Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yamba Omwana Wo Akyali Omuto Okuweereza Yakuwa

Yamba Omwana Wo Akyali Omuto Okuweereza Yakuwa

Omusajja wa Katonda ajje atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.’—BALAM. 13:8.

ENNYIMBA: 88, 120

1. Kiki Manowa kye yakola bwe yakimanya nti baali bagenda kufuna omwana?

MANOWA yeewuunya nnyo amawulire mukyala we ge yamuleetera. Yali akimanyi bulungi nti mukyala we mugumba. Kyokka malayika wa Yakuwa yali alabikidde mukyala we n’amugamba nti yali agenda kuzaala omwana ow’obulenzi! Kya lwatu nti ekyo kyasanyusa nnyo Manowa, naye era yali akimanyi nti okufuna omwana buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo. Mu nsi eyo eyali ejjudde abantu ababi, ye ne mukyala we bandisobodde batya okuyamba omwana waabwe okuweereza Katonda? Manowa ‘yeegayirira Yakuwa’ ng’agamba nti: “Ai Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda [malayika] gwe watuma ajje gye tuli olw’okubiri, atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.”—Balam. 13:1-8.

2. Biki abazadde bye bayinza okukola okuyigiriza abaana baabwe? (Laba n’akasanduuko “Omuyizi Wo Owa Bayibuli Asinga Obukulu.”)

2 Bw’oba oli muzadde, oteekwa okuba ng’otegeera engeri Manowa gye yali awuliramu. Naawe olina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi obw’okuyamba omwana wo okumanya Yakuwa n’okumwagala. (Nge. 1:8) Okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, abazadde basaanidde okuba n’enteekateeka ennungi ey’Okusinza kw’Amaka. Naye okuba n’okusinza kw’amaka buli wiiki ku bwakyo tekimala. (Soma Ekyamateeka 6:6-9.) Kati olwo kiki ekirala ky’oyinza okukola okuyamba abaana bo okwagala Yakuwa n’okumuweereza? Ekitundu kino n’ekiddako bijja kuyamba abazadde okulaba engeri gye bayinza okukoppamu Yesu. Wadde nga Yesu teyalina baana, abazadde balina bingi bye basobola okumuyigirako kubanga yayoleka okwagala, obwetoowaze, n’okutegeera ng’ayigiriza abayigirizwa be. Kati ka twetegereze engeri ezo emu ku emu.

YAGALA NNYO OMWANA WO

3. Yesu yakyoleka atya nti yali ayagala abayigirizwa be?

3 Yesu teyalonzalonzanga kugamba bayigirizwa be nti yali abaagala nnyo. (Soma Yokaana 15:9.) Yakiraga nti abaagala ng’afunayo akadde okubeerako awamu nabo. (Mak. 6:31, 32; Yok. 2:2; 21:12, 13) Yesu teyali bubeezi musomesa waabwe, yali mukwano gwabwe. Abayigirizwa be tebaalimu kubuusabuusa kwonna nti yali abaagala. Abazadde, muyinza mutya okukoppa Yesu?

4. Muyinza mutya okulaga abaana bammwe nti mubaagala? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

4 Abaana bammwe mubategeeze nti mubaagala era bulijjo mukirage nti ba muwendo nnyo gye muli. (Nge. 4:3; Tit. 2:4) Samuel, abeera mu Australia, agamba nti: “Bwe nnali nkyali muto, taata yansomeranga Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli buli kawungeezi. Yaddangamu ebibuuzo bye nnamubuuzanga, yangwanga mu kifuba, era yannywegeranga nga ŋŋenda okwebaka. Kyanneewuunyisa nnyo okukimanya nti mu maka taata mwe yakulira tekyali kya bulijjo okugwa omuntu mu kifuba oba okumunywegera! Wadde kyali kityo, yakola kyonna ekisoboka okukiraga nti anjagala. N’ekyavaamu, nneeyongera okumwagala era nnawulira nga njagalibwa era nga nnina obukuumi.” Abazadde, muyambe abaana bammwe okuwulira bwe batyo nga mubategeeza nti mubaagala. Abaana bammwe mubalage omukwano. Munyumyeko nabo, muliireko wamu nabo, era muzannyengako nabo.

5, 6. (a) Kiki Yesu ky’akola abo b’ayagala? (b) Kiki ekiraga nti okukangavvula abaana kibaleetera okuwulira nti baagalibwa?

5 Yesu yagamba nti: “Abo bonna be njagala mbanenya era mbakangavvula.” * (Kub. 3:19) Wadde ng’enfunda n’enfunda abayigirizwa ba Yesu baakaayananga bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu, Yesu teyakoowa kubayamba. Teyasirika busirisi nga bagaanye okukolera ku kubuulirira kwe yabanga abawadde. Yayoleka ekisa era n’anoonya ekiseera n’ekifo ekituufu okwongera okubabuulirira.—Mak. 9:33-37.

6 Kirage nti oyagala abaana bo ng’obakangavvula. Oluusi kiba kyetaagisa kubabuulira bubuulizi nti kye bakoze si kituufu. Naye ebiseera ebimu, omwana ayinza okugaana okukolera ku ekyo ky’omugambye. (Nge. 22:15) Ekyo bwe kibaawo, fuba okukoppa Yesu. Weeyongere okumukangavvula ng’omuwa obulagirizi, ng’omutendeka, era ng’omuwabula. Bw’oba omukangavvula, funa ekiseera ekituufu n’ekifo ekituufu era mukangavvule mu ngeri ey’ekisa. Mwannyinaffe Elaine abeera mu South Africa agamba nti: “Bazadde bange baafubanga okunkangavvula. Bwe bandabulanga ku ekyo ekyandibaddewo nga ŋŋaanye okukolera ku bulagirizi bwabwe, baanywereranga ku kye baabanga baŋŋambye. Naye tebambonerezanga mu bukambwe era baasookanga kumbuulira ensonga lwaki bagenda kumbonereza. Ekyo kyannyamba okulaba nti bazadde bange banjagala.”

YOLEKA OBWETOOWAZE

7, 8. (a) Yesu yayoleka atya obwetoowaze ng’asaba? (b) Essaala z’osaba ziyinza zitya okuyamba abaana bo okuyiga okwesiga Katonda?

7 Lowooza ku ngeri abayigirizwa ba Yesu gye baawuliramu nga bawulidde ebigambo Yesu bye yayogera mu ssaala gye yasaba bwe yali anaatera okuttibwa. Yagamba nti: “Abba, Kitange, ebintu byonna biyinzika gy’oli; nzigyako ekikopo kino. Naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.” * (Mak. 14:36) Abayigirizwa baakiraba nti wadde nga Yesu yali atuukiridde, yayoleka obwetoowaze n’asaba Kitaawe okumuyamba. Mu butuufu, baakiraba nti nabo baali basaanidde okukola kye kimu.

8 Kiki abaana bo kye bayinza okuyigira ku ssaala z’osaba? Kyo kituufu nti ensonga esinga obukulu lwaki osaba Yakuwa si kwe kwagala abaana bo babeeko bye bayigira ku ssaala zo. Wadde kiri kityo, bw’oyoleka obwetoowaze ng’osaba nabo kibayamba okuyiga okwesiga Yakuwa. Ana, abeera mu Brazil, agamba nti: “Bazadde bange bwe baabanga n’ebizibu, oboolyawo nga balwazizza bazadde baabwe, baasabanga Yakuwa abayambe okuguma n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ne bwe baabanga n’ebibeeraliikiriza bingi, ensonga baazikwasanga Yakuwa. Ekyo kyannyamba okuyiga okwesiga Yakuwa.” Bw’oba osaba n’abaana bo, tokoma ku kubasabira busabizi. Saba Yakuwa naawe akuyambe, oboolyawo okufuna obuvumu okubuulira baliraanwa bo, okwogera ne mukama wo ku mulimu akukkirize okugenda ku lukuŋŋaana olunene, oba akuyambe mu ngeri endala yonna. Bw’okiraga nti weesiga Katonda, n’abaana bo bajja kuyiga okumwesiga.

9. (a) Yesu yayamba atya abayigirizwa be okuyiga okuba abeetoowaze n’okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza? (b) Bw’oba omwetegefu okuweereza abalala, ekyo kinaayamba kitya abaana bo?

9 Okuyitira mu ebyo bye yayigiriza n’ebyo bye yakola, Yesu yayamba abayigirizwa be okuyiga okuba abeetoowaze n’okuba abeetegefu okuweereza abalala. (Soma Lukka 22:27.) Yayigiriza abatume be okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza nga baweereza Yakuwa era nga bakolagana ne bakkiriza bannaabwe. Nammwe musobola okuyigiriza abaana bammwe nga mubateerawo ekyokulabirako ekirungi. Mwannyinaffe Debbie, eyazaala abaana ababiri, agamba nti: “Omwami wange bwe yamalanga ebiseera bingi ng’ayamba abalala mu kibiina ng’omukadde, ekyo tekyannyiizanga, kubanga naffe ab’omu maka ge yatuwanga obudde buli lwe twabanga tumwetaaga.” (1 Tim. 3:4, 5) Omwami we Pranas agattako nti: “Abaana baffe bwe baagenda bakula, baayagalanga nnyo okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina n’egyo egikolebwa ku nkuŋŋaana ennene. Baabanga basanyufu, baafunanga emikwano, era baayagalanga nnyo okubeera awamu ne bakkiriza bannaabwe!” Kati Ow’oluganda Pranas n’ab’omu maka ge bonna bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Naawe bw’oyoleka obwetoowaze n’omwoyo ogw’okwefiiriza, ojja kuyamba abaana bo okuba abeetegefu okuweereza abalala.

YOLEKA OKUTEGEERA

10. Yesu yayoleka atya okutegeera ng’abantu abamu mu Ggaliraaya bazze okumulaba?

10 Yesu yayoleka okutegeera nga tatunuulira ebyo byokka abantu bye baabanga bakoze, naye era ng’afaayo n’okumanya ensonga lwaki baabanga bakoze ebintu ebyo. Lumu abantu abamu mu Ggaliraaya baalabika ng’abaali baagala ennyo okumugoberera. (Yok. 6:22-24) Naye olw’okuba Yesu yali asobola okumanya ebiri mu mitima gyabwe, yakiraba nti abantu abo baali baagala mmere, so si ebyo bye yali ayigiriza. (Yok. 2:25) Yalaba ekizibu kyabwe, n’abawabula, era n’abannyonnyola ekyo kye baali beetaaga okukola.—Soma Yokaana 6:25-27.

Omwana wo anyumirwa omulimu gw’okubuulira? (Laba akatundu 11)

11. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gy’oyinza okumanya endowooza omwana wo gy’alina ku mulimu gw’okubuulira. (b) Oyinza otya okuyamba omwana wo okunyumirwa omulimu gw’okubuulira?

11 Wadde ng’oyinza obutasobola kumanyira ddala ekyo kyennyini ekiri mu mutima gw’omwana wo, osobola okwoleka okutegeera ng’ogezaako okumanya engeri omwana wo gy’atwalamu omulimu gw’okubuulira. Abazadde abamu bwe baba babuulira n’abaana baabwe, bafunayo akaseera okuwummulamu ne babaako kye balya oba kye banywa. Kyokka kikulu okwebuuza, ‘Ddala omwana wange aba yeesunga kubuulira oba yeesunga kaseera ke tufuna okuwummulako ne tubaako kye tulya?’ Bw’okizuula nti omwana wo tanyumirwa nnyo mulimu gwa kubuulira, gezaako okumuyamba okunyumirwa okubuulira. Baako ebintu ebitonotono by’omugamba okukola, kimuyambe okuwulira nti naye wa mugaso mu mulimu gw’okubuulira.

12. (a) Yesu yayoleka atya okutegeera ng’alabula abagoberezi be ku bikolwa eby’obugwenyufu? (b) Lwaki okulabula Yesu kwe yawa kwali kutuukirawo?

12 Yesu era yayoleka okutegeera ng’alabula abayigirizwa be ku bintu ebyali bisobola okubaviirako okukola ekibi. Ng’ekyokulabirako, abagoberezi be baali bakimanyi nti kikyamu okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Naye Yesu yabalabula ku bintu ebyali biyinza okubaviirako okwenyigira mu bikolwa ebyo. Yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe. Eriiso lyo erya ddyo bwe liba nga likwesittaza, liggyemu olisuule.” (Mat. 5:27-29) Abayigirizwa ba Yesu baali beetooloddwa Abaruumi, abaayagalanga ennyo okulaba emizannyo egyalimu ebikolwa eby’obugwenyufu. N’olwekyo, Yesu yakubiriza abayigirizwa be okwewala okutunuulira ekintu kyonna ekyali kiyinza okukifuula ekizibu gye bali okusigala nga bayonjo mu mpisa!

13, 14. Oyinza otya okuyamba abaana bo okwewala eby’okwesanyusaamu ebirimu ebintu eby’obugwenyufu?

13 Okutegeera era kusobola okukuyamba okuyamba abaana bo okwewala okukola ebintu ebitasanyusa Yakuwa. Leero, n’okusinga bwe kyali kibadde, abaana basobola okutandika okulaba ebifaananyi eby’obuseegu n’ebintu ebirala ebikubiriza ebikolwa eby’obugwenyufu nga bakyali bato ddala. Kya lwatu nti abazadde Abakristaayo bagamba abaana baabwe okwewalira ddala okulaba ebintu ng’ebyo. Kyokka okutegeera kusobola okukuyamba okukimanya nti abaana bo bayinza okusikirizibwa okulaba ebintu ebyo. Weebuuze: ‘Kiki ekiyinza okuleetera omwana wange okwagala okulaba ebifaananyi eby’obuseegu? Amanyi akabi akali mu kulaba ebifaananyi ebyo? Ndi muntu atuukirikika ne kiba nti asobola okuntuukirira mmuyambe bw’aba ng’akemeddwa okulaba ebifaananyi eby’obuseegu?’ Omwana wo ne bw’aba akyali muto, osobola okumugamba nti: “Singa okemebwa okulaba ebifaananyi eby’obuseegu, totya kumbuulirako. Ndi mwetegefu okukuyamba.”

14 Okutegeera era kusobola okukuyamba okuba omwegendereza ng’olonda eby’okwesanyusaamu. Pranas, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Ennyimba omuzadde z’awuliriza, firimu z’alaba, oba ebitabo by’asoma, birina kinene kye bikola ku b’omu maka ge. Abaana bakolera nnyo ku ebyo bye balaba bazadde baabwe nga bakola okusinga ebyo bye boogera.” Abaana bo bwe bakiraba nti weegendereza ng’olondawo eby’okwesanyusaamu, ekyo kisobola okubakubiriza nabo okukola kye kimu.—Bar. 2:21-24.

YAKUWA AJJA KUKUYAMBA

15, 16. (a) Kiki ekiraga nti Katonda asobola okukuyamba okutendeka abaana bo? (b) Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

15 Kiki ekyaliwo nga Manowa asabye Katonda amuyambe okukuza obulungi omwana we? Bayibuli egamba nti: ‘Katonda yawulira eddoboozi lya Manowa.’ (Balam. 13:9) Nammwe abazadde, Yakuwa ajja kubawuliriza. Ajja kuddamu essaala zammwe era abayambe okukuza obulungi abaana bammwe. Era ajja kubayamba okwoleka okwagala, obwetoowaze, n’okutegeera.

16 Nga Yakuwa bw’ayamba abazadde okutendeka abaana baabwe abakyali abato, era asobola okubayamba okutendeka abaana baabwe abavubuse. Ekitundu ekiddako kijja kulaga engeri abazadde gye bayinza okukoppa Yesu mu kwoleka okwagala, obwetoowaze, n’okutegeera nga bayamba abaana baabwe abatiini okuweereza Yakuwa.

^ lup. 5 Okusinziira ku Bayibuli, okukangavvula kuzingiramu okuwa obulagirizi, okutendeka, okuwabula, era n’oluusi okubonereza, naye si mu bukambwe.

^ lup. 7 Ekitabo ekiyitibwa The International Standard Bible Encyclopedia kigamba nti: ‘Mu kiseera kya Yesu, abaana baateranga okukozesa ekigambo ʼabbāʼ ku bataata baabwe okukiraga nti babaagala nnyo era nti babassaamu nnyo ekitiibwa.’