Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BW’OFIIRWA OMUNTU WO

Abafu Bajja Kuddamu Okuba Abalamu!

Abafu Bajja Kuddamu Okuba Abalamu!

Gail gwe twayogeddeko yagamba nti tasuubira obanga ennaku ey’okufiirwa omwami we erimuggwaako. Naye yeesunga okuddamu okulaba omwami we mu nsi empya Katonda gye yatusuubiza. Agamba nti: “Okubikkulirwa 21:3, 4 kye kyawandiikibwa kye nsinga okwagala.” Kigamba nti: “Katonda kennyini anaabeeranga wamu nabo. Alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”

Gail agamba nti: “Ekyawandiikibwa ekyo kimbudaabuda nnyo. Nnumirirwa nnyo abo abaafiirwa abantu baabwe kyokka nga tebamanyi nti waliyo essuubi ery’okuddamu okulaba abantu baabwe abaafa.” N’olwekyo, Gail amala ebiseera bingi ng’abuulira abantu ku kisuubizo kya Katonda ekigamba nti mu biseera eby’omu maaso, “okufa tekulibaawo nate.”

Yobu yali mukakafu nti yandizzeemu okuba omulamu

Kikuzibuwalira okukkiriza nti abafu bajja kuddamu okuba abalamu? Bwe kiba bwe kityo, lowooza ku Yobu eyalwala obulwadde obw’amaanyi. (Yobu 2:7) Wadde nga Yobu yabonaabona nnyo n’atuuka n’okwagala okufa, yali akkiriza nti Katonda asobola okumuzuukiza n’addamu okubeera omulamu ku nsi. Yagamba nti: “Kale singa onkwese emagombe . . . Olimpita, nange ndikuyitaba. Olyagala nnyo omulimu gw’engalo zo.” (Yobu 14:13, 15) Yobu yali mukakafu nti Katonda we yandimuzuukizza.

Ekyo kyennyini Katonda ky’anaatera okukolera Yobu awamu n’abantu abalala, ng’ensi emaze okufuulibwa olusuku lwa Katonda. (Lukka 23:42, 43) Bayibuli egamba nti: “Wajja kubaawo okuzuukira.” (Ebikolwa 24:15) Ate era Yesu yagamba nti: “Temwewuunya kino, kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29) Yobu ajja kulaba ekisuubizo ekyo nga kituukiriziddwa. ‘Omubiri gwe gujja kudda buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka, era ajja kuba n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.’ (Yobu 33:24, 25) Abantu abalala bonna abakkiririza mu kisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abantu baddemu okubeera ku nsi, nabo bajja kuba nga Yobu.

Bw’oba nga wafiirwa omuntu wo gw’oyagala ennyo, ebintu by’osomye mu katabo kano biyinza obutamalirawo ddala nnaku gy’olina. Naye bw’ofumiitiriza ku bisuubizo bya Katonda by’osomyeko mu katabo kano, ojja kufuna essuubi erinaakuyamba okuguma.​—1 Abassessalonika 4:13.

Wandyagadde okumanya ebirala ebisobola okukuyamba okugumira ennaku? Oba olina ebibuuzo ebirala bye weebuuza gamba nga kino: “Lwaki Katonda taggyaawo bikolwa bibi n’okubonaabona?” Ebibuuzo ng’ebyo biddibwamu ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti, jw.org/lg.