Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Bw’Ofiirwa Omuntu Wo

Bw’Ofiirwa Omuntu Wo

“Katonda amukoledde ekisingayo obulungi . . . Tokaaba.”

Omukyala ayitibwa Bebe ye yagambibwa ebigambo ebyo ng’akaaba olw’okufiirwa taata we gwe yali ayagala ennyo. Taata we yali afiiridde mu kabenje.

Mukwano gwe ye yamugamba ebigambo ebyo ng’ayagala okumubudaabuda, naye ebigambo ebyo byayongera kumunakuwaza. Bebe yagambanga nti “Okufa kwa taata si kintu kirungi n’akamu.” Nga wayiseewo emyaka egiwerako, Bebe yawandiika ku kufa kwa kitaawe era bye yawandiika byalaga nti yali akyali munakuwavu.

Omuntu bw’afiirwa, kiyinza okumutwalira ekiseera kiwanvuko okuguma, naddala singa abadde ayagala nnyo oyo afudde. Bayibuli okufa ekuyita “omulabe.” (1 Abakkolinso 15:26) Okufa tekwewalika, era kujja nga tetukwetegekedde ne kututwalako abantu baffe be twagala ennyo. Tewali ayinza kwewala bulumi okufa bwe kuleeta. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti bwe tufiirwa kituzibuwalira okugumira ennaku gye tuba nayo.

Oboolyawo wali weebuuzizzaako nti: ‘Omuntu bw’afiirwa kimutwalira bbanga ki okuguma? Omuntu afiiriddwa ayinza okugumira ennaku? Nnyinza ntya okubudaabuda omuntu afiiriddwa? Abantu abaafa baliddamu okuba abalamu?’