Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Lwaki Bayibuli erimu obunnabbi?

Lwaki bayibuli eyogera ku bintu ebiriwo leero?Lukka 21:10, 11.

Teri muntu ayinza kwogera ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, byonna by’ayogedde ne bituukirira. Naye bwo obunnabbi obuli mu Bayibuli butuukirira mu bujjuvu, era ekyo kitukakasa nti Bayibuli Kigambo kya Katonda.Soma Yoswa 23:14; 2 Peetero 1:20, 21.

Obunnabbi bwa Bayibuli obwatuukirira bunyweza okukkiriza kwaffe mu Katonda. (Abebbulaniya 11:1) Ate era butuyamba okuba abakakafu nti ebyo Katonda bye yasuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso bijja kutuukirira. N’olwekyo, obunnabbi obuli mu Bayibuli butuwa essuubi ekkakafu.Soma Zabbuli 37:29; Abaruumi 15:4.

Obunnabbi bwa Bayibuli butuganyula butya?

Obunnabbi obumu bulabula abaweereza ba Katonda ne babaako kye bakolawo. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka bwe baalaba ng’obunnabbi obumu butuukirizibwa, baava mu kibuga Yerusaalemi. Oluvannyuma ekibuga ekyo kyazikirizibwa olw’okuba abantu abasinga obungi abaali bakibeeramu bagaana okukkiririza mu Yesu. Naye Abakristaayo abaali bakivuddemu baawonawo.Soma Lukka 21:20-22.

Obunnabbi obutuukirizibwa leero bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okuggyawo gavumenti z’abantu. (Danyeri 2:44; Lukka 21:31) N’olwekyo, kikulu nnyo buli muntu okubaako ky’akolawo kati, asobole okusiimibwa Yesu Kristo, Kabaka Katonda gwe yalonda.Soma Lukka 21:34-36.