Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obadde Okimanyi?

Obadde Okimanyi?

Lwaki engeri Yesu gye yayisangamu abagenge yali yeewuunyisa?

Abayudaaya ab’edda baali batya nnyo obulwadde bw’ebigenge obwaliwo mu kiseera ekyo. Obulwadde obwo bwali busobola okukutulako omuntu ebitundu by’omubiri ebimu era n’agongobala. Mu kiseera ekyo tewaaliwo ddagala lya bigenge. N’olwekyo, abo abaabanga balwadde ebigenge baayawulwanga ku bantu abalala era ne balagirwa okulabulanga abantu abalala baleme kubasemberera.—Eby’Abaleevi 13:45, 46.

Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya baateekawo amateeka amakakali agakwata ku bulwadde bw’ebigenge agataali mu Byawandiikibwa, era ekyo ne kyongera okukalubya obulamu bw’abalwadde b’ebigenge. Ng’ekyokulabirako, amateeka g’Abayudaaya gaali galagira omuntu obutasemberera mugenge. Waalinanga okubaawo ffuuti mukaaga wakati we n’omugenge. Naye ate empewo bwe yabanga ekunta, waalinaga okubaawo ffuuti 150 wakati we n’omugenge. Ebigambo “wabweru w’olusiisira” abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abamu baali babitwala okuba nga bitegeeza nti abagenge tebaalina kubeera mu bibuga ebiriko bbugwe. Era omukulembeze w’eddiini y’Ekiyudaaya omu bwe yalabanga omugenge mu kibuga, yamukasukiranga amayinja nga bw’amugamba nti: “Genda gy’olina okubeera; tofuula bantu balala batali balongoofu.”

Yesu ye yali wa njawulo nnyo. Mu kifo ky’okugobaganya abagenge, yabakwatangako era n’abawonya.—Matayo 8:3.

Abakulemebeze b’eddini y’Ekiyudaaya baasinziiranga ku ki okukkiriza abafumbo okugattululwa?

Ebbaluwa eyaweebwanga omukazi agobeddwa ey’omu mwaka gwa 71/72 E.E.

Ensonga ey’okugattululwa mu bufumbo abakulembeze b’eddiini baagikubaganyangako nnyo ebirowoozo mu kyasa ekyasooka. Era lumu Abafalisaayo baabuuza Yesu nti: “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we ku buli nsonga yonna?”—Matayo 19:3.

Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri gaali gakkiriza omusajja okugoba mukazi we singa yabanga “amulabyemu ekitasaana.” (Ekyamateeka 24:1) Yesu we yabeerera ku nsi, waaliwo ebibinja by’abakulembeze b’eddiini bibiri ebyalina endowooza ezikontana ku tteeka eryo. Ekibinja ekya Shammai, ekyali kyekenneenya ennyo amateeka kyali kiyigiriza nti ensonga yokka esinziirwako omusajja okugattululwa ne mukazi we bwe “butali bulongoofu,” kwe kugamba, obwenzi. Ekibinja ekya Hillel, kyo kyali kiyigiriza nti omusajja yabanga asobola okugoba mukazi we ng’asinziira ku nsonga yonna, k’ebe ntono etya. Okusinziira ku njigiriza eyo, omusajja yabanga asobola okugoba mukazi we singa omukazi yabanga tafumbye bulungi mmere, oba singa omusajja yabanga afunyeeyo omukazi omulala alabika obulungi okusinga gw’alina.

Yesu yaddamu atya Abafalisaayo abaamubuuza ekibuuzo? Yabaddamu nti: “Buli agoba mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi, n’awasa omulala, aba ayenze.”—Matayo 19:6, 9.