Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU

Lwaki Yesu Yabonaabona era n’Afa?

Lwaki Yesu Yabonaabona era n’Afa?

“Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi.”​—Abaruumi 5:12

Wandizzeemu otya singa omuntu akubuuza nti: “Oyogala okubeerawo emirembe gyonna?” Bangi bajja kuddamu nti bandyagadde naye nti ekyo tekisoboka. Bagamba nti okufa kyatutonderwa.

Naye ate singa obuuzibwa nti: “Oyagala okufa?” Abantu abasinga obungi bajja kuddamu nti nedda. Ekyo kiraga ki? Wadde nga ffenna twolekagana n’ebizibu ebitali bimu, twagala nnyo okubeera abalamu. Bayibuli eraga nti Katonda yatutonda nga twagala okubeerawo emirembe gyonna. Mu butuufu Bayibuli egamba nti: “Yateeka mu mitima gyabwe ekirowoozo eky’okubeerawo emirembe gyonna.”​—Omubuulizi 3:11.

Naye eky’ennaku kiri nti abantu bafa. Kiki ekiviirako abantu okufa? Katonda alina ky’anaakola okutereeza embeera? Eby’okuddamu Bayibuli by’ewa ku nsonga ezo bizzaamu nnyo amaanyi, era birina akakwate n’ensonga lwaki Yesu yabonaabona era n’afa.

LWAKI ABANTU BAFA?

Essuula essatu ezisooka mu kitabo ky’Olubereberye ziraga nti Katonda yatonda abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, nga balina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo era yabategeeza kye baalina okukola okusobola okubufuna. Essuula ezo era ziraga nti tebaagondera Katonda era baafiirwa enkizo ey’okubeera abalamu emirembe gyonna. Olw’okuba ebigambo ebyo tebinnyonnyolwa bulungi, abamu tebabikkiriza era bagamba nti olwo lugero bugero. Naye okufaananako ebitabo by’Enjiri, waliwo obukakafu obumala obulaga nti ebyafaayo ebiri mu kitabo ky’Olubereberye bituufu. *

Biki ebyava mu bujeemu bwa Adamu? Bayibuli eddamu nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Adamu bwe yajeemera Katonda yayonoona, bw’atyo n’asubwa enkizo ey’okufuna obulamu obutaggwaawo era oluvannyuma n’afa. Olw’okuba tuli bazzukulu be, naffe twasikira ekibi, era okuva olwo abantu balwala, bakaddiwa era bafa. Ensonga lwaki abantu bafa, ekwatagana n’ekyo bannassaayansi kye bazudde nti abaana basobola okuba nga bazadde baabwe. Naye waliwo Katonda ky’akozeewo okutuggya mu mbeera eyo?

KATONDA KYE YATUKOLERA

Katonda yakola enteekateeka tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo Adamu bwe yali atufiirizza. Ekyo Katonda yakikola atya?

Bayibuli egamba nti: “Empeera y’ekibi kwe kufa.” (Abaruumi 6:23) N’olwekyo Adamu yafa olw’okuba yakola ekibi. Mu ngeri y’emu, naffe tufa olw’okuba tuli boonoonyi, era ng’ekibi ekyo tuzaalibwa nakyo olw’okuba twakisikira okuva ku Adamu. Katonda yasindika omwana we Yesu, okutufiirira. Naye kyasoboka kitya omuntu omu okufiirira abangi?

Okufa kwa Yesu kutuggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obw’essanyu era obutaggwaawo

Olw’okuba ekibi n’okufa byava ku bujeemu bw’omuntu omu eyali atuukiridde, Adamu, era kyali kyetaagisa omuntu omu atuukiridde eyandisigadde nga mwesigwa okutuukira ddala okufa, okununula abantu bonna. Bayibuli ekinnyonnyola bw’eti: “Ng’obujeemu bw’omuntu omu bwe bwaviirako bangi okufuuka aboonoonyi, n’obuwulize bw’omuntu omu bujja kuviirako bangi okufuuka abatuukirivu.” (Abaruumi 5:19) Yesu ye yali ‘omuntu oyo omu.’ Yava mu ggulu n’afuuka omuntu atuukiridde *, era n’atufiirira. Kati tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era n’okuba n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.

ENSONGA LWAKI YESU YABONAABONA ERA N’AFA

Naye, lwaki kyali kyetaagisa Yesu okufa? Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna yali tasobola kuleka bulesi bazzukulu ba Adamu ne babeera balamu emirembe gyonna? Ekyo yali asobola okukikola. Naye kyandimenyeewo tteeka lye yali yawa erigamba nti empeera y’ekibi kwe kufa, ate ng’etteeka eryo lyali teriyinza kukyusibwa. Kkulu nnyo era liraga obwenkanya bwa Yakuwa.​—Zabbuli 37:28.

Singa Katonda teyanywerera ku bwesigwa bwe, abantu bandibuusizzabuusizza obanga asobola okusigala nga mwesigwa mu bintu ebirala, gamba ng’okusalawo ani ow’okufuna obulamu obutaggwaawo mu bazzukulu ba Adamu. Abantu bandibadde basobola okumwesiga nti ajja kutuukiriza ebisuubizo bye? Olw’okuba Katonda yanywerera ku misingi gye egy’obwenkanya okusobola okutununula, tuli bakakafu nti bulijjo ky’akola kiba kituufu.

Okuyitira mu kufa kwa Yesu, Katonda atusobozesa okufuna essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. Weetegereze ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 3:16. Yagamba nti: “Kubanga Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” N’olwekyo okufa kwa Yesu tekwoleka bwenkanya bwa Katonda kyokka, naye okusingira ddala kwoleka okwagala kwa Katonda.

Naye lwaki Yesu yabonaabona era n’afiira mu bulumi obungi ennyo ng’ebitabo by’Enjiri bwe biraga? Yesu bwe yasigala nga mwesigwa wadde nga yabonaabona nnyo, yalaga nti ebyo Sitaani bye yayogera ku baweereza ba Katonda bya bulimba. Sitaani yagamba nti tewali muntu yandisigadde ng’anyweredde ku Katonda ng’afunye ebizibu. (Yobu 2:4, 5) Ebyo Sitaani bye yayogera byalabika ng’ebituufu bwe yasendasenda Adamu omuntu eyali atuukiridde, okwonoona. Naye Yesu, eyali atuukiridde nga Adamu, yasigala muwulize wadde nga yabonaabona nnyo. (1 Abakkolinso 15:45) Bw’atyo Yesu yakiraga nti Adamu naye yali asobola okusalawo okugondera Katonda. Yesu bwe yagumiikiriza okubonaabona yatulekera ekyokulabirako eky’okukoppa. (1 Peetero 2:21) Olw’okuba Yesu yali mwesigwa nnyo, Katonda yamuwa obulamu obutasobola kuzikirizibwa.

ENGERI GY’OYINZA OKUGANYULWAMU

Mazima ddala Yesu yafa, era yatuggulirawo ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Wandyagadde okubeera omulamu emirembe gyonna? Yesu yatubuulira kye tulina okukola okusobola okufuna obulamu obwo. Yagamba nti: “Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, kibeetaagisa okukumanya ggwe Katonda omu ow’amazima n’oyo gwe watuma Yesu Kristo.”​—Yokaana 17:3.

Abajulirwa ba Yakuwa bakukubiriza okuyiga ebisingawo ebikwata ku Yakuwa, Katonda ow’amazima n’Omwana we Yesu Kristo, era beetegefu okukuyamba mu nsonga eno. Ate era osobola okusoma ebisingawo ku mukutu gwaffe, www.pr418.com/lg.

^ lup. 8 Laba ekitundu “The Historical Character of Genesis (Ebyafaayo Ebiri mu Kitabo ky’Olubereberye),” mu Insight on the Scriptures, olupapula 922, Omuzingo 1, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 13 Katonda yaggya obulamu bw’omwana we mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu. Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwakuuma Yesu n’atasikira butali butuukirivu okuva ku Maliyamu.​—Lukka 1:31, 35.