127:1.

12. Oyinza otya okuwagira omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka?

12 Waliwo bakkiriza bannaffe bangi abasobodde okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ka tube nga tusobola okwenyigira mu mulimu ogwo oba nedda, ffenna tusobola okubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu ogwo. Bwe tukola tutyo tufuna essanyu lingi era tuweesa Yakuwa ekitiibwa. Okufaananako abantu ba Yakuwa ab’edda, naffe okwagala okw’amaanyi kwe tulina eri okusinza okw’amazima kwe kutukubiriza okubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’okuzimba ebifo byaffe eby’okusinzizaamu.Kuv. 25:2; 2 Kol. 9:7.

OKUYONJA EKIZIMBE KY’OBWAKABAKA

13, 14. Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa egiraga nti kikulu nnyo okukuuma Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka nga biyonjo?

13 Okuva bwe kiri nti Katonda gwe tusinza mutukuvu era wa ntegeka, tusaanidde okukuuma Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka nga biyonjo era nga birabika bulungi. (Soma 1 Abakkolinso 14:33, 40.) Bayibuli eraga nti waliwo akakwate wakati w’obutukuvu, obuyonjo mu by’omwoyo, n’obuyonjo mu by’omubiri. (Kub. 19:8) N’olwekyo, bwe tuba twagala okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa, tulina okufuba okuba abayonjo.

14 Okugatta ku ekyo, bwe tukuuma Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka nga biyonjo, tetujja kutya kuyita bantu kujja mu nkuŋŋaana zaffe, kubanga tujja kuba bakakafu nti bwe banaalaba endabika y’ebizimbe byaffe, kijja kubasikiriza okukkiriza amawulire amalungi ge tubabuulira. Bajja kukiraba nti Katonda gwe tusinza mutukuvu era nti mu kiseera ekitali kya wala ajja kufuula ensi eno olusuku olulabika obulungi.Is. 6:1-3; Kub. 11:18.

15, 16. (a) Lwaki oluusi tekiba kyangu kukuuma Kizimbe ky’Obwakabaka nga kiyonjo, naye lwaki tusaanidde okukikuuma nga kiyonjo? (b) Nteekateeka ki ze mulina ez’okuyonja Ekizimbe kyammwe eky’Obwakabaka, era nkizo ki buli omu ku ffe gy’alina?

15 Abantu baba n’endowooza za njawulo bwe kituuka ku buyonjo. Ekyo kisobola okusinziira ku mbeera gye baakuliramu. Abantu abamu ebitundu bye balimu birimu enfuufu. Ate amakubo g’omu bitundu ebimu ga ttaka era gabaamu ebisooto. Abalala tebalina mazzi gamala oba bikozesebwa mu kuyonja bimala. Abantu mu kitundu gye tubeera ka babe nga balina ndowooza ki ku buyonjo oba ka tube nga tuli mu mbeera ki, tusaanidde okukuuma Ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka nga kiyonjo era nga kiri mu mbeera nnungi, kubanga kiriko erinnya lya Yakuwa era omwo mwe tumusinziza.Ma. 23:14.

16 Ekizimbe ky’Obwakabaka tekisobola kuba kiyonjo okuggyako nga tukiyonjezza. Obukiiko bw’abakadde busaanidde okukakasa nti enteekateeka ez’okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka zikolebwa era nti n’ebikozesebwa mu kuyonja weebiri. Okuva bwe kiri nti ebintu ebimu byetaaga okulongoosebwa buli luvannyuma lw’enkuŋŋaana ate ng’ebirala byetaaga okulongoosebwa buli luvannyuma lw’ekiseera, kiba kikulu okukolagana obulungi kibe nti tewali kintu kyonna kibuusibwa maaso. Buli omu mu kibiina alina enkizo okwenyigira mu kuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka.

OKUDDAABIRIZA EKIFO MWE TUSINZIZA

17, 18. (a) Kyakulabirako ki abantu ba Katonda ab’edda kye baateekawo mu kukuuma ebifo mwe baasinzizanga nga biri mu mbeera nnungi? (b) Lwaki tulina okukuuma Ebizimbe eby’Obwakabaka nga biri mu mbeera nnungi?

17 Abaweereza ba Yakuwa era bakola kyonna ekisoboka okulaba nti ebifo mwe basinziza bikuumibwa nga biri mu mbeera nnungi. Kabaka Yekowaasi yalagira bakabona okukozesa ssente ezaaleetebwanga mu nnyumba ya Yakuwa okuddaabiriza ennyumba eyo buli awaabanga weetaaga okuddaabiriza. (2 Bassek. 12:4, 5) Nga wayise emyaka egisukka mu 200, Kabaka Yosiya naye yakozesa ssente ezaaweebwangayo mu yeekaalu okuddaabiriza awaabanga weetaaga okuddaabiriza.Soma 2 Ebyomumirembe 34:9-11.

18 Alipoota okuva ku ofiisi z’amatabi ziraga nti mu nsi ezimu ebibiina biragajjalira omulimu gw’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka. Oboolyawo mu nsi ng’ezo waliyo ab’oluganda batono abalina obumanyirivu mu kukola omulimu gw’okuddaabiriza oba nga tebalina ssente zimala. Kyokka, singa ebibiina biragajjalira okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, ekyo kiyinza okuviirako ebizimbe ebyo okwonooneka amangu ne biba nga tebikyaweesa linnya lya Katonda kitiibwa. Ku luuyi olulala, singa ebibiina bikola kyonna ekisoboka okulaba nti Ebizimbe by’Obwakabaka biri mu mbeera nnungi, ekyo kiweesa Yakuwa ekitiibwa era kiyamba mu kukekkereza ssente bakkiriza bannaffe ze bawaayo.

Kikulu nnyo okuyonja n’okuddaabiriza Ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka (Laba akatundu 16, 18)

19. Kiki ky’omaliridde okukola okulaga nti ossa ekitiibwa mu bifo mwe tusinziza Yakuwa?

19 Ekizimbe ky’Obwakabaka kiba kizimbe ekyaweebwayo eri Yakuwa. N’olwekyo, ekizimbe ekyo tekiba kya muntu yenna oba kibiina kyonna ekiba kikuŋŋaaniramu, ne bwe kiba nti ebiwandiiko ebikikwatako biriko mannya ga muntu oba ga kibiina ekyo. Nga bwe tulabye mu kitundu kino, emisingi gya Bayibuli giraga nti twetaaga okukolera awamu okulaba nti ebizimbe ebyo bituukiriza ekigendererwa kyabyo. Ekyo kisoboka singa ffenna mu kibiina tweyisa mu ngeri eraga nti tussa ekitiibwa mu bifo mwe tusinziza, singa tubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, era singa tukozesa ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okwenyigira mu mulimu gw’okuyonja n’okuddaabiriza ebizimbe ebyo. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tukiraga nti twalaga nnyo okusinza okw’amazima, nga Yesu bwe yakola.Yok. 2:17.

^ lup. 2 Wadde ng’okusingira ddala ekitundu kino kyogera ku Bizimbe by’Obwakabaka, emisingi egirimu gikwata ne ku Bizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima.