Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Ani yali taata wa Yusufu?

Yusufu eyakuza Yesu yali mubazzi era yali abeera mu kabuga k’e Nazaaleesi. Naye ani eyali taata we? Olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu oluli mu Njiri ya Matayo lulaga nti Yakobo ye yali kitaawe, ate olwo oluli mu Njiri ya Lukka lulaga nti Yusufu yali ‘mwana wa Keri.’ Lwaki abawandiisi abo balabika ng’abaakontana?​—Lukka 3:23; Matayo 1:16.

Enjiri ya Matayo egamba nti: “Yakobo n’azaala Yusufu,” era yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekiraga nti Yakobo ye yali taata wa Yusufu owa ddala. N’olwekyo Matayo yali alaga olunyiriri lwa Dawudi Yusufu mwe yasibuka, era nga ne Yesu eyandifuze nga kabaka ku ntebe ya Dawudi yava mu lunyiriri lwe lumu.

Kyokka yo Enjiri ya Lukka egamba nti, Yusufu yali mwana wa Keri. Ebigambo, “mwana wa,” biyinza okutegeeza “mukoddomi wa.” Mu ngeri y’emu, Lukka 3:27 wagamba nti Seyalutyeri yali ‘mwana wa Neeri’ ng’ate kitaawe owa ddala yali ayitibwa Yekoniya. (1 Ebyomumirembe 3:17; Matayo 1:12) Kirabika Seyalutyeri yawasa muwala wa Neeri bw’atyo n’afuuka mukoddomi we. Ne Yusufu ayitibwa “mwana” wa Keri kubanga yawasa Maliyamu, muwala wa Keri. Lukka yawandiika ku lunyiriri lwa Yesu ku ludda lwa nnyina Maliyamu. N’olwekyo, Bayibuli eyogera ku nnyiriri bbiri ez’obuzaale bwa Yesu.

Engoye ezaayambalwanga mu biseera eby’edda baazikolanga mu ki era langi baaziggyanga wa?

Olugoye olwakolebwa mu byoya olulimu langi ez’enjawulo olwazuulibwa okumpi n’ennyanja enfu awo nga mu 135 embala eno

Ebyoya by’endiga, eby’embuzi, n’eby’eŋŋamira byakozesebwanga nnyo okukola engoye mu Buwalabu ey’edda. Engoye ezisinga zaakolebwanga mu byoya by’ebisolo, era emirundi mingi Bayibuli eyogera ku kusala ebyoya by’endiga ne ku ngoye ez’ebyoya. (1 Samwiri 25:2; 2 Bassekabaka 3:4; Yobu 31:20) Ebigoogwa byakolebwangamu engoye eza kitaani era byalimibwanga e Misiri ne mu Isirayiri. (Olubereberye 41:42; Yoswa 2:6) Abayisirayiri abaaliwo mu biseera eby’edda kirabika tebaalimanga ppamba, naye Bayibuli eraga nti ppamba yakozesebwanga mu Buperusi. (Eseza 1:6) Engoye eza liiri zaabanga za bbeeyi nnyo era kirabika zaatundibwanga abasuubuzi abaavanga e Buvanjuba.​​—Okubikkulirwa 18:11, 12.

Ekitabo ekiyitibwa Jesus and His World kigamba nti: “Ebyoya ebyakolebwangamu engoye byabanga bya langi za njawulo nga mw’otwalidde enjeru n’eya kitaka. Ate era, oluusi ebyoya ebyo byateekebwangamu langi. Langi eya kakobe eyali ey’ebbeeyi ennyo yaggibwanga mu makovu. Langi emmyufu, eza kyenvu, eza bbulu, n’enzirugavu zaggibwanga mu bimera, mu mirandira gy’emiti, mu bikoola, ne mu biwuka ebitali bimu.