Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | KATONDA ALINA NDOWOOZA KI KU NTALO?

Endowooza Katonda gye Yalina ku Ntalo mu Biseera by’Edda

Endowooza Katonda gye Yalina ku Ntalo mu Biseera by’Edda

Abantu ba Katonda Abayisirayiri baali banyigirizibwa nnyo. Baasabanga Katonda abayambe, naye waayitawo ekiseera nga tannabaanukula. Misiri, eggwanga kirimaanyi mu kiseera ekyo, lye lyali linyigiriza abantu ba Katonda. (Okuva 1:13, 14) Abayisirayiri baamala emyaka mingi nga balindirira Katonda abanunule okuva mu mukono gw’Abamisiri, era ekiseera kyatuuka n’abaako ky’akolawo. (Okuva 3:7-10) Bayibuli eraga nti Katonda kennyini ye yalwanyisa Abamisiri. Yaleetera Abamisiri ebibonyoobonyo bingi, era oluvannyuma n’atta kabaka waabwe n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. (Zabbuli 136:15) Ng’omulwanyi “omuzira,” Yakuwa Katonda yalwanirira abantu be.Okuva 15:3, 4.

Eky’okuba nti Katonda yalwanyisa Abamisiri kiraga nti waliwo entalo Katonda ze yakkirizanga mu biseera eby’edda. Waliwo n’emirundi emirala Katonda lwe yakkiriza Abayisirayiri okulwanyisa abalabe baabwe. Ng’ekyokulabirako, yabalagira okulwanyisa Abakanani, abaali ababi ennyo. (Ekyamateeka 9:5; 20:17, 18) Ate era Katonda yakkiriza Kabaka Dawudi owa Isirayiri okulwanyisa Abafirisuuti abaali banyigiriza Abayisirayiri. Katonda yabuulira Dawudi obukodyo obw’okukozesa asobole okubawangula.2 Samwiri 5:17-25.

Ebyokulabirako ebyo ebisangibwa mu Bayibuli biraga nti Abayisirayiri bwe baalumbibwanga eggwanga eddala eryali lisobola okubaleetera okukola ebintu ebibi, Katonda yabakkirizanga okulirwanyisa basobole okukuumibwa n’okusigala nga bamusinza mu ngeri entuufu. Naye weetegereze ensonga ssatu enkulu ezikwata ku ntalo Katonda ze yakkirizanga.

  1. KATONDA YE YASALANGAWO BAANI ABANAALWANA OLUTALO. Lumu, Katonda yagamba Abayisirayiri nti: “Temulyetaaga kulwana mu lutalo luno.” Tebaali ba kulwana kubanga Katonda ye yali agenda okubalwanirira. (2 Ebyomumirembe 20:17; 32:7, 8) Ekyo yakikola emirundi mingi gamba nga ku mulundi lwe yabanunula okuva e Misiri. Kyokka, emirundi emirala Katonda yakkiriza Abayisirayiri okulwana entalo gamba ng’ezo ezaabasobozesa okuwamba ensi ensuubize n’okugikuuma.Ekyamateeka 7:1, 2; Yoswa 10:40.

  2. KATONDA YE YASALANGAWO EKISEERA EKY’OKULWANIRAMU. Abaweereza ba Katonda baalinanga okulinda ekiseera ekituufu Katonda ky’alonze okulwanyisa abalabe baabwe. Teebaalinanga kulwana, okuggyako ng’ekiseera ekyo kituuse. Bwe baalwananga ng’ekiseera tekinnatuuka, Katonda teyabawagiranga, era bwe baalwananga olutalo nga Katonda tabakkirizza, tebaawangulanga. *

  3. Wadde nga Katonda yalwanyisa Abakanani, yasonyiwa abamu, gamba nga Lakabu n’abantu be

    KATONDA TAYAGALA BANTU KUFA, KA BABE BABI. Yakuwa Katonda ye nsibuko y’obulamu era ye yatonda abantu bonna. (Zabbuli 36:9) N’olwekyo, tayagala bantu kufa. Eky’ennaku, waliwo abantu ababi abaagala okubonyaabonya abalala oba okubatta. (Zabbuli 37:12, 14) Okusobola okukomya ebintu ebibi abantu ng’abo bye bakola, oluusi Katonda yalagiranga abantu be okubalwanyisa. Ate era, emyaka gyonna Abayisirayiri gye baamala nga balwana entalo ng’ezo, Katonda yabanga musaasizi era yalwangawo okusunguwalira abo abaabanga abalabe b’Abayisirayiri. (Zabbuli 86:15) Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri bwe baabanga tebannalwanyisa kibuga, Katonda yabalagiranga okusooka ‘okulangirira emirembe,’ eri abantu b’omu kibuga ekyo. Abantu abo bwe baalekanga ebikolwa byabwe ebibi, tebattibwanga. (Ekyamateeka 20:10-13) Mu ngeri eyo, Katonda yakiraga nti ‘tasanyukira kufa kwa mubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu.’Ezeekyeri 33:11, 14-16. *

N’olwekyo, entalo Katonda ze yakkirizanga zaabanga za kumalawo okunyigirizibwa n’ebikolwa ebibi. Kyokka, Katonda ye yasalangawo ekiseera entalo ezo we zaabeererangawo na baani abaazirwananga, so si bantu. Naye, entalo Katonda ze yalwananga zaabanga za kuyiwa buyiyi musaayi? Nedda. Katonda akyawa ebikolwa eby’obukambwe. (Zabbuli 11:5) Yesu Kristo, Omwna wa Katonda, we yabeerera wano ku nsi mu kyasa ekyasooka endowooza ya Katonda ku ntalo yali ekyuse?

^ lup. 7 Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri bwe baagenda okulwanyisa Abamaleki n’Abakanani nga Katonda tabalagidde, baawangulwa. (Okubala 14:41-45) Nga wayiseewo emyaka mingi, Kabaka Yosiya eyali omwesigwa yalwana olutalo nga Katonda tamulagidde, era teyalutonda.2 Ebyomumirembe 35:20-24.

^ lup. 8 Abayisirayiri bwe baali bagenda okulwanyisa Abakanani, tebaasooka kulangirira mirembe gye bali. Lwaki? Kubanga Abakanani baali baaweebwa emyaka 400 okuleka ebikolwa byabwe ebibi. Kyokka, ekiseera Abayisirayiri we baatandikira okubalwanyisa, Abakanani baali beeyongedde bweyongezi okuba ababi. (Olubereberye 15:13-16) N’olw’ensonga eyo, Abakanani baali baakusaanyizibwawo. Kyokka, Abakanani abaaleka ebikolwa byabwe ebibi tebaazikirizibwa.Yoswa 6:25; 9:3-27.