Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ddi abantu ba Katonda lwe baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene?

Abantu ba Katonda baali mu buwambe obwo obw’eby’omwoyo okuva mu kyasa eky’okubiri E.E. okutuuka mu 1919. Lwaki tukoze enkyukakyuka eno mu nnyinnyonnyola yaffe?

Obukakafu bulaga nti abantu ba Katonda baava mu buwambe obwo mu mwaka gwa 1919 Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe baakuŋŋaanyizibwa mu kibiina kya Katonda ekyali kizziddwaawo. Lowooza ku kino: Abantu ba Katonda baagezesebwa era ne balongoosebwa mu myaka egyaddirira ng’Obwakabaka bwa Katonda bumaze okuteekebwawo mu ggulu mu 1914. * (Mal. 3:1-4) Mu 1919, Yesu yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okuwa abantu ba Katonda abaali balongooseddwa ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu.’ (Mat. 24:45-47) Ogwo gwe mwaka abantu ba Katonda lwe baatandika okudda ku butaka bwabwe ebw’eby’omwoyo. Era ekyo kye kiseera abantu ba Katonda lwe baateebwa okuva mu buwambe obw’eby’omwoyo mu Babulooni Ekinene. (Kub. 18:4) Naye ddi lwe baatwalibwa mu buwambe obwo?

Okumala emyaka mingi, ebitabo byaffe bibadde biraga nti obuwambe obwo bwatandika mu 1918 era nti abantu ba Katonda baamala ekiseera kitono nga bali mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Ng’ekyokulabirako, Watchtower eya Maaki 15, 1992, yagamba nti: “Ng’abantu ba Katonda ab’edda bwe baatwalibwa mu buwambe e Babulooni okumala ekiseera, mu 1918 abaweereza ba Yakuwa nabo baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene.” Naye okunoonyereza okulala okukoleddwa kulaga nti obuwambe obwo bwatandika mabegako nga n’omwaka 1918 tegunnatuuka.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bumu ku bunnabbi obwayogera ku kuwambibwa n’okuteebwa kw’abantu ba Katonda. Obunnabbi obwo busangibwa mu Ezeekyeri 37:1-14. Ezeekyeri yafuna okwolesebwa n’alaba olusenyi nga lujjudde amagumba. Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti amagumba ago gakiikirira ‘ennyumba ya Isirayiri yonna.’ Obunnabbi obwo bwatuukirira mu bujjuvu ku “Isirayiri wa Katonda.” (Bag. 6:16; Bik. 3:21) Oluvannyuma Ezeekyeri yalaba amagumba ago nga gaddamu okuba amalamu ne gafuuka eggye eddene. Obunnabbi obwo bulaga bulungi engeri abantu ba Katonda gye baazuukiramu mu by’omwoyo ne bateebwa okuva mu buwambe mu 1919! Naye okwolesebwa okwo kutuyamba kutya okumanya ekiseera kye baamala nga bali mu buwambe obwo?

Ekisooka, mu kwolesebwa okwo amagumba googerwako ‘ng’amakalu’ oba ‘amakalu ennyo.’ (Ez. 37:2, 11) Ekyo kiraga nti bannannyini magumba ago baali bamaze ekiseera kiwanvu nga bafudde. Eky’okubiri, okuzuukira kw’abantu abo kubaawo mpolampola, so si mulundi gumu. Ebintu ebikoonagana bye byasooka okuwulirwa oluvannyuma “amagumba ne gatandika okwegatta buli limu ku linnaalyo.” Ekyaddirira, amagumba ago gajjako “ebinywa n’ennyama.” Oluvannyuma, amagumba, ebinywa, n’ennyama byabikkibwako olususu. N’ekyaddirira, abantu abo ‘omukka gwabayingiramu, ne balamuka.’ N’ekyasembayo, Yakuwa yateeka abantu abo abaali bazzeemu okuba abalamu mu nsi yaabwe. Ebyo byonna okusobola okubaawo kyanditutte ekiseera ekiwerako.​—Ez. 37:7-10, 14.

Abantu b’eggwanga lya Isirayiri baamala ekiseera kiwanvu nga bali mu buwambe. Baatwalibwa mu buwambe mu mwaka gwa 740 E.E.T. obwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi bwe bwawambibwa era abantu baabwo abasinga obungi ne batwalibwa mu buwambe. Oluvannyuma, mu mwaka gwa 607 E.E.T., Yerusaalemi kyazikirizibwa era abantu b’obwakabaka bwa Yuda nabo ne batwalibwa mu buwambe. Obuwambe obwo bwakoma mu mwaka gwa 537 E.E.T. ensigalira y’Abayudaaya bwe baddayo ku butaka ne baddamu okuzimba yeekaalu era ne bazzaawo okusinza okw’amazima mu Yerusaalemi.

Bwe tulowooza ku nsonga ezo ze tulabye mu Byawandiikibwa, kyeyoleka kaati nti abantu ba Katonda baamala ekiseera kiwanvu nga bali mu buwambe mu Babulooni Ekinene, so si kuva mu 1918 okutuuka mu 1919. Ekiseera kye baamala mu buwambe kikwatagana n’ekiseera Yesu kye yayogerako, omuddo ogw’akabonero we gwandikulidde awamu ‘n’abaana b’Obwakabaka’ abakiikirirwa eŋŋaano. (Mat. 13:36-43) Ekiseera ekyo kye kiseera bakyewaggula we baabuutikira Abakristaayo ab’amazima. Tuyinza okugamba nti mu kiseera ekyo ekibiina Ekikristaayo kyali mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Obuwambe obwo bwatandika mu kyasa eky’okubiri E.E. okutuukira ddala mu kiseera yeekaalu ey’eby’omwoyo lwe yalongoosebwa mu kiseera eky’enkomerero.​—Bik. 20:29, 30; 2 Bas. 2:3, 6; 1 Yok. 2:18, 19.

Mu kiseera ekyo ekiwanvu abantu ba Katonda kye baamala nga bali mu buwambe, abakulembeze b’amadiini ne bannabyabufuzi abaali baagala okwenywereza mu buyinza baakugiranga abantu be baalinako obuyinza okubeera n’Ekigambo kya Katonda. Abantu abamu baabaggulangako n’emisango olw’okusoma Bayibuli mu lulimi lwabwe. Abamu ku bo baatuuka n’okubasiba ku miti ne babookya. Omuntu yenna eyagezangako okuwakanya ebyo bannaddiini bye baayigirizanga baamutulugunyanga. Bwe kityo, kyali kizibu nnyo abantu okumanya amazima agali mu Kigambo kya Katonda.

Nga bwe twalabye, abantu ba Katonda baazuukira mpolampola. Ekyo kyaliwo ddi era kyabaawo kitya? “Ebintu ebikoonagana” ebyogerwako mu kwolesebwa Ezeekyeri kwe yafuna byaliwo ng’ebula ebyasa bitono ennaku ez’enkomerero zitandike. Wadde ng’enjigiriza z’amadiini ag’obulimba zaali zibuutikidde ensi, waaliwo abantu abamu abeesigwa abaakola kyonna ekisoboka okulwanirira amazima. Abamu ku bo baafuba okuvvuunula Bayibuli mu nnimi ezoogerwa abantu aba bulijjo. Ate abalala baafuba okumanyisa abalala amazima ge baali bazudde mu Kigambo kya Katonda.

Emyaka gya 1800 bwe gyali ginaatera okuggwaako, Charles Taze Russell ne banne baakola butaweera okuzuula amazima agali mu Bayibuli. Tuyinza okugamba nti amagumba gaali gatandise okujjako ennyama n’olususu. Magazini ya Zion’s Watch Tower n’ebitabo ebirala byayamba abantu ab’emitima emirungi okuzuula amazima. Oluvannyuma, ebintu nga firimu ya “Photo-Drama of Creation” eyafuluma mu 1914 n’ekitabo The Finished Mystery ekyafuluma mu 1917 nabyo byanyweza nnyo abantu ba Katonda. Kyaddaaki mu 1919, abantu ba Katonda baddamu okuba abalamu mu by’omwoyo era Katonda n’abateeka ku butaka bwabwe obw’eby’omwoyo. Ekiseera bwe kizze kiyitawo, ensigalira y’abaafukibwako amafuta abo beegattiddwaako bannaabwe abalina essuubi ery’okubeera ku nsi era bonna awamu bafuuse “eggye ddene.”​—Ez. 37:10; Zek. 8:20-23. *

Okusinziira ku ebyo bye tulabye, kyeyoleka lwatu nti abantu ba Katonda baatwalibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene mu kyasa eky’okubiri mu kiseera bakyewaggula we baafuukira abangi ennyo. Ekiseera ekyo kyali kya kizikiza, ekifaananako n’ekyo Abayisirayiri ab’edda kye baayitamu nga bali mu buwambe. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti wadde ng’abantu ba Katonda baamala ekiseera kiwanvu nga bali mu buwambe obw’eby’omwoyo, kati tuli mu kiseera ‘ng’abo ab’amagezi baakaayakana, nga beeyonjezza, era nga balongooseddwa’!​—Dan. 12:3, 10.

Sitaani yatwalira ddala Yesu ku yeekaalu bwe yali ng’amukema?

Tetumanyidde ddala obanga Yesu yagenda n’ayimirira ku yeekaalu oba nga yagendayo mu kwolesebwa. Endowooza ezo ebbiri zaali zifulumiddeko mu bitabo byaffe.

Lowooza ku ebyo Bayibuli by’eyogera ku nsonga eno. Omutume Matayo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Omulyolyomi [n’atwala Yesu] mu kibuga ekitukuvu, n’amuteeka waggulu ku kisenge [“ku muziziko; awasingayo okuba waggulu,” obugambo obuli wansi] kya yeekaalu.” (Mat. 4:5) Ate ye Lukka agamba nti: “N’amutwala e Yerusaalemi n’amuteeka waggulu ku kisenge kya yeekaalu.”​—Luk. 4:9.

Emabega, ebitabo byaffe bibadde biraga nti Yesu ayinza okuba nga teyagendera ddala ku yeekaalu. Ng’ekyokulabirako, Watchtower eya Maaki 1, 1961, yagamba nti: “Tetusaanidde kulowooza nti ebyo byonna bye tusoma ku kukemebwa kwa Yesu mu ddungu byaliwo ddala nga bwe tubisoma. Tewali lusozi lwonna muntu lw’ayinza kulinnyako n’alengera ‘obwakabaka bwonna obuli mu nsi n’ekitiibwa kyabwo.’ N’olwekyo, tusobola okugamba nti Sitaani teyatwalira ddala Yesu ‘mu kibuga ekitukuvu’ n’amuyimiriza ‘waggulu ku kisenge kya yeekaalu.’ Ekyo kyali tekyetaagisa ekikemo ekyo okusobola okuba eky’amaanyi.” Naye ate era mu bitundu ebirala ebyafulumira mu magazini ya Watchtower kyalagibwa nti singa Yesu yakola ekyo Sitaani kye yamugamba yandibadde agwa wansi n’afa bw’atyo n’aba nga yesse bwessi.

Abamu bagamba nti okuva bwe kiri nti Yesu teyali Muleevi, yali takkirizibwa kuyimirira ku yeekaalu. N’olwekyo, kyalowoozebwa nti Yesu ayinza okuba nga ‘yatwalibwa’ ku yeekaalu mu kwolesebwa. Ekyo kifaananako n’ekyo ekyatuuka ku nnabbi Ezeekyeri ebyasa bingi emabega.​—Ez. 8:3, 7-10; 11:1, 24; 37:1, 2.

Naye bwe kiba nti Yesu yatwalibwa ku yeekaalu mu kwolesebwa, kireetawo ebibuuzo bino:

  • Ekikemo ekyo kyali kya ddala oba kyalinga kirooto bulooto?

  • Bwe kiba nti ebikemo biri ebirala byali byetaagisa Yesu okubaako ekintu ekya ddala ky’akolawo, gamba ng’okufuula amayinja emigaati n’okuvunnamira Sitaani, olowooza ne kino ekikemo kyali tekyetaagisa Yesu okubaako ekintu ekya ddala ky’akolawo, kwe kugamba, okubuuka okuva waggulu ku yeekaalu?

Ku luuyi olulala, bwe kiba nti Yesu yayimirira ddala waggulu ku kisenge kya yeekaalu, wajjawo ebibuuzo ebirala:

  • Ddala Yesu yamenya Amateeka n’ayimirira waggulu ku kifo ekitukuvu?

  • Yesu yava atya mu ddungu n’agenda mu Yerusaalemi?

Ka tulabeyo ebintu ebirala ebisobola okutuyamba okuddamu ebibuuzo ebyo ebibiri.

Ekisooka, Profesa D. A. Carson yagamba nti ekigambo ky’Oluyonaani hi·e·ron’, ekyavvuunulwa “yeekaalu” mu Njiri ya Matayo n’eya Lukka, “kirabika kitegeeza ekifo ekitukuvu n’ebizimbe ebirala byonna ebyali bikyetoolodde, so si ekifo ekitukuvu kyokka.” N’olwekyo, Yesu kyali tekimwetaagisa kuyimirira waggulu ku kifo ekitukuvu. Yali asobola okuyimirira mu kifo ekirala, gamba ku nsonda y’ekisenge kya yeekaalu ku ludda olw’ebukiikaddyo. Okuva waggulu ku nsonda eyo okutuuka wansi mu kiwonvu kya Kidulooni, waaliwo obuwanvu bwa ffuuti nga 450. Ekisenge kya yeekaalu ekyali ku ludda olw’ebukiikaddyo, kyaliko akasolya akaseeteevu nga kuliko omuziziko, era ekyo kye kisenge ekyali kisingayo obuwanvu ku yeekaalu. Munnabyafaayo ayitibwa Josephus yagamba nti omuntu bwe yayimiriranga ku kisenge ekyo waggulu n’atunula wansi, yali “asobola okufuna kantoolooze.” Wadde nga Yesu teyali Muleevi yali asobola okuyimirira mu kifo ekyo, era ekyo tewali n’omu yandikitutte bubi.

Naye Yesu yava atya mu ddungu n’agenda e Yerusaalemi ku yeekaalu? Ekyo tetukimanyi. Ebyawandiikibwa tebitubuulira bbanga Yesu lye yamala ng’akemebwa oba wa we yali mu ddungu. Kisoboka okuba nti Yesu yava mu ddungu n’agenda e Yerusaalemi, wadde ng’ekyo kiyinza okuba nga kyatwala ebbanga eriwerako. Ebyawandiikibwa tebigamba nti Yesu yasigala mu ddungu ekiseera kyonna Sitaani kye yamala ng’amukema, wabula bigamba bugambi nti yatwalibwa mu Yerusaalemi.

Ate kyo ekikemo Sitaani mwe yalagira Yesu “obwakabaka bwonna obw’omu nsi”? Kya lwatu nti Yesu teyalabira ddala bwakabaka bwonna obw’omu nsi, kubanga tewali lusozi muntu kw’asobola kuyimirira n’alaba obwakabaka bwonna obw’omu nsi. N’olwekyo, Sitaani ayinza okuba nga yalaga Yesu obwakabaka obwo mu kwolesebwa, ng’omuntu bw’ayinza okulaga omulala ebifaananyi by’ebitundu ebitali bimu eby’ensi ku lutimbe. Wadde ng’obwakabaka obwo Yesu ayinza okuba nga yabulaba mu kwolesebwa, kyo ekikolwa ‘eky’okuvvunama okusinza,’ Sitaani yali ayagala Yesu akikolere ddala. (Mat. 4:8, 9) N’olwekyo, tuyinza okugamba nti n’ekikemo ekyali kyetaagisa Yesu okubuuka okuva waggulu ku kisenge kya yeekaalu kyali kya ddala, era singa Yesu yabuuka yandibadde amenyeka oba afa, ekintu ekitandisobose singa ekikemo ekyo kyali mu kwolesebwa bwolesebwa.

N’olwekyo kisoboka okuba nti Yesu yagendera ddala mu Yerusaalemi n’ayimirira waggulu ku kisenge kya yeekaalu. Naye nga bwe twalabye ku ntandikwa y’ekitundu kino, tetumanyidde ddala ngeri Sitaani gye yatwalamu Yesu ku yeekaalu. Naye kye tumanyi kiri nti Sitaani yagezaako nnyo okuleetera Yesu okukola ebintu ebikyamu naye Yesu n’agaana okubikola.

^ lup. 4 Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, lup. 10-12, kat. 5-812.

^ lup. 12 Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 37:1-14 ne mu Okubikkulirwa 11:7-12 bwombi bwogera ku bintu ebyaliwo mu 1919. Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 37:1-14 bukwata ku kudda kw’abantu ba Katonda bonna mu kusinza okw’amazima oluvannyuma lw’okumala ekiseera ekiwanvu ennyo nga bali mu buwambe. Ate obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 11:7-12 bwogera ku kulondebwa okwaliwo mu 1919 okw’abaafukibwako amafuta abatonotono abatwala obukulembeze mu bantu ba Katonda oluvannyuma lw’okumala ekiseera kitono nga bakugiddwa okukola omulimu gwabwe.