Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Ye Katonda ow’Okwagala

Yakuwa Ye Katonda ow’Okwagala

“Katonda kwagala.”—1 YOK. 4:8, 16.

ENNYIMBA: 18, 91

1. Engeri ya Katonda esingayo obukulu y’eruwa, era okumanya ekyo kikuleetera kuwulira otya?

EKIGAMBO kya Katonda kigamba nti “Katonda kwagala.” Tekigamba bugambi nti okwagala y’emu ku ngeri za Katonda, wabula kigamba nti “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8) Okwagala ye ngeri ya Katonda esingayo obukulu. Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti Omutonzi w’ebintu byonna alina okwagala kungi! Mu butuufu, ebintu byonna Katonda by’akola, okwagala kwe kumukubiriza okubikola.

2. Okuba nti Katonda atwagala kitukakasa ki? (Laba ekifaananyi waggulu.)

2 Okwagala Katonda kw’alina eri ebitonde bye kutukakasa nti ebintu byonna bye yasuubiza bijja kutuukirira, era ekyo kijja kuleetera abo bonna abamugondera emikisa mingi. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba Yakuwa atwagala, “ataddewo olunaku kw’ajja okusalira ensi omusango mu butuukirivu ng’ayitira mu muntu gw’alonze,” Yesu Kristo. (Bik. 17:31) Tuli bakakafu nti ekyo kijja kutuukirira era kijja kuviiramu abantu abawulize emikisa egy’olubeerera.

EBYAFAAYO KYE BIRAZE

3. Olowooza obulamu bw’abantu bwandibadde butya singa Katonda teyalina kwagala?

3 Olowooza obulamu bw’abantu bwandibadde butya singa Katonda teyalina kwagala? Ensi yandyeyongedde okubaamu ebintu ebibi ng’efugibwa abantu abali mu buyinza bwa Sitaani Omulyolyomi, katonda w’enteekateeka eno atalina kwagala. (2 Kol. 4:4; 1 Yok. 5:19; soma Okubikkulirwa 12:9, 12.) Singa Katonda yali tatwagala, ebiseera byaffe eby’omu maaso byandibadde bibi nnyo.

4. Lwaki Yakuwa akyaleseewo Sitaani n’abantu abajeemera obufuzi bwe?

4 Sitaani yajeemera obufuzi bwa Yakuwa era n’aleetera ne bazadde baffe ababiri abaasooka okukola kye kimu. Yaleetawo okubuusabuusa obanga ddala Katonda y’agwanidde okufuga obutonde bwonna era obanga afuga mu ngeri ey’obutuukirivu. Mu ngeri eyo, Sitaani yali ng’agamba nti obufuzi bwe businga obwa Katonda. (Lub. 3:1-5) Wadde nga Yakuwa yaleka Sitaani alage obutuufu bw’ebyo bye yayogera, ekyo si kya kubeerawo mirembe gyonna. Yakuwa ayolese amagezi ag’ekitalo n’aleka ekiseera ekimala okuyitawo, okusobola okukyoleka obulungi nti obufuzi bwe bwokka bwe busobola okufuga obutonde bwonna mu ngeri esingayo obulungi. Ebyafaayo biraze nti abantu ne Sitaani tebasobola kufuga bulungi bantu.

5. Ebyafaayo by’omuntu biraze ki?

5 Mu myaka nga 100 egiyise, abantu abasukka mu bukadde 100 be bafiiridde mu ntalo. Ate era buli lukya, embeera y’ensi yeeyongera okwonooneka. Ng’Ekigambo kya Katonda bwe kyagamba, mu nnaku zino ez’enkomerero, ‘abantu ababi n’abalimba beeyongedde okuba ababi.’ (2 Tim. 3:1, 13) Ebyafaayo biraze bulungi obutuufu bw’ebigambo bino: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” (Yer. 10:23) Mu butuufu, Yakuwa teyatonda bantu na busobozi bwa kukola bintu awatali bulagirizi bwe.

6. Lwaki Katonda alese ebintu ebibi okubaawo okumala ekiseera?

6 Ng’oggyeeko okulaga nti obufuzi bw’abantu tebusobola kuvaamu kalungi konna, Katonda okulekawo ebintu ebibi okumala ekiseera kirina n’omuganyulo omulala. Kiwadde obukakafu obw’enkukunala obulaga nti obufuzi bwa Katonda bwe bwokka obusobola okumalawo ebizibu by’abantu. Yakuwa bw’anaamala okuggyawo ebintu ebibi n’abo ababireeta, oluvannyuma ne wabaawo agezaako okuwakanya obufuzi bwe, tekijja kumwetaagisa kumulekawo kumala kaseera. Ebibaddewo mu byafaayo by’omuntu bijja kuba bimuwa ensonga kw’asinziira okuzikiririzaawo omujeemu oyo. Tajja kukkiriza bintu bibi kuddamu kubaawo.

ENGERI YAKUWA GY’AYOLESEEMU OKWAGALA KWE

7, 8. Yakuwa akyolese atya nti alina okwagala kungi?

7 Yakuwa ayolese okwagala kwe okungi mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bwengula. Mu bwengula mulimu obuwumbi n’obuwumbi bw’ebibinja by’emmunyeenye era nga mu buli kibinja mulimu obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye. Enjuba y’emu ku mmunyeenye eziri mu kibinja ky’emmunyeenye ekiyitibwa Milky Way, era awatali njuba ensi teyandisobodde kubaako kintu kyonna kiramu. Ebintu Yakuwa bye yatonda byoleka engeri ze, gamba ng’amaanyi, amagezi, n’okwagala. Nga Bayibuli bw’egamba, “engeri ze ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyakolebwa.”—Bar. 1:20.

8 Yakuwa yatonda ensi era n’agiteekako ebintu ebisobozesa ebintu ebiramu okubaako. Yatonda abantu nga batuukiridde era nga basobola okubaawo emirembe gyonna, n’abateeka mu lusuku olulabika obulungi ennyo. (Soma Okubikkulirwa 4:11.) Ate era “awa ebitonde byonna ebiramu emmere, kubanga okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.”—Zab. 136:25, NW.

9. Wadde nga Yakuwa alina okwagala kungi, kiki ky’akyawa, era lwaki?

9 Wadde nga Yakuwa alina okwagala kungi, akyawa ebintu ebibi. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 5:4-6 wagamba nti: ‘Toli Katonda asanyukira ebintu ebibi. Okyawa abo bonna abakola ebitali bya butuukirivu.’ Era wagattako nti: “Mukama akyawa omuntu atta n’alimbalimba.”

EBINTU EBIBI BINAATERA OKUGGIBWAWO

10, 11. (a) Kiki Yakuwa ky’ajja okukola abantu ababi? (b) Kiki Yakuwa ky’ajja okukolera abantu abawulize?

10 Olw’okuba Katonda alina okwagala kungi era ng’akyawa ebintu ebibi, mu kiseera kye ekituufu, ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi ebiri ku nsi. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Abakola obubi balizikirizibwa: naye abalindirira Mukama abo be balisikira ensi. Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo . . . Abalabe ba Mukama . . . balibula; balibulira ddala mu mukka.”—Zab. 37:9, 10, 20.

11 Ku luuyi olulala, Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zab. 37:29) Abatuukirivu abo “banaasanyukiranga emirembe emingi.” (Zab. 37:11) Ebyo byonna bijja kutuukirira kubanga Katonda waffe ow’okwagala bulijjo akola ebyo ebiganyula abaweereza be abeesigwa. Bayibuli egamba nti: “Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.” (Kub. 21:4) Ng’ebiseera eby’omu maaso bijja kuba birungi nnyo eri abo bonna abaagala Yakuwa era abamugondera ng’Omufuzi waabwe!

12. Omuntu ataliiko kya kunenyezebwa y’aluwa?

12 Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Weekalirizenga oyo [ataliiko kya kunenyezebwa] olabenga ow’amazima: Kubanga enkomerero ey’omuntu oyo mirembe. Aboonoonyi, bo balizikirizibwa bonna: enkomerero ddala ey’omubi erizikirizibwa.” (Zab. 37:37, 38) Omuntu ataliiko kya kunenyezebwa ayiga ebikwata ku Yakuwa n’Omwana we era n’akola Katonda by’ayagala. (Soma Yokaana 17:3.) Omuntu ng’oyo, assaayo omwoyo ku bigambo ebiri mu 1 Yokaana 2:17, awagamba nti: “Ensi eggwaawo n’okwegomba kwayo, naye oyo akola Katonda by’ayagala abeerawo emirembe gyonna.” Ng’enkomerero y’ensi eno egenda esembera, kikulu nnyo ‘okulindirira Yakuwa n’okukwata ekkubo lye.’—Zab. 37:34.

EKINTU EKISINGAYO OKWOLEKA OKWAGALA KWA KATONDA

13. Kintu ki ekisingayo okwoleka okwagala kwa Katonda eri abantu?

13 Wadde nga tetutuukiridde, tusobola okutambulira mu ‘kkubo lya Yakuwa.’ Olw’okuba Yakuwa yayoleka okwagala okw’ekitalo n’awaayo ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu Kristo, tusobola okuba n’enkolagana ennungi naye. Ssaddaaka eyo esobozesa abantu abawulize okununulibwa okuva mu kibi n’okufa bye baasikira ku Adamu. (Soma Abaruumi 5:12; 6:23.) Olw’okuba Yesu yali mwesigwa eri Yakuwa okumala ekiseera kiwanvu ng’ali mu ggulu, Yakuwa yali mukakafu nti Omwana we oyo yandisigadde nga mwesigwa gy’ali ng’ali ku nsi. Nga Katonda ow’okwagala, Yakuwa yawulira ennaku ey’amaanyi okulaba nga Yesu abonyaabonyezebwa ku nsi. Yesu yawagira obufuzi bwa Katonda bw’atyo n’akiraga nti omuntu atuukiridde asobola okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa ne mu mbeera enzibu ennyo.

Katonda yayoleka okwagala n’asindika Omwana we ku nsi (Laba akatundu 13)

14, 15. Okufa kwa Yesu kwaganyula kutya abantu?

14 Wadde nga yayolekagana n’embeera enzibu ennyo, Yesu yasigala nga mwesigwa era yeeyongera okuwagira obufuzi bwa Katonda okutuukira ddala okufa. Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti okuyitira mu kufa kwe, Yesu yawaayo ssaddaaka okununula abantu, bw’atyo n’abaggulirawo ekkubo okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya! Ng’ayogera ku kwagala Yakuwa ne Yesu kwe baayoleka, omutume Pawulo yagamba nti: “Bwe twali nga tukyali boonoonyi, Kristo n’afiirira abantu abatatya Katonda mu kiseera ekigereke. Kiba kizibu omuntu okufiirira omuntu omutuukirivu, naye oboolyawo omuntu ayinza okwewaayo okufiirira omuntu omulungi. Naye Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali nga tukyali boonoonyi, Kristo n’atufiiririra.” (Bar. 5:6-8) Omutume Yokaana yagamba nti: “Ku kino okwagala kwa Katonda kwalabisibwa gye tuli, kubanga Katonda yatuma mu nsi Omwana we eyazaalibwa omu yekka tusobole okufuna obulamu okuyitira mu ye. Okwagala okwo kweyoleka bwe kuti: tekiri nti ffe twayagala Katonda, wabula Katonda ye yatwagala n’atuma Omwana we okuba ssaddaaka ey’ebibi byaffe etutabaganya ne Katonda.”—1 Yok. 4:9, 10.

15 Ng’ayogera ku kwagala Katonda kwe yalaga abantu, Yesu yagamba nti: “Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Okwagala Katonda kw’alina eri abantu kungi nnyo ne kiba nti mwetegefu okukola kyonna ekyetaagisa okubayamba ka kibe nti kizingiramu okwefiiriza ennyo. Okwagala kwa Katonda kwa mirembe na mirembe. Omutume Pawulo yagamba nti: “Ndi mukakafu nti ka kube kufa, oba bulamu, oba bamalayika, oba bufuzi, oba bintu ebiriwo kati, oba ebigenda okujja, oba maanyi, oba bugulumivu, oba kukka wansi, oba ekitonde ekirala kyonna, tewali kijja kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.”—Bar. 8:38, 39.

OBWAKABAKA BWA KATONDA KATI BUFUGA

16. Obwakabaka bwa Masiya kye ki, era ani Katonda gw’alonze okuba Kabaka waabwo?

16 Katonda era akiraze nti ayagala nnyo abantu ng’assaawo Obwakabaka bwa Masiya, kwe kugamba, gavumenti ya Katonda. Yakuwa yamala dda okuteeka gavumenti eyo mu mikono gy’Omwana we. Omwana we ayagala nnyo abantu era alina ebisaanyizo okubafuga. (Nge. 8:31) Ate n’abo 144,000 abanaafugira awamu ne Yesu, bwe bazuukizibwa batwalibwa mu ggulu era bamanyi kye kitegeeza okuba omuntu. (Kub. 14:1) Obwakabaka ye nsonga esinga obukulu Yesu gye yayogerako ng’abuulira, era yakubiriza abayigirizwa be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Mat. 6:9, 10) Twesunga nnyo ekiseera essaala eyo lw’enneddibwamu, Obwakabaka bwa Katonda buleetere abantu abawulize emikisa!

17. Njawulo ki eri wakati w’obufuzi bwa Yesu n’obw’abantu?

17 Nga waliwo enjawulo ya maanyi nnyo wakati w’obufuzi bwa Yesu n’obufuzi bw’abantu obuviiriddeko obukadde n’obukadde bw’abantu okufiira mu ntalo! Yesu afaayo nnyo ku bantu b’afuga era ayoleka engeri za Katonda ez’ekitalo, naddala okwagala. (Kub. 7:10, 16, 17) Yesu yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu n’omugugu gwange si muzito.” (Mat. 11:28-30) Ng’ebigambo ebyo bizzaamu nnyo amaanyi!

18. (a) Obwakabaka bwa Katonda bubadde bukola ki okuva lwe bwateekebwawo? (b) Bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

18 Obunnabbi bwa Bayibuli bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga mu ggulu mu 1914. Okuva olwo, ensigalira y’abo abagenda okufugira awamu ne Yesu babadde bakuŋŋaanyizibwa awamu ‘n’ab’ekibiina ekinene’ abajja okuwonawo ng’ensi ya Sitaani ezikirizibwa bayingizibwe mu nsi empya. (Kub. 7:9, 13, 14) Ab’ekibiina ekinene bangi kwenkana wa? Kiki Katonda kye yeetaagisa ab’ekibiina ekinene? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.