Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ofuba Okutuuka ku Kigero eky’Obukulu bwa Kristo?

Ofuba Okutuuka ku Kigero eky’Obukulu bwa Kristo?

“Okutuusa ffenna lwe tulituuka . . . ku kigero eky’obukulu bwa Kristo.”—BEF. 4:13.

ENNYIMBA: 69, 70

1, 2. Bukulu bwa ngeri ki buli Mukristaayo bw’asaanidde okufuba okutuukako? Waayo ekyokulabirako.

OMUKYALA alina obumanyirivu mu kugula ebibala, bw’aba alonda ebibala tasinziira ku bunene bwabyo oba ku bbeeyi yaabyo. Mu kifo ky’ekyo, alonda ebyo ebyengedde obulungi. Anoonya ebibala ebiwooma, ebiwunya akawoowo, era ebirimu ekiriisa. Mu butuufu, afuba okulonda ebibala ebikuze obulungi.

2 Omuntu bw’akulaakulana ne yeewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa, yeeyongera okukula. Aba n’ekiruubirirwa eky’okufuuka omuweereza wa Yakuwa omukulu. Okukula okwogerwako wano si kwe kukula mu myaka, wabula kwe kukula mu by’omwoyo. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo mu Efeso okukula mu by’omwoyo. Yabakubiriza okufuba ‘okuba obumu mu kukkiriza ne mu kutegeerera ddala Omwana wa Katonda, bafuuke abantu abakulu, batuuke ku kigero eky’obukulu bwa Kristo.’—Bef. 4:13.

3. Mbeera ki eyaliwo mu kibiina ky’e Efeso eriwo ne mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa leero?

3 Pawulo we yawandiikira ebbaluwa eri ekibiina ky’e Efeso, ekibiina ekyo kyali kimaze emyaka egiwerako nga weekiri. Bangi ku bayigirizwa abaali mu kibiina ekyo baali bakuze mu by’omwoyo. Kyokka abamu baali tebannaba kukula mu by’omwoyo. Bwe kityo bwe kiri ne mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa leero. Ab’oluganda ne bannyinaffe bangi bamaze emyaka mingi nga baweereza Katonda era bakuze mu by’omwoyo. Kyokka abamu tebannaba kukula mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, buli mwaka waliwo abantu nkumi na nkumi ababatizibwa. Abantu ng’abo baba beetaaga okufuba okukula mu by’omwoyo. Ate ggwe?—Bak. 2:6, 7.

OKUKULA MU BY’OMWOYO

4, 5. Njawulo ki Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo gye bayinza okuba nayo, naye kiki bonna kye bafaanaganya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

4 Bw’ogenda mu katale ne weetegereza ebibala ebitali bimu ebyengedde obulungi, okiraba nti byonna tebifaanagana. Wadde kiri kityo, ebibala ebyo bibaako ebintu ebitali bimu bye bifaanaganya ebiraga nti byengedde. Mu ngeri y’emu, n’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bayinza okuba nga ba mawanga ga njawulo, ng’embeera y’obulamu bwabwe ya njawulo, nga ba myaka gya njawulo, era nga bayise mu mbeera za njawulo. Ate era bayinza n’okuba nga balina engeri za njawulo n’obuwangwa bwa njawulo. Wadde kiri kityo, Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo baba n’ebintu bye bafaanaganya ebiraga nti bakuze mu by’omwoyo. Bintu ki ebyo?

5 Omuweereza wa Yakuwa akuze mu by’omwoyo afuba okukoppa Yesu, oyo eyatulekera ekyokulabirako tusobole ‘okutambulira mu bigere bye.’ (1 Peet. 2:21) Yesu yagamba nti kikulu nnyo omuntu okwagala Yakuwa n’omutima gwe gwonna, n’obulamu bwe bwonna, n’amagezi ge gonna, era nti kikulu okwagala muntu munne nga bwe yeeyagala yekka. (Mat. 22:37-39) Omukristaayo akuze mu by’omwoyo afuba okukolera ku bigambo ebyo. Engeri gy’atambuzaamu obulamu bwe ekiraga nti enkolagana ye ne Yakuwa agitwala nga ya muwendo nnyo era nti ayagala nnyo bantu banne.

Abakristaayo abakuze mu myaka basobola okwoleka obwetoowaze nga Kristo nga bawagira abo abakyali abato kati abatwala obukulembeze (Laba akatundu 6)

6, 7. (a) Ebimu ku bintu ebiraga nti Omukristaayo akuze mu by’omwoyo bye biruwa? (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza?

6 Kyo kituufu nti okwagala kye kimu ku bintu ebiri mu kibala ky’omwoyo, Omukristaayo akuze mu by’omwoyo ky’alina okwoleka. (Bag. 5:22, 23) Naye Omukristaayo akuze mu by’omwoyo alina n’okuba nga mukkakkamu, nga yeefuga, era nga mugumiikiriza. Ebintu ng’ebyo bisobola okumuyamba okwolekagana n’embeera enzibu nga tavudde mu mbeera era nga taweddeemu ssuubi. Bw’aba yeesomesa Bayibuli, afuba okunoonya emisingi egisobola okumuyamba okwawula ekituufu ku kikyamu. Era bw’aba alina ky’asalawo, asalawo mu ngeri eraga nti akuze mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, awuliriza omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli. Omukristaayo akuze mu by’omwoyo aba mwetoowaze ng’akimanyi nti kya magezi okukolera ku mitindo gya Yakuwa mu kifo ky’okukolera ku ndowooza ye. * Abuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu era afuba okukuuma obumu bw’ekibiina.

7 Ka tube nga tumaze bbanga lyenkana wa nga tuweereza Yakuwa, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nkyukakyuka ki ze nnyinza okukola okusobola okweyongera okukoppa Yesu, nsobole okweyongera okukula mu by’omwoyo?’

“EMMERE ENKALUBO YA BANTU BAKULU”

8. Kiki kye tuyinza okwogera ku kumanya okukwata ku Byawandiikibwa Yesu kwe yalina?

8 Yesu Kristo yali amanyi bulungi Ekigambo kya Katonda. Ne bwe yali wa myaka 12 gyokka, yakubaganya ebirowoozo ku Byawandiikibwa ng’ali wamu n’abayigiriza mu yeekaalu. Bayibuli egamba nti: ‘Abo bonna abaali bamuwuliriza beewuunya nnyo olw’okutegeera kwe, n’olw’ebyo bye yali addamu.’ (Luk. 2:46, 47) Ate nga wayise emyaka egiwerako, Yesu bwe yali abuulira, yakozesa bulungi Ekigambo kya Katonda, bw’atyo n’asirisa abo abaali bamuwakanya.—Mat. 22:41-46.

9. (a) Nteekateeka ki omuntu ayagala okukula mu by’omwoyo gy’asaanidde okuba nayo? (b) Lwaki kikulu okwesomesa Bayibuli?

9 Omukristaayo ayagala okukula mu by’omwoyo afuba okukoppa Yesu ng’afuba okweyongera okumanya Ebyawandiikibwa. Afuba okusoma ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Bayibuli ng’akimanyi nti “emmere enkalubo ya bantu bakulu.” (Beb. 5:14) Mu butuufu, Omukristaayo akuze mu by’omwoyo aba ayagala nnyo ‘okutegeerera ddala Omwana wa Katonda.’ (Bef. 4:13) Olina enteekateeka ey’okusoma Bayibuli buli lunaku? Olina enteekateeka ey’okwesomesa era ofuba okuba n’okusinza kw’amaka buli wiiki? Bw’oba osoma Ekigambo kya Katonda, fuba okunoonya emisingi egisobola okukuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa. Fuba okukolera ku misingi egyo ng’oliko by’osalawo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa.

10. Omukristaayo akuze mu by’omwoyo akozesa atya okumanya kw’afunye okuva mu Kigambo kya Katonda?

10 Omukristaayo akuze mu by’omwoyo akimanyi nti okuba n’okumanya ku bwakyo tekimala. Alina okuba ng’ayagala nnyo amakubo ga Yakuwa n’emitindo gye egy’obutuukirivu. Ekyo akiraga ng’atambuza obulamu bwe mu ngeri etuukana n’ebyo Katonda by’ayagala mu kifo ky’okukola ebyo ye by’ayagala. Omukristaayo ng’oyo akyoleka mu ngeri gye yeeyisaamu ne mu ndowooza ye nti ‘yeeyambuddeko’ omuntu omukadde. Ate era afuba okwambala omuntu omuggya “eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala mu butuukirivu obw’amazima ne mu bwesigwa.” (Soma Abeefeso 4:22-24.) Katonda yakozesa omwoyo gwe omutukuvu okuluŋŋamya abantu okuwandiika Bayibuli. N’olwekyo, Omukristaayo bwe yeeyongera okwesomesa Bayibuli era ne yeeyongera okwagala emitindo gya Katonda, ekyo kimuyamba okukulemberwa omwoyo omutukuvu, era kimuyamba okweyongera okukula mu by’omwoyo.

KUUMA OBUMU BW’EKIBIINA

11. Mbeera ki Yesu gye yalimu ng’ali ku nsi?

11 Wadde nga Yesu atuukiridde, bwe yali ku nsi yali mu bantu abatatuukiridde. Bazadde be, baganda be, ne bannyina, bonna baali tebatuukiridde. N’abagoberezi be abaabeeranga naye nabo baayolekanga omwoyo ogw’okwagala ettutumu n’ogw’okwerowoozaako. Ng’ekyokulabirako, mu kiro ekyasembayo Yesu amale attibwe, abatume be ‘baatandika okukaayana bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu.’ (Luk. 22:24) Wadde kyali kityo, Yesu yali mukakafu nti abagoberezi be abo abaali batatuukiridde baali basobola okukula mu by’omwoyo ne bavaamu ekibiina Ekikristaayo ekyandibadde obumu. Mu kiro ekyo kyennyini, Yesu yasaba Kitaawe ow’omu ggulu ayambe abatume be okuba obumu. Yagamba nti: “Nga ggwe Kitange bw’oli obumu nange, nange bwe ndi obumu naawe, nabo babeere bumu naffe, . . . basobole okubeera omu nga naffe bwe tuli omu.”—Yok. 17:21, 22.

12, 13. (a) Ebyo ebiri mu Abeefeso 4:15, 16 biraga bitya nti kikulu okukuuma obumu bw’ekibiina? (b) Kiki ekyayamba ow’oluganda omu okuyiga okukuuma obumu bw’ekibiina?

12 Omuweereza wa Yakuwa akuze mu by’omwoyo afuba okukuuma obumu bw’ekibiina. (Soma Abeefeso 4:1-6, 15, 16.) Ffenna abantu ba Katonda twagala okuba obumu era n’okukolagana obulungi ne bakkiriza bannaffe. Ekigambo kya Katonda kiraga nti bwe tuba ab’okukuuma obumu bw’ekibiina, tulina okuba abeetoowaze. Omukristaayo akuze mu by’omwoyo ayoleka obwetoowaze ng’afuba okukuuma obumu ne bwe kiba nti abalala bakoze ebintu ebitamusanyusizza. Weeyisa otya nga waliwo mukkiriza munno akoze ekintu ekitakusanyusizza? Oba, weeyisa otya singa wabaawo omuntu mu kibiina akuyisizza obubi? Osalawo okulekera awo okwogera n’omuntu oyo oba ofuba okuzzaawo emirembe? Omukristaayo akuze mu by’omwoyo afuba okugonjoola obutakkaanya obuba buzzeewo mu kifo ky’okuleka embeera okwongera okwonooneka.

13 Lowooza ku muganda waffe Uwe. Yateranga okunyiiga ennyo nga bakkiriza banne balina ekintu ekitali kirungi kye bakoze. Bwe kityo, yasalawo okukozesa Bayibuli n’ekitabo Insight on the Scriptures okusoma ebikwata ku Dawudi. Lwaki yasalawo okusoma ku Dawudi? Uwe agamba nti: “Abamu ku baweereza ba Katonda baayisa bubi Dawudi. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Sawulo yagezaako okumutta, abantu abamu baayagala okumukuba amayinja, era ne mukyala we kennyini yamuyisaamu amaaso. (1 Sam. 19:9-11; 30:1-6; 2 Sam. 6:14-22) Kyokka Dawudi teyakkiriza nneeyisa y’abalala embi kuleetera kwagala kw’alina eri Yakuwa kukendeera. Ate era Dawudi yakwatirwanga abalala ekisa, ekintu nange kye nnali nneetaaga okukulaakulanya. Ebyo bye nnasoma ku Dawudi, byannyamba okukyusa endowooza gye nnalina ku butali butuukirivu bwa bakkiriza bannange. Kati sikyamalira birowoozo byange ku nsobi z’abalala. Mu kifo ky’ekyo, nfuba okukuuma obumu bw’ekibiina.” Naawe ofuba okukuuma obumu bw’ekibiina?

LONDA EMIKWANO MU ABO ABAKOLA KATONDA BY’AYAGALA

14. Baani Yesu be yafuula mikwano gye egy’oku lusegere?

14 Yesu Kristo yafangayo ku bantu bonna. Eyo ye nsonga lwaki abantu aba buli ngeri, abasajja n’abakazi, abakulu n’abato, baayagalanga nnyo okubeera w’ali. Wadde kyali kityo, Yesu teyamala gafuula buli muntu mukwano gwe ow’oku lusegere. Yagamba abatume be abeesigwa nti: “Bwe mukwata bye mbalagira, muba mikwano gyange.” (Yok. 15:14) Abo Yesu be yafuula mikwano gye egy’oku lusegere yabajja mu abo abaamunywererako era abaali baweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Naawe bw’oba olonda mikwano gyo, olonda mu abo abaweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna? Lwaki ekyo kikulu nnyo?

15. Abakristaayo abakyali abato bayinza batya okuganyulwa mu kubeerako awamu n’Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo?

15 Ebibala ebisinga obungi byengera bulungi nga bifunye ebbugumu eriva ku musana. Mu ngeri y’emu, okwagala bakkiriza bannaffe kwe booleka kusobola okutuyamba okukula mu by’omwoyo. Oboolyawo oli muvubuka era ng’olowooza ku ngeri gy’oyinza okukozesaamu obulamu bwo. Nga kiba kya magezi okulonda emikwano mu abo abamaze ebbanga eddene nga baweereza Yakuwa era abafuba okukuuma obumu bw’ekibiina! Bayinza okuba nga boolekaganye n’ebizibu ebitali bimu nga baweereza Katonda. Bakkiriza banno ng’abo basobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi ku ngeri ey’okukozesaamu obulamu bwo. Okubeerako awamu n’emikwano ng’egyo emirungi kisobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi era kisobola okukuyamba okukula mu by’omwoyo.—Soma Abebbulaniya 5:14.

16. Abakristaayo abakulu mu kibiina baayamba batya mwannyinaffe omu eyali akyali omuto?

16 Lowooza ku Mwannyinaffe Helga. Bwe yali anaatera okumaliriza emisomo gye egya siniya, bayizi banne baateranga okwogera ku biruubirirwa byabwe. Bangi ku bo baalina ekiruubirirwa eky’okugenda ku yunivasite nga bagamba nti ekyo kyali kijja kubayamba okufuna emirimu emirungi. Helga yayogerako ne mikwano gye mu kibiina ku nsonga eyo. Agamba nti: “Bangi ku bo baali bansinga obukulu era bannyamba nnyo. Bankubiriza okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Nnatandika okuweereza nga payoniya era ekyo nnakikola okumala emyaka etaano. N’okutuusa leero, ndi musanyufu nnyo okuba nti nnakozesa emyaka gyange egy’obuvubuka okuweereza Yakuwa mu bujjuvu. Sirina kye nnejjusa.”

17, 18. Okuba abakulu mu by’omwoyo kituyamba kitya okuweereza Yakuwa mu bujjuvu?

17 Bwe tufuba okukoppa Yesu mu bulamu bwaffe, kijja kutuyamba okukula mu by’omwoyo. Kijja kutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa era kijja kutuleetera okwagala okumuweereza mu bujjuvu. Omuweereza wa Yakuwa asobola okumuwa ekyo ekisingayo obulungi singa aba akuze mu by’omwoyo. Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Muleke ekitangaala kyammwe kyakirenga abantu, basobole okulaba ebikolwa byammwe ebirungi, balyoke bagulumize Kitammwe ali mu ggulu.”—Mat. 5:16.

18 Nga bwe tulabye, Omukristaayo akuze mu by’omwoyo aba wa mugaso nnyo mu kibiina. Ekintu ekirala ekyoleka nti Omukristaayo akuze mu by’omwoyo ye ngeri gy’akozesaamu omuntu we ow’omunda. Omuntu waffe ow’omunda ayinza atya okutuyamba okusalawo obulungi? Era tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu muntu ow’omunda ow’abalala? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

^ lup. 6 Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda akuze mu myaka ayinza okusabibwa okuleka ow’oluganda omuto okutwala obuvunaanyizibwa bw’abadde nabwo era amuwagire.