Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weegendereze Abo b’Ofuula Mikwano Gyo

Weegendereze Abo b’Ofuula Mikwano Gyo

“Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”—1 KOL. 15:33.

ENNYIMBA: 73, 119

1. Tuli mu kiseera ki?

TULI mu kiseera ekizibu ennyo, Bayibuli ky’eyita ‘ennaku ez’oluvannyuma’ oba ennaku ez’enkomerero. Ennaku ez’enkomerero bwe zaatandika mu 1914, embeera mu nsi yayonooneka nnyo okusinga bwe kyali kibadde. (2 Tim. 3:1-5) Ate era embeera mu nsi ejja kweyongera okwonooneka kubanga obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti “abantu ababi n’abalimba bajja kweyongerera ddala okuba ababi.”—2 Tim. 3:13.

2. Abantu abasinga obungi leero mu nsi beesanyusaamu batya? (Laba ekifaananyi waggulu.)

2 Leero abantu abasinga obungi beesanyusaamu nga balaba oba nga beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe, eby’obugwenyufu, eby’obusamize, n’ebikolwa ebirala ebibi. Ng’ekyokulabirako, ku Intaneeti, ku ttivi, mu firimu, mu bitabo, ne mu magazini ezitali zimu ebikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu biragibwa ng’ebitalina mutawaana gwonna. Ebikolwa ebyali bitwalibwa ng’ebibi, kati mu bitundu ebimu bikkirizibwa ne mu mateeka. Naye ekyo tekitegeeza nti ebikolwa ebyo bisiimibwa mu maaso ga Katonda.—Soma Abaruumi 1:28-32.

3. Abantu abasinga obungi batwala batya abo abatambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Katonda?

3 Abagoberezi ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka beewalira ddala eby’okwesanyusaamu ebitasaana. Olw’okuba obulamu bwabwe baali babutambuliza ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, abantu abalala baabavumanga era baabayigganyanga. Omutume Peetero yagamba Abakristaayo nti: “Olw’okuba temukyatambulira wamu nabo mu kidiba ekyo eky’ebintu eby’obugwenyufu, basoberwa era ne babavuma.” (1 Peet. 4:4) Ne leero, abantu abasinga obungi bwe balaba abo abatambuliza obulamu bwabwe ku mitindo gya Katonda, basoberwa. Ate era Bayibuli egamba nti: “Abo bonna abaagala okubeera mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda mu Kristo Yesu bajja kuyigganyizibwanga.”—2 Tim. 3:12.

“EMIKWANO EMIBI GYONOONA EMPISA ENNUNGI”

4. Ebyawandiikibwa bikubiriza ki abo bonna abaagala okukola Katonda by’ayagala?

4 Ebyawandiikibwa bikubiriza abo bonna abaagala okukola Katonda by’ayagala obutaagala nsi n’ebikolwa byayo. (Soma 1 Yokaana 2:15, 16.) Sitaani Omulyolyomi ye ‘katonda w’enteekateeka eno ey’ebintu,’ era akozesa amadiini, eby’obufuzi, eby’obusuubuzi, n’emikutu gy’empuliziganya okubuzaabuza abantu. (2 Kol. 4:4; 1 Yok. 5:19) Eyo ye nsonga lwaki Abakristaayo basaanidde okwegendereza ennyo abo be bafuula mikwano gyabwe. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.”—1 Kol. 15:33.

5, 6. Baani be tusaanidde okwewala okukolagana nabo, era lwaki?

5 Okusobola okukuuma empisa zaffe ennungi, tulina okwewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abo abakola ebintu ebibi. Ekyo kizingiramu okwewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abatasinza Yakuwa oba abo abeefuula abasinza Yakuwa naye nga bamenya amateeka ge mu bugenderevu. Singa abantu ng’abo abeeyita Abakristaayo bakola ebibi eby’amaanyi naye ne bagaana okwenenya, tulina okulekera awo okukolagana nabo.—Bar. 16:17, 18.

6 Singa tweyongera okukolagana n’abo abatagondera mateeka ga Katonda, kiyinza okutuleetera okutandika okweyisa nga bo olw’okwagala okubasanyusa. Ng’ekyokulabirako, singa tuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, ekyo kisobola okutuleetera naffe okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Ekyo kye kituuse ku Bakristaayo abamu, era abamu batuuse n’okugobebwa mu kibiina olw’okugaana okwenenya. (1 Kol. 5:11-13) Singa bagaana okwenenya, embeera yaabwe eyinza okuba ng’eyo omutume Peetero gye yayogerako.—Soma 2 Peetero 2:20-22.

7. Baani be tusaanidde okufuula mikwano gyaffe egy’oku lusegere?

7 Wadde nga twagala okulaga ekisa abo abataweereza Yakuwa, tetusaanidde kubafuula mikwano gyaffe egy’oku lusegere. N’olwekyo, kiba kikyamu Omujulirwa wa Yakuwa okutandika okwogerezeganya n’omuntu atannaba kwewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa era atatambuliza bulamu bwe ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Kikulu nnyo okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa okusinga okusanyusa abo abatakwata mateeka ge. Abo be tufuula mikwano gyaffe egy’oku lusegere basaanidde okuba abo abakola Katonda by’ayagala. Yesu yagamba nti: “Buli akola Katonda by’ayagala, ye muganda wange, mwannyinaze, era maama wange.”—Mak. 3:35.

8. Abaisiraeri bwe baafuna emikwano emibi biki ebyavaamu?

8 Abaisiraeri baafuna emikwano emibi era ekyo kyabaviiramu emitawaana mingi. Yakuwa bwe yabanunula okuva mu buddu e Misiri ng’abatwala mu Nsi Ensuubize, yabalagira okwewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu b’omu nsi eyo. Yagamba nti: “Tovunnamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng’ebikolwa byabwe: naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe. Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe.” (Kuv. 23:24, 25) Kyokka, Abaisiraeri abasinga obungi baagaana okugondera Katonda. (Zab. 106:35-39) Olw’okuba baali tebakyali beesigwa eri Katonda, oluvannyuma Yesu yagamba Abaisiraeri nti: “Laba! Ennyumba yammwe ebalekeddwa ng’ekifulukwa.” (Mat. 23:38) Yakuwa yalekera awo okukolagana ne Isiraeri, n’atandika okukolagana n’ekibiina Ekikristaayo.—Bik. 2:1-4.

WEEGENDEREZE EBYO BY’OSOMA NE BY’OLABA

9. Lwaki ebintu ebisinga obungi ebiba ku mikutu gy’empuliziganya bya kabi eri Abakristaayo?

9 Ebintu ebisinga obungi ebiba ku mikutu gy’empuliziganya bya kabi eri Abakristaayo. Ebintu ng’ebyo bisobola okuleetera Abakristaayo okulekera awo okukkiririza mu Yakuwa awamu n’ebisuubizo bye. Bikubiriza abantu okussa obwesige bwabwe mu nsi ya Sitaani eno embi. N’olwekyo, tusaanidde okwewala okulaba, okusoma, oba okuwuliriza ebintu ebiyinza okutuleetera ‘okwegomba ebintu by’ensi.’—Tit. 2:12.

10. Kiki ekinaatuuka ku bintu ebibi abantu bye balaba oba bye basoma?

10 Mu kiseera ekitali kya wala, ebintu byonna ebibi abantu bye balaba oba bye basoma bijja kuggibwawo ng’ensi ya Sitaani ezikirizibwa. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo, naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.” (1 Yok. 2:17) Ate n’omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Abakola obubi balizikirizibwa: naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi. Naye abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” Ekyo kinaabaawo kumala bbanga ki? Agattako nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zab. 37:9, 11, 29.

11. Katonda awa atya abantu be emmere ey’eby’omwoyo?

11 Obutafaananako nsi ya Sitaani, ekibiina kya Yakuwa kituyamba okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri eneetusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Bwe yali asaba Yakuwa, Yesu yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.” (Yok. 17:3) Okuyitira mu kibiina kye, Kitaffe ow’omu ggulu atuwa emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti tulina ebintu, gamba nga magazini, brocuwa, ebitabo, vidiyo, n’omukutu gwa Intaneeti, ebituyamba okumanya engeri y’okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima! Ate era ekibiina kya Yakuwa kitutegekera enkuŋŋaana buli wiiki mu bibiina ebisukka mu 110,000 okwetooloola ensi yonna. Ebintu bye tuyiga mu nkuŋŋaana ezo ne mu nkuŋŋaana ennene bituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe mu Katonda awamu n’ebisuubizo bye.—Beb. 10:24, 25.

WASA OBA FUMBIRWA “MU MUKAMA WAFFE MWOKKA”

12. Bayibuli eba etegeeza ki bw’eyogera ku kuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka”?

12 Abakristaayo bonna, naddala abo abali obwannamunigina era nga baagala okuwasa oba okufumbirwa, basaanidde okwegendereza abo be bafuula mikwano gyabwe. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Temwegattanga na batakkiriza. Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu? Oba ekitangaala n’ekizikiza bitabagana bitya?” (2 Kol. 6:14) Bayibuli eragira abaweereza ba Katonda okuwasa oba okufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka,” kwe kugamba, okuwasa oba okufumbirwa omuntu eyeewaayo eri Yakuwa n’abatizibwa era ng’atambuliza obulamu bwe ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. (1 Kol. 7:39) Bw’owasa oba bw’ofumbirwa omuntu ng’oyo ayagala Yakuwa, asobola okukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Katonda.

13. Kiragiro ki ekikwata ku bufumbo Katonda kye yawa Abaisiraeri?

13 Yakuwa ayagaliza abaweereza be ekyo ekisingayo obulungi, era okuva edda n’edda azze abalaga endowooza gy’alina ku bufumbo. Lowooza ku kiragiro kye yawa Abaisiraeri okuyitira mu Musa. Ng’ayogera ku bantu ab’amawanga agaali gabeetoolodde, abantu abaali batasinza Yakuwa, Yakuwa yagamba Abaisiraeri nti: “Tofumbiriganwanga nabo; muwala wo tomuwanga mutabani we, so ne muwala we tomuwasizanga mutabani wo. Kubanga alikyusa mutabani wo obutangoberera, baweerezenga bakatonda abalala: obusungu bwa Mukama bulibuubuuka bwe butyo ku mmwe, era alikuzikiriza mangu.”—Ma. 7:3, 4.

14, 15. Sulemaani bwe yagaana okukolera ku kiragiro kya Yakuwa, biki ebyavaamu?

14 Mutabani wa Dawudi Sulemaani bwe yali yaakafuuka kabaka, yasaba Katonda amuwe amagezi, era Katonda yamuwa amagezi mangi nnyo. Kabaka Sulemaani yayatiikirira nnyo olw’amagezi ge yalina n’olw’enkulaakulana gye yaleetawo mu bwakabaka bwe. Mu butuufu, kabaka omukazi owa Seba bwe yagenda okulaba Sulemaani, yagamba nti: “Sakkiriza bigambo ebyo okutuusa lwe najja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu: amagezi go n’omukisa gwo bisinga ettutumo lye nnawulira.” (1 Bassek. 10:7) Kyokka, ebyo bye tusoma ku Sulemaani bituyamba okulaba ekyo ekiyinza okubaawo singa omuntu agaana okukolera ku kiragiro kya Katonda, n’awasa oba n’afumbirwa omuntu atali mukkiriza.—Mub. 4:13.

15 Wadde nga Katonda yali akoledde Sulemaani ebirungi bingi, Sulemaani yagaana okukolera ku kiragiro kya Katonda ekikwata ku butawasa bakazi kuva mu mawanga agaali gabeetoolodde, abantu abaali batasinza Yakuwa. Sulemaani ‘yayagala abakazi bangi bannaggwanga’ n’atuuka n’okuba n’abakyala 700 n’abazaana 300. Biki ebyavaamu? Sulemaani bwe yali akaddiye, bakazi be abaali batasinza Yakuwa ‘baakyusa omutima gwe n’agoberera bakatonda abalala, era Sulemaani yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa.’ (1 Bassek. 11:1-6) Wadde nga Sulemaani yalina amagezi mangi nnyo, emikwano emibi gye yafuna gyamuggya ku kusinza okw’amazima. Ng’ekyo kya kuyiga kya maanyi eri Abakristaayo abayinza okuba nga balowooza ku ky’okuwasa oba okufumbirwa omuntu atayagala Yakuwa!

16. Kubuulirira ki okw’omu Byawandiikibwa okukwata ku abo abalina bannaabwe mu bufumbo abatali bakkiriza?

16 Watya singa omuntu afuuka omuweereza wa Yakuwa naye ng’omwami we oba mukyala we si mukkiriza? Bayibuli egamba nti: “Abakazi mugonderenga babbammwe, bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo okuyitira mu mpisa z’abakazi baabwe.” (1 Peet. 3:1) Kya lwatu nti ebigambo ebyo bikwata ne ku basajja Abakristaayo abaafuuka abaweereza ba Yakuwa nga balina abakyala abatali bakkiriza. Okusinziira ku Kigambo kya Katonda, kikulu okuba omukyala oba omwami omulungi, afuba okukolera ku misingi gya Katonda egikwata ku bufumbo. Waliwo abasajja n’abakazi bangi abakkirizza amazima oluvannyuma lw’okulaba ng’abaami baabwe oba bakyala baabwe bakolera ku misingi gya Bayibuli.

KOLAGANA N’ABO ABAAGALA YAKUWA

17, 18. Lwaki Nuuwa n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baawonawo ng’abantu ababi ab’omu kiseera kyabwe bazikirizibwa?

17 Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi, naye emikwano emirungi gisobola okutuyamba okuba abeesigwa eri Yakuwa. Lowooza ku Nuuwa, eyaliwo mu kiseera ng’abantu abasinga obungi ku nsi bakola ebintu ebibi. Mu kiseera ekyo, ‘Yakuwa yalaba obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.’ (Lub. 6:5) Bwe kityo, yasalawo okuzikiriza ensi eyo embi ng’akozesa Amataba. Kyokka ye ‘Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye. Nuuwa yatambulira wamu ne Katonda.’—Lub. 6:7-9.

18 Kyeyoleka kaati nti Nuuwa teyafuula bantu abatatya Katonda mikwano gye. Nuuwa n’ab’omu maka ge omusanvu beemalira ku mulimu ogw’okuzimba eryato, era Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peet. 2:5) Okuba nti Nuuwa yeemalira ku mulimu gw’okubuulira n’ogw’okuzimba eryato, era nga n’ab’omu maka ge baali mikwano mirungi, kyamuyamba okweyongera okukola ebintu ebisanyusa Katonda. N’ekyavaamu, Katonda bwe yaleeta Amataba, Nuuwa n’ab’omu maka ge baawonawo. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Nuuwa, mukyala we, batabani be, ne bakyala baabwe, baaweereza Yakuwa n’obwesigwa. Mu butuufu ffenna abali ku nsi twava mu bo. N’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka beewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abaali batayagala Yakuwa. Ekyo kyabayamba okuwonawo nga Yerusaalemi n’enteekateeka y’Ekiyudaaya bizikirizibwa mu mwaka gwa 70 E.E.—Luk. 21:20-22.

Okubeerako awamu ne bakkiriza bannaffe kituyamba okulaba engeri obulamu gye bunaaba mu nsi empya (Laba akatundu 19)

19. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa?

19 Okufaananako Nuuwa, ab’omu maka ge, n’Abakristaayo abeesigwa abaaliwo mu kyasa ekyasooka, naffe tusaanidde okwewala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abatayagala Yakuwa. Waliwo abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bukadde na bukadde mwe tusobola okufuna emikwano emirungi. Abantu ng’abo abakulemberwa amagezi agava eri Katonda basobola okutuyamba ‘okunywerera mu kukkiriza’ mu nnaku zino embi. (1 Kol. 16:13; Nge. 13:20) Lowooza ku ssanyu ery’ekitalo lye tunaafuna nga tuwonyeewo ng’ensi eno embi ezikiriziddwa era nga tuyingidde mu nsi ya Yakuwa empya eneetera okutuuka. N’olwekyo, kikulu nnyo okwegendereza abo be tufuula mikwano gyaffe mu nnaku zino ez’enkomerero.